Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 37

Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno

Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno

“Okwagala . . . kukkiriza ebintu byonna, kusuubira ebintu byonna.”​—1 KOL. 13:4, 7.

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

OMULAMWA *

1. Lwaki tekitwewuunyisa nti abantu bangi mu nsi tebeesiga bannaabwe?

 ABANTU mu nsi ya Sitaani bazibuwalirwa okwesiga omuntu yenna. Bannabyabusuubuzi, bannabyabufuzi, n’abakulembeze b’amadiini bakola ebintu ebireetera abantu obutabeesiga. Ekyo kiviirako abantu okulekera awo okwesiga mikwano gyabwe, baliraanwa baabwe, n’ab’omu maka gaabwe. Naye ekyo tekitwewuunyisa. Bayibuli yagamba nti: ‘Mu nnaku ez’enkomerero abantu tebaliba beesigwa, baliba bawaayiriza, baliba ba nkwe.’ N’olwekyo, abantu b’omu nnaku ez’enkomerero bandibadde booleka engeri za Sitaani, ateesigika.​—2 Tim. 3:1-4; 2 Kol. 4:4.

2. (a) Baani be tuyinza okwesigira ddala? (b) Kiki abamu kye bayinza okwebuuza?

2 Naye ffe Abakristaayo tukimanyi nti tusobola okwesigira ddala Yakuwa. (Yer. 17:7, 8) Tuli bakakafu nti atwagala era nti ‘talyabulira’ mikwano gye. (Zab. 9:10) Ate era tusobola okwesiga Kristo Yesu kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. (1 Peet. 3:18) Era tukirabye mu bulamu bwaffe nti obulagirizi obuli mu Bayibuli bwesigika. (2 Tim. 3:16, 17) Tuli bakakafu nti Yakuwa ne Yesu beesigika, era nti ne Bayibuli yeesigika. Naye abamu bayinza okwebuuza nti, ‘Ddala nsobola okwesiga bakkiriza bannange mu kibiina?’ Eky’okuddamu bwe kiba nti ye, tuyinza okwebuuza ensonga lwaki tusobola okubeesiga?

TWETAAGA BAKKIRIZA BANNAFFE

Okwetooloola ensi, tulina bakkiriza bannaffe abeesigika era abaagala Yakuwa nga naffe bwe tumwagala (Laba akatundu 3)

3. Nkizo ki ey’ekitalo gye tulina? (Makko 10:29, 30)

3 Yakuwa yatulonda okuba abamu ku baweereza be abali mu nsi yonna. Enkizo eyo ya kitalo nnyo, era etuviirako okufuna emiganyulo mingi! (Soma Makko 10:29, 30.) Okwetooloola ensi, tulina baganda baffe ne bannyinaffe abaagala Yakuwa nga naffe bwe tumwagala, era abafuba okutambulira ku mitindo gye. Olulimi lwe twogera, obuwangwa bwaffe, n’ennyambala yaffe biyinza okuba eby’enjawulo ku byabwe, naye tuwulira nga tubaagala nnyo, ne bwe kiba nti twakabasisinkana omulundi ogusooka. N’okusingira ddala twagala nnyo okubeera awamu nabo nga tutendereza era nga tusinza Kitaffe ow’omu ggulu atwagala.​—Zab. 133:1.

4. Lwaki twetaaga bakkiriza bannaffe?

4 Leero okusinga bwe kyali kibadde, kitwetaagisa nnyo okuba obumu ne bakkiriza bannaffe. Oluusi batuyamba okwetikka emigugu gyaffe. (Bar. 15:1; Bag. 6:2) Ate era batuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’okunyweza enkolagana yaffe naye. (1 Bas. 5:11; Beb. 10:23-25) Lowooza bwe kyandibadde singa tewaaliwo kibiina kutuyamba kulwanyisa balabe baffe, Sitaani n’ensi ye! Mu kiseera ekitali kya wala, Sitaani n’abagoberezi be bajja kulumba abaweereza ba Katonda. Mu kiseera ekyo tujja kusiima nnyo eky’okuba nti tulina bakkiriza bannaffe abatuyamba.

5. Lwaki abamu kiyinza okubazibuwalira okwesiga bakkiriza bannaabwe?

5 Kyokka abamu kibazibuwalira okwesiga bakkiriza bannaabwe, oboolyawo olw’okuba waliwo ekintu kye baagamba mukkiriza munnaabwe nga tebaagala abalala bakimanye, kyokka n’abaako b’akibuulira. Oba mukkiriza munnaabwe ayinza okuba ng’alina kye yabasuubiza naye n’atakituukiriza, oba ayinza okuba ng’alina kye yayogera oba kye yakola ekyabalumya ennyo. Ebintu ng’ebyo biyinza okukifuula ekizibu gye tuli okwesiga abalala. Kati olwo kiki ekiyinza okutuyamba okwesiga bakkiriza bannaffe?

OKWAGALA KUTUYAMBA OKWESIGA BAKKIRIZA BANNAFFE

6. Okwagala kutuyamba kutya okwesiga bakkiriza bannaffe? (1 Abakkolinso 13:4-8)

6 Okwagala kwe kutuleetera okwesiga abalala. Abakkolinso Ekisooka essuula 13 eyogera ku bintu bingi ebizingirwa mu kwagala ebisobola okutuyamba okweyongera okwesiga abalala oba okuddamu okubeesiga. (Soma 1 Abakkolinso 13:4-8.) Ng’ekyokulabirako, olunyiriri 4 lugamba nti, “Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa.” Oluusi tukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa, naye atugumiikiriza. N’olwekyo, bakkiriza bannaffe bwe bakola oba bwe boogera ebintu ebitulumya, tulina okubagumiikiriza. Olunyiriri 5 lugattako nti: “[Okwagala] tekunyiiga era tekusiba kiruyi.” Tetwandyagadde ‘kusibira bakkiriza bannaffe kiruyi,’ ne tusigala nga tulowooza ku bintu bye baatukola ebyatulumya. Omubuulizi 7:9 walaga nti tetusaanidde ‘kwanguyiriza kusunguwala.’ Mu butuufu, tusaanidde okukolera ku bigambo ebiri mu Abeefeso 4:26, awagamba nti: “Enjuba eremenga okugwa nga mukyali basunguwavu”!

7. Omusingi oguli mu Matayo 7:1-5, guyinza gutya okutuyamba okwesiga bakkiriza bannaffe?

7 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okwesiga bakkiriza bannaffe kwe kubatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira. Yakuwa abaagala nnyo era tasigala ng’alowooza ku nsobi zaabwe. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okukola. (Zab. 130:3) Mu kifo ky’okussa ebirowoozo byaffe ku nsobi zaabwe, tusaanidde okufuba okubissa ku ngeri zaabwe ennungi ne ku bintu ebirungi bye basobola okukola. (Soma Matayo 7:1-5.) Tusaanidde okukitwala nti baagala okukola ebirungi era nti tebaagala kutulumya, kubanga okwagala “kukkiriza ebintu byonna.” (1 Kol. 13:7) Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa atusuubira okumala geesiga abalala awatali nsonga kwe tusinziira kubeesiga. Ayagala tubeesige nga tulina kwe tusinziira. *

8. Kiki ekiyinza okutuyamba okwesiga bakkiriza bannaffe?

8 Kitwala ekiseera okusobola okwesiga bakkiriza bannaffe. Kiki ekiyinza okutuyamba okutandika okubeesiga. Fuba okubamanya obulungi. Ng’ekyokulabirako, waayo ebiseera okunyumyako nabo nga bazze mu nkuŋŋaana. Kola enteekateeka okubuulirako wamu nabo. Bagumiikirize era bawe akakisa okukiraga nti beesigika. Mu kusooka, oyinza okubaako ebintu by’otandyagadde kubuulira muntu gwe waakatandika obutandisi okumanya. Bw’ogenda weeyongera okumumanya, oyinza okuwulira nti osobola okumweyabiza. (Luk. 16:10) Naye kiki ky’osaanidde okukola singa obaako ekintu ky’obuulira mukkiriza munno ky’otandyagadde abalala bamanye, naye n’abaako b’akibuulira? Toyanguwa kukomya mukwano gwammwe. Mu kifo ky’ekyo, kiwe ekiseera. Era tokkiriza ebyo abamu bye bakola okukuleetera okulekera awo okwesiga bakkiriza banno bonna. Ku nsonga eno, tugenda kulabayo ebyokulabirako by’abamu ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaasigala nga beesiga abalala, wadde nga waliwo abaabakola ebintu ebyandibadde bibaleetera okulekera awo okwesiga omuntu yenna.

YIGIRA KU ABO ABAASIGALA NGA BEESIGA ABALALA

Wadde nga mu kusooka Eli yategeera bubi Kaana, Kaana yeeyongera okwesiga enteekateeka ya Yakuwa (Laba akatundu 9)

9. (a) Kaana yasigala atya ng’awagira enteekateeka ya Yakuwa wadde ng’abamu ku abo abaali batwala obukulembeze baali tebeeyisa bulungi? (b) Ebyo bye tusoma ku Kaana bikuyigiriza ki ku kwesiga enteekateeka ya Yakuwa? (Laba ekifaananyi.)

9 Waliwo ow’oluganda ali mu kifo eky’obuvunaanyizibwa eyakola ekintu ekyakulumya? Bwe kiba kityo, ekyokulabirako kya Kaana kijja kukuyamba nnyo. Mu kiseera kya Kaana, kabona asinga obukulu eyali ayitibwa Eli ye yali akulemberamu Abayisirayiri mu kusinza Yakuwa. Naye ab’omu maka ge baali tebassaawo kyakulabirako kirungi. Batabani be abaalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa beenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu; kyokka taata waabwe talina kya maanyi kye yakolawo kubakangavvula. Yakuwa teyayanguwa kuggya Eli ku bwakabona. Wadde kiri kityo, Kaana yasigala awagira enteekateeka ya Yakuwa. Teyalekera awo kugendanga kusinza Yakuwa ku weema entukuvu, wadde nga Eli ye yali aweereza nga kabona asinga obukulu ku weema eyo. Lumu Kaana bwe yali asaba nga munakuwavu nnyo, Eli yalowooza nti yali atamidde. Nga tasoose kwetegereza kumanya kituufu, yanenya omukazi oyo eyali omunakuwavu ennyo. (1 Sam. 1:12-16) Wadde kyali kityo, Kaana yeeyama nti bwe yandizadde omwana ow’obulenzi, yandimuleese ku weema entukuvu we yandiweererezza ng’ali mu mikono kya Eli. (1 Sam. 1:11) Batabani ba Eli baali beetaaga okubonerezebwa? Yee, era mu kiseera kya Yakuwa ekituufu baabonerezebwa. (1 Sam. 4:17) Ate ye Kaana Yakuwa yamuwa emikisa, n’amusobozesa okuzaala omwana ow’obulenzi gwe yatuuma Samwiri.​—1 Sam. 1:17-20.

10. Kabaka Dawudi yasigala atya nga yeesiga abalala wadde ng’abamu ku abo abaamuli ku lusegere baamulyamu olukwe?

10 Wali oliiriddwamu olukwe mukwano gwo ow’oku lusegere? Bwe kiba kityo, lowooza ku Kabaka Dawudi. Omu ku mikwano gye egy’oku lusegere yali ayitibwa Akisoferi. Omu ku batabani ba Dawudi eyali ayitibwa Abusaalomu bwe yagezaako okwezza obwakabaka bwa Dawudi, Akisoferi yamwegattako. Dawudi ateekwa okuba nga yayisibwa bubi nnyo, mutabani we ne mukwano gwe ow’oku lusegere bwe baamwefuulira! Naye ekyo Dawudi teyakikkiriza kumuleetera kulekera awo kwesiga balala. Yeeyongera okwesiga mukwano gwe omulala ow’oku lusegere eyali ayitibwa Kusaayi, eyagaana okwegatta ku abo abaali baagala okwezza obwakabaka bwa Dawudi. Dawudi teyamwesigira bwereere. Kusaayi yakiraga nti yali wa mukwano mulungi, era yatuuka n’okussa obulamu bwe mu kabi okuyamba Dawudi.​—2 Sam. 17:1-16.

11. Omu ku baweereza ba Nabbali yakiraga atya nti yali yeesiga abalala?

11 Lowooza ne ku kyokulabirako ky’omu ku baweereza ba Nabbali. Dawudi n’abasajja be baali bakuumye abaweereza ba Nabbali, omusajja Omuyisirayiri eyali omugagga ennyo. Nga wayise ekiseera, Dawudi yasaba Nabbali okumuwa ku by’okulya awamu n’abasajja be yali nabo. Nabbali bwe yagaana, Dawudi yasunguwala nnyo era n’asalawo nti yali agenda kutta buli musajja eyali mu nnyumba ya Nabbali. Omu ku baweereza ba Nabbali yategeeza Abbigayiri, mukyala wa Nabbali, ekyo ekyali kibaddewo. Omuweereza oyo yali akimanyi nti Abbigayiri yali asobola okubaako ky’akolawo okutaasa obulamu bwabwe. Mu kifo ky’okudduka, yeesiga Abbigayiri nti yali asobola okutereeza embeera. Yali asobola okumwesiga kubanga Abbigayiri yali amanyiddwa nti mukazi mutegeevu. Era ddala teyamwesigira bwereere. Abbigayiri yayoleka obuvumu n’awooyawooya Dawudi n’atakola ekyo kye yali ayagala okukola. (1 Sam. 25:2-35) Abbigayiri yeesiga Dawudi nti yandyeyisizza mu ngeri ey’amagezi.

12. Yesu yakiraga atya nti yali yeesiga abayigirizwa be wadde nga baakolanga ensobi?

12 Yesu yali yeesiga abayigirizwa be wadde nga baakolanga ensobi. (Yok. 15:15, 16) Yakobo ne Yokaana bwe baamusaba ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka, teyakitwala nti baali baweereza Yakuwa olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe, era teyabaggyako nkizo ya kuweereza ng’abatume. (Mak. 10:35-40) Oluvannyuma abayigirizwa ba Yesu bonna baamwabulira mu kiro abalabe be kye baamukwatiramu. (Mat. 26:56) Wadde kyali kityo, Yesu yasigala abeesiga. Yali amanyi bulungi obunafu bwabwe, kyokka “yabaagala okutuukira ddala ku nkomerero.” (Yok. 13:1) Bwe yazuukira, yawa abatume be 11 abeesigwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuwoma omutwe mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa n’okulabirira endiga ze ez’omuwendo. (Mat. 28:19, 20; Yok. 21:15-17) Mu butuufu, teyabeesigira bwereere. Bonna baaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe baamaliriza obuweereza bwabwe obw’oku nsi. Mazima ddala Kaana, Dawudi, omuweereza wa Nabbali, Abbigayiri, ne Yesu, bassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kwesiga abantu abatatuukiridde.

OKUDDAMU OKWESIGA BAKKIRIZA BANNAFFE

13. Kiki ekiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okwesiga abalala?

13 Waliwo ow’oluganda gwe wali obuulidde ekintu eky’ekyama kyokka oluvannyuma n’abaako gw’akibuulira? Ekyo kiruma nnyo. Lumu mwannyinaffe yabuulira omukadde omu ekintu kye yali tayagala balala bamanye. Ku lunaku olwaddako, mukyala w’omukadde yakubira mwannyinaffe oyo essimu okumuzzaamu amaanyi, ekyalaga nti omukadde oyo yali amubuulidde ekintu mwannyinaffe kye yali amugambye. Kya lwatu nti mwannyinaffe oyo yakisanga nga kizibu okuddamu okwesiga omukadde oyo. Kyokka ekirungi kiri nti mwannyinaffe oyo yanoonya obuyambi. Yatuukirira omukadde omulala eyamuyamba okuddamu okwesiga abakadde.

14. Kiki ekyayamba ow’oluganda omu okuddamu okwesiga abalala?

14 Ow’oluganda omu yamala ekiseera kiwanvu ng’anyiigidde abakadde babiri be yali atwala nti tebeesigika. Kyokka yatandika okulowooza ku bigambo bino ow’oluganda omu gwe yali assaamu ennyo ekitiibwa bye yayogera: “Sitaani ye mulabe waffe, so si bakkiriza bannaffe.” Ow’oluganda oyo yafumiitiriza nnyo ku bigambo ebyo, n’asaba Yakuwa amuyambe, era oluvannyuma yasobola okutabagana n’abakadde abo.

15. Lwaki kiyinza okutwala ekiseera okuddamu okwesiga abalala? Waayo ekyokulabirako.

15 Wali oggiddwako enkizo? Ekyo bwe kibaawo kiruma nnyo. Mwannyinaffe Grete ne maama we baaweereza Yakuwa n’obwesigwa mu kiseera ky’Abanazi mu Bugirimaani mu myaka gya 1930, omulimu gwaffe bwe gwali nga guwereddwa. Grete yalina enkizo ey’okukozesa tayipu okukuba kopi z’Omunaala gw’Omukuumi. Naye ab’oluganda bwe baakitegeera nti taata we yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa, baamuggyako enkizo eyo nga batya nti taata we yali ayinza okubuulira abo abaali bayigganya Abajulirwa ba Yakuwa ebikwata ku kibiina. Kyokka waliwo n’ekizibu ekirala Grete kye yalina okugumira. Mu kiseera kyonna ekya Ssematalo ow’Okubiri, ab’oluganda baagaana okuwa Grete ne maama we kopi z’Omunaala gw’Omukuumi, era bwe baabasanganga mu kkubo tebaayogeranga nabo. Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyabaluma nnyo! Mu butuufu kyabayisa bubi nnyo, era Grete yagamba nti kyamutwalira ekiseera kiwanvu okusonyiwa ab’oluganda abo n’okuddamu okubeesiga. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera yakiraba nti Yakuwa yali abasonyiye, era nti naye yalina okubasonyiwa. *

“Sitaani ye mulabe waffe, so si bakkiriza bannaffe”

16. Lwaki tulina okufuba ennyo okuyiga okwesiga bakkiriza bannaffe?

16 Bwe kiba nti naawe wayolekaganako n’embeera efaananako bw’etyo, fuba okuddamu okwesiga bakkiriza banno. Ekyo kiyinza okutwala ekiseera, naye bw’onoofuba, ebinaavaamu bijja kuba birungi. Ng’ekyokulabirako, bw’oba nga wali olidde ku mmere n’ekulwaza, oyinza okuba nga watandika okwegendereza emmere gy’olya. Kyokka bwe tubaako emmere gye tulya n’etulwaza, ekyo tekitulemesa kuddamu kulya. Mu ngeri y’emu, mukkiriza munnaffe omu bw’akola ekintu ekitulumya, tetusaanidde kulekera awo kwesiga bakkiriza bannaffe bonna. Tukimanyi nti bakkiriza bannaffe tebatuukiridde. Bwe tuddamu okwesiga bakkiriza bannaffe tweyongera okuba abasanyufu, era ekyo kituyamba okumanya kye tusaanidde okukola okuyamba bonna mu kibiina okwesigaŋŋana.

17. Lwaki kikulu nnyo okwesiga abalala, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Abantu bangi mu nsi tebeesiga balala. Naye ffe twesiga bakkiriza bannaffe olw’okuba tubaagala era nabo batwagala. Ekyo kituyamba okuba abasanyufu kati era n’okuba obumu. Ate era kijja kuba kya bukuumi nga twolekagana n’ebizibu ebijja mu maaso. Kiki ky’osaanidde okukola bwe wabaawo omuntu eyakukola ekintu ekyakulumya era ng’owulira tokyamwesiga? Fuba okutunuulira ensonga nga Yakuwa bw’agitunuulira, kolera ku misingi gya Bayibuli, kulaakulanya okwagala kw’olina eri bakkiriza bano, era yigira ku bantu aboogerwako mu Bayibuli. Tusobola okuddamu okwesiga bakkiriza bannaffe abaatukola ebintu ebyatulumya. Bwe tukola bwe tutyo, tuba n’emikwano mingi egitunywererako. (Nge. 18:24) Kyokka tekimala kwesiga balala; naffe tulina okuba nga twesigika. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu ebiyinza okutuyamba okuba abantu abeesigika.

OLUYIMBA 99 Ab’Oluganda Bukadde na Bukadde

^ Tusaanidde okwesiga bakkiriza bannaffe. Naye oluusi ekyo tekiba kyangu kubanga ebiseera ebimu bakola ebintu ebikifuula ekizibu okubeesiga. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli n’okufumiitiriza ku byokulabirako by’abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli gye kiyinza okutuyamba okweyongera okwesiga bakkiriza bannaffe, oba okuddamu okubeesiga bwe baba nga baakola ebintu ebikifuula ekizibu okubeesiga.

^ Bayibuli egamba nti abantu abamu mu kibiina bandibadde tebeesigika. (Yud. 4) Wadde nga tekitera kubaawo, oluusi ab’oluganda ab’obulimba bayinza okugezaako okubuuzaabuza abalala nga ‘boogera ebintu ebikyamye.’ (Bik. 20:30) Tetulina kwesiga bantu ng’abo wadde okubawuliriza.

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku Grete, laba Yearbook of Jehovah’s Witnesses eya 1974, lup. 129-131.