Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 13

Okusinza okw’Amazima Kujja Kukuyamba Okweyongera Okuba Omusanyufu

Okusinza okw’Amazima Kujja Kukuyamba Okweyongera Okuba Omusanyufu

“Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo.”​—KUB. 4:11.

OLUYIMBA 31 Tambulanga ne Katonda!

OMULAMWA *

1-2. Kiki kye tulina okukola, okusinza kwaffe okuba nga kusiimibwa mu maaso ga Katonda?

 BW’OWULIRA ekigambo “okusinza,” kiki ekikujjira mu birowoozo? Oboolyawo okuba akafaananyi ng’olaba ow’oluganda afukamidde okumpi n’ekitanda kye ng’asaba Yakuwa. Oba oyinza okuba ng’olowooza ku b’omu maka abatudde awamu nga beesomesa Ekigambo kya Katonda.

2 Mu mbeera ezo zombi, abo abakola ebintu ebyo baba basinza Yakuwa. Yakuwa akkiriza okusinza okwo? Akukkiriza singa abo abakwenyigiramu baba bakola by’ayagala, nga bamwagala, era nga bamuwa ekitiibwa. Twagala nnyo Yakuwa. Tukimanyi nti y’agwanidde okusinzibwa, era tusobola okumusinza mu ngeri esingayo obulungi.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba okusinza Yakuwa kwe yali asiima mu biseera eby’edda, era tugenda kulaba ebintu munaana ebizingirwa mu kusinza Katonda kw’asiima leero. Nga twetegereza ebintu ebyo, tusaanidde okulowooza ku ngeri ffe kinnoomu gye tuyinza okulongoosa ku ngeri gye tusinzaamu Yakuwa. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki okusinza okw’amazima kutuleetera essanyu.

OKUSINZA KATONDA KWE YALI ASIIMA MU BISEERA EBY’EDDA

4. Abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika baakiraga batya nti baali bawa Yakuwa ekitiibwa era nti bamwagala?

4 Mu biseera eby’edda ng’Obukristaayo tebunnatandika, abasajja abeesigwa, gamba nga Abbeeri, Nuuwa, Ibulayimu, ne Yobu baakiraga nti baali baagala Yakuwa era nga bamussaamu ekitiibwa. Ekyo baakikolanga batya? Baagonderanga Katonda, baali bamukkiririzaamu, era baawangayo ssaddaaka gy’ali. Bayibuli tetubuulira buli kimu kye baakolanga nga bamusinza. Naye baakola kyonna kye basobola okuwa Yakuwa ekitiibwa, era okusinza kwabwe kwali kukkirizibwa gy’ali. Oluvannyuma Yakuwa yawa bazzukulu ba Ibulayimu amateeka ge baalina okugoberera. Amateeka ago gaalimu obulagirizi obwali bukwata ku ngeri gye baalina okumusinzaamu mu ngeri gy’asiima.

5. Nkyukakyuka ki eyajjawo mu kusinza okw’amazima oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira?

5 Oluvannyuma lwa Yesu okufa n’okuzuukira, Yakuwa yali takyetaagisa baweereza be kugoberera mateeka ge yawa Abayisirayiri okuyitira mu Musa. (Bar. 10:4) Abakristaayo baalina okugoberera etteeka eppya, nga lino lye ‘tteeka lya Kristo.’ (Bag. 6:2) Okusobola okugondera “etteeka” eryo, kyali tekibeetaagisa kulikwata bukusu oba okugoberera olukalala lw’ebintu bye baalina okukola ne bye bataalina kukola. Wabula baalina okukoppa Yesu, era n’okukolera ku ebyo bye yayigiriza. Ne leero, Abakristaayo bakola kyonna kye basobola okukoppa Yesu okusobola okusanyusa Katonda, ‘n’okufuna ekiwummulo.’​—Mat. 11:29.

6. Kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu kitundu kino?

6 Nga twekenneenya buli kimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza kwaffe, weebuuze, ‘Nkola ntya mu nsonga eno?’ Ate era weebuuze, ‘Nsobola okulongoosaamu?’ Oyinza okuba ng’owulira nti okola bulungi mu buli kimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza kwaffe. Naye saba Yakuwa akuyambe okulaba we weetaaga okulongoosaamu.

BIKI EBIZINGIRWA MU KUSINZA KWAFFE?

7. Yakuwa atwala atya essaala ze tumusaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe?

7 Bwe tusaba Yakuwa tuba tumusinza. Ebyawandiikibwa bigeraageranya essaala zaffe ku bubaani obwabanga buteekeddwateekeddwa obulungi, obwaweebwangayo ku weema entukuvu n’oluvannyuma ku yeekaalu. (Zab. 141:2) Obubaani obwo bwavangamu akawoowo akalungi akaasanyusanga Yakuwa. Mu ngeri y’emu, essaala zaffe “zimusanyusa,” bwe tuba nga tumusabye okuviira ddala ku mutima, ne bwe tuba nga tukozesezza ebigambo ebyangu oba ebya bulijjo. (Nge. 15:8; Ma. 33:10) Tetulina kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa asanyuka bw’awulira bye twogera mu kusaba ebiraga nti tumwagala era nti tusiima ebyo by’atukolera. Ayagala tumutegeeze ebitweraliikiriza, bye tulowooza, ne bye twagala. Buli lw’oba ogenda okusaba Yakuwa, kiba kirungi n’osooka okufumiitiriza ku ebyo by’oba ogenda okwogerako. Bw’okola bw’otyo, oba owaayo eri Kitaawo ow’omu ggulu “obubaani” obusingayo obulungi.

8. Ebimu ku ebyo bye tukola okutendereza Yakuwa bye biruwa?

8 Bwe tutendereza Yakuwa tuba tumusinza. (Zab. 34:1) Bwe tubuulirako abalala ku ngeri za Yakuwa n’ebyo by’akola, tuba tumutendereza. Bwe tuba nga tusiima ebyo Yakuwa by’akola, tuba n’ebirungi bingi ebimukwatako bye tusobola okwogerako. Bwe tulowooza ku bintu byonna ebirungi Yakuwa by’atukoledde, tuba n’ensonga nnyingi kwe tusinziira okumutendereza. Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuba n’akakisa ‘okuwaayo eri Katonda ssaddaaka ey’okutendereza, kwe kugamba, ekibala eky’emimwa.’ (Beb. 13:15) Nga bwe tusaanidde okusooka okulowooza ku ebyo bye tuba tugenda okwogerako mu kusaba, era tusaanidde n’okulowooza ku ebyo bye tuba tugenda okwogerako nga tubuulira. Twagala okuwaayo “ssaddaaka ey’okutendereza” esingayo obulungi. Eyo ye nsonga lwaki bwe tuba tubuulira abalala amazima agali mu Kigambo kya Katonda twogera n’ebbugumu.

9. Okufaananako Abayisirayiri ab’edda, tuganyulwa tutya bwe tubaawo mu nkuŋŋaana? Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gy’oganyuddwa mu kubangawo mu nkuŋŋaana.

9 Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana tuba tusinza Yakuwa. Abayisirayiri ab’edda baagambibwa nti: “Emirundi esatu mu mwaka buli musajja anaalabikanga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu kifo ky’aneeroboza.” (Ma. 16:16) Baalinanga okuleka amaka gaabwe n’ebirime byabwe nga tewali abikuuma. Naye Yakuwa yabasuubiza nti: “Tewali n’omu ajja kwegomba nsi yo ng’ogenze okulabika mu maaso ga Yakuwa Katonda.” (Kuv. 34:24) Olw’okuba Abayisirayiri baabanga beesiga Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna, baagendanga ku mbaga ezo buli mwaka. Ekyo kyabaviirangamu emikisa mingi; beeyongeranga okutegeera amateeka ga Katonda, baafumiitirizanga ku bulungi bwe, era okubeerangako awamu ne bakkiriza bannaabwe kyabasobozesanga okuzziŋŋanamu amaanyi. (Ma. 16:15) Naffe tuganyulwa bwe tubaako bye twefiiriza okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana. Ate era Yakuwa asanyuka nnyo bwe tujja nga tweteeseteese okubaako bye tuddamu mu bumpimpi, era mu ngeri etegeerekeka obulungi.

10. Lwaki okuyimba kukulu nnyo mu kusinza kwaffe?

10 Bwe tuyimbira awamu ne bakkiriza bannaffe tuba tusinza Yakuwa. (Zab. 28:7) Abayisirayiri baatwalanga okuyimba nga kikulu nnyo mu kusinza kwabwe. Kabaka Dawudi yalonda Abaleevi 288 okuyimbanga ku yeekaalu. (1 Byom. 25:1, 6-8) Leero tukiraga nti twagala Yakuwa nga tuyimba ennyimba ezimutendereza. Engeri eddoboozi lyaffe gye liwulikikamu si kye kikulu. Lowooza ku kino: Bwe tuba twogera, “emirundi mingi ffenna tusobya,” naye ekyo tekitulemesa kubaako bye twogera mu nkuŋŋaana oba nga tukola omulimu gw’okubuulira. (Yak. 3:2) Mu ngeri y’emu, tetusaanidde kulekayo kuyimba nnyimba zitendereza Yakuwa, olw’okuba tulowooza nti tetuyimba bulungi.

11. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 48:13, lwaki kikulu okussaawo ekiseera okuyiga ebikwata ku Yakuwa ng’amaka?

11 Bwe twesomesa Bayibuli era ne tuyigiriza abaana baffe ebikwata ku Yakuwa tuba tumusinza. Olunaku lwa Ssabbiiti lwasobozesanga Abayisirayiri okuwummula ne bassa ebirowoozo byabwe ku nkolagana yaabwe ne Yakuwa. (Kuv. 31:16, 17) Abo abaali abeesigwa baayigirizanga abaana baabwe ku bikwata ku Yakuwa ne ku bulungi bwe. Naffe tusaanidde okussaawo ekiseera eky’okwesomesa Ekigambo kya Katonda. Ekyo kye kimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza kwaffe, era kituyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Zab. 73:28) Ate era bwe twesomesa nga tuli wamu ng’amaka, tuyamba abaana baffe okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu.​—Soma Zabbuli 48:13.

12. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yatwalamu omulimu ogwakolebwa abo abaakola ebintu by’omu weema entukuvu?

12 Bwe twenyigira mu kuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe bye tusinzizaamu, tuba tusinza Yakuwa. Bayibuli egamba nti omulimu gw’okukola weema n’ebintu byamu gwali ‘mulimu mutukuvu.’ (Kuv. 36:1, 4) Ne leero, omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka awamu n’ebizimbe ebirala eby’ekibiina, Yakuwa agutwala nga mulimu mutukuvu. Baganda baffe ne bannyinaffe abamu bamala ebiseera bingi nga beenyigira mu mulimu ogwo. Mazima ddala tusiima nnyo ebyo byonna bye bakola mu mulimu ogwo. Kya lwatu nti beenyigira ne mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Abamu ku bo baagala n’okuweereza nga bapayoniya. Abakadde basobola okukiraga nti bawagira omulimu gw’okuzimba nga bakkiriza baganda baffe ne bannyinaffe abo abakola ennyo, okuweereza nga bapayoniya bwe baba nga batuukiriza ebisaanyizo. Ka tube nga tulina obumanyirivu mu kuzimba oba nedda, ffenna tusobola okwenyigira mu kukuuma ebizimbe ebyo nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi.

13. Tusaanidde kutwala tutya ebyo bye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka?

13 Bwe tubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka tuba tusinza Yakuwa. Abayisirayiri tebaalinanga kugenda mu maaso ga Yakuwa ngalo nsa. (Ma. 16:16) Baalinanga okubaako kye bawaayo okusinziira ku busobozi bwabwe. Mu ngeri eyo, baakiraganga nti baabanga basiimye enteekateeka zonna ezaabanga zikoleddwa okubaganyula mu by’omwoyo. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Yakuwa era nti tusiima enteekateeka zonna ez’eby’omwoyo z’atukolera? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kuwaayo ssente okuwagira emirimu egikolebwa mu kibiina kyaffe n’okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, okusinziira ku busobozi bwaffe. Omutume Pawulo yagamba nti: “Singa omuntu aba mwetegefu okubaako ky’awaayo, kikkirizibwa okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.” (2 Kol. 8:4, 12) Yakuwa asiima nnyo ekyo kye tuwaayo okuva ku ntobo y’omutima gwaffe, ka kibe kitono kitya.​—Mak. 12:42-44; 2 Kol. 9:7.

14. Okusinziira ku Engero 19:17, Yakuwa atwala atya obuyambi bwe tuwa bakkiriza bannaffe abali mu bwetaavu?

14 Bwe tuyamba bakkiriza bannaffe abali mu bwetaavu tuba tusinza Yakuwa. Yakuwa yasuubiza okuwa emikisa Abayisirayiri abandibaddeko bye bagabira bannaabwe abaavu. (Ma. 15:7, 10) Buli lwe tuyamba mukkiriza munnaffe ali mu bwetaavu, Yakuwa akitwala ng’ekirabo kye tuba tuwadde ye. (Soma Engero 19:17.) Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo mu kibiina ky’e Firipi bwe baaweereza Pawulo eyali mu kkomera ekirabo, ekirabo ekyo Pawulo yakiyita “ssaddaaka ekkirizibwa era esanyusa Katonda.” (Baf. 4:18) Lowooza ku b’oluganda abali mu kibiina kyo era weebuuze nti, ‘Waliwo gwe nnyinza okuyamba?’ Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, obukugu bwe tulina, n’ebintu byaffe okuyamba abo abali mu bwetaavu. Ekyo akitwala ng’ekitundu ky’okusinza kwaffe.​—Yak. 1:27.

OKUSINZA OKW’AMAZIMA KUTULEETERA ESSANYU

15. Wadde ng’okusinza okw’amazima kwetaagisa ebiseera n’okufuba, lwaki si mugugu gye tuli?

15 Okusinza okw’amazima kwetaagisa ebiseera n’okufuba. Naye si mugugu gye tuli. (1 Yok. 5:3) Lwaki? Kubanga tusinza Yakuwa olw’okuba tumwagala. Lowooza ku mwana omuto ayagala okubaako ekirabo ky’awa taata we. Ayinza okumala essaawa eziwera ng’akubira taata we ekifaananyi. Omwana oyo teyejjusa ssaawa z’amaze ng’akuba ekifaananyi ekyo. Ayagala nnyo kitaawe, era musanyufu okumuwa ekirabo ekyo. Mu ngeri y’emu, naffe olw’okuba twagala nnyo Yakuwa, kitusanyusa okuwaayo ebiseera era n’okukola kyonna kye tusobola okwenyigira mu kusinza okw’amazima.

16. Okusinziira ku Abebbulaniya 6:10, Yakuwa atwala atya ebyo buli omu ku ffe by’akola okumuweereza?

16 Abazadde abaagala abaana baabwe, tebasuubira buli omu ku baana abo kubawa kirabo kye kimu. Bakimanyi nti buli omu ku baana abo wa njawulo era n’obusobozi bwe bwa njawulo. Mu ngeri y’emu, Kitaffe ow’omu ggulu amanyi obusobozi bwaffe kinnoomu. Oyinza okuba ng’olina bingi by’osobola okukola okusinga abalala. Oba oyinza okuba nga tosobola kukola bingi ng’abalala, oboolyawo olw’emyaka gyo, olw’obulamu bwo, n’olw’obuvunaanyizibwa bw’olina mu maka. Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi. (Bag. 6:4) Yakuwa tasobola kwerabira mulimu gwo. Bw’omuwa ekisingayo obulungi era ng’olina ekiruubirirwa ekirungi, ekyo ky’omuwa akisiima. (Soma Abebbulaniya 6:10.) Yakuwa alaba ebiruubirirwa by’omutima gwo. Ayagala ofune essanyu mu ebyo by’osobola okumukolera.

17. (a) Bwe kiba nti ozibuwalirwa okwenyigira mu bimu ku bintu ebizingirwa mu kusinza kwaffe, kiki ky’osaanidde okukola? (b) Ekimu ku bintu ebizingirwa mu kusinza kwaffe ebiragiddwa mu kasanduuko, “ Weeyongere Okufuna Essanyu,” kikuyambye kitya?

17 Kiki kye tusaanidde okukola singa tukaluubirirwa okwenyigira mu bimu ku ebyo ebizingirwa mu kusinza kwaffe, gamba ng’okwesomesa Bayibuli oba okubuulira? Bwe tufuba okwenyigira mu bintu ebyo enfunda n’enfunda, tuyinza okutandika okubinyumirwa era ne tubiganyulwamu. Okusinza kwaffe tuyinza okukugeraageranya ku kukola ebintu ebimu, gamba ng’okubaako ekika kya dduyiro ekimu kye tuyiga, oba okubaako ekivuga ekimu kye tuyiga okukuba. Ebintu ebyo bwe tuba tubikola lumu na lumu, tuyinza obutabiyiga. Naye kiki ekibaawo singa tusalawo okubikola buli lunaku? Tuyinza okutandika nga tubikola okumala akaseera katono, oluvannyuma ne tugenda nga twongeramu obudde bwe tumala nga tubikola. Bwe tulaba ebirungi ebiva mu kufuba kwaffe, tuyinza okutandika okwesunga okukola ebintu ebyo era n’okubinyumirwa. Bwe kityo bwe kiri ne ku bintu ebizingirwa mu kusinza kwaffe.

18. Kintu ki ekisinga obukulu kye tusobola okukola, era tuganyulwa tutya bwe tukikola?

18 Okukola kyonna kye tusobola okusinza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu mu bulamu. Kifuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu, era tuba n’essuubi ery’okusinza Yakuwa emirembe gyonna. (Nge. 10:22) Olw’okuba tusinza Yakuwa, tulina emirembe mu mutima kubanga tukimanyi nti Yakuwa ayamba abo abamusinza bwe baba nga bafunye ebizibu. (Is. 41:9, 10) Mazima ddala tulina ensonga nnyingi kwe tusinziira okuba abasanyufu nga tusinza Kitaffe atwagala, oyo agwanidde “okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo.”​—Kub. 4:11.

OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

^ Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna, y’alina okusinzibwa. Ebyo bye tukola nga tumusinza abikkiriza bwe tuba nga tugondera amateeka ge, era nga tutambulira ku mitindo gye. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu munaana ebizingirwa mu kusinza kwaffe. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okulongoosa mu ngeri gye tukolamu ebintu ebyo, era n’engeri gye biyinza okutuyamba okuba abasanyufu.