Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baawa Embwa Zange Bisikwiti

Baawa Embwa Zange Bisikwiti

NICK abeera mu Oregon mu Amerika agamba nti: “Lumu nnatwala embwa zange bbiri okuzitambuzatambuzaako mu kitundu gye nnali mbeera. Nnateranga okusanga Abajulirwa ba Yakuwa mu kifo ekimu mu kibuga nga bayimiridde okumpi n’akagaali kaabwe okuba ebitabo. Baayambalanga bulungi, era baabuuzanga buli omu nga bataddeko akamwenyumwenyu.

“Abajulirwa ba Yakuwa ekisa tebaakiraganga bantu bokka, wabula baakiraganga n’embwa zange. Lumu, Elaine, eyali ayimiridde okumpi n’akagaali yawa embwa zange bisikwiti. Oluvannyuma buli lwe nnayisanga embwa zange mu kifo ekyo, zeesikanga nga zaagala okugenda okulya bisikwiti.

“Waayitawo emyezi egiwera ng’embwa ziwoomerwa bisikwiti gwe baaziwanga era nga nange nnyumirwa okwogerako n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye nnali saagala kwogera bingi nabo. Nnali nsussa emyaka 70 egy’obukulu era nnali simanyi bulungi Bajulirwa ba Yakuwa bye bakkiriza. Olw’okuba nnali nneetamiddwa enjigiriza z’amakanisa mangi, nnali nsazeewo okwesomera Bayibuli ku lwange.

“Mu kiseera ekyo, nnalabanga Abajulirwa ba Yakuwa mu bitundu ebirala eby’ekibuga nga bayimiridde okumpi n’obugaali okuli ebitabo. Nabo baabanga basanyufu. Baddangamu ebibuuzo byange nga bakozesa Bayibuli, era ekyo kyandeetera okweyongera okubeesiga.

“Lumu, Elaine yambuuza nti, ‘Okikkiriza nti ebisolo kirabo okuva eri Katonda?’ Nnamuddamu nti, ‘Yee, nkikkiriza!’ Oluvannyuma yansomera Isaaya 11:6-9. Ekyawandiikibwa ekyo kyankwatako nnyo, wadde nga mu kiseera ekyo nnali sinnakkiriza kutwala bitabo byabwe.

“Mu nnaku ezaddirira, nnanyumirwanga nnyo okukubaganya ebirowoozo ne Elaine awamu n’omwami we, Brent. Bankubiriza okusoma Matayo okutuuka ku Ebikolwa by’Abatume, nsobole okumanya kye kitegeeza okweyisa ng’Omukristaayo. Era ekyo nnakikola. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, mu 2016, nnakkiriza okuyiga Bayibuli ne Brent awamu ne Elaine.

“Buli wiiki nneesunganga okuyiga Bayibuli era n’okugenda mu nkuŋŋaana ku Kingdom Hall. Nnawuliranga essanyu lingi okuyiga amazima agali mu Bayibuli. Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Kati nnina emyaka 79, era ndi mukakafu nnazuula eddiini ey’amazima. Yakuwa yanzikiriza okuba omu ku baweereza be era ampadde emikisa mingi.”