Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2

Yigira ku Muganda wa Yesu

Yigira ku Muganda wa Yesu

“Yakobo, omuddu wa Katonda era owa Mukama waffe Yesu Kristo.”​—YAK. 1:1.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

OMULAMWA *

1. Kiki ky’oyinza okwogera ku maka Yakobo mwe yakulira?

 YAKOBO muganda wa Yesu yakulira mu maka agaali amanywevu ennyo mu by’omwoyo. * Bazadde be, Yusufu ne Maliyamu, baali baagala nnyo Yakuwa era baamuweereza n’obunyiikivu. Ate era waliwo n’enkizo endala Yakobo gye yalina. Mukulu we ye yali agenda okuba Masiya. Nga Yakobo yafuna enkizo ey’ekitalo okukulira mu maka ago!

Yakobo okukulira awamu ne Yesu kyamuyamba okumumanya obulungi (Laba akatundu 2)

2. Bintu ki ebyandireetedde Yakobo okwagala okuba nga mukulu we?

2 Yakobo yalina bingi bye yali ayinza okuyigira ku mukulu we. (Mat. 13:55) Ng’ekyokulabirako, Yesu yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa ne kiba nti bwe yali wa myaka 12 gyokka, yeewuunyisa nnyo abakadde mu Yerusaalemi abaali abayivu. (Luk. 2:46, 47) Yakobo ayinza okuba nga yakolera wamu ne Yesu omulimu gw’okubajja. Ekyo bwe kiba kityo, ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi muganda we. Ow’oluganda Nathan H. Knorr yateranga okugamba nti, “Bw’okola n’omuntu, omumanyaako ebintu bingi.” * Ate era kirabika Yakobo yalaba engeri “Yesu ne yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.” (Luk. 2:52) N’olwekyo twandisuubidde nti Yakobo yandibadde omu ku abo abaasooka okufuuka abayigirizwa ba Yesu. Naye si bwe kyali.

3. Yakobo yatwala atya obuweereza bwa Yesu obw’oku nsi?

3 Yakobo teyafuuka omu ku bayigirizwa ba Yesu nga Yesu akyali ku nsi. (Yok. 7:3-5) Mu butuufu Yakobo ayinza okuba nga yali omu ku b’eŋŋanda za Yesu abaali balowooza nti Yesu yali “atabuse omutwe.” (Mak. 3:21) Ate era tewali kiraga nti Yakobo yali wamu ne maama waabwe, Maliyamu, Yesu bwe yali afiira ku muti ogw’okubonaabona.​—Yok. 19:25-27.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Oluvannyuma, Yakobo yakkiririza mu Yesu era yali omu ku abo abaalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina Ekikristaayo. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bibiri bye tuyinza okuyigira ku Yakobo: (1) ensonga lwaki tusaanidde okusigala nga tuli beetoowaze (2) engeri gye tuyinza okuyigiriza obulungi.

SIGALA NG’OLI MWETOOWAZE NGA YAKOBO

Yakobo yeetoowaza Yesu bwe yamulabikira, era oluvannyuma yafuuka omuyigirizwa wa Yesu omwesigwa (Laba akatundu 5-7)

5. Kiki Yakobo kye yakola oluvannyuma lwa Yesu okumulabikira ng’amaze okuzuukira?

5 Yakobo yafuuka ddi omugoberezi wa Yesu omwesigwa? Yesu bwe yamala okuzuukira, “yalabikira Yakobo, n’azzaako abatume bonna.” (1 Kol. 15:7) Ekyo kyakyusa obulamu bwa Yakobo. Yakobo yali wamu n’abatume bwe baali mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi nga balindirira omwoyo omutukuvu ogwabasuubizibwa. (Bik. 1:13, 14) Oluvannyuma Yakobo yafuna enkizo ey’okuweereza ku kakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka. (Bik. 15:6, 13-22; Bag. 2:9) Ate ng’omwaka 62 E.E. tegunnatuuka, yaluŋŋamizibwa okuwandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebbaluwa. Ebbaluwa eyo ya muganyulo nnyo gye tuli leero, ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu, oba lya kubeera ku nsi. (Yak. 1:1) Okusinziira ku munnabyafaayo omu ow’omu kyasa ekyasooka ayitibwa Josephus, Yakobo yattibwa oluvannyuma lwa Kabona Asinga Obukulu Omuyudaaya eyali ayitibwa Ananiya mutabani wa Anaasi okulagira attibwe. Yakobo yasigala mwesigwa okutuukira ddala lwe yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi.

6. Yakobo yayawukana atya ku bakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye?

6 Yakobo yali mwetoowaze. Lwaki tugamba bwe tutyo? Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’engeri Yakobo gye yatwalamu Yesu oluvannyuma, n’engeri abakulembeze b’eddiini bangi gye baamutwalamu. Yakobo bwe yalaba obukakafu obulaga nti Yesu Mwana wa Katonda, yamukkiririzaamu. Kyokka bo bakabona abakulu mu Yerusaalemi tebaamukkiririzaamu. Ng’ekyokulabirako, baali tebasobola kuwakana nti Yesu yazuukiza Laazaalo. Wadde kyali kityo, baagaana okukkiriza nti Yakuwa ye yali atumye Yesu era baagezaako okutta Yesu ne Laazaalo. (Yok. 11:53; 12:9-11) Oluvannyuma Yesu bwe yazuukira, ekyo baagezaako okukikweka abantu. (Mat. 28:11-15) Amalala g’abakulembeze b’eddiini abo gaabaleetera okugaana okukkiriza Masiya.

7. Lwaki tulina okwewala okuba n’amalala?

7 Kye tuyiga: Weewale amalala era beera mwetegefu okuyigirizibwa. Ng’obulwadde bwe bukakanyaza emisuwa egitambuza omusaayi oguva ku mutima, ne kiviirako omutima okuba nga tegukuba bulungi, amalala nago gasobola okukakanyaza omutima gwaffe ogw’akabonero ne tuba nga tetuwuliriza bulagirizi Yakuwa bw’atuwa. Abafalisaayo bakkiriza emitima gyabwe okukakanyala ennyo ne kiba nti baagaana okukkiriza obukakafu obw’enkukunala obwali bulaga nti Yesu yalina omwoyo gwa Katonda, era nti yali Mwana wa Katonda. (Yok. 12:37-40) Ekyo kyali kya kabi nnyo kubanga kyabafiiriza okufuna obulamu obutaggwaawo. (Mat. 23:13, 33) Mazima ddala kikulu nnyo okuba nti tweyongera okukkiriza Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe okukyusa engeri zaffe n’endowooza zaffe era ne tukolera ku bulagirizi bwagwo nga tulina bye tusalawo. (Yak. 3:17) Olw’okuba Yakobo yali mwetoowaze, yakkiriza Yakuwa okumuyigiriza. Nga bwe tugenda okulaba, obwetoowaze bwe bwamusobozesa okuba omuyigiriza omulungi.

YIGIRIZA BULUNGI NGA YAKOBO

8. Kiki ekinaatuyamba okuba abayigiriza abalungi?

8 Yakobo teyalina buyigirize bwa waggulu. Tewali kubuusabuusa nti abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye naye baali bamutwala nga bwe baali batwala abatume, Peetero ne Yokaana, kwe kugamba, baali bamutwala ‘ng’ataali muyigirize era omuntu owa bulijjo.’ (Bik. 4:13) Naye Yakobo yayiga okuba omuyigiriza omulungi. Kino tukiraba bwe tusoma ekitabo ekiyitibwa erinnya lye. Okufaananako Yakobo, naffe tuyinza okuba nga tetwafuna buyigirize bwa waggulu. Wadde kiri kityo, omwoyo gwa Yakuwa awamu n’okutendekebwa kwe tufuna mu kibiina kye, bisobola okutufuula abayigiriza abalungi. Ka tulabe ekyokulabirako Yakobo kye yassaawo mu kuyigiriza, era tulabe n’ebyo bye tuyinza okumuyigirako.

9. Kiki ky’oyinza okwogera ku ngeri Yakobo gye yali ayigirizaamu?

9 Yakobo teyakozesanga bigambo bizibu era yannyonnyolanga ebintu mu ngeri ennyangu. Ekyo kyasobozesa be yali abuulira okumanya kye baalina okukola, n’engeri gye baalina okukikolamu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri ennyangu gye yalagamu nti Abakristaayo balina okuba abeetegefu okuyisibwa obubi era n’obutasiba kiruyi. Yagamba nti: “Tubayita basanyufu abo abaagumiikiriza. Mwawulira ku bugumiikiriza bwa Yobu era mwalaba Yakuwa bye yamukolera oluvannyuma, era ne mukiraba nti Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.” (Yak. 5:11) Weetegereze nti Yakobo yakozesa Ebyawandiikibwa ng’ayigiriza bakkiriza banne. Yakozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba bakkiriza banne okukiraba nti bulijjo Yakuwa awa empeera abo abasigala nga beesigwa gy’ali nga Yobu. Yakobo bwe yali ayigiriza bakkiriza banne ensonga eyo, yakozesa ebigambo ebyangu era yannyonnyola mu ngeri ennyangu. Mu kukola bw’atyo, yabayamba okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa so si ku ye.

10. Engeri emu gye tuyinza okukoppamu Yakobo nga tuyigiriza y’eruwa?

10 Kye tuyiga: Yigiriza mu ngeri ennyangu era kozesa Ekigambo kya Katonda. Ekigendererwa kyaffe si kya kuleetera bantu kukiraba nti tumanyi ebintu bingi, wabula kya kubaleetera kukiraba nti Yakuwa amanyi ebintu bingi, era nti abafaako nnyo. (Bar. 11:33) Tusobola okutuuka ku kigendererwa ekyo nga bulijjo bye twogera tubyesigamya ku Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okugamba abayizi baffe ekyo kye twandikoze singa ffe twali bo, tusaanidde okubayamba okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli n’okumanya endowooza ya Yakuwa. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kubayamba okukolera ku ebyo bye bayiga olw’okuba baagala okusanyusa Yakuwa, so si ffe.

11. Buzibu ki Abakristaayo abamu mu kiseera kya Yakobo bwe baalina, era kubuulirira ki kwe yabawa? (Yakobo 5:13-15)

11 Yakobo yayogeranga ku kizibu ekyabangawo. Bwe tusoma ebbaluwa ya Yakobo tukiraba nti yali amanyi bulungi obuzibu Bakristaayo banne bwe baalina, era yabawa obulagirizi ku ngeri gye baali bayinza okuvvuunukamu obuzibu obwo. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bo baali balwawo okukolera ku bye baali bayiga. (Yak. 1:22) Abalala baalimu obusosoze, nga baagala abagagga okusinga abaavu. (Yak. 2:1-3) Ate abalala baali bazibuwalirwa okufuga olulimi lwabwe. (Yak. 3:8-10) Abakristaayo abo baalina obuzibu obw’amaanyi, naye Yakobo yalina essuubi nti baali bajja kukyusaamu. Yababuulirira mu ngeri ey’ekisa era etuukira ddala ku nsonga, era n’akubiriza abo abaali beetaaga obuyambi okusaba abakadde okubayamba okukola enkyukakyuka.​—Soma Yakobo 5:13-15.

12. Tuyinza tutya okusigala nga tulina endowooza ennungi nga tuyamba abayizi baffe aba Bayibuli?

12 Kye tuyiga: Yogera ku kizibu, naye beera n’endowooza ennungi ku balala. Bangi ku abo be tuyigiriza Bayibuli bayinza obutanguyirwa kukolera ku ebyo bye bayiga. (Yak. 4:1-4) Kiyinza okubatwalira ekiseera okweggyamu engeri embi, n’okukulaakulanya engeri ng’eza Kristo. Okufaananako Yakobo tusaanidde okubuulira abayizi baffe we beetaaga okulongoosaamu. Era tusaanidde okusigala nga tulina endowooza ennungi, nga tuli bakakafu nti abantu abawombeefu Yakuwa ajja kubaleeta gy’ali, era nti ajja kubawa amaanyi ge beetaaga okusobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.​—Yak. 4:10.

13. Nga bwe kiragibwa mu Yakobo 3:2, kiki Yakobo kye yali yeemanyiiko?

13 Yakobo yali teyeetwala nti wa kitalo. Yakobo yali takitwala nti olw’amaka ge yakuliramu oba olw’enkizo ze yalina, yali wa kitalo oba nti yali wa waggulu ku bakkiriza banne. Bwe yali ayogera ku bakkiriza banne yabayita ‘baganda be abaagalwa.’ (Yak. 1:16, 19; 2:5) Teyagezaako kuleetera balala kulowooza nti ye atuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, naye kennyini yeetwaliramu bwe yagamba nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya.”​—Soma Yakobo 3:2.

14. Lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okukikkiriza nti naffe tukola ensobi?

14 Kye tuyiga: Kijjukire nti ffenna tuli boonoonyi. Tetusaanidde kulowooza nti ffe tuli ba waggulu ku abo be tuyigiriza. Bwe tuleetera omuyizi waffe okulowooza nti ffe tetulina nsobi yonna gye tukola, ayinza okuggwaamu amaanyi ng’alowooza nti ye tasobola kutuukiriza ebyo Katonda by’amwetaagisa. Naye bwe tuba abeesimbu ne tubuulira omuyizi waffe nti oluusi tekitubeeredde kyangu kukolera ku Byawandiikibwa, era ne tumunnyonnyola engeri Yakuwa gy’atuyambyemu okukola enkyukakyuka, tujja kumuyamba okukiraba nti naye asobola okuweereza Yakuwa.

Ebyokulabirako Yakobo bye yakozesa byali byangu era nga bitegeerekeka bulungi (Laba akatundu 15-16) *

15. Kiki ky’oyinza okwogera ku byokulabirako Yakobo bye yakozesa? (Yakobo 3:2-6, 10-12)

15 Yakobo yakozesa ebyokulabirako ebyali bituukirawo. Tewali kubuusabuusa nti omwoyo omutukuvu gwe gwamuyamba. Kyokka era ateekwa okuba nga yayiga engeri y’okuyigirizaamu ng’akoppa engeri mukulu we, Yesu, gye yakozesangamu ebyokulabirako. Ebyokulabirako Yakobo bye yakozesa mu bbaluwa ye byangu, era eby’okuyiga ebibirimu bitegeerekeka bulungi.​—Soma Yakobo 3:2-6, 10-12.

16. Lwaki tusaanidde okukozesa ebyokulabirako ebituukirawo?

16 Eky’okuyiga: Kozesa ebyokulabirako ebituukirawo. Bw’okozesa ebyokulabirako ebituukirawo, kisobozesa omuntu okukuba akafaananyi ku ebyo by’aba awuliriza. Akafaananyi ako kayamba omuntu okujjukira ebintu ebikulu by’ayiga mu Bayibuli. Yesu yali akozesa bulungi nnyo ebyokulabirako, era muganda we Yakobo yamukoppa. Ka tulabeyo ekimu ku byokulabirako Yakobo bye yakozesa, era tulabe ensonga lwaki kyali kirungi nnyo.

17. Lwaki ekyokulabirako ekiri mu Yakobo 1:22-25 kirungi nnyo?

17 Soma Yakobo 1:22-25. Ekyokulabirako Yakobo kye yakozesa ekikwata ku ndabirwamu kirungi nnyo, olw’ensonga eziwerako. Yali alina ensonga gye yali ayagala okuggyayo. Yali ayagala tukimanye nti okusobola okuganyulwa mu Kigambo kya Katonda, tetulina kukoma ku kukisoma busomi, wabula tulina okukolera ku ebyo bye tusoma. Ekyokulabirako eky’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu Yakobo kye yakozesa kyangu okutegeera. Kiki kye yali ayagala tuyige? Tekiba kya magezi omuntu okutunula mu ndabirwamu n’alaba ekintu kye yeetaaga okutereeza, kyokka n’atabaako ky’akolawo. Mu ngeri y’emu, tekiba kya magezi kusoma Bayibuli ne tulaba we twetaaga okukyusa mu ngeri zaffe oba mu nneeyisa yaffe, kyokka ne tutabaako kye tukolawo.

18. Bintu ki ebisatu bye tulina okukola nga tukozesa ebyokulabirako?

18 Bw’oba ng’olina ekyokulabirako ky’oyagala okukozesa, koppa Yakobo ng’okola ebintu bino bisatu: (1) Kakasa nti ekyokulabirako ekyo kiggyayo ensonga gy’oyogerako. (2) Kozesa ekyokulabirako oyo akuwuliriza ky’asobola okutegeera amangu. (3) Kakasa nti eky’okuyiga ekiri mu kyokulabirako ekyo kitegeerekeka bulungi. Bwe kiba nga kikuzibuwalira okufuna ebyokulabirako by’oyinza okukozesa, weeyambise Watch Tower Publications Index. Genda ku mutwe ogugamba nti “Ebyokulabirako,” era wansi waagwo ojja kusangawo ebyokulabirako bingi by’osobola okukozesa. Kyokka kijjukire nti ebyokulabirako biringa omuzindaalo omuntu mw’ayogerera, kwe kugamba, biyambako mu kuggyayo obulungi ensonga. N’olwekyo kozesa ebyokulabirako ku nsonga enkulu zokka z’oyagala okuggyayo. Kya lwatu nti ensonga esinga obukulu lwaki twagala okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu kwe kuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okufuuka ab’omu maka ga Yakuwa, so si okuleetera abalala okututendereza.

19. Tukiraga tutya nti twagala bakkiriza bannaffe?

19 Yakobo yakulira wamu ne muganda we omukulu eyali atuukiridde, naye ekyo si bwe kiri eri ffe. Kyokka tulina enkizo ey’okuweereza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe. Tukiraga nti tubaagala nga tubeerako wamu nabo, nga tubayigirako, era nga tukolera wamu nabo omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Bwe tufuba okukoppa endowooza ya Yakobo, ebikolwa bye, n’engeri gye yayigirizaamu, tuleetera Yakuwa ettendo era tuyamba abantu ab’emitima emirungi okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu.

OLUYIMBA 114 “Mugumiikirize”

^ Yakobo yakulira mu maka ge gamu ne Yesu. Yakobo yali amanyi bulungi nnyo Omwana wa Katonda atuukiridde okusinga abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera ekyo. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tuyigira ku muganda wa Yesu oyo eyafuuka empagi mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Ate era tugenda kulaba bye tuyigira ku ebyo bye yayigiriza.

^ Mu kitundu kino Yakobo tugenda kumuyita muganda wa Yesu. Mu butuufu, maama wa Yesu era ye yali maama wa Yakobo, naye Yusufu taata wa Yakobo, si ye yali taata wa Yesu. Yakobo ye yawandiika ebbaluwa eyitibwa erinnya lye.

^ Nathan H. Knorr yali ku Kakiiko Akafuzi. Yamaliriza obuweereza bwe obw’oku nsi mu 1977.

^ EBIFAANANYI: Yakobo yakozesa ekyokulabirako ky’akaliro akatono okulaga akabi akali mu kukozesa obubi olulimi era ekyokulabirako ekyo kyali kyangu okutegeera.