Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okolagana Bulungi n’Abo b’Okola Nabo?

Okolagana Bulungi n’Abo b’Okola Nabo?

“NNALI awo ku lusegere lwe ng’omukozi omukugu. . . . Nnasanyukiranga mu maaso ge bulijjo.” (Nge. 8:30) Olunyiriri luno lunnyonnyola engeri Omwana wa Katonda gye yakoleranga awamu ne Kitaawe emyaka mingi nga tannajja ku nsi. Weetegereze nti olunyiriri luno lutubuulira engeri Yesu gye yawuliramu ng’akolera wamu ne Katonda. Yagamba nti: ‘Yasanyukiranga’ mu maaso ge.

Yesu bwe yali mu ggulu, yayiga engeri ezaamuyamba okuba omukozi omulungi akolagana obulungi n’abalala. Oluvannyuma bwe yajja ku nsi, yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukolagana obulungi n’abo be yakolanga nabo. Bwe twetegereza ekyokulabirako kye yassaawo kituyamba okumanya emisingi esatu egisobola okutuyamba okukolagana obulungi n’abo be tukola nabo. Emisingi egyo gijja kutuyamba okweyongera okuba obumu ne bakkiriza bannaffe.

Koppa Yakuwa ne Yesu ng’oba mwetegefu okubuulira bakozi banno by’omanyi

OMUSINGI 1: ‘BULI OMU AWE MUNNE EKITIIBWA’

Omuntu akolagana obulungi ne bakozi banne abatwala nti ba muwendo, era tagezaako kweraga nti amanyi nnyo. Engeri eyo ey’okuba omwetoowaze Yesu yagiyigira ku Kitaawe. Wadde nga Yakuwa ye Mutonzi, yayagala abalala bamanye omulimu omukulu Omwana we gwe yakola. Ekyo tukirabira ku bigambo bino Katonda bye yayogera: “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe.” (Lub. 1:26) Yakuwa bwe yayogera ebigambo ebyo, Yesu yakiraba nti Yakuwa mwetoowaze nnyo.​—Zab. 18:35.

Yesu bwe yali ku nsi, naye yayoleka obwetoowaze. Bwe yatenderezebwanga olw’ebyo bye yabanga akoze, yakiraganga nti Yakuwa y’asaanidde okutenderezebwa. (Mak. 10:17, 18; Yok. 7:15, 16) Yesu okusobola okuba mu mirembe n’abayigirizwa be, yabatwalanga nga mikwano gye so si ng’abaddu. (Yok. 15:15) Yabanaaza n’ebigere ng’abayigiriza okuba abeetoowaze. (Yok. 13:5, 12-14) Naffe tusaanidde okutwala abo be tukola nabo nti ba muwendo mu kifo ky’okukulembeza ffe bye twagala. Bwe tuba nga ‘tuwaŋŋana ekitiibwa’ era nga tetufaayo ku kuba nti tutenderezebwa, tuba na bingi bye tusobola okutuukiriza mu buweereza bwaffe.​—Bar. 12:10.

Omuntu omwetoowaze era aba akimanyi nti “bwe wabaawo abawi b’amagezi abangi wabaawo ekituukibwako.” (Nge. 15:22) Ka tube nga tulina bumanyirivu bwenkana wa, oba busobozi ki, tulina okukimanya nti tewali muntu amanyi buli kimu. Ne Yesu yakiraga nti waliwo ebintu bye yali tamanyi. (Mat. 24:36) Ate era yafangayo okumanya endowooza y’abayigirizwa be abaali batatuukiridde. (Mat. 16:13-16) Tekyewuunyisa nti abo be yakolanga nabo baanyumirwanga okukola naye. Naffe bwe tukimanya nti waliwo ebintu bye tutamanyi, era ne tuba nga tuwuliriza endowooza z’abalala, ekyo kiyambako mu kwongera okuleetawo emirembe, era “wabaawo ekituukibwako.”

Okusingira ddala abakadde basaanidde okukoppa Yesu ne baba beetoowaze nga bakolera wamu. Basaanidde okukijjukira nti omwoyo omutukuvu gusobola okukozesa omukadde yenna. Abakadde bwe baba mu lukuŋŋaana lwabwe, ne bassaawo embeera esobozesa buli omu okuwa endowooza ye awatali kutya, bye basalawo biganyula ekibiina kyonna.

OMUSINGI 2: “OBUTALI BUKAKANYAVU BWAMMWE BWEYOLEKE ERI ABANTU BONNA”

Omuntu akolagana obulungi ne bakozi banne taba mukakanyavu. Takalambira ku ndowooza ye, era akyusaamu we kiba kyetaagisa. Yesu bwe yali mu ggulu, emirundi mingi yakiraba nti Kitaawe si mukakanyavu. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’abantu baali bagwanidde ekibonerezo eky’okufa, Yakuwa yamusindika okubanunula​—Yok. 3:16.

Yesu teyakalambiranga ku nsonga, wabula yakyusangamu we kyabanga kyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, wadde nga yali atumiddwa eri ennyumba ya Isirayiri, yayamba omukazi Omufoyiniikiya. (Mat. 15:22-28) Ate era n’engeri gye yakolaganangamu n’abayigirizwa be yalaga nti teyali mukakanyavu. Mukwano gwe Peetero bwe yamwegaanira mu lujjudde, Yesu yali mwetegefu okumusonyiwa. Oluvannyuma yakwasa Peetero obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. (Luk. 22:32; Yok. 21:17; Bik. 2:14; 8:14-17; 10:44, 45) Ekyokulabirako kya Yesu kiraga nti ‘obutali bukakanyavu bwaffe busaanidde okweyoleka eri abantu bonna,’ nga tetukalambira ku ndowooza yaffe.​—Baf. 4:5.

Obutaba bakakanyavu era bujja kutuyamba okukolera awamu n’abantu aba buli ngeri nga tuli mu mirembe. Yesu yakolagananga bulungi n’abantu abaabanga naye ne kiba nti abalabe be abaali ab’obuggya baagamba nti, yali “mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi,” abaawuliriza obubaka bwe. (Mat. 11:19) Okufaananako Yesu, naffe tusobola okukolagana obulungi n’abantu ab’enjawulo ku ffe? Louis azze akola n’abantu eb’enjawulo mu mulimu ogw’okukyalira ebibiina ne ku Beseri agamba nti: “Buli kibinja ky’abantu kye mbaddenga nkola nakyo mbadde nkigeraageranya ku kisenge ekyazimbibwa n’amayinja agatenkanankana. Bw’okyusakyusa engeri gy’opangamu amayinja ku kisenge, osobola okufuna ekisenge ekitereevu. Nfubye okukyusakyusaamu we kibaddenga kyetaagisa okusobola okukolagana obulungi n’abalala, era kituyambye okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.” Eyo nga ndowooza nnungi!

Omuntu akolagana obulungi ne bakozi banne tabaako bintu bye yeesigaliza banne bye basaanidde okumanya olw’okuba ayagala okuba nga y’abasinga

Ddi lwe tuyinza okukiraga nti tetuli bakakanyavu nga tukolagana n’abalala mu kibiina kyaffe? Ekyo tusobola okukikola nga tuli mu bibinja byaffe eby’obuweereza. Tuyinza okukola n’ababuulizi abalina obuvunaanyizibwa mu maka, obw’enjawulo ku bwaffe oba ab’emyaka egy’enjawulo. Tusobola okukiraga nti tetuli bakakanyavu nga tukyusa mu sipiidi n’engeri gye tukolamu ebintu okusobola okubayamba okunyumirwa obuweereza.

OMUSINGI 3: BA MWETEGEFU ‘OKUGABANA N’ABALALA’

Omukozi omulungi aba mwetegefu ‘okugabana n’abalala.’ (1 Tim. 6:18) Yesu bwe yali akola ne Kitaawe ateekwa okuba nga yakiraba nti Kitaawe yali tamukweka bintu ebimu. Yakuwa bwe yali “ateekateeka eggulu,” Yesu ‘yaliwo,’ era yali asobola okumuyigirako. (Nge. 8:27) Oluvannyuma Yesu yategeeza abayigirizwa be ‘ebintu bye yawulira’ okuva eri Kitaawe. (Yok. 15:15) Naffe tusobola okukoppa ekyokulabirako kya Yakuwa nga tubuulira bakozi bannaffe ebintu bye tuyize. Mazima ddala omuntu akolagana obulungi ne bakozi banne tabaako bintu bye yeesigaliza banne bye basaanidde okumanya olw’okuba ayagala okuba nga y’abasinga. Aba musanyufu okugabana n’abalala ebintu by’amanyi.

Ate era tusobola okwogera ebigambo ebizzaamu bakozi bannaffe amaanyi. Omuntu bw’alaba okufuba kwaffe era n’akiraga nti atusiima, ekyo tekituzzaamu nnyo amaanyi? Yesu yabuuliranga abalala ebintu ebirungi bye yabalabangamu. (Geraageranya Matayo 25: 19-23; Lukka 10:17-20.) Era yabagamba nti: ‘baali bajja kukola ebintu ebisinga n’ebyo bye yakola.’ (Yok. 14:12) Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, yasiima abatume be abeesigwa. Yabagamba nti: “Mmwe abatanjabulidde nga ngezesebwa.” (Luk. 22:28) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byabakwatako nnyo, era byabaleetera okukola n’obunyiikivu. Naffe bwe tusiima bakozi bannaffe, kijja kubasobozesa okweyongera okuba abasanyufu n’okukola obulungi emirimu gyabwe.

OSOBOLA OKUKOLAGANA OBULUNGI NE B’OKOLA NABO

Ow’oluganda ayitibwa Kayode yagamba nti: “Omuntu okuba ng’akolagana bulungi n’abo b’akola nabo, talina kuba ng’atuukiridde, wabula abaleetera okuba abasanyufu era afuula emirimu okuba emyangu.” Oli mukozi ow’engeri eyo? Lwaki teweebuuza ku bamu ku Bakristaayo bano b’okola nabo bakubuulire kye bakulowoozaako ku nsonga eno? Bwe kiba nti banyumirwa okukola naawe, ng’abayigirizwa ba Yesu bwe baanyumirwanga okukola naye, osobola okugamba ng’omutume Pawulo nti: “Tuli bakozi bannammwe olw’essanyu lyammwe.”​—2 Kol. 1:24.