Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

Engeri gy’Owabulamu Abalala ‘Esanyusa Omutima’?

Engeri gy’Owabulamu Abalala ‘Esanyusa Omutima’?

“Ng’amafuta g’ezzeyituuni n’obubaani bwe bisanyusa omutima, n’ow’omukwano akuwabula mu bwesimbu bw’atyo bw’aba.”​—NGE. 27:9.

OLUYIMBA 102 “Yambanga Abanafu”

OMULAMWA *

1-2. Kiki omukadde omu kye yayiga ku bikwata ku kuwabula abalala?

 EMYAKA mingi emabega, abakadde babiri baakyalira mwannyinaffe eyali amaze ekiseera nga tabaawo mu nkuŋŋaana. Omu ku bakadde abo yasomera mwannyinaffe ebyawandiikibwa ebiwerako ebiraga emiganyulo egiri mu kubaawo mu nkuŋŋaana. Yalowooza nti byonna byali bigenze bulungi, naye bwe baali bagenda mwannyinaffe yabagamba nti: “Ab’oluganda, temumanyi bye mpitamu.” Ab’oluganda abo baali bawabudde mwannyinaffe nga tebasoose kumubuuza mbeera gye yali ayitamu. Era mwannyinaffe oyo yawulira nti baali tebamuyambye.

2 Omukadde eyasomera mwannyinaffe ebyawandiikibwa bw’ajjukira ebyaliwo agamba nti: “Mu kusooka nnalowooza nti mwannyinaffe oyo yali tasiimye magezi ge twali tumuwadde. Naye bwe nnakirowoozaako, nnakiraba nti nnali mmusomedde busomezi byawandiikibwa mu kifo ky’okusooka okumubuuza embeera gye yali ayitamu n’engeri gye twali tuyinza okumuyambamu.” Omukadde oyo alina ekintu ekikulu kye yayiga mu ekyo ekyaliwo. Ow’oluganda oyo kati afuba okwessa mu bigere by’abalala.

3. Baani mu kibiina abasobola okuwabula abalala?

 3 Abakadde balina obuvunaanyizibwa obw’okuwabula abalala bwe kiba nga kyetaagisa. Naye ebiseera ebimu n’abalala mu kibiina kiyinza okubeetaagisa okuwabula abalala. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda oba mwannyinaffe ayinza okukozesa Bayibuli okuwabula mukwano gwe. (Zab. 141:5; Nge. 25:12) Oba mwannyinaffe omukulu ayinza okuwabula mwannyinaffe akyali omuto mu myaka ku nsonga ezimu, gamba ng’ezo ezoogerwako mu Tito 2:3-5. N’abazadde beetaaga okuwabula abaana baabwe. N’olwekyo, wadde ng’ekitundu kino okusingira ddala kitegekeddwa kuyamba bakadde mu kibiina, ffenna kisobola okutuyamba okuwabula abalala mu ngeri ‘esanyusa omutima’ era ebayamba okuganyulwa mu magezi ge tubawa.​—Nge. 27:9.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bina ebikwata ku kuwabula abalala: (1) Kigendererwa ki kye tusaanidde okuba nakyo nga tuwabula omuntu? (2) Ddala kyetaagisa okumuwabula? (3) Ani alina okumuwabula? (4) Oyinza otya okuwabula omuntu mu ngeri eneemuganyula?

KIKI EKISAANIDDE OKUTULEETERA OKUWABULA ABALALA?

5. Biki ebivaamu singa omukadde awabula omuntu mu ngeri ey’okwagala? (1 Abakkolinso 13:4, 7)

5 Abakadde baagala nnyo bakkiriza bannaabwe. Oluusi okwagala okwo bakwoleka nga bawabula omuntu aba akutte ekkubo ekkyamu. (Bag. 6:1) Kyokka omukadde nga tannayogera na muntu, kiba kirungi n’alowooza ku ebyo omutume Pawulo bye yayogera ku kwagala. Yagamba nti: “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. . . . Kugumira ebintu byonna, kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna, kugumiikiriza ebintu byonna.” (Soma 1 Abakkolinso 13:4, 7.) Okufumiitiriza ku nnyiriri ezo kiyamba omukadde okumanya ekigendererwa ky’aba nakyo nga tannawabula muntu, n’okumuwabula mu ngeri ey’okwagala. Oyo awabulwa bw’akitegeera nti omukadde amufaako, kimubeerera kyangu okukkiriza okuwabulwa okwo.​—Bar. 12:10.

6. Kyakulabirako ki ekirungi omutume Pawulo kye yassaawo?

6 Omutume Pawulo yateerawo abakadde ekyokulabirako ekirungi. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda mu kibiina ky’e Sessalonika bwe baali beetaaga okuwabulwa, Pawulo yabawabula. Kyokka yasooka n’ayogera ku mirimu emirungi gye baali bakola, ne ku kwagala n’obugumiikiriza bye baali booleka. Ate era yayogera ne ku mbeera enzibu gye baali bayitamu ne ku kuba nti baali bagumiikirizza nga bayigganyizibwa. (1 Bas. 1:3; 2 Bas. 1:4) Ate era yabagamba nti baali bateereddewo Abakristaayo abalala ekyokulabirako ekirungi. (1 Bas. 1:8, 9) Abakristaayo abo bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo Pawulo bwe yabasiima! Awatali kubuusabuusa Pawulo yali ayagala nnyo baganda be. Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo ab’omu Sessalonika baasobola okuganyulwa mu kuwabulwa kwe yabawa mu mabaluwa ge yabawandiikira.​—1 Bas. 4:1, 3-5, 11; 2 Bas. 3:11, 12.

7. Lwaki omuntu ayinza okugaana okukolera ku kuwabulwa okuba kumuweereddwa?

7 Kiki ekiyinza okubaawo singa tuwabula omuntu mu ngeri etali nnungi? Omukadde omu alina obumanyirivu yagamba nti, “Abamu bagaana okukolera ku kuwabulwa okuba kubaweereddwa, si lwa kuba nti kuba tekusaana, naye lwa kuba nti kuba tekubaweereddwa mu ngeri ey’okwagala.” Ekyo kituyigiriza ki? Kiba kyangu omuntu okukkiriza okuwabulwa singa kumuweebwa mu ngeri ey’okwagala.

DDALA KYETAAGISA OKUWABULA OMUNTU?

8. Bibuuzo ki omukadde by’asaanidde okwebuuza nga tannasalawo kuwabula muntu?

8 Abakadde tebasaanidde kwanguyiriza kuwabula balala. Nga tannawabula muntu, omukadde asaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ddala nneetaaga okumuwabula? Ndi mukakafu nti ky’akola kikyamu? Alina omusingi gwa Bayibuli gwonna gw’amenye? Oba nnina bubeezi ndowooza ya njawulo ku yiye?’ Abakadde basaanidde okwewala ‘okwanguyiriza okwogera.’ (Nge. 29:20) Omukadde bw’aba teyeekakasa, ayinza okubuuzaako omukadde omulala obanga waliwo omusingi gwa Bayibuli ow’oluganda oyo gw’amenye.​—2 Tim. 3:16, 17.

9. Kiki kye tuyigira ku Pawulo bwe kituuka ku kuwabula omuntu ku bikwata nnyambala n’okwekolako? (1 Timoseewo 2:9, 10)

9 Lowooza ku kyokulabirako kino. Ka tugambe nti omukadde omu alaba nti engeri muganda waffe oba mwannyinaffe gy’ayambalamu oba gye yeekolako tesaana. Omukadde oyo ayinza okwebuuza nti, ‘Waliwo omusingi gwa Bayibuli gw’amenye era nga nneetaaga okumuwabula?’ Olw’okuba omukadde oyo tayagala kuwabula muntu ng’asinziira ku ndowooza ye, ayinza okwebuuza ku mukadde omulala oba Omukristaayo yenna akuze mu by’omwoyo. Bayinza okwekenneenyeza awamu okubuulirira kwa Pawulo okukwata ku nnyambala n’okwekolako. (Soma 1 Timoseewo 2:9, 10.) Pawulo yagamba nti Omukristaayo asaanidde okwambala mu ngeri esaana era eweesa ekitiibwa. Naye teyawa lukalala lwa ngoye Omukristaayo z’asaanidde okwambala ne z’atasaanidde kwambala. Yali akimanyi nti Omukristaayo asobola okwambala olugoye lw’ayagala kasita luba nga lusaana. N’olwekyo, ng’omukadde tannasalawo kuwabula muntu, alina okukakasa obanga ennyambala y’omuntu oyo esaana oba tesaana.

10. Kiki tusaanidde okujjukira ku bikwata ku bintu abalala bye basalawo?

10 Tusaanidde okukijjukira nti Abakristaayo babiri bayinza okusalawo mu ngeri ya njawulo naye nga bombi batuufu. Tetusaanidde kukakaatika ndowooza zaffe ku bakkiriza bannaffe.​—Bar. 14:10.

ANI ALINA OKUWABULA?

11-12. Omuntu bw’aba nga yeetaaga okuwabulwa, bibuuzo ki omukadde by’asaanidde okwebuuza, era lwaki?

11 Bwe kiba nti omuntu yeetaaga okuwabulwa, kati olwo ani asaanidde okumuwabula? Nga tannawabula mwannyinaffe omufumbo oba omwana, omukadde ayinza okusooka okwogerako n’omutwe gw’amaka. Oboolyawo omutwe gw’amaka ayinza okwagala okwekolera ku nsonga eyo. * Oba omutwe gw’amaka ayinza okwagala okubaawo ng’omukadde awabula omu ku b’omu maka ge. Ate era nga bwe kyogeddwako mu  katundu 3, oluusi kiyinza okuba ekirungi mwannyinaffe omukulu mu myaka okuwabula mwannyinaffe omuvubuka.

12 Waliwo ekintu ekirala omukadde ky’asaanidde okulowoozaako. Ayinza okwebuuza nti, ‘Nze muntu omutuufu okwogera n’omuntu ono, oba kyandisinzeeko omulala n’ayogera naye?’ Ng’ekyokulabirako, omuntu eyeenyooma ayinza okuganyulwa ennyo singa omukadde eyaliko mu mbeera eyo y’ayogera naye mu kifo ky’omukadde atayitangako mu mbeera eyo. Omukadde eyayitako mu mbeera eyo asobola okumutegeera obulungi era asobola okumutuuka ku mutima. Kyokka abakadde bonna balina obuvunaanyizibwa obw’okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi n’okubakubiriza okukolera ku Byawandiikibwa. N’olwekyo, ekikulu kwe kuyamba omuntu eyeetaaga okuyambibwa ka kibe nti omukadde amuyamba teyayitako mu mbeera ye.

OYINZA OTYA OKUWABULA OMUNTU MU NGERI ENEEMUGANYULA?

Lwaki abakadde balina okuba ‘abangu okuwuliriza’? (Laba akatundu 13-14)

13-14. Lwaki kikulu omukadde okuwuliriza obulungi?

13 Beera mwetegefu okuwuliriza. Omukadde bw’aba nga yeeteekateeka okuwabula omuntu, asaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Biki bye mmanyi ku mbeera muganda wange gy’ayitamu? Kusoomooza ki kw’ayolekagana nakwo? Kyandiba nti ayolekagana n’ebizibu bye simanyi? Kiki ky’asinga okwetaaga mu kiseera kino?’

14 Omusingi oguli mu Yakobo 1:19 gukwata ne ku abo abawabula abalala. Yakobo yagamba nti: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera, alwengawo okusunguwala.” Omukadde ayinza okulowooza nti amanyi bulungi embeera omuntu gy’ayitamu, naye ddala ekyo kituufu? Engero 18:13 wagamba nti: “Omuntu yenna bw’addamu nga tannawuliriza nsonga, aba akoze kya busirusiru era kimuswaza.” Kiba kirungi omuntu kennyini n’akubuulira embeera gy’ayitamu. N’olwekyo, omukadde alina okusooka n’awuliriza omuntu nga tannabaako ky’ayogera. Lowooza ku ekyo omukadde eyogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino kye yayiga. Yakiraba nti mu kifo ky’okutandika n’ebyawandiikibwa bye yali ateeseteese, yandibadde asooka kubuuza mwannyinaffe nti: “Mbeera ki gy’oyitamu?” “Tuyinza kukuyamba tutya?” Abakadde bwe basooka okutegeera obulungi embeera mukkiriza munnaabwe gy’aba ayitamu, basobola okumuyamba n’okumuzzaamu amaanyi.

15. Abakadde bayinza batya okukolera ku magezi agali mu Engero 27:23?

15 Mufube okumanya ekisibo. Nga bwe kyogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino, okuwabula omuntu kisingawo ku musomera obusomezi ebyawandiikibwa oba okubaako amagezi g’omuwa. Bakkiriza bannaffe beetaaga okukiraba nti tubafaako, tubategeera, era nti twagala okubayamba. (Soma Engero 27:23.) Abakadde balina okufuba okufuula bakkiriza bannaabwe mikwano gyabwe.

Kiki ekinaakifuula ekyangu eri abakadde okuwabula abalala? (Laba akatundu 16)

16. Kiki abakadde kye basaanidde okukola abalala bwe baba ab’okuganyulwa mu kuwabula kwe babawa?

16 Abakadde tebalina kuleetera bakkiriza bannaabwe kulowooza nti boogera nabo olwo lwokka nga babawabula. Mu kifo ky’ekyo, basaanidde okufubanga okwogera ne bakkiriza bannaabwe n’okubalaga nti babafaako nga boolekagana n’ebizibu. Omukadde omu yagamba nti: “Bw’okola bw’otyo oba ossaawo enkolagana ennungi ne bakkiriza banno, era bwe kiba kikwetaagisa okubawabula kikubeerera kyangu.” Ate era oyo gw’owabula naye kimubeerera kyangu okukkiriza okuwabulwa.

Lwaki omukadde alina okubeera omugumiikiriza era ow’ekisa ng’awabula omuntu? (Laba akatundu 17)

17. Okusingira ddala ddi omukadde lw’alina okubeera omugumiikiriza era ow’ekisa?

17 Beera mugumiikiriza era wa kisa. Kyetaagisa okwoleka obugumiikiriza n’ekisa naddala singa omuntu mu kusooka agaana okukolera ku kuwabula okuba kumuweereddwa. Omukadde asaanidde okwewala okunyiiga singa omuntu aba takoledde mangu ku ebyo by’aba amugambye. Ng’eyogera ku Yesu, Bayibuli yagamba nti: “Olumuli olumenyese talirubetenta, era n’olutambi oluzimeera taliruzikiza.” (Mat. 12:20) N’olwekyo omukadde bw’aba yeeteekateeka okuwabula omuntu, asaanidde okusaba Yakuwa ayambe omuntu oyo okulaba ensonga lwaki yeetaaga okuwabulwa, era akolere ku kuwabulwa okwo. Ow’oluganda awabuddwa ayinza okwetaaga ekiseera okulowooza ku ebyo ebiba bimugambiddwa. Omukadde bw’abeera omugumiikiriza era nga wa kisa, oyo gw’awabula kimubeerera kyangu okussa ebirowoozo ku ebyo by’amugamba. Kya lwatu nti okuwabula kwonna okuweebwa kulina okuba nga kwesigamye ku Kigambo kya Katonda.

18. (a) Kiki kye tusaanidde okujjukira ku bikwata ku kuwabula abalala? (b) Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi na mu kasanduuko, kiki abazadde abo kye boogerako?

18 Yigira ku nsobi zo. Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okwerabira okukolera ku gamu ku magezi agatuweereddwa mu kitundu kino. (Yak. 3:2) Kyo kituufu nti tujja kukola ensobi, naye bwe tuzikola tusaanidde okuziyigirako. Baganda baffe ne bannyinaffe bwe bakiraba nti tubaagala, kijja kubabeerera kyangu okutusonyiwa singa tunaayogera oba tunaakola ekintu ekibanyiiza.​—Laba n’akasanduuko “ Eri Abazadde.”

KIKI KYE TUYIZE?

19. Tuyinza tutya okuwabula baganda baffe ne bannyinaffe mu ngeri esanyusa omutima?

19 Nga bwe tulabye, oluusi tekiba kyangu kuwabula balala. Tetutuukiridde era n’abo be tuwabula tebatuukiridde. Jjukira ebyo bye tuyize mu kitundu kino. Nga tonnawabula muntu, kakasa nti olina ekigendererwa ekituufu. Ate era kakasa nti okuwabula okwo ddala kwetaagisa era nti ggwe osaanidde okukuwa. Nga tonnawabula muntu, mubuuze embeera gy’ayitamu era omuwulirize bulungi. Gezaako okwessa mu bigere bye. Beera wa kisa, era baganda bo ne bannyoko bafuule mikwano gyo. Kijjukire nti ekigendererwa kyaffe si kuwabula buwabuzi balala, naye era twagala okubawabula mu ngeri ‘esanyusa omutima.’​—Nge. 27:9.

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

^ lup. 5 Tekitera kuba kyangu kuwabula balala. Naye bwe kiba nga kyetaagisa okukikola, tuyinza tutya okubawabula mu ngeri ennungi era eneebaganyula? Ekitundu kino okusingira ddala kigenda kuyamba abakadde okumanya engeri ennungi gye bayinza okuwabulamu abalala.

^ lup. 11 Laba ekitundu, “Okutegeera Enteekateeka y’Obukulembeze mu Kibiina,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Febwali 2021.