Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 42

Beera Mukakafu nti Oli mu Mazima

Beera Mukakafu nti Oli mu Mazima

“Mwekenneenyenga ebintu byonna okukakasa nti bituufu; munywererenga ku kirungi.”​—1 BAS. 5:21.

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

OMULAMWA *

1. Lwaki abantu bangi batabuddwatabuddwa?

WALIWO amadiini mangi ageeyita Amakristaayo era nga gonna gagamba nti gasinza Katonda mu ngeri gy’asiima. Tekyewuunyisa nti abantu bangi batabuddwatabuddwa. Beebuuza nti, “Waliwo eddiini emu yokka ey’amazima, oba amadiini gonna gasanyusa Katonda?” Tuli bakakafu nti bye tuyigiriza ge mazima era nti engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye basinzaamu y’eyo Yakuwa gy’asiima? Ka tulabe obukakafu obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa be basinza Katonda mu ngeri gy’asiima.

2. Okusinziira ku 1 Abassessalonika 1:5, lwaki omutume Pawulo yali mukakafu nti bye yali akkiririzaamu ge mazima?

2 Omutume Pawulo yali mukakafu nti bye yali ayize ge mazima. (Soma 1 Abassessalonika 1:5.) Okukkiriza kwe kwali tekwesigamye ku nneewulira, wabula yeekenneenya Ebyawandiikibwa n’akakasa nti ebyo bye yali akkiririzaamu byali bituufu. Yali akkiriza nti “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Tim. 3:16) Bwe yeekenneenya Ebyawandiikibwa, kiki kye yazuula? Yalaba obukakafu obulaga nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa, ekintu Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya kye baasalawo okubuusa amaaso. Abakulembeze b’eddiini abo bannanfuusi baali bagamba nti baweereza Katonda, naye ng’ebikolwa byabwe tebikiraga. (Tit. 1:16) Obutafaananako bakulembeze ba ddiini abo, Pawulo teyalondangamu mu Kigambo kya Katonda ebintu eby’okukkiririzaamu. Yali mwetegefu okukolera ku ‘kigendererwa kya Katonda’ kyonna, era n’okukiyigiriza abalala.​—Bik. 20:27.

3. Tulina kusooka kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byonna bye twebuuza, okusobola okukakasa nti tuli mu mazima? (Laba akasanduuko, “ Ebikolwa bya Yakuwa​—‘Bisusse Obungi, Tebimalikayo.’”)

3 Abamu balowooza nti eddiini ey’amazima erina okuba ng’esobola okuddamu ebibuuzo byonna, ka bibe ebyo ebikwata ku nsonga ezitoogerwako butereevu mu Bayibuli. Naye ddala ekyo kyetaagisa? Lowooza ku mutume Pawulo. Wadde nga yakubiriza bakkiriza banne ‘okwekenneenya ebintu byonna okukakasa nti bituufu,’ yagamba nti waliwo ebintu naye bye yali tamanyi mu kiseera ekyo. (1 Bas. 5:21) Yabagamba nti: “Tulina okumanya kwa kitundu,” era nti, “tutunula mu ndabirwamu ey’ekyuma etalaba bulungi.” (1 Kol. 13:9, 12) Okufaananako Pawulo, naffe tetugamba nti tumanyi buli kimu. Naye Pawulo yali amanyi ebikwata ku kigendererwa kya Katonda. Era bye yali amanyi byamukakasa nti yali mu mazima.

4. Tuyinza tutya okukakasa nti tuli mu mazima, era biki bye tugenda okulaba ebikwata ku Bakristaayo ab’amazima?

4 Engeri emu gye tusobola okukakasa nti tuli mu mazima, kwe kugeraageranya engeri Yesu gye yasinzangamu Yakuwa n’engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye basinzaamu leero. Mu kitundu kino, tugenda kulaba nti Abakristaayo ab’amazima (1) tebasinza bifaananyi, (2) bassa ekitiibwa mu linnya lya Yakuwa, (3) baagala nnyo amazima, era (4) baagalana nnyo.

TETUSINZA BIFAANANYI

5. Kiki kye tuyigira ku Yesu bwe kituuka ku ngeri y’okusinzaamu Katonda, era tuyinza tutya okukolera ku ebyo bye yayigiriza?

5 Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Yakuwa, yasinza Yakuwa yekka bwe yali mu ggulu, ne bwe yali wano ku nsi. (Luk. 4:8) Yayigiriza abayigirizwa be okukola kye kimu. Yesu n’abayigirizwa be abeesigwa tebaakozesaako bifaananyi mu kusinza. Olw’okuba Katonda mwoyo, tewali muntu ayinza kukola kintu kyonna ekimwefaanaanyiriza! (Is. 46:5) Ate abo abakola ebifaananyi by’abo be bayita abatuukirivu era ne babivunnamira? Etteeka ery’okubiri mu Mateeka Ekkumi Yakuwa ge yawa Abayisirayiri ligamba nti: “Teweekoleranga kifaananyi ekyole oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi . . . Tobivunnamiranga.” (Kuv. 20:4, 5) Abo abaagala okusanyusa Katonda beewalira ddala okusinza ebifaananyi.

6. Kyakulabirako ki Abajulirwa ba Yakuwa kye bagoberera leero bwe kituuka ku ngeri y’okusinzaamu Katonda?

6 Bannabyafaayo bakikakasa nti Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baasinzanga Katonda yekka. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekiyitibwa History of the Christian Church kigamba nti Abakristaayo abaasooka “baali tebayinza na kulowooza” ku ky’okuba n’ebifaananyi mu kifo eky’okusinzizaamu. Leero Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera ekyokulabirako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye bassaawo. Tetusaba abo be bayita “abatuukirivu” era tetusaba bamalayika. K’abe Yesu tetumusaba. Ate era tetusinza bubonero bwa ggwanga. Ka kibe ki ekibaawo, tuli bamalirivu okugondera ebigambo bya Yesu bino: “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza.”​—Mat. 4:10.

7. Njawulo ki eriwo wakati w’Abajulirwa ba Yakuwa n’amadiini amalala?

7 Leero abantu bangi bagoberera abakulembeze b’amadiini abatutumufu. Baagala nnyo abakulembeze b’amadiini abo ne batuuka n’okuba ng’ababasinza. Abantu bajjula amakanisa gaabwe ne gabooga, bagula ebitabo byabwe, era bawaayo ssente nnyingi okuwagira ebibiina by’abakulembeze b’amadiini abo. Ate era bakkiririza mu buli kimu abakulembeze abo kye babagamba. Omuntu ayinza okwebuuza obanga abantu abo bandyeyisizza mu ngeri y’emu nga Yesu kennyini y’abalabikidde! Abakristaayo ab’amazima tebagulumiza bantu. Wadde nga tussa ekitiibwa mu abo abatwala obukulembeze, tukkiririza mu bigambo bya Yesu bino: “Mmwe mmwenna muli ba luganda.” (Mat. 23:8-10) Tetuwa bantu kitiibwa kisukkiridde, ka babe bakulembeze ba ddiini oba bannabyabufuzi. Ate era tetuwagira nteekateeka zaabwe ez’eby’obufuzi oba ez’eby’eddiini. Mu kifo ky’ekyo, tusigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira era nga tweyawudde ku nsi. Ebyo bitufuula ab’enjawulo ku madiini amalala ageeyita ag’Ekikristaayo.​—Yok. 18:36.

TUSSA EKITIIBWA MU LINNYA LYA KATONDA

Abakristaayo ab’amazima bagitwala nga nkizo okubuulira abalala erinnya lya Yakuwa (Laba akatundu 8-10) *

8. Tukimanya tutya nti Yakuwa ayagala erinnya lye limanyibwe era ligulumizibwe?

8 Lumu Yesu bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Yakuwa yaddamu essaala eyo ng’ayogerera mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti ajja kugulumiza erinnya lye. (Yok. 12:28) Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yagulumiza erinnya lya Kitaawe. (Yok. 17:26) N’okwekyo, Abakristaayo ab’amazima bagitwala nga nkizo okukozesa erinnya lya Katonda n’okulibuulira abalala.

9. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakiraga batya nti baali bassa ekitiibwa mu linnya lya Katonda?

9 Mu kyasa ekyasooka ng’Ekibiina Ekikristaayo kyakatandikibwawo, Yakuwa “yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” (Bik. 15:14) Abakristaayo abo baagitwala nga nkizo okukozesa erinnya lya Katonda n’okulibuulira abalala. Baakozesanga erinnya lya Katonda nga babuulira, era baalikozesa mu bitabo bya Bayibuli bye baawandiika. * Baakikakasa nti be bokka abaali bamanyisa abalala erinnya lya Katonda.​—Bik. 2:14, 21.

10. Bukakafu ki obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa be bamanyisa abalala erinnya lya Katonda leero?

10 Bukakafu ki obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa be bamanyisa abalala erinnya lya Katonda leero? Abakulembeze b’amadiini mangi bafubye nnyo okulaba nti bakweka erinnya lya Katonda. Baaliggya mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli, era abamu baaliwera okukozesebwa mu masinzizo gaabwe. * Tewali kubuusabuusa nti Abajulirwa ba Yakuwa bokka be bawa erinnya lya Katonda ekitiibwa. Tumanyisizza erinnya lya Katonda okusinga eddiini endala yonna. Mu ngeri eyo tufuba okutuukana n’erinnya lyaffe, Abajulirwa ba Yakuwa! (Is. 43:10-12) Tukubye kopi za Bayibuli ez’Enkyusa ey’Ensi Empya ezisukka mu bukadde 240. Enkyusa ya Bayibuli eyo yazza erinnya lya Katonda mu bifo byonna mwe lyali lyaggibwa mu nkyusa endala. Ate era tufulumya ebitabo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ebikozesa erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu nnimi ezisukka mu 1,000.

TWAGALA NNYO AMAZIMA

11. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakiraga batya nti baali baagala nnyo amazima?

11 Yesu yali ayagala nnyo amazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. Engeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe yali etuukana n’amazima, era yagabuulirako n’abalala. (Yok. 18:37) Abagoberezi ba Yesu ab’amazima nabo baali baagala nnyo amazima. (Yok. 4:23, 24) Mu butuufu, omutume Peetero Obukristaayo yabuyita “ekkubo ery’amazima.” (2 Peet. 2:2) Olw’okuba baali baagala nnyo amazima, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka beewalira ddala enjigiriza z’eddiini ez’obulimba, obulombolombo, era n’endowooza endala ezikontana n’amazima. (Bak. 2:8) Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo ab’amazima bafuba ‘okutambulira mu mazima’ ng’ebyo byonna bye bakkiririzaamu n’engeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe, babyesigamya ku Kigambo kya Yakuwa.​—3 Yok. 3, 4.

12. Kiki abo abatwala obukulembeze kye bakola bwe bakitegeera nti engeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu yeetaaga okulongoosaamu, era lwaki ekyo bakikola?

12 Abantu ba Katonda leero tebagamba nti bamanyi amazima gonna mu bujjuvu. Ebiseera ebimu bakoze ensobi mu ngeri gye bategeeramu ebyawandiikibwa ebimu ne mu ngeri ekibiina gye kisaanidde okuddukanyizibwamu. Ekyo tekisaanidde kutwewuunyisa. Ebyawandiikibwa biraga nti okumanya okutuufu okukwata ku Katonda kugenda kweyongera mpolampola. (Bak. 1:9, 10) Yakuwa atubikkulira amazima mpolampola. N’olwekyo tulina okuba abeetegefu okulindirira n’obugumiikiriza okutuusa ng’ekitangaala ky’amazima kyeyongedde okwaka. (Nge. 4:18) Abo abatwala obukulembeze bwe bakitegeera nti engeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu yeetaaga okukyusaamu, tebalonzalonza kukola nkyukakyuka eziba zeetaagisa. Wadde ng’amadiini mangi ag’eyita ag’Ekikristaayo gakola enkyukakyuka okusobola okusanyusa abantu, enkyukakyuka ekibiina kya Yakuwa ze kikola, zikolebwa okutuyamba okusemberera Yakuwa n’okumusinza mu ngeri gy’asiima. (Yak. 4:4) Tetukola nkyukakyuka nga tusinziira ku ndowooza z’abantu oba okutuukana n’ebyo bye baagala, wabula tuzikola olw’okuba tuba tweyongedde okutegeera amazima agali mu Byawandiikibwa. Twagala nnyo amazima!​—1 Bas. 2:3, 4.

TWAGALANA NNYO

13. Ngeri ki esinga okwawulawo Abakristaayo ab’amazima, era Abajulirwa ba Yakuwa booleka batya engeri eyo?

13 Abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baalina ebintu bingi ebyali bibaawulawo, naye ng’ekisinga mu byonna kwe kwagala. Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yok. 13:34, 35) Abajulirwa ba Yakuwa baagalana nnyo era bali bumu mu nsi yonna. Tuli ba njawulo ku madiini amalala, kubanga tuli ng’ab’omu maka agamu wadde nga tuva mu nsi ez’enjawulo n’amawanga ag’enjawulo. Okwagala okwa nnamaddala kwe tulina kweyoleka nga tuli mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Ekyo kitukakasa nti ffe tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima.

14. Okusinziira ku Abakkolosaayi 3:12-14, engeri emu gye tuyinza okulagamu nti twagala bakkiriza bannaffe y’eruwa?

14 Ebyawandiikibwa bitukubiriza ‘okwagalana ennyo.’ (1 Peet. 4:8) Engeri emu gye twolekamu okwagala kwe kusonyiwa baganda baffe n’okubagumiikiriza. Ate era tukola kyonna ekisoboka okuyamba bakkiriza bannaffe n’okubasembeza, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba nga baakola ebintu ebitunyiiza. (Soma Abakkolosaayi 3:12-14.) Bwe twoleka okwagala ng’okwo, tuba tulaga nti tuli Bakristaayo ab’amazima.

“OKUKKIRIZA KUMU”

15. Ngeri ki endala gye tugobereramu ekyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka?

15 Waliwo n’engeri endala okusinza kwaffe gye kufaanana n’okw’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Engeri ekibiina kyaffe gye kitegekeddwamu efaananako n’ey’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Ng’ekyokulabirako, tulina abalabirizi abakyalira ebibiina, abakadde, n’abaweereza. (Baf. 1:1; Tit. 1:5) Ate era, engeri gye tutwalamu eby’okwegatta n’obufumbo, enkozesa y’omusaayi, n’okugoba mu kibiina aboonoonyi ababa bagaanye okwenenya, bifaanana n’ebyo ebyaliwo mu kyasa ekyasooka.​—Bik. 15:28, 29; 1 Kol. 5:11-13; 6:9, 10; Beb. 13:4.

16. Kiki kye tuyigira ku bigambo ebiri mu Abeefeso 4:4-6?

16 Yesu yagamba nti bangi bandyeyise bayigirizwa be naye nga si ba mazima. (Mat. 7:21-23) Bayibuli era yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, bangi bandibadde ‘bawa buwi ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda.’ (2 Tim. 3:1, 5) Bayibuli egamba nti waliwo “okukkiriza kumu” kwokka Katonda kw’asiima.​—Soma Abeefeso 4:4-6.

17. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima be baani?

17 Baani leero abasinza Katonda mu ngeri entuufu? Obukakafu tubulabye. Tulabye engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda, Yesu gye yatandikawo era n’engeri Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baagobereramu ekyokulabirako kye. Awatali kubuusabuusa, Abajulirwa ba Yakuwa be basinza Katonda mu ngeri gy’asiima. Nga nkizo ya maanyi nnyo okubeera Abajulirwa ba Yakuwa era n’okumanya amazima agakwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye! N’olwekyo, ka tweyongere okunyweza amazima.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

^ lup. 5 Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyokulabirako Yesu kye yassaawo ku ngeri entuufu ey’okusinzaamu Yakuwa, era n’engeri abayigirizwa be gye baagoberera ekyokulabirako ekyo. Ate era tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera ekyokulabirako kye kimu.

^ lup. 9 Laba akasanduuko, “Abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasooka Baakozesanga Erinnya lya Katonda?” mu Watchtower eya Jjulaayi 1, 2010, lup. 6.

^ lup. 10 Ng’ekyokulabirako, mu 2008, Paapa Benedict XVI yawa ekiragiro nti erinnya lya Katonda “teririna kukozesebwa wadde okwatulwa” mu kkereziya, mu nnyimba z’abakatuliki, oba mu kusaba.

^ lup. 63 EBIFAANANYI: Ekibiina kya Yakuwa kifulumizza Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya mu nnimi ezisukka mu 200 abantu basobole okusoma Bayibuli erimu erinnya lya Katonda mu nnimi ze bategeera.