Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38

Weeyongere Okwagala Yakuwa ne Bakkiriza Banno

Weeyongere Okwagala Yakuwa ne Bakkiriza Banno

“Ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe.”​—YOK. 20:17.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

OMULAMWA *

1. Abantu abeesigwa bayinza kuba na nkolagana ki ne Yakuwa?

MU MAKA ga Yakuwa mulimu Yesu, “omubereberye w’ebitonde byonna,” era ne bamalayika bangi nnyo. (Bak. 1:15; Zab. 103:20) Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti abantu abeesigwa basobola okutwala Yakuwa nga Kitaabwe. Yesu bwe yali ayogera n’abayigirizwa be, yayogera ku Yakuwa nga “Kitange era Kitammwe.” (Yok. 20:17) Bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, twegatta ku maka omuli baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo.​—Mak. 10:29, 30.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Abamu bakisanga nga kizibu okutwala Yakuwa nga Kitaabwe. Ate abalala bayinza obutamanya ngeri ya kulagamu baganda baabwe ne bannyina bwe okwagala. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Yesu gy’atuyambamu okutwala Yakuwa nga Kitaffe atwagala era ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppamu Yakuwa, bwe kituuka ku ngeri gye tuyisaamu baganda baffe ne bannyinaffe.

YAKUWA AYAGALA OMUSEMBERERE

3. Essaala Yesu gye yatuwa ng’ekyokulabirako etuyamba etya okusemberera Yakuwa?

3 Yakuwa ye Kitaffe atwagala. Yesu ayagala tutwale Yakuwa nga naye bw’amutwala. Ayagala tutwale Yakuwa ng’omuzadde omwangu okutuukirira, so si ng’omuntu alina obuyinza atali mwangu wa kutuukirira. Kino kyeyolekera mu ebyo Yesu bye yayigiriza abayigirizwa be okusaba. Essaala ey’okulabirako yagitandika n’ekigambo: “Kitaffe.” (Mat. 6:9) Yesu yali asobola okutugamba okuyita Yakuwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna,” “Omutonzi,” oba “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” era ng’ebitiibwa ebyo byonna bya Yakuwa era biri mu byawandiikibwa. (Lub. 49:25; Is. 40:28; 1 Tim. 1:17) Mu kifo ky’ekyo, Yesu yatugamba okukozesa ekigambo “Kitaffe,” ekyoleka omukwano wakati w’omuzadde n’omwana.

4. Tumanya tutya nti Yakuwa ayagala tumusemberere?

4 Okisanga nga kizibu okutwala Yakuwa nga Kitaawo akwagala? Abamu ku ffe tuyinza okukisanga nga kizibu okutwala Yakuwa nga Kitaffe, olw’okuba bazadde baffe tebaatulaga kwagala. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ategeera engeri gye twewuliramu! Ayagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naffe. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etugamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8) Yakuwa atwagala nnyo era atusuubiza okuba Kitaffe asingayo obulungi.

5. Okusinziira ku Lukka 10:22, Yesu ayinza atya okutuyamba okusemberera Yakuwa?

5 Yesu asobola okutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yesu amanyi bulungi Yakuwa era ayoleka engeri ze mu ngeri etuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) Nga mukulu waffe bw’asobola okututeerawo ekyokulabirako ekirungi, ne Yesu atuyigiriza engeri gye tuyinza okuwaamu Kitaffe ekitiibwa n’okumugondera, engeri gye tuyinza okwewala okumunyiiza, ne bye tulina okukola okusobola okumusanyusa. Naye okusingira ddala, ebyo Yesu bye yakola ng’ali ku nsi bitulaga nti Yakuwa wa kisa era alina okwagala kungi. (Soma Lukka 10:22.) Ka tulabeyo ebimu ku byokulabirako.

Nga Taata alina okwagala, Yakuwa yazzaamu Omwana we amaanyi ng’ayitira mu malayika (Laba akatundu 6) *

6. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri Yakuwa gye yawuliriza essaala za Yesu.

6 Yakuwa awuliriza abaana be. Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yawulirizaamu Omwana we omubereberye. Yakuwa yawuliriza essaala nnyingi Omwana we ze yasaba ng’ali ku nsi. (Luk. 5:16) Yawuliriza essaala Yesu ze yasaba ng’agenda okusalawo ku bintu ebikulu, gamba ng’eyo gye yasaba ng’agenda okulonda abatume 12. (Luk. 6:12, 13) Yakuwa era yawuliriza essaala Yesu gye yasaba bwe yali omweraliikirivu ennyo. Bwe yali anaatera okuliibwamu olukwe, Yesu yeegayirira kitaawe ku bikwata ku kigezo eky’amaanyi kye yali anaatera okwolekagana nakyo. Yakuwa teyakoma ku kuwuliriza ssaala ya Yesu, naye era yasindika malayika okumuzzaamu amaanyi.​—Luk. 22:41-44.

7. Okukimanya nti Yakuwa addamu essaala zaffe kikuleetera kuwulira otya?

7 Ne leero, Yakuwa awuliriza essaala z’abaweereza be, era aziddamu mu kiseera ekituufu era mu ngeri esingayo obulungi. (Zab. 116:1, 2) Lowooza ku mwannyinaffe omu abeera mu Buyindi. Yalina ekizibu eky’okweraliikirira era yasabanga nnyo Yakuwa ku nsonga eyo. Agamba nti: “Programu ya JW Broadcasting® eya Maayi 2019 eyali ekwata ku ngeri gye tuyinza okwaŋŋangamu ebitweraliikiriza, yajjira mu kiseera kyennyini mwe nnali ngyetaagira. Yakuwa yayitira mu programu eyo okuddamu essaala zange.”

8. Yakuwa yakiraga atya nti ayagala Yesu?

8 Yakuwa atwagala nnyo era atufaako nga bwe yayagala Yesu ng’ali wano ku nsi. (Yok. 5:20) Yakolanga ku byetaago bya Yesu byonna eby’omwoyo n’eby’omubiri era yamuzzangamu amaanyi. Ate era Yakuwa yagamba Omwana we nti amwagala nnyo era amusiima (Mat. 3:16, 17) Olw’okuba Yesu yali mukakafu nti Kitaawe tayinza kumwabulira, teyawuliranga nti ali yekka.​—Yok. 8:16.

9. Kiki ekiraga nti Yakuwa atwagala nnyo?

9 Okufaananako Yesu, naffe Yakuwa atulaze okwagala mu ngeri nnyingi. Kirowoozeeko: Yakuwa yatusembeza mu maka ge era atuwadde baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo era abatuzzaamu amaanyi bwe tuba n’ebitweraliikiriza. (Yok. 6:44) Ate era Yakuwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Era atuyamba okufuna ebyetaago byaffe eby’omubiri. (Mat. 6:31, 32) Bwe tufumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’atulaga, tweyongera okumwagala.

BAKKIRIZA BANO BAYISE NGA YAKUWA BW’ABAYISA

10. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gy’ayisaamu baganda baffe ne bannyinaffe?

10 Yakuwa ayagala nnyo baganda baffe ne bannyinaffe. Naye oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Ekyo kiri kityo olw’okuba twakulira mu mbeera za njawulo n’obuwangwa bwa njawulo. Era oluusi tukola ensobi eziyinza okunyiiza abalala. Wadde kiri kityo, tusobola okunyweza okwagala okuliwo wakati waffe ne bakkiriza bannaffe. Ekyo tusobola kukikola tutya? Tusobola okukikola nga tukoppa engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’alagamu baganda baffe ne bannyinaffe okwagala. (Bef. 5:1, 2; 1 Yok. 4:19) Ka tulabe bye tusobola okuyigira ku Yakuwa.

11. Yesu yayoleka atya obusaasizi bwa Yakuwa?

11 Yakuwa ‘musaasizi.’ (Luk. 1:78) Omuntu omusaasizi aba alumirirwa abo abali mu mbeera enzibu, era abaako ky’akolawo okubayamba n’okubazzaamu amaanyi. Engeri Yesu gye yayisaamu abantu yalaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu. (Yok. 5:19) Lumu Yesu bwe yalaba ekibiina ky’abantu, ‘yabasaasira, kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.’ (Mat. 9:36) Yesu teyakoma bukomi ku kubasaasira, wabula alina kye yakolawo okubayamba. Yawonnya abalwadde era yayamba abo abaali “bategana era abazitoowereddwa.”​—Mat. 11:28-30; 14:14.

Koppa Yakuwa ng’olaga bakkiriza banno okwagala era ng’obasaasira (Laba akatundu 12-14) *

12. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri gye tuyinza okulagamu abalala obusaasizi.

12 Okusobola okulaga baganda baffe ne bannyinaffe obusaasizi, tulina kusooka kumanya bizibu bye boolekagana nabyo. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu ayinza okuba ng’alina obulwadde obumutawaanya. Ayinza okuba nga tatera kwogera ku bulwadde obwo, naye nga yandisiimye nnyo singa wabaawo omuntu abaako ky’akolawo okumuyamba. Alabirira atya abo mu maka ge? Tusobola okumuyambako okuteekateeka eby’okulya oba okulongoosa awaka? Ate ow’oluganda ayinza okuba nga yafiirwa omulimu ggwe. Oboolyawo tuyinza okumuwaayo ku ssente, naye nga tetumubuulidde nti ffe tuzimuwadde.

13-14. Tuyinza tutya okuba abagabi nga Yakuwa?

13 Yakuwa mugabi. (Mat. 5:45) Tetusaanidde kulinda baganda baffe ne bannyinaffe kutusaba buyambi ne tulyoka tubayamba. Okufaananako Yakuwa, tusobola okubaako kye tukolawo okubayamba wadde nga tebannatusaba buyambi. Omusana gwe gutwakira buli lunaku nga tetumusabye na kumusaba! Era omusana guganyula buli omu nga mw’otwalidde n’abo abatamusiima. Yakuwa okukola ku byetaago byaffe kiraga nti atwagala. Twagala nnyo Yakuwa, kuba wa kisa era mugabi!

14 Nga bakoppa Kitaffe ow’omu ggulu, baganda baffe ne bannyinaffe bangi booleka omwoyo omugabi. Ng’ekyokulabirako, mu 2013, omuyaga oguyitibwa Haiyan gwakosa nnyo ensi ya Philippines. Baganda baffe ne bannyinaffe bangi baafiirwa ebintu byabwe. Naye baganda baabwe ne bannyinaabwe okwetooloola ensi baabayamba. Abamu baawaayo ssente ate abalala beenyigira mu kuzimba n’okuddaabiriza amaka nga 750, mu bbanga lya mwaka gumu gwokka! Mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19, Abajulirwa ba Yakuwa bangi baakola kyonna kye basobola okuyamba baganda baabwe ne bannyinaabwe. Bwe tubaako kye tukolawo mu bwangu okuyamba bakkiriza ba naffe abali mu bwetaavu, tuba tulaga nti tubaagala nnyo.

15-16. Okusinziira ku Lukka 6:36, tuyinza tutya okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu?

15 Yakuwa wa kisa era asonyiwa. (Soma Lukka 6:36.) Bulijjo Kitaffe ow’omu ggulu atulaga ekisa. (Zab. 103:10-14) Abayigirizwa ba Yesu baali tebatuukiridde; naye Yesu yabalaganga ekisa era yabasonyiwanga. Yawaayo n’obulamu bwe tusobole okusonyiyibwa ebibi byaffe. (1 Yok. 2:1, 2) Okwagala n’ekisa Yakuwa ne Yesu bye batulaga bituleetera okubasemberera.

16 Bwe tusonyiwa bakkiriza bannaffe, okwagala okuliwo wakati waffe nabo kweyongera. (Bef. 4:32) Kyo kituufu nti oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okusonyiwa abalala, naye kitwetaagisa okufuba. Mwannyinaffe omu yaganyulwa nnyo bwe yasoma ekitundu ekyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ekyalina omutwe ogugamba nti “Sonyiwanga Abalala.” * Agamba nti: “Okusoma ekitundu ekyo kyannyamba okulaba emiganyulo egiri mu kusonyiwa abalala. Ekitundu ekyo kyannyonnyola nti okusonyiwa abalala tekitegeeza nti owagira ekikyamu kye baakukola oba nti tekyakuyisa bubi. Naye okusonyiwa abalala kitegeeza obutabasibira kiruyi olw’ekyo kye baakukola era n’osigala ng’olina emirembe mu mutima.” Bwe tusonyiwa baganda baffe ne bannyinaffe, tuba tulaga nti tubaagala era nti tukoppa Yakuwa, Kitaffe.

SIIMA ENKIZO GY’OLINA EY’OKUBA MU MAKA GA YAKUWA

Ka tube bato oba bakulu, tusobola okulaga bakkiriza bannaffe okwagala (Laba akatundu 17) *

17. Okusinziira ku Matayo 5:16, tuyinza tutya okukiraga nti tussa ekitiibwa mu Kitaffe ow’omu ggulu?

17 Nkizo ya maanyi nnyo okuba mu luganda olw’ensi yonna, omuli baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo. Twagala abantu bangi nga bwe kisoboka okutwegattako okusinza Yakuwa. N’olwekyo tusaanidde okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuvumaganya Yakuwa n’abantu be. Tusaanidde okweyisa mu ngeri eneereetera abantu okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumuweereza.​—Soma Matayo 5:16.

18. Kiki ekisobola okutuyamba obutatya kubuulira balala ebyo bye tukkiririzaamu?

18 Ebiseera ebimu abantu bayinza okutusekerera oba okutuyigganya olw’okuba tugondera Kitaffe ow’omu ggulu. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuwulira nga tutidde okubuulirako abalala ku ebyo bye tukkiririzaamu? Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa n’omwana we bajja kutuyamba. Yesu yagamba abayigirizwa be nti tebasaanidde kweraliikirira kye banaayogera n’engeri gye banaayogeramu. Lwaki? Yagamba nti: “Mu kiseera ekyo muliweebwa eby’okwogera; kubanga si mmwe muliba mwogera, wabula omwoyo gwa Kitammwe gwe gulyogerera mu mmwe.”​—Mat. 10:19, 20.

19. Waayo ekyokulabirako eky’omuntu eyayoleka obuvumu n’awa obujulirwa.

19 Lowooza ku Robert. Bwe yali nga yakatandika okuyiga Bayibuli, yatwalibwa okuwozesebwa mu kooti y’amagye mu South Africa, olw’okuba yali agaanye okuyingira amagye. Yayoleka obuvumu n’annyonnyola omulamuzi nti yali tayagala kubaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi, olw’okuba yali ayagala nnyo baganda be Abakristaayo. Muganda waffe oyo yali asiima nnyo enkizo ey’okuba mu maka ga Yakuwa! Omulamuzi yamubuuza nti, “Baganda bo be baani?” Robert yali tasuubira kibuuzo ekyo, naye amangu ago yajjukira ekyawandiikibwa ky’olunaku olwo. Kyali kiva mu Matayo 12:50, awagamba nti: “Buli akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala ye muganda wange, mwannyinaze, era maama wange.” Wadde nga Robert yali yaakatandika okuyiga Bayibuli, omwoyo gwa Yakuwa gwamuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo era n’ebibuuzo ebirala bingi bye yali tasuubira. Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo olw’ekyo Robert kye yakola! Era naffe tusanyusa nnyo Yakuwa bwe twoleka obuvumu ne tubuulira abalala ebimukwatako ne mu mbeera enzibu.

20. Kiki kye tusaanidde okuba bamalirivu okukola? (Yokaana 17:11, 15)

20 Ka tweyongere okusiima enkizo gye tulina ey’okubeera mu maka ga Yakuwa. Tulina Kitaffe asingayo obulungi era tulina baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo. Enkizo eyo tusaanidde okwongera okugitwala nga ya muwendo. Sitaani n’abo abamuwagira bagezaako okutuleetera okubuusabuusa nti Yakuwa atwagala nnyo, era bagezaako okumalawo obumu bwe tulina. Wadde kiri kityo, Yesu yasaba Kitaawe yeeyongere okutukuuma tusobole okusigala nga tuli bumu. (Soma Yokaana 17:11, 15.) Yakuwa yaddamu essaala eyo. Okufaananako Yesu, ka tuleme kubaamu kubuusabuusa kwonna nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala. Ka tube bamalirivu okuba obumu ne bakkiriza bannaffe.

OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

^ lup. 5 Tulina enkizo ey’ekitalo ey’okubeera mu maka omuli baganda baffe ne bannyinaffe abatwagala ennyo. Ffenna twagala okunyweza okwagala okuliwo wakati waffe. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tuyinza okukikola nga tukoppa engeri Kitaffe ow’omu ggulu gy’atulagamu okwagala, era nga tukoppa eky’okulabirako kya Yesu Kristo n’ekya baganda baffe ne bannyinaffe.

^ lup. 16 Laba Omunaala gw’Omukuumi, Noovemba 15, 2012, lup. 26-30.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Yakuwa yatuma malayika okuzzaamu Yesu amaanyi mu nnimiro y’e Gesusemane.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Mu kiseera kya COVID-19, bangi baayambanga bakkiriza bannaabwe nga babatwalira eby’okulya.

^ lup. 61 EBIFAANANYI: Maama ayambako muwala we okuwandiikira ow’oluganda ali mu kkomera ebbaluwa.