Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18

Engeri y’Okweteerawo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo n’Okubituukako

Engeri y’Okweteerawo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo n’Okubituukako

“Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”​—1 TIM. 4:15.

OLUYIMBA 84 Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako

OMULAMWA *

1. Biruubirirwa ki eby’omwoyo bye tuyinza okweteerawo?

 TWAGALA nnyo Yakuwa, era twagala okumuwa ekisingayo obulungi mu buweereza bwaffe. Kyokka bwe tuba ab’okuweereza Yakuwa mu bujjuvu, twetaaga okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, gamba ng’okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo, okubaako ebintu bye tuyiga okukola, era n’okunoonya engeri gye tuyinza okuweerezaamu abalala. *

2. Lwaki tusaanidde okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne tufuba okubituukako?

2 Lwaki tusaanidde okwagala ennyo okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo? Okusingira ddala, twagala okusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. Yakuwa kimusanyusa nnyo okulaba nga tukozesa obusobozi bwaffe mu bujjuvu okumuweereza. Ate era twagala okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo tusobole okuyamba bakkiriza bannaffe. (1 Bas. 4:9, 10) Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, ffenna tusobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Ka tulabe engeri gye tuyinza okukikolamu.

3. Okusinziira ku 1 Timoseewo 4:12-16, kiki omutume Pawulo kye yakubiriza Timoseewo okukola?

3 Mu kiseera omutume Pawulo we yawandiikira Timoseewo ebbaluwa eyasooka, Timoseewo yali aweereza ng’omukadde. Wadde kyali kityo, Pawulo yamukubiriza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. (Soma 1 Timoseewo 4:12-16.) Ebigambo bya Pawulo biraga nti yali ayagala Timoseewo yeeyongera okukulaakulana mu bintu bya mirundi ebiri. Ekisooka, yali ayagala yeeyongere okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo, gamba ng’okwagala, okukkiriza, n’obulongoofu. Ate eky’okubiri, yali ayagala yeeyongere okufuna obumanyirivu mu kusoma mu lujjudde, mu kubuulirira, ne mu kuyigiriza. Kati nga tulowooza ku kubuulirira Pawulo kwe yawa Timoseewo, ka tulabe engeri okweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako gye kisobola okutuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Ate era tujja kulaba engeri ezitali zimu ze tusobola okugaziyaamu buweereza bwaffe.

KULAAKULANYA ENGERI EZ’EKIKRISTAAYO

4. Okusinziira ku Abafiripi 2:19-22, kiki ekyafuula Timoseewo okuba ow’omugaso ennyo eri Yakuwa?

4 Kiki ekyafuula Timoseewo okuba ow’omugaso ennyo eri Yakuwa? Z’engeri ennungi ze yalina. (Soma Abafiripi 2:19-22.) Ebyo Pawulo bye yayogera ku Timoseewo biraga nti Timoseewo yali muwombeefu, nga mwesiga, nga munyiikivu, era nga yeesigika. Yali ayagala nnyo bakkiriza banne era ng’abafaako. N’ekyavaamu, Pawulo yayagala nnyo Timoseewo era n’amuwa obuvunaanyizibwa obulala obw’amaanyi. (1 Kol. 4:17) Mu ngeri y’emu, bwe tunaakulaakulanya engeri ennungi, Yakuwa ajja kutwagala nnyo era tuba tujja kuba ba mugaso nnyo eri ekibiina kye.​—Zab. 25:9; 138:6.

Londa engeri emu ey’Ekikristaayo gy’oyagala okweyongera okukulaakulanya (Laba akatundu 5-6)

5. (a) Oyinza otya okumanya engeri ey’Ekikristaayo gye weetaaga okukulaakulanya? (b) Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki mwannyinaffe ky’akola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okweyongera okuba omusaasizi?

5 Baako ekiruubirirwa kye weeteerawo. Saba Yakuwa akuyambe okulowooza ku ngeri ey’Ekikristaayo gye weetaaga okweyongera okukulaakulanya. Ng’ekyokulabirako, weetaaga okwongera okukulaakulanya obusaasizi, n’okweyongera okwagala okuyamba bakkiriza banno? Oyagala okweyongera okuba omuntu aleetawo emirembe era asonyiwa abalala? Oyinza okwebuuza ku mukwano gwo gwe weesiga akuwe ku magezi agasobola okukuyamba okweyongera okukulaakulanya engeri ezo.​—Nge. 27:6.

6. Bw’oba olina engeri gy’oyagala okukulaakulanya, biki by’osobola okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyo?

6 Baako ky’okolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ekyo oyinza kukikola otya? Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kusoma ku ngeri gy’oyagala okwongera okukulaakulanya. Ka tugambe nti oyagala kweyongera okuba omuntu asonyiwa abalala. Osobola okusoma era n’ofumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaasonyiwa abalala era ne ku by’abo abataasonyiwa balala. Lowooza ku Yesu. Yasonyiwanga abalala. (Luk. 7:47, 48) Ate era essira teyalissanga ku nsobi z’abalala, wabula ku ebyo bye baabanga basobola okukola. Kyokka bo Abafalisaayo ‘baanyoomanga abalala.’ (Luk. 18:9) Bw’omala okufumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo, weebuuza nti: ‘Abalala mbatwala ntya? Ngeri ki ze balina ze nsinga okussaako essira?’ Bwe kiba nti waliwo omuntu akuzibuwalira okusonyiwa, gezaako okwetegereza engeri ennungi omuntu oyo z’alina era oziwandiike. Oluvannyuma weebuuze nti: ‘Yesu atwala atya omuntu ono? Yandimusonyiye?’ Bw’okola bw’otyo, kiyinza okukuyamba okukyusa endowooza gy’olina ku muntu oyo. Mu kusooka kiyinza okutuzibuwalira okusonyiwa omuntu eyatunyiiza. Naye bwe tweyongera okukulaakulanya engeri ey’okusonyiwa, oluvannyuma kijja kutubeerera kyangu okusonyiwa abalala.

BAAKO EMIRIMU GY’OYIGA OKUKOLA

Yiga engeri y’okuddaabirizaamu Ekizimbe ky’Obwakabaka (Laba akatundu 7) *

7. Yakuwa akozesa atya abakozi abalina obumanyirivu leero? (Engero 22:29)

7 Ekiruubirirwa ekirala ky’oyinza okweteerawo kwe kubaako omulimu gw’oyiga okukola. Abakozi bangi beetaagibwa okuzimba ofiisi z’amatabi, Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene, n’Ebizimbe by’Obwakabaka. Bangi ku bakola emirimu egyo baayiga okugikola nga bakolera wamu ne baganda baffe ne bannyinaffe abalina obumanyirivu. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, baganda baffe ne bannyinaffe bangi bayiga engeri y’okuddaabirizaamu ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene. Mu ngeri eyo n’endala nnyingi, Yakuwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” ne Kristo Yesu “Kabaka w’abo abafuga nga bakabaka,” bakozesa abakozi abalina obumanyirivu okukola ebintu bingi. (1 Tim. 1:17; 6:15; soma Engero 22:29.) Twagala okukozesa obumanyirivu bwe tulina okugulumiza Yakuwa, so si kwegulumiza.​—Yok. 8:54.

8. Kiki ekiyinza okukuyamba okusalawo ekiruubirirwa ky’oyagala okweteerawo?

8 Baako ekiruubirirwa kye weeteerawo. Kiki ky’oyagala okweyongera okufunamu obumanyirivu? Buuza abakadde mu kibiina kyo oba omulabirizi w’ekitundu bakubuulire ebyo by’oyinza okwongera okufunamu obumanyirivu. Ng’ekyokulabirako, bwe bakugamba nti weetaaga okulongoosa mu ngeri gy’owaamu emboozi ne gy’oyigirizaamu, basabe bakubuulire ekyo kyennyini kye weetaaga okukolako. Oluvannyuma fuba okukolera ku magezi ge baba bakuwadde.

9. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekimu kye weeteereddewo?

9 Baako ky’okolawo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Ka tugambe nti oyagala kulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu. Oyinza okusoma brocuwa Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza. Bw’oba oweereddwa emboozi mu lukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki, saba ow’oluganda alina obumanyirivu akuwulirize nga bukyali era akuwe amagezi ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu. Tegeka ekitundu kyo nga bukyali osobole okukiraga nti oli munyiikivu era weesigika.​—Nge. 21:5; 2 Kol. 8:22.

10. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti tusobola okufuna obumanyirivu mu kukola ebintu ebimu.

10 Watya singa ekiruubirirwa ekimu ky’oyagala okutuukako kikwata ku kintu ekikuzibuwalira okukola? Toggwaamu maanyi! Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Garry, eyali tasobola kusoma bulungi. Agamba nti yawuliranga obuswavu buli lwe yagezangako okusoma mu ddoboozi eriwulikika mu nkuŋŋaana z’ekibiina, naye teyaggwaamu maanyi. Era agamba nti olw’okutendekebwa kw’afunye, kati asobola okuwa emboozi mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene.

11. Okufaananako Timoseewo, kiki ekinaatuyamba okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa?

11 Timoseewo yafuuka omwogezi omulungi oba omuyigiriza omulungi? Bayibuli tetubuulira. Naye Timoseewo bwe yeeyongera okukolera ku magezi Pawulo ge yamuwa, yeeyongera okufuna obumanyirivu n’asobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amuweebwa. (2 Tim. 3:10) Mu ngeri y’emu, singa tweyongera okufuna obumanyirivu mu kukola ebintu ebimu, tujja kusobola okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa.

NOONYA ENGERI GY’OYINZA OKUWEEREZAAMU ABALALA

12. Oganyuddwa otya mu ebyo abalala bye bakola?

12 Ffenna tuganyulwa mu ebyo abalala bye bakola. Bwe tuba mu ddwaliro, tusanyuka nnyo abakadde abali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro oba abo abali ku Kakiiko Akakyalira Abalwadde bwe batukyalirako. Bwe tuba tulina ekizibu kye twolekagana nakyo, tusanyuka nnyo abakadde bwe batuwuliriza era ne batubudaabuda. Bwe tuba tulina omuyizi wa Bayibuli gwe twagala okuyamba, tusiima nnyo payoniya alina obumanyirivu bw’atuwerekerako ku muyizi oyo era n’abaako amagezi g’atuwa. Baganda baffe ne bannyinaffe abo bonna baba basanyufu okutuyamba. Naffe tuba basanyufu bwe tuba abeetegefu okuyamba bakkiriza bannaffe. Yesu yagamba nti: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.” (Bik. 20:35) Bw’oba nga wandyagadde okugaziya ku buweereza bwo mu ngeri ezo oba endala, kiki ekinaakuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo?

13. Lwaki kikulu okulonda ekiruubirirwa kyennyini kye twagala okutuukako?

13 Salawo ekiruubirirwa kyennyini ky’oyagala okutuukako. Ng’ekyokulabirako, oyinza okugamba nti, ‘Njagala okukola ekisingawo mu kibiina.’ Naye kiyinza okukubeerera ekizibu okumanya engeri gy’oyinza okutuuka ku kiruubirirwa ng’ekyo, era ne ddi lw’okituuseeko. N’olwekyo, londa ekiruubirirwa kyennyini ky’oyagala okutuukako. Oyinza n’okuwandiika ekiruubirirwa ekyo era n’ebyo by’oteekateeka okukola okusobola okukituukako.

14. Bwe tweteerawo ekiruubirirwa, lwaki tusaanidde okuba abeetegefu okukyusaamu?

14 Bwe weeteerawo ekiruubirirwa, ba mwetegefu okukyusaamu. Lwaki? Kubanga embeera eyinza okukyuka. Lowooza ku mutume Pawulo. Yayambako mu kutandikawo ekibiina mu kibuga ky’e Ssessalonika. Ayinza okuba nga yali ayagala okusigala mu kibiina ekyo asobole okuyamba Abakristaayo abo abapya. Naye abo abaali bayigganya Abakristaayo baawaliriza Pawulo okuva mu kibuga ekyo. (Bik. 17:1-5, 10) Singa Pawulo yasalawo okusigala mu kibuga ekyo, yandibadde yassa obulamu bwa bakkiriza banne mu kabi. Pawulo yatuukana n’embeera eyo eyali ekyuse era ne yeeyongera okuyamba bakkiriza banne. Oluvannyuma yatuma Timoseewo okugenda okunyweza Abakristaayo abapya abaali mu Ssessalonika. (1 Bas. 3:1-3) Abakristaayo ab’omu Ssessalonika nga bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuba nti Timoseewo yali mwetegefu okuweerereza wonna awaali obwetaavu!

15. Embeera eziteebeereka ziyinza zitya okutulemesa okutuuka ku biruubirirwa byaffe? Waayo ekyokulabirako.

15 Tusobola okubaako bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Pawulo ng’ali mu Ssessalonika. Tuyinza okubaako ekiruubirirwa kye tweteerawo, naye embeera zaffe ne zikyuka ne tuba nga tetusobola kukituukako. (Mub. 9:11) Bwe kiba nti bwe kityo bwe kiri gy’oli, beera mwetegefu okweteerawo ekiruubirirwa ky’osobola okutuukako. Ekyo ow’oluganda ayitibwa Ted ne mukyala we Hiedi kye baakola. Baali baweerereza ku Beseri, naye olw’okuba omu ku bo yalina obulwadde obwamutawaanyanga, baalina okuva ku Beseri. Olw’okuba baagala nnyo Yakuwa, baanoonya engeri endala gye bayinza okugaziyaamu obuweereza bwabwe. Baasooka kuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Oluvannyuma baalondebwa okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo, era oluvannyuma Ow’oluganda Ted yalondebwa okuweereza ng’omuyambi w’omulabirizi akyalira ebibiina. Emyaka omulabirizi w’ekitundu kw’akoma okuweereza bwe gyakyusibwa, Ted ne Hiedi baakitegeera nti baali tebakyalina bisaanyizo kuweereza mu buweereza obwo. Wadde nga mu kusooka baawulira bubi, baakiraba nti baali basobola okuweereza Yakuwa mu ngeri endala. Ted agamba nti, “Tuyize obutalowooza ku kiruubirirwa kimu kyokka eky’obuweereza.”

16. Kiki kye tuyiga mu bigambo ebiri mu Abaggalatiya 6:4?

16 Tetulina buyinza ku bintu ebimu ebibaawo mu bulamu bwaffe. N’olwekyo, kikulu okukijjukira nti enkizo ze tulina Yakuwa si z’asinziirako okututwala nti tuli ba mugaso gy’ali. Ate era tetusaanidde kwegeraageranya n’abo abalina enkizo ffe ze tutalina. Hiedi agamba nti, “Bwe weegeraageranya n’abalala, toba musanyufu.” (Soma Abaggalatiya 6:4.) Kiba kikulu okulowooza ku ngeri ezitali zimu ze tuyinza okuweerezaamu Yakuwa n’okuyamba abalala. *

17. Biki by’osobola okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala mu kibiina?

17 Kijja kutubeerera kyangu okukola ekisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa singa twewala okuba n’ebintu ebingi era n’amabanja agateetaagisa. Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako amangu, kikuyambe okutuuka ku biruubirirwa ebiyinza okutwala ekiseera ekiwanvuko. Ng’ekyokulabirako, bwe kiba nti ekiruubirirwa kyo kya kuweereza nga payoniya owa bulijjo, oyinza okutandika okuweereza nga payoniya omuwagizi. Bwe kiba nti ekiruubirirwa kyo kya kufuuka muweereza mu kibiina, oyinza okwongera ku biseera by’omala mu mulimu gw’okubuulira era n’okukyalira abalwadde n’abakaddiye abali mu kibiina kyo. Obumanyirivu bw’ofuna mu kiseera kino bujja kukuyamba ng’oweereddwa obuvunaanyizibwa obusingako mu biseera eby’omu maaso. Kyonna ekiba kikuweereddwa okukola kikole n’omutima gwo gwonna.​—Bar. 12:11.

Weeteerewo ekiruubirirwa ky’osobola okutuukako (Laba akatundu 18) *

18. Nga bwe kiragiddwa mu kifaananyi, kiki ky’oyigira ku mwannyinaffe Beverley?

18 Ne bwe tuba nga tukaddiye, tusobola okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne tubituukako. Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Beverley ow’emyaka 75. Yafuna obulwadde n’aba nga tasobola kutambula. Naye yali ayagala okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bwe kityo, alina ebiruubirirwa bye yeeteerawo. Mwannyinaffe Beverley bwe yatuuka ku biruubirirwa bye yali yeeteereddewo mu kaweefube oyo, yasanyuka nnyo. Ekyokulabirako kye kyaleetera abalala okukola ekisingawo mu buweereza. Yakuwa asiima nnyo ebyo baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye bye bakola, wadde ng’embeera zaabwe tezibasobozesa kukola byonna bye bandyagadde.​—Zab. 71:17, 18.

19. Ebimu ku biruubirirwa eby’omwoyo bye tusobola okweteerawo bye biruwa?

19 Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako. Kulaakulanya engeri ezisanyusa Yakuwa. Baako emirimu gy’oyiga eginaakuyamba okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era n’okweyongera okuba ow’omugaso mu kibiina kyo. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okweyongera okuweerezaamu bakkiriza banno. * Okufaananako Timoseewo, Yakuwa asobola okukuyamba ‘okukulaakulana kwo ne kweyoleka eri abantu bonna.’​—1 Tim. 4:15.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

^ Timoseewo yali mubuulizi w’amawulire amalungi eyalina obumanyirivu. Kyokka omutume Pawulo yamukubiriza okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Timoseewo bwe yandikoledde ku magezi Pawulo ge yamuwa, yandyeyongedde okuba ow’omugaso eri Yakuwa era n’eri bakkiriza banne. Okufaananako Timoseewo, naawe oyagala okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era n’okuyamba bakkiriza banno? Bwe kiba bwe kityo, biruubirirwa ki by’oyinza okweteerawo ebinaakuyamba? Era biki ebizingirwa mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okubituukako?

^ EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ebiruubirirwa eby’omwoyo bye bintu bye tufuba okutuukako tusobole okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era n’okumusanyusa.

^ Laba ebiri wansi w’omutwe “Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako,” mu katabo Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, essuula 10, kat. 6-9.

^ Laba essomo 60, eririna omutwe “Weeyongere Okukulaakulana,” mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!

^ EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’atendeka bannyinaffe babiri okubaako omulimu gwe bakola mu Kizimbe ky’Obwakabaka, era bannyinaffe abo bakola ekyo ekibalagiddwa.

^ EBIFAANANYI: Mwannyinaffe atasobola kuva waka abuulira ng’akozesa essimu, era ayita abantu ku mukolo gw’Ekijjukizo.