Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnazuula Ekintu Ekirungi Okusinga Okuba Omusawo

Nnazuula Ekintu Ekirungi Okusinga Okuba Omusawo

“EKINTU kye muŋŋamba mbadde njagala nnyo okulaba nga kituukirira okuviira ddala mu buto bwange!” Ebigambo ebyo nnabigamba abalwadde babiri abaali bazze okujjanjabibwa mu 1971. Nnali nnaakaggulawo eddwaliro lyange nga nnaakatandika okukola ng’omusawo eyeetongodde. Abalwadde abo baali baani, era kiki kye bambuulira kye nnali njagala okulaba nga kituukirira okuviira ddala mu buto? Ka mbabuulire engeri ebyo bye nnanyumya n’abalwadde abo gye byakyusa ebyo bye nkulembeza mu bulamu, era n’ensonga lwaki nnakiraba nti ekintu kye nnali njagala ennyo okuviira ddala mu buto kijja kutuukirira.

Nnazaalibwa mu 1941, mu kibuga Paris, eky’omu Bufalansa, era amaka gaffe tegaali magagga. Bwe nnali wa myaka kkumi, nnalwala obulwadde bw’akafuba; era bwe kityo nnalina okulekera awo okugenda ku ssomero. Abasawo baŋŋamba nti nsigale awaka nga mpumudde olw’okuba amawuggwe gange gaali manafu. N’olwekyo okumala emyezi egiwera, ebiseera byange nnabimalanga nsoma nkuluze era nga mpuliriza ne leediyo eya yunivasite emu mu Paris. Oluvannyuma abasawo bwe baŋŋamba nti nnali mponye era nti nnali nsobola okuddayo ku ssomero, nnasanyuka nnyo. Muli nnagamba nti, ‘Omulimu abasawo gwe bakola mulungi nnyo!’ Okuva olwo nnatandika okwagala ennyo okujjanjaba abantu. Taata bwe yambuuzanga omulimu gwe nnali njagala okukola nga nkuze, nnamugamba nti nnali njagala kuba musawo. Bwe ntyo bwe nnatandika okutwala eby’obujjanjabi okuba nga bye bisinga obukulu mu bulamu bwange.

BYE NNAYIGA MU SSAAYANSI BYANNYAMBA OKWAGALA KATONDA

Awaka twali Bakatuliki, naye nnali simanyi bulungi Katonda era nnalina ebibuuzo bingi gye nnali nneebuuza. Nnamala kutandika kusomerera busawo ku yunivasite ne ndyoka nkakasa nti ddala ebintu byatondebwa.

Nzijukira lwe nnasooka okulaba obutoffaali bw’ekimera ekimu nga nkozesa ekyuma ekizimbulukusa ebintu. Nneewuunya nnyo okulaba engeri akatoffaali gye keekuumamu ng’eriyo ebbugumu lingi, oba obunnyogovu bungi. Ate era nnakiraba nti obutoffaali bwe buteekebwa mu munnyo, obuntu obusirikitu obuli munda waabwo bwemiima, ate bwe buteekebwa mu mazzi ameereere buzimba. Enkola eyo awamu n’endala nnyingi zisobozesa obuntu obulamu obusirikitu okutuukana n’embeera ezikyukakyuka. Bwe nnalaba engeri eyeewuunyisa obutoffaali gye bwakulamu, nnakiraba nti ebintu ebiramu tebyajjawo mu butanwa.

Mu mwaka ogw’okubiri nga nsomerera obusawo, nnalaba obukakafu obulala obulaga nti ddala Katonda gy’ali. Bwe twali tusoma ebikwata ku bitundu by’omubiri gw’omuntu, twekenneenya engeri omukono gye gutusobozesaamu okufunya n’okugolola engalo zaffe. Engeri ebinywa gye byeyunga ku magumba era ne biba nga byonna bikolera wamu yeewuunyisa nnyo. Ng’ekyokulabirako, nnakiraba nti waliwo akantu akalinga akaguwa akayunga ekimu ku binywa ebiri awo omukono gwaffe we gwegattira ku kibatu ku ggumba ery’okubiri ery’engalo. Akaguwa ako keeyawulamu obuguwa bubiri obukola olutindo olusobozesa akaguwa akalala akeekwata ku ngalo okuzireetera okwefunya oba okwegolola. Obuntu buno obulinga obuguwa era bwekutte ku magumba g’engalo. Singa engalo zaffe tezaakolebwa bwe zityo, obuguwa obwo bandibadde bunywevu nnyo nga tebwewetaamu, era ekyo kyandiviiriddeko okuba nti engalo zaffe tezikola bulungi. Ddala nnakiraba nti oyo eyakola omubiri gw’omuntu alina amagezi mangi nnyo.

Nneeyongera okwewuunya engeri Omutonzi waffe gye yatutondamu bwe nnayiga ebikwata ku ngeri omwana gy’atandikamu okussa nga yaakazaalibwa. Omwana bw’aba akyali mu lubuto lwa maama we, omukka gwa oxygen agufuna ku maama we okuyitira mu kirira. N’olwekyo, obuntu obulinga bubbaaluuni obutono obubeera munda mu mawuggwe buba bwevedde, oba buba tebuzimbye. Ekiseera ky’omwana okuzaalibwa bwe kituuka, kungulu ku buntu obwo kujjako engeri y’amazzi. Oluvannyuma omwana bw’azaalibwa n’asika omukka ogusooka, waliwo ebintu ebyewuunyisa ebibaawo. Ekituli ekiba ku mutima gw’omwana kiziba, ekyo ne kiwaliriza omusaayi okugenda mu mawuggwe. Mu kiseera kyo obuntu obulinga bubbaaluuni bujjula omukka, era amazzi agabeera kungulu kwabwo gabuyamba obuteekwata wamu. Mu kaseera ako omwana aba atandise okussa ku lulwe.

Nnawulira nga njagala okumanya Oyo eyatonda ebintu ebyo ebyewuunyisa, era bwe kityo nnatandika okunyiikira okusoma Bayibuli. Nneewuunya nnyo amateeka agakwata ku buyonjo Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri emyaka egisukka mu 3,000 emabega. Katonda yalagira Abayisirayiri okuziikanga empitambi, okunaabanga obutayosa, n’okwawula omuntu yenna eyabanga n’obubonero bw’obulwadde obukwata. (Leev. 13:50; 15:11; Ma. 23:13) Bayibuli yali yayogera dda nnyo ku bintu ebyo, kyokka bannassaayansi baazuula luvannyuma nnyo engeri endwadde gye zikwatamu, emyaka nga 150 emabega. Ate era amateeka agakwata ku by’okwegatta agali mu kitabo ky’Eby’Abaleevi gaayambanga abantu b’omu ggwanga lya Isirayiri okwewala okukwatibwa endwadde. (Leev. 12:1-6; 15:16-24) Nnakiraba nti Omutonzi yawa Abayisirayiri amateeka ago okusobola kubaganyula, era nti abo abaagagonderanga baafuna emikisa. Ate era nnakiraba nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, Katonda gwe nnali simanyi linnya mu kiseera ekyo.

ENGERI GYE NNASISINKANAMU MUKYALA WANGE ERA N’ENGERI GYE NNAZUULAMU YAKUWA

Nga ndi ne Lydie ku lunaku lwe twafumbiriganwa, nga Apuli 3, 1965

Bwe nnali ku yunivasite nga nsomerera obusawo, nnasisinkana omuwala eyali ayitibwa Lydie, era ne mmwagala. Twafumbiriganwa mu 1965 nga nkyasoma. Omwaka gwa 1971 we gwatuukira, nze ne Lydie twalina abaana basatu. Era abaana bonna awamu be twazaala bali mukaaga. Lydie ampagidde nnyo nga nkola omulimu gwange ogw’obusawo era n’awaka.

Nnakola mu ddwaliro eddene okumala emyaka esatu, oluvannyuma ne ntandikawo eddwaliro eryange. Waayita ekiseera kitono omwami n’omukyala, abalwadde be nnayogeddeko ku ntandikwa, ne bajja okujjanjabibwa. Bwe nnali ŋŋenda okuwandiikira omwami eddagala, mukyala we yaŋŋamba nti, “Musawo, tukusaba oleme kutuwandiikira ddagala lirimu musaayi.” Ekyo kyanneewuunyisa nnyo era mmubuuza nti: “Lwaki?” Yanziramu nti: “Tuli Bajulirwa ba Yakuwa.” Nnali siwuliranga ku Bajulirwa ba Yakuwa, era nnali simanyi nnyimirira yaabwe ku musaayi. Omukyala yaggyayo Bayibuli n’andaga ebyawandiikibwa kwe baali basinziira obutakkiriza musaayi. (Bik. 15:28, 29) Oluvannyuma ye n’omwami we bandaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukola. Nnakiraba nti bujja kuggyawo okubonaabona, obulwadde, n’okufa. (Kub. 21:3, 4) Nneewuunya nnyo era ne mbagamba nti: “Ebintu bye muŋŋamba mbadde njagala nnyo okulaba nga bituukirira okuviira ddala mu buto bwange. Nnafuuka omusawo okusobola okuyamba abantu ababonaabona olw’obulwadde.” Ebyo bye baŋŋamba byankwatako nnyo, era twayogera okumala essaawa emu n’ekitundu. Omwami oyo ne mukyala we we baagendera, mu mutima gwange nnali sikyali Mukatuliki. Era nnali njize nti Omutonzi gwe nnali njagala ennyo alina erinnya, ye Yakuwa!

Omwami oyo ne mukyala we baakomawo ku ddwaliro lyange emirundi emirala esatu, era ku buli mulundi twayogeranga okumala essaawa esukka mu emu. Nnabayita bajje awaka tusobole okuba n’ebiseera ebisingawo okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli. Wadde nga Lydie yakkiriza okutwegattako nga tuyiga Bayibuli, yali takkiriza nti ezimu ku njigiriza z’Abakatuliki zaali nkyamu. Bwe kityo nnayita faaza omu ajje awaka. Twakubaganya naye ebirowoozo ku njigiriza z’Abakatuliki okutuukira ddala ekiro mu ttumbi nga tukozesa Bayibuli yokka. Okukubaganya ebirowoozo okwo kwayamba Lydie okukiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa bye baali bayigiriza ge mazima. Okwagala kwaffe eri Yakuwa kweyongera, era ffembi ne tubatizibwa mu 1974.

NKULEMBEZA YAKUWA MU BULAMU BWANGE

Ebyo bye nnayiga ku bintu Katonda by’ateekeddeteekedde abantu byandeetera okukyusa ebintu bye nnali ntwala nti bye bisinga obukulu. Nze ne Lydie, okuweereza Yakuwa kyafuuka ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Twali bamalirivu okukuliza abaana baffe ku mitindo egiri mu Bayibuli. Twayigiriza abaana baffe okwagala Katonda n’abantu. Ekyo kyatuyamba okweyongera okuba obumu mu maka.​—Mat. 22:37-39.

Nze ne Lydie tuwulira essanyu lingi bwe tujjukira engeri abaana baffe gye baakiraba nti twabanga bumu mu bye twabanga tusazeewo. Baali bakimanyi nti ebigambo bya Yesu ebigamba nti “ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda,” twali tubikolerako mu maka gaffe. (Mat. 5:37) Ng’ekyokulabirako, lumu Lydie bwe yagaana omu ku bawala baffe eyali ow’emyaka 17 okugenda okutambulako n’abavubuka abalala, omu ku bavubuka banne yamugamba nti, “Maama wo bw’aba akugaanyi, saba taata wo!” Muwala waffe yamuddamu nti: “Nja kuba nteganira bwereere. Bazadde baffe bakkiriziganya mu buli kimu.” Abaana baffe baakiraba nti twali bumu mu kukolera ku misingi gya Bayibuli. Tuli basanyufu okuba nti abaana baffe awamu n’ab’omu maka gaabwe bangi baweereza Yakuwa.

Wadde ng’amazima gaali gannyambye okukyusa mu ebyo bye nnali ntwala nti bye bisinga obukulu, nnawulira nga njagala okukozesa ebyo bye nnayiga mu busawo okuyamba abantu ba Katonda. N’olwekyo nnasalawo okuweereza nga nnakyewa ku Beseri mu Paris, n’oluvannyuma bwe yasengulwa okudda mu kibuga Louviers, nga nkola ogw’okujjanjaba. Kati mmaze emyaka nga 50 nga nva awaka ne ŋŋenda ku Beseri okukola. Mu myaka gino nfunye emikwano mingi ku Beseri, era nga kati abamu baweza emyaka 90 n’okusingawo. Lumu waliwo ekintu ekyansanyusa bwe nnasisinkana Omubeseri omu eyali omupya. Nnakitegeera nti bwe yali azaalibwa emyaka 20 emabega, nze nnazaalisa maama we!

NDABYE ENGERI YAKUWA GY’AFAAYO KU BANTU BE

Emyaka bwe gizze giyitawo, okwagala kwe nnina eri Yakuwa kweyongedde bwe ndabye engeri gy’awaamu abantu be obulagirizi n’engeri gy’abakuumamu ng’akozesa ekibiina kye. Mu myaka gya 1980, Akakiiko Akafuzi kaakola entegeka mu Amerika okuyamba abasawo okumanya ennyimirira y’Abajulirwa ba Yakuwa ku musaayi.

Mu 1988, Akakiiko Akafuzi kassaawo ekitongole ekikola ku by’obujjanjabi. Mu kusooka ekitongole kino kyali kirabirira Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro (HLC) akaateekebwawo mu Amerika okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa abalwadde okufuna obujjanjabi obulungi. Enteekateeka eno bwe yatandika ne mu nsi endala, Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro kaatandikibwawo ne mu Bufalansa. Nkwatibwako nnyo bwe ndaba engeri ekibiina kya Yakuwa gye kiyambamu baganda baffe ne bannyinaffe abalwadde!

EKINTU KYE NNALI NJAGALA ENNYO KITUUKIRIRA

Tukyeyongera okubuulira abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda

Okuba omusawo kye kintu kye nnali nsinga okwagala. Naye bwe nnafumiitiriza ku bintu bye nnina okukulembeza, nnakiraba nti okuwonya abantu mu by’omwoyo kwe kusinga obukulu, kwe kugamba, okubayamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, Ensibuko y’obulamu. Bwe nnawummula omulimu gwange, nze ne Lydie twatandika okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo, nga tumala essaawa nnyingi nga tubuulira abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Na kati tukyakola kyonna kye tusobola okwenyigira mu mulimu guno oguwonyaawo obulamu.

Nga ndi ne Lydie, mu 2021

Na kati nkyafuba okujjanjaba abalwadde. Naye nkimanyi nti n’omusawo asingayo obulungi tayinza kuwonya ndwadde zonna oba okuggyawo okufa. N’olwekyo nneesunga ekiseera obulumi, obulwadde, n’okufa, lwe biriba nga tebikyaliwo. Mu kiseera ekyo ekinaatera okutuuka, nja kubeerawo emirembe gyonna njige ebintu bingi ebikwata ku bintu Katonda bye yatonda nga mw’otwalidde n’omubiri gw’omuntu ogwakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa. Mu butuufu, ekintu kye nnali njagala ennyo okuviira ddala mu buto kijja kutuukirira mu bujjuvu. Ndi mukakafu nti ebintu ebirungi bingi bitulindiridde mu biseera eby’omu maaso!