Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Oyinza Okuddamu Okuzimba Enkolagana Yo ne Yakuwa

Engeri gy’Oyinza Okuddamu Okuzimba Enkolagana Yo ne Yakuwa

BULI mwaka, abantu bangi bakomezebwawo mu kibiina kya Yakuwa. Lowooza ku ‘ssanyu eringi eriba mu ggulu’ omuntu bw’akomawo eri Yakuwa! (Luk. 15:7, 10) Bw’oba nga wakomezebwawo mu kibiina, beera mukakafu nti ekyo kyasanyusa nnyo Yesu, bamalayika, awamu ne Yakuwa. Kyokka, ng’ofuba okuddamu okuzimba enkolagana yo ne Yakuwa, oyinza okwolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Okumu ku kusoomooza okwo kwe kuliwa, era kiki ekisobola okukuyamba?

OKUSOOMOOZA KW’OYINZA OKWOLEKAGANA NAKWO

Bangi basigala balumirizibwa omuntu waabwe ow’omunda oluvannyuma lw’okukomezebwawo mu kibiina. Lowooza ku Kabaka Dawudi. N’oluvannyuma lwa Yakuwa okumusonyiwa ebibi bye, yagamba nti: “Ensobi zange ennyingi zinsukkiriddeko.” (Zab. 40:12; 65:3) Mu ngeri y’emu, omuntu bw’akomezebwawo mu kibiina, omuntu we ow’omunda ayinza okusigala ng’amulumiriza oba ayinza okusigala ng’awulira obuswavu okumala emyaka mingi. Isabelle, * eyamala emyaka 20 nga mugobe yagamba nti, “Nnakisanga nga kizibu nnyo okukikkiriza nti Yakuwa yansonyiwa.” Bw’oggwaamu amaanyi, ate oyinza okuddamu okuddirira mu by’omwoyo. (Nge. 24:10) Ekyo tokikkiriza kukutuukako.

Abalala batya nti bayinza obutasobola kukola byonna ebyetaagisa okusobola okuzzaawo enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Oluvannyuma lw’okukomezebwawo mu kibiina, Antoine agamba nti: “Nnawulira ng’eyali yeerabidde byonna bye nnakolanga ng’Omukristaayo.” Enneewulira ng’eyo, eyinza okulemesa omuntu okwenyigira mu bujjuvu mu nteekateeka ez’eby’omwoyo.

Ng’ekyokulabirako, omuntu alina ennyumba ye eyonooneddwa ennyo oluvannyuma lw’akatyabaga okugwawo, bw’alowooza ku biseera n’amaanyi ebyetaagisa okusobola okugizzaawo, ayinza okuwulira ng’aweddemu amaanyi. Mu ngeri y’emu, bw’oba nga wakola ekibi eky’amaanyi ekyaviirako enkolagana yo ne Yakuwa okwonooneka, oyinza okuwulira nga kijja kukwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuzzaawo enkolagana yo ne Yakuwa. Naye Yakuwa asobola okukuyamba.

Yakuwa atukubiriza nti: “Kaakano mujje tutereeze ensonga.” (Is. 1:18) Olina bingi by’okoze okusobola ‘okutereeza’ ensonga wakati wo ne Yakuwa. Era Yakuwa musanyufu nnyo olw’okufuba kw’okoze. Kirowoozeeko: Owadde Yakuwa eky’okuddamu eri Sitaani amusoomooza.​—Nge. 27:11.

Bw’okomyewo eri Yakuwa, kiraze nti ofuba okumusemberera, era asuubiza nti naye ajja kukusemberera. (Yak. 4:8) N’abalala basanyufu okulaba nti okomyewo mu kibiina. Naye ekyo tekimala. Kikwetaagisa okwongera okunyweza enkolagana yo ne Kitaawo ow’omu ggulu, Yakuwa. Ekyo oyinza kukikola otya?

WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA BY’OSOBOLA OKUTUUKAKO

Oyinza okuba ng’okyajjukira ebintu bye wayiga ebikwata ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Naye kati weetaaga okuddamu okwenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo, gamba ng’okubuulira amawulire amalungi, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okubeerako awamu ne bakkiriza banno. Oyinza okweteerawo ebiruubirirwa nga bino.

Yogera ne Yakuwa buli lunaku. Kitaawo ow’omu ggulu akimanyi nti bw’oba ng’okyalumirizibwa omutima olw’ekibi kye wakola, kiyinza okukubeerera ekizibu okumusaba. (Bar. 8:26) Wadde kiri kityo, ‘nyiikirira okusaba,’ ng’otegeeza Yakuwa nti oyagala nnyo okuzzaawo enkolagana yo naye. (Bar. 12:12) Andrej agamba nti: “Omuntu wange ow’omunda yannumirizanga nnyo, era nnawuliranga obuswavu. Naye buli luvannyuma lw’okusaba, nnawuliranga ng’enneewulira eyo egenda ekendeera. Nneeyongeranga okuwulira emirembe.” Bw’oba tomanyi kya kwogerako ng’osaba, lowooza ku ssaala za Kabaka Dawudi eziri mu Zabbuli 51 ne 65.

Soma Bayibuli buli lunaku. Ekyo kijja kunyweza okukkiriza kwo era kikuyambe okweyongera okwagala Yakuwa. (Zab. 19:7-11) Felipe agamba nti: “Obutaba na nteekateeka ey’eby’omwoyo kye kyanviirako okunafuwa mu by’omwoyo ne ntuuka n’okukola ekibi eky’amaanyi. Nnali saagala kuddamu kukola nsobi eyo, bwe kityo nneeteerawo enteekateeka ey’okwesomesa obutayosa.” Naawe oyinza okukola kye kimu. Bw’oba ayagala okumanya ebintu by’oyinza okusomako, osobola okwebuuza ku mukwano gwo omukulu mu by’omwoyo akuyambe.

Zzaawo enkolagana yo ne bakkiriza banno. Abamu abakomawo mu kibiina batya nti abalala bayinza obutabasembeza. Larissa agamba nti: “Nnawulira obuswavu. Nnawulira ng’eyali aliddemu baganda bange ne bannyinaze mu kibiina olukwe. Enneewulira eyo nnagirina okumala ekiseera kiwanvu.” Beera mukakafu nti abakadde mu kibiina ne bakkiriza banno abakulu mu by’omwoyo baagala nnyo okukuyamba okuddamu okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Laba akasanduuko, “ Kiki Abakadde Kye Bayinza Okukola?”) Basanyufu okukiraba nti okomyewo mu kibiina era baagala obe musanyufu!​—Nge. 17:17.

Kiki ekiyinza okukuyamba okunyweza enkolagana yo ne bakkiriza banno? Weenyigire mu bujjuvu mu bintu bakkiriza banno bye bakola mu kibiina, gamba ng’okubaawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira obutayosa. Ekyo kinaakuyamba kitya? Felix agamba nti: “Ab’oluganda baasanyuka nnyo bwe nnakomawo mu kibiina. Bandeetera okuwulira nti ndi wa muwendo era bandeetera akuddamu okuwulira nti ndi omu ku b’omu kibiina, nti Yakuwa yali asonyiye, era nti nsobola okweyongera okumuweereza.”​—Laba akasanduuko, “ Kiki ky’Oyinza Okukola?

TOGGWAAMU MAANYI!

Sitaani ajja kweyongera okukuleetera ebizibu, ng’ayagala okugezaako okukulemesa okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa. (Luk. 4:13) Kola kyonna ekisoboka okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa kati.

Ng’ayogera ku ndiga ze, Yakuwa agamba nti: “Ebuze nja kuginoonya, ewabye nja kugikomyawo, efunye ekisago nja kugisiba, era n’enafuye nja kugizzaamu amaanyi.” (Ezk. 34:16) Yakuwa ayambye abalala bangi okuzzaawo enkolagana yaabwe naye. Beera mukakafu nti ayagala okukuyamba okweyongera okunyweza enkolagana yo naye.

^ lup. 4 Amanya mu kitundu kino gakyusiddwa.