Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1921—Emyaka Kikumu Egiyise

1921—Emyaka Kikumu Egiyise

MU MAGAZINI ya Watch Tower eya Jjanwali 1, 1921 mwalimu ekibuuzo kino ekyabuuzibwa Abayizi ba Bayibuli: “Mulimu ki gwe twesunga okukola omwaka guno?” Mu kuddamu ekibuuzo ekyo, magazini eyo yajuliza ebigambo ebiri mu Isaaya 61:1, 2, ebyabajjukiza omulimu omukulu ogwabaweebwa ogw’okubuulira. Wagamba nti: ‘Yakuwa yanfukako amafuta okubuulira abawombeefu amawulire amalungi. Okulangirira olunaku lwa Katonda waffe olw’okuwoolerako eggwanga.’

BAABUULIRA N’OBUVUMU

Okusobola okukola omulimu ogwabaweebwa, Abayizi ba Bayibuli baalina okubuulira n’obuvumu. Tebaalina kukoma ku kubuulira abawombeefu “amawulire amalungi,” naye era baalina n’okubuulira ababi ‘olunaku olw’okuwoolerako eggwanga.’

Ow’Oluganda J. H. Hoskin, eyali abeera mu Canada, yabuulira n’obuvumu wadde nga waaliwo okuziyizibwa okw’amaanyi. Mu 1921, ow’oluganda oyo bwe yali abuulira yasisinkana munnaddiini omu. Ow’oluganda yatandika okwogera ne munnaddiini oyo ng’agamba nti: “Tusobola okwogera ku Byawandiikibwa. Naye ne bwe tuba nga tetukkiriziganyizza ku bintu ebimu, tusobola okwawukana mu mirembe ne tusigala nga tuli ba mukwano.” Naye ekyo si kye kyaliwo. Ow’oluganda Hoskin yagamba nti: “Twali twakoogerera ekiseera kino n’akuba nnyo oluggi, era nnalowooza nti endabirwamu yali eyiise.”

Munnaddiini oyo yaleekaana nnyo ng’agamba nti: “Lwaki togenda n’obuulira abatali Bakristaayo?” Naye Ow’oluganda Hoskin teyamuddamu. Ow’oluganda Hoskin yagamba nti: ‘Muli nnagamba nti wadde nga munnaddiini oyo yali yeeyita Mukristaayo, yali teyeeyisizza ng’Omukristaayo!’

Munnaddiini oyo bwe yali abuulira ku lunaku olwaddirira, yabuulira abagoberezi be eby’obulimba ku w’Oluganda Hoskin. Ow’oluganda yagamba nti: “Munnaddini oyo yagamba abagoberezi be nti nze muntu akyasinzeeyo okuba omulimba eyali abadde mu kabuga ako, era nti nsaana kukubibwa masasi.” Ebigambo ebyo tebyamalamu ow’Oluganda Hoskin maanyi. Yeeyongera okubuulira awatali kuddirira era yafuna emikisa mingi. Yagamba nti: “Nnanyumirwa nnyo obuweereza mu kiseera ekyo. Abantu abamu baŋŋambanga nti, ‘Tumanyi nti oli musajja wa Katonda.’ Era bambuuzanga obanga basobola okunnyambako ku byetaago byange.”

ENTEEKATEEKA Y’OKWESOMESA

Okusobola okuyamba abantu okweyongera okutegeera ebyo bye baali basoma mu Bayibuli, Abayizi ba Bayibuli baafulumya enteekateeka ey’okwesomesa mu magazini eyali eyitibwa The Golden Age. * Mwalimu n’ebibuuzo abazadde bye baali basobola okukubaganyaako ebirowoozo n’abaana baabwe. Abazadde “baabuuzanga abaana baabwe ebibuuzo ebyo oluvannyuma ne babayamba okufuna eby’okuddamu mu Bayibuli.” Ebibuuzo ebimu, gamba nga, “Bayibuli erimu ebitabo bimeka?,” byayambanga abaana okutegeera ebintu ebisookerwako ebikwata ku Bayibuli. Ate ebirala gamba nga, “Buli Mukristaayo asaanidde okusuubira okuyigganyizibwa?,” byateekateekanga abaana okusobola okubuulira n’obuvumu.

Ekitundu kya programu y’okwesomesa ekyali kiyitibwa Advanced Studies in the Divine Plan of the Ages, kyalimu ebibuuzo n’eby’okuddamu ebyali biyamba abo abaali bamaze ekiseera nga bayiga Bayibuli. Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo byali byesigamiziddwa ku muzingo ogusooka ogw’ekitabo ekyali kiyitibwa Studies in the Scriptures. Abantu bangi baaganyulwa nnyo mu programu eyo ey’okwesomesa, naye magazini ya The Golden Age eya Ddesemba 21, 1921, yagamba nti enteekateeka eyo yali egenda kukoma. Lwaki?

EKITABO EKIPYA!

Ekitabo The Harp of God

Kaadi okuli ebitundu eby’okusoma

Kaadi okuli ebibuuzo

Abo abaali batwala obukulembeze baakiraba nti abayizi ba Bayibuli abapya baali beetaaga okuyiga amazima agasookerwako mu ngeri entegeke obulungi. Bwe kityo, ekitabo ekiyitibwa The Harp of God kyafulumizibwa mu Noovemba 1921. Abo abakkirizanga ekitabo ekyo baali basobola okwesomesa bokka. Enteekateeka eyo ey’okwesomesa yayamba abantu okumanya “ekigendererwa kya Katonda eky’okuwa abantu obulamu obutaggwaawo.” Ekitabo ekyo kyasomebwanga kitya?

Omuntu bwe yakkirizanga okutwala ekitabo, baamuweerangako ne kaadi eriko ekitundu eky’okusoma okuva mu kitabo ekyo. Wiiki eddako yaweerezebwanga kaadi eriko ebibuuzo ebyabanga byesigamiziddwa ku ebyo ebyabanga bimuweereddwa okusoma. Kaadi eyo era yabangako ekitundu eky’okusoma wiiki eddako.

Buli wiiki, okumala wiiki 12, buli muyizi yaweerezebwanga kaadi okuva mu kibiina eky’omu kitundu kye. Ebiseera ebisinga, abo abaabanga bakaddiye oba abatasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba, be baaweerezanga kaadi ezo. Ng’ekyokulabirako, Anna K. Gardner, eyali abeera mu Millvale, Pennsylvania, Amerika, yagamba nti: “Ekitabo ekiyitibwa The Harp of God bwe kyafulumizibwa, muganda wange ayitibwa Thayle, eyali tasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba, yafuna omulimu ogw’okukola. Buli wiiki yaweerezanga abayizi kaadi ezaabangako ebibuuzo.” Omuyizi bwe yamalangako ekitabo ekyo, omubuulizi yamukyaliranga okusobola okumuyamba okumanya ebisingawo.

Thayle Gardner ng’atudde mu kagaali k’abalema

OMULIMU OGWALI GUBALINDIRIDDE

Ku nkomerero y’omwaka, Ow’oluganda J. F. Rutherford yasindikira ebibiina byonna ebbaluwa. Mu bbaluwa eyo yagamba nti yali akyetegerezza nti “obujulirwa obwali buweereddwa ku Bwakabaka mu mwaka ogwo bwali bwa maanyi nnyo era bwavaamu ebirungi bingi okusinga omwaka omulala gwonna.” Era yagattako nti: “Waliwo omulimu munene ogukyetaagisa okukola. Mukubirize abalala okwenyigira mu mulimu ogwo omulungi ennyo.” Abayizi ba Bayibuli baayanukula omulaga ogwo. Mu mwaka gwa 1922, beeyongera okubuulira n’obuvumu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

^ lup. 9 Magazini ya The Golden Age yatuumibwa Consolation mu 1937 oluvannyuma n’etuumibwa Awake! mu 1946.