Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnanoonya Obulamu Obulina Ekigendererwa

Nnanoonya Obulamu Obulina Ekigendererwa

BWE nnali mu buziba bw’Ennyanja Meditereniyani, nnakizuula nti eryato lyange ekkadde lyalimu ekituli era nga liyingiza amazzi mangi. Mu kiseera ekyo omuyaga gwatandika okukunta. Nnatya nnyo era ne ntandika okusaba, wadde nga nnali mmaze emyaka mingi nga sisaba. Nnatuuka ntya okuba mu mbeera eyo? Ka ndubaviire ku ntono.

Bwe nnali nga ndi wa myaka musanvu, twali tubeera mu Brazil

Nnazaalibwa mu Budaaki mu 1948. Omwaka ogwaddako twasenguka ne tugenda mu São Paulo, Brazil. Bazadde bange baali bettanira nnyo eby’eddiini, era twasomanga Bayibuli obutayosa buli luvannyuma lw’okulya eky’eggulo. Mu 1959 twaddamu ne tusenguka, naye ku luno twagenda mu Amerika, mu ssaza ly’e Massachusetts.

Taata yakolanga nnyo okutulabirira era ffenna awamu mu maka twali abantu munaana. Yakolanga emirimu egy’enjawulo nga mwe mwali okukola nga kitunzi, okukola enguudo, era yakolerako ne mu kampuni emu ey’ennyonyi. Ffenna awaka twasanyuka nnyo taata bwe yafuna omulimu mu kampuni y’ennyonyi kubanga ekyo kyatusobozesa okutambula mu bitundu ebitali bimu.

Bwe nnali nsoma siniya, nnateranga okwebuuza nti, ‘Kiki kye ndikola nga nkuze?’ Abamu ku mikwano gyange baasalawo okugenda ku yunivasite, ate abalala baasalawo okuyingira amagye. Naye nze nnali saagala kuyingira mu magye, kubanga saagala kuyomba wadde okulwana. Nnasalawo okugenda ku yunivasite okusobola okwewala okuyingira amagye. Kyokka muli nnali njagala okukola ebintu ebiyamba abantu, nga ndowooza nti kye kyandifudde obulamu bwange okuba obw’amakulu.

OBULAMU KU YUNIVASITE

Okumala emyaka, nnanoonya obulamu obulina ekigendererwa

Ku yunivasite, nnasalawo okusoma essomo erikwata ku mbeera z’abantu n’obuwangwa bwabwe, okuva bwe kiri nti nnali njagala nnyo okumanya wa abantu gye baava. Twayigirizibwa nti ebintu byajjawo byokka ne bigenda nga bufuukafuuka, era twali tusuubirwa okukkiriza enjigiriza eyo. Naye nnakiraba nti engeri gye baali bannyonnyolamu enjigiriza eyo yali tekola makulu, nga kyetaagisa omuntu okukkiriza obukkiriza awatali bukakafu, ate ng’ekyo kikontana ne ssaayansi.

Ate era ku yunivasite tetwayigirizibwanga mitindo gikwata ku mpisa. Essira lyateekebwanga ku kuyita misomo. Nnatandika okugendanga ku bubaga ne mikwano gyange, era n’okukozesa ebiragalalagala. Ekyo kyandeeteranga okuwulira essanyu, naye essanyu eryo lyabanga lya kaseera buseera. Mmuli nneebuuza, ‘Ddala buno bwe bulamu obulina ekigendererwa?’

Oluvannyuma nnagenda mu kibuga Boston era ne ntandika okusoma ku yunivasite endala. Okusobola okusasula ebisale, nnafuna omulimu ogutali gwa kiseera kyonna era ku mulimu ogwo gye nnasookera okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Omu ku be nnali nkola nabo yambuulira ku bunnabbi obukwata ku ‘biseera omusanvu’ obuli mu Danyeri essuula 4 era n’aŋŋamba nti tuli mu kiseera eky’enkomerero. (Dan. 4:13-17) Nnakizuula mangu nti bwe nnandyeyongedde okukubaganya naye ebirowoozo era ne nzisaayo omwoyo ku bye yali aŋŋamba, kyandibadde kinneetaagisa okukyusa enneeyisa yange. Bwe kityo nnasalawo okumwewalira ddala.

Ate era ku yunivasite nnasoma amasomo agandinsobozesezza okukola nga nnakyewa mu Amerika ow’Ebukiikaddyo. Muli nnalowooza nti okuyamba abantu nga nkola nga nnakyewa kyandinsobozesezza okuba n’obulamu obulina ekigendererwa. Naye nnakiraba nti na kino tekyansobozesa kuba na bulamu bulina kigendererwa. Olw’okuba nnali nsobeddwa, nnava ku yunivasite ku nkomerero y’olusoma olusooka.

NNOONYA OBULAMU OBULINA EKIGENDERERWA MU NSI ENDALA

Mu Maayi 1970, nnagenda mu kibuga Amsterdam, okukola mu kampuni y’ennyonyi taata wange gye yali akolamu. Omulimu ogwo gwansobozesa okutuuka mu nsi nnyingi mu Afirika, mu Amerika, mu Bulaaya, ne mu Asiya. Mu kiseera kitono nnakiraba nti k’ebe nsi ki gye nnagenda, zonna zaali zoolekagana n’ebizibu eby’amaanyi era nga kirabika tewaaliwo muntu eyali asobola kugonjoola bizibu ebyo. Olw’okuba nnali njagala okukola ekintu eky’omugaso mu bulamu, nnasalawo okuddayo mu Amerika ne nziramu okusoma mu yunivasite y’e Boston.

Kyokka bwe naddayo ku yunivasite, nnakiraba nti ebyo bye nnali nsoma byali tebinnyamba kumanya ngeri ya kuba mu bulamu obw’ekigendererwa. Olw’okuba nnali nsobeddwa, nneebuuza ku omu ku basomesa bange ampe ku magezi. Kye yanziramu kyanneewuunyisa nnyo. Yaŋŋamba nti: “Lwaki weeyongerayo n’okusoma? Lwaki tobivaako?” Ekyo ssaalinda kukiŋŋamba gwa kubiri. Era awo we nnakomya emisomo gyange ku yunivasite.

Olw’okuba nnali nkyawulira nti obulamu bwange tebwalina kigendererwa, nnasalawo okwegatta ku kibiina ky’abavubuka abaali beewala okutambuza obulamu bwabwe ng’abantu abalala, era abaali balabika ng’abaleetawo emirembe n’okwagalana. Nze ne mukwano gyange twatalaaga ebitundu ebitali bimu mu Amerika, oluvannyuma ne tugenda mu kibuga Acapulco, mu Mexico. Twabeera wamu n’abavubuka abaali beeyisa mu ngeri ey’enjawulo ku y’abantu abalala, era abaali balabika ng’abatalina kizibu kyonna mu bulamu. Kyokka era nnakizuula nti abavubuka abo tebaalina kigendererwa mu bulamu era tebaalina ssanyu lya nnamaddala. Nnakiraba nti bangi ku bo tebaali beesigwa.

NNEEYONGERA OKUNOONYA NGA NKOZESA ERYATO

Nze ne mukwano gwange twanoonya ekizinga ekirabika obulungi

Mu kiseera ekyo nnaddamu okulowooza ku kintu kye nnali njagala ennyo nga nkyali muto. Nnali njagala nnyo okutambulako ku nnyanja ezitali zimu naye nga nze kennyini nze mugoba w’eryato. Engeri yokka ekyo gye nnandisobodde okukituukako, kwe kuba n’eryato eryange ku bwange. Nnalina mukwano gwange eyali ayitibwa Tom, era naye eyali ayagala ekintu kye kimu. Bwe kityo, twasalawo okuseeyeeya ku nnyanja okwetooloola ensi. Nnali njagala okuzuula ekizinga ekirungi ennyo etali bantu.

Nze ne Tom twagenda mu kabuga Arenys de Mar, akali okumpi n’e Barcelona, Spain. Eyo twagulayo eryato eriyitibwa Llygra eryali liweza ffuuti 31. Twaliddaabiriza era ne tubaako ebintu ebirala bye tulyongerako okusobola okutambula ku gayanja aganene. Olw’okuba tetwali mu bwangu kutuuka gye twali tulaga, twaliggyamu yingini era ekifo awaali yingini ne tussaawo amazzi ag’okunywa. Okusobola okugoba eryato eryo ku myalo emitono, twafuna enkasi bbiri ezaali ziweza ffuuti 16 buli emu, ze twandibadde tukozesa. Kyaddaaki twatandika okuseeyeeya nga twolekera ekizinga Seychelles, ekiri ku Guyanja Indian. Enteekateeka yaffe yali ya kuyita bugwanjuba bwa Afirika, twetooloole tuyite e Cape of Good Hope, mu South Africa. Tweyambisa emmunyeenye, ebitabo, mmaapu, n’ebyuma ebitali bimu okusobola okumanya oludda gye twali twagala okugenda. Nneewuunya engeri gye twasobolanga okumanyaamu ekifo kyennyini mwe twabanga.

Mu kiseera kitono twakiraba nti eryato eryo ekkadde ery’embaawo lyali terijja kusobola kuseeyeeya ku gayanja aganene. Kyenkana buli ssaawa lyali liyingiza ekidomola kiramba eky’amazzi! Nga bwe nnayogeddeko ku ntandikwa, omuyaga bwe gwatandika okukunta, nnatya nnyo. Era wadde nga nnali mmaze emyaka mingi nga sisaba, nnasaba Katonda nti bwe yandituyambye ne tuwonawo, nnandibadde nfuba okumumanya. Omuyaga gwakkakkana era ne ntuukiriza kye nnasuubiza.

Nnatandika okusoma Bayibuli nga ndi ku nnyanja. Teeberezaamu ng’oli wakati mu nnyanja Meditereniyani, nga weetooloddwa ebyennyanja ebibuuka mu mazzi nga bwe biddamu, era nga buli gy’otunula olaba ng’ennyanja tekoma. Buli kiro bwe nnatunuuliranga emmunyeenye ennyingi ennyo eziri ku ggulu, nnakwatibwangako nnyo era kyandeeteranga okweyongera okuba omukakafu nti ddala Katonda gy’ali era nti afaayo ku bantu.

Oluvannyuma lwa wiiki eziwera nga tuli ku nnyanja, twagoba ku mwalo gw’e Alicante, mu Spain, ne tusalawo tutunde eryato eryo tusobole okufuna erisingako obulungi. Tekyali kyangu kufuna muntu agula lyato eryo eryali ekkadde, eritaalimu yingini, era eryalimu ebituli. Naye ekyo kyansobozesa okufuna ebiseera okusoma Bayibuli yange.

Gye nnakoma okusoma Bayibuli, gye nnakoma okukiraba nti ddala kitabo ekisobola okutuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Nneewuunya okulaba nti Bayibuli eyoleka bulungi emitindo gy’empisa abantu gye basaanidde okutambuliramu, era nneebuuza ensonga lwaki abantu bangi, nga nange mw’ontwalidde, beetwala okuba Abakristaayo kyokka nga tebakolera ku ebyo Bayibuli by’egamba.

Nnamalirira okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Bwe kityo, nnalekera awo okukozesa ebiragalalagala. Muli nnagamba nti wateekwa okuba nga waliwo abantu abatambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa, era nnali njagala okubazuula. Nnaddamu okusaba Katonda omulundi ogw’okubiri, ne mmugamba annyambe mbazuule.

NNOONYA EDDIINI EY’AMAZIMA

Nnasalawo okugenda nga nnoonyereza ku ddiini emu ku emu, okutuusa lwe nnandizudde entuufu. Bwe nnali ntambula mu nguudo z’omu Alicante, nnayita ku makanisa mangi. Naye olw’okuba agasinga obulungi ku go gaalimu ebifaananyi, kyali kyangu okumanya nti gaali ga ddiini ez’obulimba.

Lumu ku Ssande mu ttuntu, nnali ku kasozi akamu akaali kaliraanye omwalo nga nsoma Yakobo 2:1-5, awatugamba okwewala okufaayo ennyo ku bagagga ate abaavu ne tubasosola. Bwe nnali nzirayo ku lyato lyaffe, nnayita ku kizimbe ekyalabika ng’ekisabirwamu era waggulu ku mulyango gwakyo kwaliko ebigambo: “Kingdom Hall of Jehovah’s Witnesses.”

Muli nnagamba nti, ‘Nnina okugezesa abantu bano ndabe engeri gye banannyanirizaamu.’ Bwe kityo nnayingira mu kizimbe ekyo nga sambadde ngatto, nga nnina ekirevu ekiwanvu, era nga nnyambadde engoye enjulifu. Oyo eyali ayaniriza abagenyi yantwala n’andaga aw’okutuula okumpi n’omukyala eyali omukulu mu myaka eyannyamba okuzuula ebyawandiikibwa omwogezi bye yabanga atugambye okusoma. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, nneewuunya nnyo olw’ekisa ekyandagibwa abo bonna abajja okumbuuzaako. Omusajja omu yampita ewuwe ŋŋende tukubaganye ebirowoozo, naye olw’okuba nnali sinnamalako kusoma Bayibuli, nnamugamba nti, “Bwe nnaaba nneetegese nja kukubuulira.” Nnatandika okubangawo mu nkuŋŋaana zonna.

Oluvannyuma lwa wiiki eziwera, nnagenda mu maka g’omusajja oyo era n’anziramu ebibuuzo byonna bye nnali nneebuuza ku Bayibuli. Oluvannyuma lwa wiiki emu, yampa ensawo eyali ejjudde engoye ezirabika obulungi ennyo. Yaŋŋamba nti nnannyini ngoye ezo yali asibiddwa mu kkomera olw’okugondera ekiragiro ekiri mu Bayibuli eky’okwagala bantu bannaffe n’obutayiga kulwana. (Is. 2:4; Yok. 13:34, 35) Kati nnali mukakafu nti nnali nzudde abantu abakolera ku mitindo gya Bayibuli egy’empisa be nnali nnoonya. Ekiruubirirwa kyange eky’okunoonya ekizinga ekirabika obulungi kyakyuka, ne mba nga kati nnalina kiruubirirwa kya kuyiga Bayibuli. Bwe kityo nnaddayo mu Budaaki.

NNOONYA OMULIMU

Kyantwalira ennaku nnya okutuuka mu kibuga Groningen, mu Budaaki. Nnalina okunoonya omulimu okusobola okweyimirizaawo. Ku bbajjiro erimu we nnasaba omulimu, foomu gye nnajjuzaamu yali enneetaaza okulaga eddiini yange. Nnawandiikako nti, “Ndi Mujulirwa wa Yakuwa.” Ekyo nnannyini bbajjiro bwe yakisoma, nnalaba ng’endabika ye ku maaso ekyuse. Yaŋŋamba nti, “Nja kukuyita.” Naye teyampita.

Nnagenda ku bbajjiro eddala ne mbuuza nnannyini lyo obanga yandyagadde omuntu ow’okumuyambako. Yansaba empapula ez’obuyigirize n’amabaluwa agansemba. Nnamugamba nti nnaddaabirizaako eryato lyange ery’embaawo. Kyanneewuunyisa bwe yaŋŋamba nti, “Osobola okutandika leero mu ttuntu, naye olina okutuukiriza akakwakkulizo kamu. Saagala okole kintu kyonna kiyinza kuleeta buzibu ku bbajjiro lyange kubanga ndi omu ku Bajulirwa ba Yakuwa era ntambuliza obulamu bwange ku misingi gya Bayibuli.” Nnamutunuulira nga nneewuunya era ne mmuddamu nti, “Nange ndi Mujulirwa wa Yakuwa!” Olw’okuba nnalina enviiri empanvu n’ekirevu ekiwanvu, yakimanya nti saali Mujulirwa wa Yakuwa, era bw’atyo n’aŋŋamba nti, “Bwe kiba kityo, nja kuyiga naawe Bayibuli!” Ekyo nnakikkiririzaawo. Era kati nnali ndaba ensonga lwaki nnannyini bbajjiro we nnasooka okusaba omulimu teyampita. Yakuwa yali addamu kusaba kwange. (Zab. 37:4) Nnakolera ku bbajjiro ly’ow’oluganda oyo okumala omwaka gumu. Mu kiseera ekyo yanjigiriza Bayibuli, era oluvannyuma nnabatizibwa mu Jjanwali 1974.

KYADDAAKI NNAZUULA OBULAMU OBULINA EKIGENDERERWA!

Oluvannyuma lw’omwezi gumu, nnatandika okuweereza nga payoniya, era ekyo kyandeetera essanyu lingi. Omwezi ogwaddako nnagenda mu kibuga Amsterdam okuwagira ekibinja ekipya ekyali kyogera Olusipanisi ekyali kyakatandikibwawo. Nnafuna essanyu lingi nnyo mu kuyigiriza abantu aboogera Olusipanisi n’Olupotugo Bayibuli! Mu Maayi 1975, nnafuna enkizo ey’okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.

Lumu, mwannyinaffe ayitibwa Ineke eyali aweereza nga payoniya ow’enjawulo yajja mu nkuŋŋaana zaffe ez’Olusipanisi ng’aleese omuyizi we owa Bayibuli eyava mu Bolivia. Nze ne Ineke twasalawo okweyongera okumanyagana era mangu ddala twakiraba nti twalina ebiruubirirwa bye bimu. Twafumbiriganwa mu 1976 era ne tweyongera okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo okutuusa lwe twayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi erya 73 mu 1982. Twasanyuka nnyo bwe twasindikibwa okuweereza mu buvanjuba bwa Afirika, era twamala emyaka etaano nga tuweerereza Mombasa, e Kenya. Mu 1987 twasindikibwa okuweerereza e Tanzania, omulimu gwaffe ogw’okubuulira ogwali guwereddwa gye gwali gwakaddamu okukkirizibwa. Eyo twamalayo emyaka 26 oluvannyuma ne tuddayo e Kenya.

Nze ne mukyala wange tufunye essanyu lingi nnyo mu kuyamba abantu mu buvanjuba bwa Afirika okuyiga amazima agali mu Bayibuli

Tufunye essanyu lingi nnyo mu kuyamba abantu ab’emitima emirungi okuyiga Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, omuntu gwe nnasooka okuyigiriza Bayibuli e Mombasa yali musajja gwe nnafuna nga mbuulira mu bifo ebya lukale. Oluvannyuma lw’okumuwa magazini bbiri yambuuza nti, “Bwe nnaazimalako, kiki kye nnina okukola?” Wiiki eyaddako nnatandika okusoma naye akatabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, akaali kaakafulumizibwa mu Luswayiri. Yabatizibwa oluvannyuma lw’omwaka gumu, era n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Okuva olwo, ye ne mukyala we bayambye abantu nga 100 okutuuka ku kubatizibwa.

Nze ne Ineke tulabye engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu be okuba n’obulamu obulina ekigendererwa

Lwe nnasooka okuzuula ekigendererwa ky’obulamu, nnalinga omusuubuzi eyazuula luulu ey’omuwendo eyali tayagala kugifiirwa. (Mat. 13:45, 46) Nnawulira nga njagala okuyamba abalala okuzuula obulamu obulina ekigendererwa. Nze ne mukyala wange tulabye engeri Yakuwa Katonda gy’ayambamu abantu be okuba n’obulamu obulina ekigendererwa.