Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki 2 Samwiri 21:7-9 wagamba nti Dawudi “yasaasira Mefibosesi” kyokka oluvannyuma n’awaayo Mefibosesi attibwe?

Abamu abasoma ennyiriri ezo nga tebeetegerezza bayinza okwebuuza ekibuuzo ekyo. Naye mu nnyiriri ezo, abasajja babiri nga bombi bayitibwa Mefibosesi be boogerwako, era waliwo kye tusobola okuyiga mu ebyo ebyaliwo.

Kabaka Sawulo owa Isirayiri yalina abaana abalenzi musanvu n’abawala babiri. Yonasaani ye yali mutabani wa Sawulo omukulu. Oluvannyuma Kabaka Sawulo yazaala omwana omulala ow’obulenzi mu muzaana we eyali ayitibwa Lizupa, n’amutuuma Mefibosesi. Yonasaani naye yalina omwana ow’obulenzi eyali ayitibwa Mefibosesi. N’olwekyo, Kabaka Sawulo yalina omwana eyali ayitibwa Mefibosesi era n’omuzzukulu eyali ayitibwa Mefibosesi.

Ekiseera kyatuuka Kabaka Sawulo ne yeefuulira Abagibiyoni abaali babeera mu Bayisirayiri era n’agezaako okubasaanyaawo, era kirabika bangi ku bo battibwa. Awatali kubuusabuusa, ekyo kyali kikyamu. Lwaki? Kubanga mu biseera bya Yoswa, Abayisirayiri baakola endagaano ey’emirembe n’Abagibiyoni.​—Yos. 9:3-27.

Endagaano eyo yali ekyakola ne mu biseera bya Kabaka Sawulo. Kyokka Sawulo teyakuuma ndagaano eyo n’agezaako okusaanyaawo Abagibiyoni. Ekyo kyaviirako ‘Sawulo n’ab’omu nnyumba ye okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.’ (2 Sam. 21:1) Oluvannyuma, Dawudi yafuuka kabaka wa Isirayiri. Abagibiyoni abaawonawo baabuulira Dawudi ku kintu ekyo ekibi ennyo ekyabakolebwako. Dawudi yabuuza Abagibiyoni engeri ekibi Sawulo kye yakola gye kyali kiyinza okutangirirwa, Yakuwa asobole okuddamu okuwa ensi ya Isirayiri emikisa. Mu kifo ky’okusaba ssente, Abagibiyoni baasaba baweebwe abaana ab’obulenzi musanvu ab’omusajja ‘eyakola olukwe okubasaanyaawo,’ babatte. (Kubal. 35:30, 31) Dawudi yakkiriza ekyo kye baasaba.​—2 Sam. 21:2-6.

Mu kiseera ekyo, Sawulo ne Yonasaani baali baafiira mu lutalo. Naye Mefibosesi mutabani wa Yonasaani yali akyaliwo. Mefibosesi yali yalemala olw’akabenje ke yafuna mu buto era teyeegatta ku jjajja we okusaanyaawo Abagibiyoni. Dawudi yali yakola endagaano ey’omukwano ne Yonasaani era endagaano eyo yali ya kuganyula abaana ba Yonasaani nga mw’otwalidde ne Mefibosesi mutabani wa Yonasaani. (1 Sam. 18:1; 20:42) Bayibuli egamba nti: “Kabaka [Dawudi] yasaasira Mefibosesi mutabani wa Yonasaani omwana wa Sawulo, olw’ekirayiro Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo kye baakola mu maaso ga Yakuwa.”​—2 Sam. 21:7.

Wadde kyali kityo, Dawudi yakkiriza ekyo Abagibiyoni kye baamusaba. Yawaayo gye bali batabani ba Sawulo babiri, ng’omu ku bo yali ayitibwa Mefibosesi, ate era n’awaayo ne bazzukulu ba Sawulo bataano. (2 Sam. 21:8, 9) Ekyo Dawudi kye yakola kyayamba ensi ya Isirayiri okuvaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.

Waliwo kye tuyiga mu ebyo ebyaliwo. Yakuwa yali yawa Abayisirayiri etteeka erigamba nti: “Abaana tebattibwenga olw’ekyo bakitaabwe kye banaabanga bakoze.” (Ma. 24:16) Yakuwa teyandikkirizza ekyo ekyakolebwa ku batabani ba Sawulo ababiri ne bazzukulu be abataano singa tebaaliko musango. Ate era etteeka eryo lyali ligamba nti: “Buli omu anattibwanga lwa kibi kye.” Kirabika ab’omu nnyumba ya Sawulo omusanvu abattibwa beegatta ku Sawulo mu kugezaako okusaanyaawo Abagibiyoni. N’ekyavaamu, abo omusanvu baasasulira ekibi kyabwe.

Ebyo ebyaliwo biraga nti omuntu bw’akola ekibi tayinza kwekwasa nti taliiko musango olw’okuba akoze kye bamulagidde. Bayibuli egamba nti: “Tereeza ebigere byo we biyita, olwo amakubo go gonna gajja kuba matebenkevu.”​—Nge. 4:24-27; Bef. 5:15.