Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9

Koppa Yesu ng’Oweereza Abalala

Koppa Yesu ng’Oweereza Abalala

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—BIK. 20:35.

OLUYIMBA 17 “Njagala”

OMULAMWA *

1. Biki abantu ba Yakuwa bye bakola?

 BAYIBULI yagamba nti abantu ba Katonda ‘bandyewaddeyo kyeyagalire’ okumuweereza nga bakolera ku bulagirizi bwa Yesu. (Zab. 110:3) Ebigambo ebyo bituukirizibwa leero. Buli mwaka abaweereza ba Yakuwa bamala essaawa bukadde na bukadde mu mulimu gw’okubuulira. Omulimu ogwo bagukola kyeyagalire era tebasasulwa. Ate era bayamba baganda baabwe mu by’omubiri, mu by’omwoyo, era babazzaamu amaanyi. Ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina bamala essaawa nnyingi nga bateekateeka enkuŋŋaana, era nga bazzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. Kiki ekireetera abaweereza ba Yakuwa okukola emirimu egyo gyonna? Kwe kwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri bantu bannaabwe.​—Mat. 22:37-39.

2. Yesu yakolera atya ku bigambo ebiri mu Abaruumi 15:1-3?

2 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ng’akulembeza eby’abalala. Naffe tufuba okumukoppa. (Soma Abaruumi 15:1-3.) Abo abamukoppa bafuna emikisa mingi. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—Bik. 20:35.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku bintu Yesu bye yakola okusobola okuyamba abalala, n’engeri gye tuyinza okumukoppamu. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okuyamba abalala.

KOPPA YESU

Kiki Yesu kye yakola abantu bangi bwe bajja gy’ali wadde nga yali akooye? (Laba akatundu (See paragraph 4)

4. Yesu yakulembeza atya eby’abalala?

4 Yesu yayambanga abalala ne bwe yabanga akooye. Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola abantu bangi bwe baagenda ku lusozi gye yali, oboolyawo okumpi ne Kaperunawumu. Yesu yali amaze ekiro kyonna ng’asaba. Ateekwa okuba nga yali mukoowu nnyo. Naye bwe yalaba ekibiina ky’abantu, yasaasira abantu abaavu n’abalwadde abaali mu bo. Teyakoma ku kubawonya, naye era yayogera nabo ebigambo ebyabazzaamu ennyo amaanyi, mu kwogera okumanyiddwa ng’Okubuulira okw’Oku Lusozi.​—Luk. 6:12-20.

Mu ngeri ki gye tuyinza okukoppa omwoyo ogw’okwefiiriza Yesu gwe yalina? (Laba akatundu 5)

5. Emitwe gy’amaka bakoppa batya Yesu bwe baba nga bakooye?

5 Engeri emitwe gy’amaka gye bakoppamu Yesu. Lowooza ku mbeera eno: Ku nkomerero y’olunaku, omutwe gw’amaka akomawo awaka nga mukoowu nnyo. Wadde ng’awulira nti ayagala kusazaamu Okusinza kw’Amaka okw’olunaku olwo, asaba Yakuwa amuwe amaanyi asobole okukukubiriza. Yakuwa addamu okusaba kwe era akubiriza okusinza kw’amaka. Abaana babaako ekintu ekikulu ennyo kye bayiga ku lunaku olwo. Bayiga nti bazadde baabwe batwala ebintu eby’omwoyo nti bikulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna.

6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri Yesu gye yeefiirizaamu okusobola okuyamba abalala.

6 Yesu yawangayo obudde okuyamba abalala. Lowooza ku ngeri Yesu gye yawuliramu bwe yakimanya nti mukwano gwe Yokaana Omubatiza yali atemeddwako omutwe! Kiteekwa okuba nga kyamunakuwaza nnyo. Bayibuli egamba nti: ‘Bwe yawulira ku kufa kwa Yokaana, yava mu kifo ekyo, n’alinnya eryato n’agenda mu kifo awatali bantu abeere eyo yekka.’ (Mat. 14:10-13) Tusobola okulaba ensonga lwaki Yesu yali ayagala okubeerako yekka. Abamu ku ffe bwe tuba mu nnaku, twagala okubeerako ffekka. Naye eri Yesu ekyo tekyasoboka. Abantu bangi batuuka mu kifo gye yali agenda nga tannatuukayo. Kiki Yesu kye yakola? Yalowooza ku mbeera abantu abo gye baalimu, “n’abasaasira.” Yesu yakiraba nti baali beetaaga okuyambibwa n’okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo, era ekyo teyalonzalonza kukikola. Mu butuufu, ‘yatandika okubayigiriza ebintu bingi.’​—Mak. 6:31-34; Luk. 9:10, 11.

7-8. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abakadde gye bakoppamu Yesu bwe wabaawo obwetaavu.

7 Engeri abakadde gye bakoppamu Yesu. Tusiima nnyo emirimu abakadde gye bakola! Mingi ku mirimu gye bakola tegimanyiddwa buli wa luganda na mwannyinaffe mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, bwe wabaawo ow’oluganda oba mwannyinaffe eyeetaaga obuyambi mu by’obujjanjabi, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro bayimukiramu okuyamba mukkiriza munnaabwe oyo. Ebiseera ebimu ekyo kibaawo mu budde obw’ekiro! Naye olw’okuba baba basaasira muganda waabwe oyo oba mwannyinaabwe ali mu buzibu, abakadde abo awamu n’ab’omu maka gaabwe, bakulembeza ebyetaago bye mu kifo ky’okukulembeza ebyabwe.

8 Ate era abakadde beenyigira mu kuzimba Ebizimbe eby’Obwakabaka n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa ekibiina, era beenyigira ne mu kuyamba abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Abakadde era bamala ebiseera bingi nga bayigiriza era nga bazzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi. Tusiima nnyo baganda baffe abo awamu n’ab’omu maka gaabwe. Tusaba Yakuwa yeeyongere okubawa amaanyi. Kyokka nga bwe kiri eri buli omu, tebasaanidde kwemalira ku mirimu gya kibiina ne balemererwa okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe.

ENGERI GY’OYINZA OKUKULAAKULANYAAMU OMWOYO GW’OKWEFIIRIZA

9. Okusinziira ku Abafiripi 2:4, 5, ndowooza ki Abakristaayo bonna gye basaanidde okuba nayo?

9 Soma Abafiripi 2:4, 5. Kya lwatu ffenna tetuli bakadde, naye ffenna tusobola okukoppa Yesu nga tukulaakulanya omwoyo gw’okwefiiriza. Bayibuli egamba nti: ‘Yeefuula ng’omuddu.’ (Baf. 2:7) Ekyo kituyigiriza ki? Omuddu oba omuweereza omulungi afuba okukola ebisanyusa mukama we. Olw’okuba tuli baddu ba Yakuwa era nga tuweereza ne baganda baffe, twagala okweyongera okuba ab’omugaso eri Yakuwa n’eri baganda baffe. Ka tulabe ebisobola okutuyamba.

10. Bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?

10 Weekebere. Oyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ndi mwetegefu okubaako bye nneefiiriza okusobola okuyamba abalala? Ng’ekyokulabirako, bwe nsabibwa okukyalirako ow’oluganda ali mu kifo we balabiririra bannamukadde, oba okutwalako mwannyinaffe akaddiye mu nkuŋŋaana, mba mwetegefu okukikola? Ndi mwetegefu okuyambako bwe wabaawo obwetaavu bw’okulongoosa ekifo awabeera enkuŋŋaana ennene oba Ekizimbe ky’Obwakabaka?’ Yakuwa asanyuka nnyo bwe tuwaayo ebiseera byaffe n’ebintu byaffe okuyamba abalala. Bwe tulaba nga twetaaga okulongoosaamu, kiki kye tusaanidde okukola?

11. Okusaba kuyinza kutuyamba kutya okukulaakulanya omwoyo gw’okwefiiriza?

11 Saba Yakuwa. Watya singa okiraba nti weetaaga okulongoosaamu naye ng’olina obunafu mu kukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Kiki ky’osaanidde okukola? Saba Yakuwa mu bwesimbu akuwe amaanyi ge weetaaga osobole okulongoosaamu. Tegeeza Yakuwa engeri gy’owuliramu era omusabe ‘akwagazise okukola era okole.’​—Baf. 2:13.

12. Ow’oluganda omuvubuka asobola kuyambako atya mu kibiina?

12 Bw’oba ng’oli wa luganda omuvubuka era ng’oli mubatize, saba Yakuwa akuyambe okwagala okumuweereza mu ngeri esingako. Mu nsi ezimu, ebibiina birina abakadde bangi okusinga abaweereza, era bangi ku baweereza abo bakulu mu myaka. Olw’okuba abantu bangi beeyongedde okujja mu kibiina kya Yakuwa, waliwo obwetaavu bw’abavubuka okuyambako abakadde mu kibiina okulabirira abantu ba Yakuwa. Bw’onooba omwetegefu okuweereza wonna awali obwetaavu, ojja kufuna essanyu lingi. Lwaki? Ojja kusanyusa Yakuwa, ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina bajja kukiraba nti oyagala okuyamba abalala, era ojja kufuna essanyu eriva mu kuyamba abalala.

Abakristaayo abaali mu Buyudaaya baddukira mu Pella, emitala w’Omugga Yoludaani. Abo abaasooka okutuukayo nga bagabira Bakristaayo bannaabwe abaakatuuka emmere (Laba akatundu 13)

13-14. Biki bye tusobola okukola okuyamba baganda baffe ne bannyinaffe? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

13 Weetegereze abo abeetaaga obuyambi. Omutume Pawulo yagamba Abebbulaniya nti: “Temwerabiranga kukola birungi n’okugabana n’abalala bye mulina, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.” (Beb. 13:16) Okubuulirira okwo kwali kutuukirawo! Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufuna ebbaluwa eyo okuva eri omutume Pawulo, Abakristaayo mu Buyudaaya baalina okulekawo amaka gaabwe, bizineesi zaabwe, n’ab’eŋŋanda zaabwe, ‘ne baddukira mu nsozi.’ (Mat. 24:16) Awatali kubuusabuusa mu kiseera ekyo baali beetaaga nnyo okuyambagana. Bwe kiba nti baali baatandika dda okukolera ku magezi Pawulo ge yali abawadde ag’okugabana bye baalina ne bannaabwe, kyali kijja kubabeerera kyangu okumanyiira obulamu obupya bwe baali bagenda okubeeramu.

14 Oluusi baganda baffe ne bannyinaffe bayinza obutatubuulira bye beetaaga. Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo ow’oluganda eyafiirwa mukyala we. Kyandiba nti ow’oluganda oyo yeetaaga okumuyambako okumuteekerateekera eky’okulya, okumuyambako mu by’entambula, oba okumuyambako ku mirimu gy’awaka? Ayinza obutatusaba kumuyamba, oboolyawo ng’atya nti ajja kutukaluubiriza. Naye ow’oluganda oyo kiyinza okumusanyusa ennyo bwe tubaako kye tukola okumuyamba wadde nga tasoose kutusaba. Tetusaanidde kulowooza nti omulala ajja kumuyamba, oba nti bw’anaaba yeetaaga obuyambi ajja kutugamba. Weebuuze, ‘Singa nze ndi mu mbeera eyo, buyambi ki bwe nnandyetaaze?’

15. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga twagala okuyamba abalala?

15 Beera muntu atuukirikika. Oyinza okuba ng’omanyiiyo baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina kyo abeetegefu okuyamba abalala. Tebaleetera balala kulowooza nti babakaluubiriza. Tukimanyi nti bwe tuba twetaaga obuyambi, baba beetegefu okutuyamba. Naffe twandyagadde okuba nga bo! Alan alina emyaka 45, era aweereza ng’omukadde, ayagala okuba omuntu atuukirikika. Bw’alowooza ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo, agamba nti: “Yesu yalina eby’okukola bingi, naye abantu abakulu n’abato tebaatyanga kumutuukirira n’okumusaba abayambe. Baakiraba nti Yesu yali abafaako. Njagala kubeera nga Yesu, nga ndi muntu atuukirikika era afaayo ku balala.”

16. Okukolera ku magezi agali mu Zabbuli 119:59, 60, kiyinza kitya okutuyamba okukoppa Yesu?

16 Tetusaanidde kuggwaamu maanyi bwe tulemererwa okukoppa Yesu mu ngeri etuukiridde. (Yak. 3:2) Omuntu ayiga okukuba ebifaananyi tasobola kubikuba bulungi ng’oyo amuyigiriza. Naye bw’ayigira ku nsobi ze, era n’afuba okukoppa oyo amuyigiriza, yeeyongera okukuguka. Naffe bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga mu kwesomesa era ne tufuba okulongoosaamu we kiba kyetaagisa, tujja kusobola okukoppa Yesu.​—Soma Zabbuli 119:59, 60.

EMIGANYULO EGIRI MU KUBA N’OMWOYO OGW’OKWEFIIRIZA

Abakadde bwe booleka omwoyo ogw’okwefiiriza bateerawo ab’oluganda abato ekyokulabirako ekirungi (Laba akatundu 17) *

17-18. Tunaaganyulwa tutya bwe tunaakoppa omwoyo gw’okwefiiriza Yesu gwe yalina?

17 Bwe tuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza n’abalala batukoppa. Ow’oluganda Tim aweereza ng’omukadde, agamba nti: “Tulina ab’oluganda abavubuka abaalondebwa okuweereza ng’abaweereza mu kibiina olw’okuba baakoppa abo abaalina omwoyo ogw’okwefiiriza. Ab’oluganda abo bayamba nnyo abakadde ne bakkiriza bannaabwe.”

18 Tuli mu nsi ejjudde abantu abeefaako bokka. Naye abantu ba Yakuwa ba njawulo. Ekyokulabirako Yesu kye yassaawo eky’okwefiiriza kitukwatako nnyo, era twagala okumukoppa. Tetusobola kukoppa Yesu mu ngeri etuukiridde, naye tusobola ‘okutambulira mu bigere bye.’ (1 Peet. 2:21) Bwe tunaafuba okukoppa omwoyo Yesu gwe yalina ogw’okwefiiriza, kijja kutuleetera essanyu olw’okuba Yakuwa ajja kuba atusiima.

OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe

^ lup. 5 Yesu yakulembezanga eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okumukoppa. Ate era tugenda kulaba engeri okumukoppa gye kiyinza okutuganyulamu.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Dan ng’atunuulira abakadde ababiri abakyalidde taata we mu ddwaliro. Dan akwatibwako olw’okwagala abakadde abo kwe balaze. Kimuleetera okuyamba abalala mu kibiina. Ben, alaba engeri Dan gy’afaayo ku balala, era ekyo kireetera Ben okuyambako mu kulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka.