Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 27

“Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”

“Essuubi Lyo Lisse mu Yakuwa”

“Essuubi lyo lisse mu Yakuwa; ba muvumu era ba n’omutima omugumu.”​—ZAB. 27:14.

OLUYIMBA 128 Okugumiikiriza Okutuusa ku Nkomerero

OMULAMWA *

1. (a) Biki Yakuwa by’atusuubizza? (b) Kitegeeza ki ‘okuteeka essuubi lyaffe mu Yakuwa?’ (Laba “Ebigambo Ebinnyonnyolwa.”)

 YAKUWA awadde abo bonna abamwagala essuubi. Mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo endwadde, okubonaabona, n’okufa. (Kub. 21:3, 4) Ajja kusobozesa “abawombeefu” abamutaddemu essuubi okufuula ensi yonna olusuku lwe. (Zab. 37:9-11) Ate era ajja kusobozesa buli omu ku ffe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, ejja okusinga n’eyo gye tulina kati. Ekyo nga kijja kuba kirungi nnyo! Naye bukakafu ki bwe tulina obulaga nti ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira? Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebyo by’asuubiza. N’olwekyo, tusobola ‘okuteeka essuubi lyaffe mu Yakuwa.’ * (Zab. 27:14) Ekyo tukikola nga tumulindirira n’obugumiikiriza okutuusa lw’alituukiriza ebisuubizo bye byonna.​—Is. 55:10, 11.

2. Kiki Yakuwa ky’amaze okukola?

2 Yakuwa yakiraga dda nti atuukiriza ebisuubizo bye. Ng’ekyokulabirako, mu kitabo ky’Okubikkulirwa Yakuwa yasuubiza nti mu kiseera kyaffe yandireese abantu ab’amawanga gonna era boogera ennimi ez’enjawulo, n’abagatta wamu mu kusinza okulongoofu. Abantu abo abakuŋŋaanyiziddwa awamu bayitibwa “ekibiina ekinene.” (Kub. 7:9, 10) Wadde ng’ekibiina ekyo kirimu abasajja, abakazi, n’abaana ab’amawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo, bonna bali mu mirembe era bali bumu okwetooloola ensi yonna. (Zab. 133:1; Yok. 10:16) Ate era ab’ekibiina ekinene babuulira n’obunyiikivu. Beetegefu okubuulira buli muntu essuubi lye balina. (Mat. 28:19, 20; Kub. 14:6, 7; 22:17) Bwe kiba nti oli omu ku abo abali mu kibiina ekinene, awatali kubuusabuusa, essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso kkulu nnyo gy’oli.

3. Kiruubirirwa ki Sitaani ky’alina?

3 Sitaani tayagala obe n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Ayagala olowooze nti Yakuwa takufaako era nti tajja kutuukiriza bisuubizo bye. Sitaani bw’atuleetera obutaba na ssuubi, tujja kuggwaamu amaanyi oboolyawo tulekere n’awo okuweereza Yakuwa. Nga bwe tugenda okulaba, Sitaani yagezaako okuleetera Yobu okuggwaamu essuubi era yagezaako n’okumuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Yobu 1:9-12)

4 Mu kitundu kino, tugenda kulaba obukodyo Sitaani bwe yakozesa ng’ayagala okuleetera Yobu obutaba mwesigwa eri Yakuwa. (Soma Yobu 1:9-12.) Ate era tujja kulaba bye tusobola okuyigira ku Yobu n’ensonga lwaki tusaanidde okukijjukiranga nti Yakuwa atwagala nnyo era nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye.

SITAANI YAGEZAAKO OKULEETERA YOBU OKUGGWAAMU ESSUUBI

5-6. Biki ebyatuuka ku Yobu mu kaseera katono?

5 Obulamu Yobu bwe yalimu bwali bweyagaza. Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Yalina abantu bangi mu maka ge, nga bonna bali bumu, era yali mugagga nnyo. (Yob. 1:1-5) Naye mu lunaku lumu lwokka, Yobu yafiira kumpi buli kimu kye yalina. Yasooka kufiirwa bya bugagga bye. (Yob. 1:13-17) Oluvannyuma, abaana be bonna be yali ayagala ennyo baafa. Kirowoozeeko. Abazadde bawulira ennaku ey’amaanyi ng’omu ku baana baabwe afudde. Kati teeberezaamu ennaku, obulumi, n’ekikangabwa Yobu ne mukyala we bye baafuna nga bawulidde nti abaana baabwe bonna ekkumi bafudde. Tekyewuunyisa nti Yobu yayuza ebyambalo bye n’avunnama ku ttaka ng’ennaku ejula okumutta!​—Yob. 1:18-20.

6 Sitaani yalwaza Yobu obulwadde obw’amaanyi era n’amuweebuula nnyo. (Yob. 2:6-8; 7:5) Mu kusooka Yobu yassibwangamu nnyo ekitiibwa era abantu baagendanga gy’ali okumwebuuzaako. (Yob. 31:18) Naye kati baali bamwewala. Baganda be, mikwano gye egy’oku lusegere, n’abaweereza be, bonna baali bamwewala!​—Yob. 19:13, 14, 16.

Abaweereza ba Yakuwa bangi leero basobola okutegeera engeri Yobu gye yawuliramu ng’ayolekagana n’ebizibu(Laba akatundu 7) *

7. (a) Yobu yalowooza nti ani eyali amuleetedde okubonaabona, naye kiki ky’ataakola? (b) Omukristaayo ayinza atya okufuna ekizibu ekifaananako ng’ekyo ekiragiddwa mu kifaananyi?

7 Sitaani yali ayagala Yobu alowooze nti yali abonaabona olw’okuba Yakuwa yali amwabulidde. Ng’ekyokulabirako, Sitaani yaleetera embuyaga ey’amaanyi okusuula ennyumba abaana ba Yobu bonna ekkumi mwe baali baliira ekijjulo. (Yob. 1:18, 19) Ate era yaleetera omuliro okwokya ebisibo bya Yobu awamu n’abaweereza abaali babirabirira. (Yob. 1:16) Olw’okuba embuyaga n’omuliro byava waggulu, Yobu yalowooza nti Yakuwa Katonda ye yali abireese. Bwe kityo, Yobu yalowooza nti oboolyawo yali anyiizizza Yakuwa. Naye mu ebyo byonna ebyamutuukako, Yobu teyeegaana Kitaawe ow’omu ggulu. Yobu yakiraga nti okumala emyaka mingi Yakuwa yali amukoledde ebirungi bingi. Bwe kityo yalowooza nti bwe kiba nti yakkiriza ebirungi okuva eri Yakuwa, era yalina n’okukkiriza ebibi. N’olwekyo yagamba nti: “Erinnya lya Yakuwa lyeyongere okutenderezebwa.” (Yob. 1:20, 21; 2:10) Wadde nga Yobu yali afiiriddwa eby’obugagga bye, abaana be, era ng’afunye obulwadde obw’amaanyi, yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Naye Sitaani yali akyayagala okumubonyaabonya.

8. Kiki ekirala Sitaani kye yakola okumalamu Yobu amaanyi?

8 Sitaani yakozesa abasajja basatu abaali beeyita mikwano gya Yobu okuleetera Yobu okuwulira nti teyalina mugaso. Abasajja abo baagamba nti Yobu yali abonaabona olw’okuba alina ebibi bye yakola. (Yob. 22:5-9) Ate era baagezaako okuleetera Yobu okulowooza nti ne bwe kiba nti talina kibi kyonna kye yakola, yali ateganira bwereere okufuba okusanyusa Katonda. (Yob. 4:18; 22:2, 3; 25:4) Bwe kityo baagezaako okuleetera Yobu okulowooza nti Katonda yali tamwagala, yali tasobola kumulabirira, era nti okuweereza Katonda tekigasa. Ebigambo bye baayogera biyinza okuba nga byaleetera Yobu okuwulira nti talina mugaso.

9. Kiki ekyayamba Yobu okusigala nga muvumu era n’obutaggwaamu ssuubi?

9 Kuba akafaananyi nga Yobu atudde mu vvu era ng’awulira obulumi obutasalako. (Yob. 2:8) Mikwano gye bamwogerera ebigambo ebimalamu amaanyi era bamugamba nti talina kintu kyonna eky’omugaso kye yali akoze. Ebizibu byali bimuyitiriddeko era ng’akyawulira ennaku ey’amaanyi olw’okufiirwa abaana be. Mu kusooka Yobu yasirika busirisi. (Yob. 2:13–3:1) Bwe kiba nti mikwano gya Yobu baalowooza nti okusirika kwa Yobu kwali kutegeeza nti yali anaatera okwegaana Katonda we, baali bakyamu. Oluvannyuma lw’akaseera, Yobu yatunuulira abasajja abo n’abagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!” (Yob. 27:5) Kiki ekyayamba Yobu okuba omuvumu n’obutaggwaamu maanyi wadde nga yali afunye ebizibu bingi? Ne mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Yobu teyaggwaamu ssuubi nti Omutonzi we yandimuyambye. Yali akimanyi nti ne bwe yandifudde, Yakuwa yandimuzuukizza.​—Yob. 14:13-15.

BIKI BYE TUYIGIRA KU YOBU?

10. Ebyo bye tusoma ku Yobu bituyigiriza ki?

10 Bye tusoma ku Yobu bitulaga nti Sitaani tasobola kutukaka kuva ku Yakuwa era nti Yakuwa amanyi byonna bye tuyitamu. Ate era ebyo ebyatuuka ku Yobu bituyamba okutegeera ensonga enkulu ezizingirwamu. Kati ka tulabe ebimu ku ebyo bye tuyigira ku Yobu.

11. Bwe tweyongera okwesiga Yakuwa tuba bakakafu ku ki? (Yakobo 4:7)

11 Kye tuyigira ku Yobu kiri nti bwe tweyongera okwesiga Yakuwa, tusobola okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okufuna era nti tusobola okuziyiza Sitaani. Bwe tukola tutyo, kiki ekivaamu? Ebyawandiikibwa bitukakasa nti Sitaani ajja kutudduka.​—Soma Yakobo 4:7.

12. Essuubi ly’okuzuukira lyayamba litya Yobu?

12 Tusaanidde okunyweza essuubi lyaffe ery’okuzuukira. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Sitaani akozesa okutya okufa okutuleetera obutaba beesigwa eri Yakuwa. Sitaani yagamba nti Yobu yandikoze ekintu kyonna, nga mw’otwalidde n’okulekera awo okuweereza Yakuwa, okusobola okutaasa obulamu bwe. Sitaani yali mukyamu. Ne mu kiseera Yobu we yalowooleza nti yali agenda kufa, yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Olw’okuba yali mukakafu nti Yakuwa mulungi era nti ekiseera kyandituuse Yakuwa n’abaako ky’akolawo, kyamuyamba okugumiikiriza. Yobu yali mukakafu nti Yakuwa ne bw’atandibaddeko ky’akolawo ng’akyali mulamu, yandimuzuukizza mu biseera eby’omu maaso. Essuubi ly’okuzuukira lyali lya ddala eri Yobu. Essuubi eryo bwe liba erya ddala gye tuli, ne bwe tuba twolekaganye n’okufa, tujja kusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.

13. Lwaki tusaanidde okussaayo omwoyo ku bukodyo Sitaani bwe yakozesa ku Yobu?

13 Tusaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku bukodyo Sitaani bwe yakozesa ku Yobu kubanga akyakozesa obukodyo bwe bumu ne leero. Lowooza ku bigambo bino Sitaani bye yayogera. Yagamba nti: “Omuntu [si Yobu yekka] anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.” (Yob. 2:4, 5) Okusinziira ku bigambo ebyo, Sitaani agamba nti tetwagala Yakuwa era nti tusobola okulekera awo okumuweereza bwe kiba nti ekyo kijja kutaasa obulamu bwaffe. Ate era Sitaani agamba nti Katonda tatwagala era nti ne bwe tukola ki, tetusobola kumusanyusa. Olw’okuba tumanyi obukodyo Sitaani bw’akozesa, ffe abatadde essuubi lyaffe mu Yakuwa tetujja kubuzaabuzibwa.

14. Ebizibu bye twolekagana nabyo biyinza kutuyamba bitya?

14 Ebizibu bye tuba twolekagana nabyo tusaanidde okubitwala ng’akakisa ke tuba tufunye okwekebera. Ebizibu Yobu bye yafuna byamuyamba okutegeera obunafu bwe yalina era n’abukolako. Yakiraba nti yali yeetaaga okweyongera okukulaakulanya obwetoowaze. (Yob. 42:3) Naffe tulina bingi bye tusobola okuyiga bwe tuba twolekagana n’ekizibu. Ow’oluganda ayitibwa Nikolay, * eyasibibwa mu kkomera wadde nga yalina obulwadde obw’amaanyi, agamba nti: “Ekkomera lyannyamba okutegeera engeri ez’Ekikristaayo ze nnali nneetaaga okweyongera okukulaakulanya.” Bwe tumanya obunafu bwaffe tusobola okubukolako.

15. Ani gwe tusaanidde okuwuliriza era lwaki?

15 Tusaanidde okuwuliriza Yakuwa mu kifo ky’okuwuliriza abalabe baffe. Yobu yassaayo nnyo omwoyo nga Yakuwa ayogera naye. Yakuwa yamuyamba okutereeza endowooza ye, mu ngeri endala yamugamba nti: ‘Okiraba nti bye nnatonda biraga nti nnina amaanyi mangi nnyo? Mmanyi buli kimu ekikutuuseeko. Olowooza sisobola kukuyamba?’ Yobu yaddamu mu bukkakkamu era mu ngeri eraga nti yali asiima nnyo ebirungi Yakuwa bye yali amukoledde. Yagamba nti: “Amatu gange gaawulira ebikukwatako, naye kaakano nkulaba n’amaaso gange.” (Yob. 42:5) Kirabika Yobu we yayogerera ebigambo ebyo yali akyatudde mu vvu, ng’omubiri gwe gwonna gujjudde amabwa, era abaana be baali mu ntaana. Kyokka ne mu mbeera eyo, Yakuwa yakakasa Yobu nti amwagala nnyo era nti amusiima.​—Yob. 42:7, 8.

16. Okusinziira ku Isaaya 49:15, 16, kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tuba twolekagana n’ebizibu?

16 Ne leero, abantu abamu bayinza okutuvumirira era n’okutunyooma. Bayinza okwagala okwonoona erinnya lyaffe kinnoomu oba ng’ekibiina, nga ‘batuwaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika.’ (Mat. 5:11) Bye tusoma ku Yobu biraga nti Yakuwa atwesiga nti tujja kusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebizibu. Yakuwa atwagala nnyo era tayinza kwabulira abo abamutaddemu obwesige. (Soma Isaaya 49:15, 16.) Tossaayo mwoyo ku by’obulimba abalabe ba Katonda bye boogera. Ow’oluganda ayitibwa James abeera mu Butuluuki, eyayita mu bizibu eby’amaanyi ennyo n’ab’omu maka ge, agamba nti: “Twakiraba nti okuwuliriza eby’obulimba ebyali byogerwa ku bantu ba Yakuwa kyanditumazeemu amaanyi. Bwe kityo ebirowoozo byaffe twabissa ku ssuubi lye tulina era ne tweyongera okuweereza Yakuwa. Ekyo kyatuyamba okusigala nga tuli basanyufu.” Okufaananako Yobu, naffe tusaanidde kuwuliriza Yakuwa! Eby’obulimba abalabe baffe bye batwogerako tebituleetera kuggwaamu ssuubi.

ESSUUBI LY’OLINA LIJJA KUKUYAMBA

Yobu yaweebwa empeera olw’okusigala nga mwesigwa. Ye ne mukyala we Yakuwa yabawa emikisa mingi(Laba akatundu 17) *

17. Kiki kye tuyigira ku basajja n’abakazi abeesigwa aboogerwako mu Abebbulaniya essuula 11?

17 Yobu si ye muweereza wa Yakuwa yekka eyasigala nga mwesigwa ng’ayolekagana n’ebizibu. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya, omutume Pawulo yayogera ku baweereza ba Yakuwa abalala bangi era yabayita ‘ekibinja ekinene eky’abajulirwa.’ (Beb. 12:1) Bonna baayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, kyokka baasigala nga beesigwa eri Yakuwa. (Beb. 11:36-40) Baateganira bwereere okugumiikiriza n’okusigala nga beesigwa? N’akatono! Wadde ng’ebisuubizo bya Yakuwa byonna tebyatuukirira mu kiseera kyabwe, beeyongera okussa essuubi lyabwe mu Yakuwa. Era olw’okuba baali bakimanyi nti Yakuwa abasiima, baali bakakafu nti bandirabye ng’ebisuubizo bya Yakuwa byonna bituukiridde. (Beb. 11:4, 5) Ekyokulabirako kyabwe kisobola okutuyamba okusigala nga tuli bamalirivu okussa essuubi lyaffe mu Yakuwa.

18. Kiki ky’omaliridde okukola? (Abebbulaniya 11:6)

18 Leero tuli mu nsi eyeeyongera obweyongezi okwonooneka. (2 Tim. 3:13) Sitaani akyeyongera okugezesa abantu ba Katonda. Ka bibe bizibu ki bye tunaayolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso, ka tweyongere okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu nga tuli bakakafu nti “essuubi lyaffe tulitadde mu Katonda omulamu.” (1 Tim. 4:10) Ebyo Yakuwa bye yakolera Yobu oluvannyuma biraga nti “Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.” (Yak. 5:11) Naffe ka tweyongera okuba abeesigwa eri Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja ‘kuwa empeera abo abafuba okumunoonya.’​—Soma Abebbulaniya 11:6.

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

^ Bwe tulowooza ku muntu eyayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, atera okutujjira mu birowoozo ye Yobu. Biki bye tuyigira ku musajja oyo eyali omwesigwa? Tuyiga nti Sitaani tasobola kutuwaliriza kuva ku Yakuwa. Ate era tuyiga nti Yakuwa amanyi byonna ebitutuukako. Era nga Yakuwa bwe yakomya okubonaabona kwa Yobu, tuli bakakafu nti ekiseera kijja kutuuka aggyewo okubonaabona kwonna. Singa tukyoleka mu bikolwa byaffe nti ebyo byonna tubikkiriza, tujja kuba ‘tutadde essuubi lyaffe mu Yakuwa.’

^ EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “essuubi” kitegeeza “okulindirira” ekintu ng’okyesunga. Ate era kiyinza okutegeeza okwesigira ddala omuntu.—Zab. 25:2, 3; 62:5.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ EKIFAANANYI: Yobu ne mukyala we nga bakaaba olw’okufiirwa abaana baabwe.

^ EKIFAANANYI: Yobu yagumiikiriza okutuusa ebizibu bye lwe byaggwaawo. Ye ne mukyala we nga balowooza ku mikisa Yakuwa gye yali abawadde.