Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gy’Oyinza Okwaŋŋangamu Ebikweraliikiriza

Engeri gy’Oyinza Okwaŋŋangamu Ebikweraliikiriza

OKWERALIIKIRIRA kuyinza okugeraageranyizibwa ku mugugu omuzito oguteekeddwa ku kifuba kyo. (Nge. 12:25) Wali obaddeko n’ebikweraliikiriza mu bulamu bwo? Wali owuliddeko nti tokyayinza kubigumiikiriza? Bwe kiba bwe kityo toli wekka. Abamu ku ffe tuyinza okuba nga tulina be tulabirira, twali tufiiriddwako omuntu waffe, twali tukoseddwako akatyabaga, oba embeera yonna endala etuleetera okweraliikirira. Naye kiki ekiyinza okutuyamba okusobola okwaŋŋanga ebitweraliikiriza? *

Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku Kabaka Dawudi bwe kituuka ku kwaŋŋanga ebitweraliikiriza. Yayita mu bizibu bingi mu bulamu, era emirundi egimu obulamu bwe bwabanga mu kabi. (1 Sam. 17:34, 35; 18:10, 11) Kiki ekyayamba Dawudi okugumira ebizibu ebyo? Tuyinza tutya okumukoppa?

EBYAYAMBA DAWUDI OKWAŊŊANGA EBYALI BIMWERALIIKIRIZA

Dawudi yayolekagana n’ebizibu bingi mu kiseera kye kimu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kyamutuukako bwe yali adduka Kabaka Sawulo eyali ayagala okumutta. Lumu Dawudi n’abasajja be bwe baakomawo okuva mu lutalo, baasanga amayumba gaabwe bagookezza, batutte ebintu byabwe, era nga bawambye n’ab’omu maka gaabwe. Kiki Dawudi kye yakola mu mbeera eyo? Bayibuli egamba nti: ‘Dawudi n’abasajja abaali naye baatema emiranga, okutuusa lwe baggweeramu ddala amaanyi agakaaba.’ Okugatta ku ekyo, abasajja Dawudi be yali nabo “baali bagamba nti bagenda kumukuba amayinja.” (1 Sam. 30:1-6) Kati Dawudi yali ayolekaganye n’ebizibu eby’amaanyi bya mirundi esatu mu kiseera kye kimu: Obulamu bw’ab’omu maka ge bwali buli mu kabi, yali atya nti basajja be baali bayinza okumukuba amayinja, ne Kabaka Sawulo yali amunoonya okumutta. Teeberezaamu engeri Dawudi gye yali awuliramu!

Kiki Dawudi kye yakola mu mbeera eyo? Amangu ddala “yafuna amaanyi olw’obuyambi bwa Yakuwa Katonda we.” Ekyo Dawudi yakikola atya? Yali mpisa ya Dawudi okusaba Yakuwa ng’afunye ebizibu era n’okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamuyambamu mu biseera eby’emabega. (1 Sam. 17:37; Zab. 18:2, 6) Dawudi yalaba nti kyali kyetaagisa okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa, era bw’atyo ne yeebuuza ku Yakuwa asobole okumanya eky’okukola. Dawudi bwe yamala okufuna obulagirizi bwa Yakuwa, amangu ddala yabukolerako. N’ekyavaamu, Yakuwa yawa Dawudi n’abasajja be emikisa ne basobola okununula ab’omu maka gaabwe n’ebintu byabwe. (1 Sam. 30:7-9, 18, 19) Weetegereza ebintu ebisatu Dawudi bye yakola? Yasaba Yakuwa amuyambe, yafumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yali amukoledde emabega, ate era yakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. Tuyinza tutya okukoppa Dawudi? Ka tulabeyo ebintu bisatu bye tuyinza okumukoppako.

KOPPA DAWUDI NG’OLINA EBIKWERALIIKIRIZA

1. Saba. Buli lw’owulira ng’olina ebikweraliikiriza, osobola okusaba Yakuwa akuyambe era akuwe amagezi. Bwe tumweyabiza ne tumubuulira byonna ebitweraliikiriza, tusobola okufuna obuweerero. Oba tusobola okusaba essaala ennyimpimpi mu kasirise, bwe kiba nti embeera gye tulimu ekyo ky’etusobozesa okukola. Buli lwe tusaba Yakuwa okutuyamba, tuba tulaga nti tumwesiga, nga Dawudi bwe yagamba nti: “Yakuwa lwe lwazi lwange era kye kigo kyange; y’annunula. Katonda wange lwe lwazi lwange mwe nzirukira.” (Zab. 18:2) Ddala okusaba kuyinza okukuyamba? Mwannyinaffe ayitibwa Kahlia aweereza nga payoniya agamba nti: “Oluvannyuma lw’okusaba mpulira emirembe. Okusaba kunnyamba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, era n’okweyongera okumwesiga.” Mazima ddala, okusaba kirabo Yakuwa kye yatuwa ekituyamba okwaŋŋanga ebitweraliikiriza.

2. Fumiitiriza. Bw’olowooza ku by’oyiseemu mu bulamu bwo, waliwo ekizibu kyonna ky’olaba nti tewandisobodde ku kiyitamu singa Yakuwa teyakuyamba? Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze atuyambamu n’engeri gye yayambamu abaweereza be mu biseera ebyayita, tuddamu amaanyi era tweyongera okumwesiga. (Zab. 18:17-19) Joshua aweereza ng’omukadde agamba nti: “Nnina olukalala lw’ebintu bye nnasaba Yakuwa n’anziramu. Ekyo kinnyamba okujjukira lwe nnasaba Yakuwa ekintu ekimu n’ankolera ddala ekyo kyennyini kye nnamusaba.” Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’azze atuyambamu, kituyamba okugumira ebitweraliikiriza.

3. Baako ky’okolawo. Bwe tuba nga tetunnaba kusalawo kya kukola mu mbeera emu, tusobola okusooka okunoonya obulagirizi okuva mu Kigambo kya Katonda. (Zab. 19:7, 11) Bangi bakizudde nti bwe banoonyereza ku kyawandiikibwa ekimu, basobola okulaba engeri gye kibakwatako mu bulamu bwabwe. Jarrod aweereza ng’omukadde agamba nti: “Okunoonyereza kunnyamba okutegeera amakulu g’ekyawandiikibwa era n’okumanya Yakuwa ky’ayagala nkole. Ekyo kinnyamba okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa.” Bwe tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa okuva mu Byawandiikibwa era ne tukolera ku bulagirizi obwo, kituyamba okwaŋŋanga ebitweraliikiriza.

YAKUWA AJJA KUKUYAMBA

Dawudi yakimanya nti yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa, okusobola okwaŋŋanga ebyali bimweraliikiriza. Yasiima nnyo obuyambi Yakuwa bwe yamuwa era ekyo kyamuleetera okugamba nti: “Olw’amaanyi ga Katonda nsobola okulinnya bbugwe. Katonda ow’amazima y’ampa amaanyi.” (Zab. 18:29, 32) Tuyinza okuwulira nti ebizibu byaffe bya maanyi nnyo nga biringa bbugwe omuwanvu. Naye Yakuwa asobola okutuyamba okwaŋŋanga ekizibu kyonna ka kibe kya maanyi kitya! Bwe tusaba Yakuwa atuyambe, ne tufumiitiriza ku ebyo byonna by’atukoledde, era ne tukolera ku bulagirizi bwe, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuwa amaanyi n’amagezi tusobole okwaŋŋanga byonna ebitweraliikiriza!

^ Abantu abamu abeeraliikirira ennyo kiyinza okubeetaagisa okulaba omusawo.