Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 25

Yakuwa Awa Emikisa Abo Abasonyiwa Abalala

Yakuwa Awa Emikisa Abo Abasonyiwa Abalala

“Nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”​—BAK. 3:13.

OLUYIMBA 130 Sonyiwanga

OMULAMWA *

1. Kiki Yakuwa ky’asuubiza aboonoonyi ababa beenenyezza mu bwesimbu?

 WADDE nga Yakuwa ye Mutonzi waffe, oyo atuteerawo amateeka, Omulamuzi waffe, era ye Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo. (Zab. 100:3; Is. 33:22) Bwe tukola ekibi naye ne twenenya mu bwesimbu, takoma ku kuba nti asobola okutusonyiwa, naye era ayagala nnyo okutusonyiwa. (Zab. 86:5) Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yatukakasa nti: “Ebibi byammwe ne bwe binaaba bimyufu ng’omusaayi, bijja kufuulibwa byeru ng’omuzira.”​—Is. 1:18.

2. Bwe tuba nga twagala okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, kiki kye tusaanidde okukola?

2 Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna twogera era tukola ebintu ebinyiiza abalala. (Yak. 3:2) Ekyo tekitegeeza nti tetusobola kuba na nkolagana nnungi n’abalala. Tusobola okuba n’enkolagana ennungi n’abalala singa tuyiga okusonyiwa. (Nge. 17:9; 19:11; Mat. 18:21, 22) Bwe wabaawo omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekitunyiiza, Yakuwa ayagala tusonyiwe omuntu oyo. (Bak. 3:13) Ensonga eyandituleetedde okusonyiwa abalala eri nti Yakuwa naye ‘atusonyiyira ddala.’​—Is. 55:7.

3. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri abantu abatatuukiridde gye bayinza okukoppamu Yakuwa bwe kituuka ku kusonyiwa. Bibi bya ngeri ki bye tusaanidde okutegeeza abakadde? Lwaki Yakuwa ayagala tusonyiwe abalala? Biki bye tuyigira ku bakkiriza bannaffe abamu abaafuna ebizibu eby’amaanyi olw’ebibi abalala bye baakola?

OMUKRISTAAYO BW’AKOLA EKIBI EKY’AMAANYI

4. (a) Omuweereza wa Katonda bw’akola ekibi eky’amaanyi, kiki ky’asaanidde okukola? (b) Buvunaanyizibwa ki abakadde bwe balina bwe baba bakola ku nsonga z’oyo eyakola ekibi eky’amaanyi?

4 Singa Omukristaayo akola ekibi eky’amaanyi, abakadde baba balina okutegeezebwa. Ebimu ku bibi ebyo byogerwako mu 1 Abakkolinso 6:9, 10. Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi aba ayonoonye nnyo mu maaso ga Yakuwa. Omuntu ng’oyo aba alina okutuukirira Yakuwa mu kusaba era oluvannyuma n’ategeezaako abakadde mu kibiina. (Zab. 32:5; Yak. 5:14) Buvunaanyizibwa ki abakadde bwe balina? Yakuwa yekka y’alina obuyinza okusonyiyira ddala omuntu aba akoze ekibi, era ng’ekyo akikola ng’ayitira mu kinunulo kya Yesu Kristo. * Wadde kiri kityo, Yakuwa yawa abakadde obuvunaanyizibwa obw’okukozesa Ebyawandiikibwa okulaba obanga omwonoonyi asaanidde okusigala mu kibiina. (1 Kol. 5:12) Bwe baba bakola ku nsonga eyo, beebuuza ebibuuzo nga bino: Omuntu oyo ekibi yakikola mu bugenderevu? Yagezaako okukweka abalala ekibi kye? Ekibi ekyo yakikola okumala ekiseera kiwanvu? N’ekisinga obukulu, waliwo ekiraga nti yeenenyezza mu bwesimbu? Waliwo obukakafu obulaga nti Yakuwa amusonyiye?​—Bik. 3:19.

5. Miganyulo ki egiva mu ebyo abakadde bye bakola?

5 Abakadde bwe basisinkana omwonoonyi, ekigendererwa kyabwe kiba kya kutuuka ku kusalawo okuba kwamala edda okukolebwa mu ggulu. (Mat. 18:18) Enteekateeka eyo eganyula etya ekibiina? Esobozesa okuggya mu kibiina omwonoonyi aba agaanye okwenenya, endiga za Yakuwa zisobole okukuumibwa. (1 Kol. 5:6, 7, 11-13; Tit. 3:10, 11) Ate era eyinza okuleetera omwonoonyi okwenenya, Yakuwa asobole okumusonyiwa. (Luk. 5:32) Abakadde basaba Yakuwa ayambe omwonoonyi aba yeenenyezza asobole okuzzaawo enkolagana ennungi naye.​—Yak. 5:15.

6. Omuntu bw’agobebwa mu kibiina Yakuwa asobola okumusonyiwa? Nnyonnyola.

6 Watya singa omuntu agaana okwenenya ng’abakadde bamusisinkanye. Awo aba alina okugobebwa mu kibiina. Bw’aba alina amateeka ga gavumenti ge yamenya, abakadde tebajja kumuzibiikiriza butatuukibwako ebiva mu ekyo kye yakola. Yakuwa akkiriza gavumenti okulamula n’okubonereza omuntu yenna amenye amateeka, ka kibe nti omuntu oyo aba yeenenyezza oba nedda. (Bar. 13:4) Kyokka singa omuntu oyo oluvannyuma yeekuba mu kifuba ne yeenenya mu bwesimbu era n’akyusa enneeyisa ye, Yakuwa aba mwetegefu okumusonyiwa. (Luk. 15:17-24) Yakuwa amusonyiwa ne bwe kiba nti ekibi kye yakola kya maanyi.​—2 Byom. 33:9, 12, 13; 1 Tim. 1:15.

7. Mu ngeri ki gye tuyinza okusonyiwa omuntu alina ekintu ekibi kye yatukola?

7 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti si ffe abalina okusalawo obanga Yakuwa anaasonyiwa omwonoonyi. Wadde kiri kityo, waliwo naffe kye tusobola okusalawo. Kye kiruwa ekyo? Mu mbeera ezimu omuntu ayinza okutukola ekintu ekibi ennyo, naye n’atwetondera ng’atusaba tumusonyiwe. Ate mu mbeera endala ayinza obutatwetondera. Naye ne mu mbeera eyo tusobola okusalawo okusonyiwa omuntu oyo ne tutamusibira kiruyi. Naye ekyo kiyinza obutaba kyangu naddala singa ekintu kye yatukola kyatuluma nnyo. Watchtower eya Ssebutemba 15, 1994, yagamba nti: “Bw’osonyiwa omuntu kiba tekitegeeza nti owagira ekibi kye yakola. Eri Omukristaayo, okusonyiwa kitegeeza okuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa. Ye Mulamuzi w’ensi yonna era ajja kukakasa nti wabaawo obwenkanya mu kiseera ekituufu.” Lwaki Yakuwa atukubiriza okusonyiwa n’okuleka ensonga mu mikono gye?

ENSONGA LWAKI YAKUWA AYAGALA TUSONYIWE AGALALA

8. Okusonyiwa abalala kiraga kitya nti tusiima obusaasizi bwa Yakuwa?

8 Bwe tusonyiwa abalala kiraga nti tusiima obusaasizi bwa Yakuwa. Mu lugero olumu, Yesu yageraageranya Yakuwa ku mukama w’abaddu eyasonyiwa omu ku baddu be ebbanja eddene lye yali tasobola kusasula. Kyokka omuddu oyo yagaana okusaasira muddu munne gwe yali abanja ssente entono ennyo. (Mat. 18:23-35) Kiki Yesu kye yali atuyigiriza? Bwe tuba nga tusiima obusaasizi Yakuwa bw’atulaga, kijja kutuleetera okusonyiwa abalala. (Zab. 103:9) Emyaka mingi emabega, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi yagamba nti: “Abantu bannaffe ka tube nga tubasonyiye mirundi emeka, tegisobola kwenkana ngeri Yakuwa gy’atusonyiwamu n’obusaasizi bwe yatulaga okuyitira mu Kristo.”

9. Baani Yakuwa b’alaga obusaasizi? (Matayo 6:14, 15)

9 Abo abasonyiwa abalala nabo bajja kusonyiyibwa. Yakuwa asaasira abo abasaasira abalala. (Mat. 5:7; Yak. 2:13) Ekyo Yesu yakiraga bulungi bwe yali ayigiriza abayigirizwa be okusaba. (Soma Matayo 6:14, 15.) Ate era n’ekyo Yakuwa kye yagamba omuweereza we Yobu okukola kituyigiriza ekintu kye kimu. Yobu yawulira bubi nnyo olw’ebigambo Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali bye baamugamba. Yakuwa yagamba Yobu okubasabira. Yobu bwe yamala okubasabira, Yakuwa yamuwa emikisa.​—Yob. 42:8-10.

10. Lwaki okusiba ekiruyi kya bulabe gye tuli? (Abeefeso 4:31, 32)

10 Okusiba ekiruyi kya bulabe. Okusiba ekiruyi guba ng’omugugu gwe tuba twetisse. Yakuwa ayagala tufune essanyu eriva mu kwetikkula omugugu ogwo. (Soma Abeefeso 4:31, 32.) Atukubiriza obutasiba kiruyi. (Zab. 37:8) Tuganyulwa nnyo bwe tukolera ku magezi ago. Omuntu eyatunyiiza bwe tumusibira ekiruyi, kiyinza okukosa obulamu bwaffe. (Nge. 14:30) Oyo gwe tuba twasibira ekiruyi ye ayinza obutakosebwa. Kifaananako okunywa obutwa ng’osuubira nti bujja kukosa oli eyakunyiiza. N’olwekyo, bwe tusonyiwa abalala ffe abaganyulwa. (Nge. 11:17) Tufuna emirembe mu mutima era ne tweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu.

11. Bayibuli eyogera ki ku kwesasuza? (Abaruumi 12:19-21)

11 Okuwoolera eggwanga kwa Yakuwa. Yakuwa teyatuwa buyinza kwesasuza omuntu aba atukoze ekibi. (Soma Abaruumi 12:19-21.) Olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kutunuulira nsonga mu ngeri entuufu nga Katonda bw’asobola okukikola. (Beb. 4:13) Ate ebiseera ebimu enneewulira yaffe eyinza okutulemesa okukola ekituufu. Yakuwa yaluŋŋamya Yakobo okuwandiika nti: “Obusungu bw’omuntu tebuleeta butuukirivu bwa Katonda.” (Yak. 1:20) Tusaanidde okwesiga Yakuwa nti ajja kukola ekituufu era akakase nti wabaawo obwenkanya.

Tosiba kiruyi, wabula ensonga zikwase Yakuwa. Ajja kuggyawo obulumi bwonna obwajjawo olw’ekibi(Laba akatundu 12)

12. Tuyinza tutya okukiraga nti twesiga Yakuwa nti ajja kukola ku nsonga mu bwenkanya?

12 Bwe tusonyiwa abalala tuba twesiga Yakuwa nti ajja kukakasa nti wabaawo obwenkanya. Bwe tuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa, tuba tukiraga nti tumwesiga nti ajja kuggyawo ebyo byonna ebyava mu kibi ekyatukolebwa. Mu nsi empya gye yasuubiza, obulumi bwonna bwe tulina kati ‘tebulijjukirwa, era tebulisigala mu mutima.’ (Is. 65:17) Watya singa waliwo ekintu omuntu kye yatukola ekyatuleetera obulumi obw’amaanyi ku mutima? Ddala tusobola okumusonyiwa era ne tutamusibira kiruyi? Ka tulabe engeri abamu gye basobodde okukikolamu.

TUGANYULWA BWE TUSONYIWA ABALALA

13-14. Ekyokulabirako kya Tony ne José kikuyigirizza ki ku kusonyiwa abalala?

13 Waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abaasonyiwa abalala, wadde ng’ekintu kye baabakola kyabayisa bubi nnyo. Baganyuddwa batya mu kukola ekyo?

14 Tony * abeera mu Philippines bwe yali tannayiga mazima, yakimanyaako nti omusajja ayitibwa José yatta omu ku baganda be abakulu. Mu kiseera ekyo Tony yali muntu mukambwe nnyo, era yali ayagala okutta José. José yakwatibwa n’asibibwa mu kkomera olw’okutta omuntu. José bwe yasumululwa n’ava mu kkomera, Tony yeerayirira okumunoonya okutuusa lwe yandimusse era yagula n’emmundu. Oluvannyuma Tony yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti, “Bwe nnali njiga Bayibuli nnakiraba nti waliwo enkyukakyuka ez’amaanyi ze nnalina okukola, nga mw’otwalidde n’okulekera awo okusungula ennyo.” Oluvannyuma Jose yabatizibwa, era waayita ekiseera n’alondebwa okuweereza ng’omukadde mu kibiina. Teeberezaamu engeri gye yawuliramu bwe yakimanya nti José naye yali afuuse omuweereza wa Yakuwa omubatize! Ababiri abo bwe baasisinkana, beegwa mu kifuba era Tony n’agamba Jose nti yamusonyiwa. Tony agamba nti okusonyiwa José kyamuleetera essanyu eritagambika. Awali kubuusabuusa, Yakuwa yawa Tony emikisa olw’okusonyiwa.

Ekyokulabirako kya Peter ne Sue kitulaga nti tusobola okusonyiwa abalala n’obutabasibira kiruyi(Laba akatundu 15-16)

15-16. Ekyokulabirako kya Peter ne Sue kikuyigirizza ki ku kusonyiwa abalala?

15 Mu 1985, Peter ne mukyala we Sue bwe baali mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka, waabaawo okubwatuka okw’amaanyi. Waliwo omusajja eyali ateze bbomu mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Sue yafuna ebisago eby’amaanyi ebyamuviirako obutalaba bulungi, obutawulira bulungi, era n’obutawunyiriza. * Peter ne Sue beebuuzanga nti, ‘Muntu wa ngeri ki asobola okukola ekikolwa eky’ettima bwe kityo?’ Bwe waayitawo emyaka, omusajja eyatega bbomu eyo, ataali Mujulirwa wa Yakuwa, yakwatibwa era n’asalirwa ekibonerezo eky’okusibibwa mu kkomera obulamu bwe bwonna. Peter ne Sue bwe baabuuzibwa obanga baali basonyiye omusajja oyo, baagamba nti: “Yakuwa atuyigiriza nti okusiba ekiruyi kiyinza okukosa obulamu bwaffe n’enneewulira yaffe. N’olwekyo, twasaba mangu Yakuwa atuyambe obutasiba kiruyi tusobole okufuna emirembe mu mutima.”

16 Kyabanguyira okusonyiwa omusajja oyo? Nedda. Bagattako nti: “Ebiseera ebimu Sue bw’addamu okuwulira obulumi olw’ebisago bye yafuna, tuwulira obusungu. Naye ekyo tetukimalirako birowoozo, era wayita akaseera katono ne tuba nga tetukyalina nneewulira eyo. Mu butuufu, singa omusajja eyatega bbomu eyo lumu afuuka muganda waffe, tujja kumwaniriza. Ekyo ekyatutuukako kyatuyigiriza nti bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli tuganyulwa. Mu butuufu, okukolera ku misingi gya Bayibuli kituyamba okufuna emirembe mu mutima! Ate era okukimanya nti Yakuwa anaatera okuggyawo ebizibu byonna, kituzzaamu nnyo amaanyi.”

17. Ekyokulabirako kya Myra kikuyigirizza ki ku kusonyiwa abalala?

17 Myra we yayigira amazima yali mufumbo era ng’alina abaana babiri. Omwami we ye teyayiga mazima. Oluvannyuma omwami we yayenda era n’alekawo ab’omu maka ge. Myra agamba nti: “Omwami wange bwe yandekaawo n’abaana baffe ababiri, nnawulira obulumi bangi bwe bawulira ng’omwagalwa waabwe abaleseewo. Nnejjusa, nnatandika okwesalira omusango, era nnawulira obusungu.” Wadde ng’obufumbo bwasasika, nnasigala mpulira obulumi mu mutima. Myra agattako nti: “Enneewulira eyo nnagirina okumala emyezi mingi, era nnakiraba nti yali etandise okukosa enkolagana yange ne Yakuwa awamu n’abalala.” Myra agamba nti kati takyali musunguwavu era talina kintu kyonna kibi ky’ayagaliza oyo eyali omwami we. Alina essuubi nti lumu oyo eyali omwami we aliyiga ebikwata ku Yakuwa. Ebirowoozo bye yabissa ku biseera eby’omu maaso. Yasobola okukuza abaana be ababiri ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa. Leero, Myra musanyufu nti n’abaana be awamu n’ab’omu maka gaabwe, bonna baweereza Yakuwa.

YAKUWA YE MULAMUZI ATUUKIRIDDE

18. Olw’okuba Yakuwa ye Mulamuzi ow’Oku Ntikko, tuyinza kuba bakakafu ku ki?

18 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti si ffe abalina okusalira omuntu omusango. Olw’okuba Yakuwa ye Mulamuzi ow’oku ntikko, obuvunaanyizibwa obwo obukulu yabwesigaliza. (Bar. 14:10-12) Tusobola okumwesiga nti bulijjo alamu ng’asinziira ku mitindo gye egituukiridde egikwata ku kituufu n’ekikyamu. (Lub. 18:25; 1 Bassek. 8:32) Tayinza kukola kintu kyonna kitali kya butuukirivu!

19. Olw’okuba Yakuwa Katonda mwenkanya, kiki kye twesunga?

19 Twesunga ekiseera Yakuwa lw’aliggirawo ddala ebizibu ebivudde mu kibi kye twasikira n’obutali butuukirivu bw’abantu. Mu kiseera ekyo obulumi bwonna bwe tuwulira bujja kuggweerawo ddala. (Zab. 72:12-14; Kub. 21:3, 4) Tebuliddamu kujjukirwa. Naye ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuwa obusobozi bw’okumukoppa nga tusonyiwa abalala.

OLUYIMBA 18 Tusiima Ekirabo ky’Ekinunulo

^ Yakuwa mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi ababa beenenyezza. Naffe twagala okumukoppa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebibi bye tusobola okusonyiwa abalala era n’ebibi bye tulina okutegeeza abakadde. Ate era tujja kulaba ensonga lwaki Yakuwa ayagala tusonyiwe abalala, era n’emikisa gye tufuna bwe tusonyiwa abalala.

^ Laba ekitundu “Questions From Readers,” mu Watchtower, eya Apuli 15, 1996.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Laba Awake! eya Jjanwali 8, 1992, lup. 9-13. Laba ne vidiyo eri ku JW Broadcasting® erina omutwe, Peter and Sue Schulz: A Trauma Can Be Overcome.