Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 40

‘Okuyamba Abangi Okutambulira mu Kkubo ery’Obutuukirivu’

‘Okuyamba Abangi Okutambulira mu Kkubo ery’Obutuukirivu’

“Abo abaliba bayamba abangi okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.”​—DAN. 12:3.

OLUYIMBA 151 Alibayita

OMULAMWA *

1. Kintu ki kye twesunga ennyo ekijja okubaawo mu kiseera eky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi?

 NGA kiriba kiseera kya ssanyu nnyo ng’okuzuukira kutandise okubaawo wano ku nsi mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi! Abo bonna abaafiirwa abantu baabwe beesunga nnyo okuddamu okubalaba. Yakuwa naye yeesunga nnyo okubalaba. (Yob. 14:15) Lowooza ku ssanyu eringi eriribaawo nga tuzzeemu okubeera awamu n’abaagalwa baffe abaafa. Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, “abatuukirivu,” abo abaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu, bajja ‘kuzuukirira obulamu.’ (Bik. 24:15; Yok. 5:29) Oboolyawo bangi ku bantu baffe be bamu ku abo abanaazuukira nga waakayita ekiseera kitono ng’olutalo lwa Amagedoni luwedde. * Ate era “abatali batuukirivu,” gamba ng’abo abataafuna kakisa kamala kumanya bikwata ku Yakuwa oba okumuweereza n’obwesigwa nga tebannafa, nabo bajja ‘kuzuukirira omusango.’

2-3. (a) Nga bwe kiragibwa mu Isaaya 11:9, 10, mulimu ki ogw’okuyigiriza ogukyasinzeeyo obunene mu byafaayo by’abantu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Abo bonna abanaazuukizibwa bajja kwetaaga okuyigirizibwa. (Is. 26:9; 61:11) N’olwekyo wajja kubaawo omulimu gw’okuyigiriza ogukyasinzeeyo obunene mu byafaayo by’abantu. (Soma Isaaya 11:9, 10.) Lwaki? Abatali batuukirivu abanaazuukizibwa, kijja kubeetaagisa okuyiga ebikwata ku Yesu Kristo, ku Bwakabaka, ku kinunulo, ne ku nsonga ekwata ku linnya lya Yakuwa, n’okuba nti y’agwanidde okufuga. N’abatuukirivu kijja kubeetaagisa okuyigirizibwa ebintu Yakuwa by’azze abikkulira abantu be ebikwata ku kigendererwa ky’alina eri ensi. Abamu ku baweereza ba Yakuwa abo abeesigwa baafa dda nnyo nga Bayibuli tennamalirizibwa kuwandiikibwa. Abatali batuukirivu n’abatuukirivu bajja kuba n’eby’okuyiga bingi.

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Kiki ekijja okuzingirwa mu kukola omulimu guno ogw’okuyigiriza omunene ennyo? Engeri abantu gye banaatwalamu ebyo bye banaayigirizibwa eneekwata etya ku ky’okuba nti amannya gaabwe gawandiikibwa mu kitabo ky’obulamu ne gasigalamu emirembe gyonna? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bikulu nnyo gye tuli leero. Nga bwe tugenda okulaba, obumu ku bunnabbi obuli mu kitabo kya Danyeri n’eky’Okubikkulirwa bujja kutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu ekyo ekijja okubaawo ng’abafu bazuukidde. Ka tusooke tulabe ebintu ebyayogerwako mu bunnabbi obuli mu Danyeri 12:1, 2.

“ABO ABEEBASE MU NFUUFU . . . BALIZUUKUKA”

4-5. Danyeri 12:1 walaga nti kiki ekyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero?

4 Soma Danyeri 12:1. Ekitabo kya Danyeri kiraga engeri ebintu eby’okubaawo mu nnaku ez’enkomerero gye byandigenze nga biddiriŋŋana. Ng’ekyokulabirako, Danyeri 12:1 walaga nti Mikayiri, ng’ono ye Yesu Kristo, ‘yandiyimiridde ku lw’abantu’ ba Katonda. Obunnabbi obwo bwatandika okutuukirira mu 1914 Yesu bwe yalondebwa okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu ggulu.

5 Kyokka era Danyeri yagambibwa nti Yesu ‘yandiyimiridde’ mu kiseera “eky’obuyinike ekitabangawo kasookedde eggwanga libaawo okutuusa mu kiseera ekyo.” ‘Ekiseera ekyo eky’obuyinike’ kye ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekyogerwako mu Matayo 24:21. Yesu ayimirira oba abaako ky’akolawo okulwanirira abantu ba Katonda ku nkomerero y’ekiseera ekyo eky’obuyinike, kwe kugamba, ku Amagedoni. Abantu abo era boogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa ‘ng’ekibiina ekinene eky’abo abaayita mu kibonyoobonyo ekinene.’​—Kub. 7:9, 14.

6. Kiki ekijja okubaawo oluvannyuma lw’ab’ekibiina ekinene okuyita mu kibonyoobonyo ekinene? Nnyonnyola. (Laba n’ebyo ebiri mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi,” mu magazini eno, ebyogera ku kuzuukira kw’abafu okujja okubaawo ku nsi.)

6 Soma Danyeri 12:2. Kiki ekibaawo oluvannyuma lw’ab’ekibiina ekinene okuyita mu kiseera eky’obuyinike? Obunnabbi obwo tebukwata ku kuzuukira okw’akabonero, kwe kugamba, okuzzibwawo kw’abantu ba Katonda mu by’omwoyo, okubaawo mu nnaku ez’enkomerero nga bwe tubaddenga tugamba. * Olunyiriri olwo lwogera ku kuzuukira okujja okubaawo mu nsi empya. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekigambo ‘enfuufu’ kikozesebwa ne mu Yobu 17:16, era nga kitegeeza “amagombe.” Ekyo kiraga nti Danyeri 12:2 woogera ku kuzuukira okujja okubaawo oluvannyuma lw’ennaku ez’enkomerero era nga n’olutalo Amagedoni luwedde.

7. (a) Mu ngeri ki abamu gye bajja okuzuukira okufuna “obulamu obutaggwaawo”? (b) Lwaki okuzuukira okwo kuyitibwa “okuzuukira okusinga obulungi”?

7 Danyeri 12:2 walaga nti abafu abamu bajja kuzuukira bafune “obulamu obutaggwaawo.” Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti abo abanaazuukizibwa ne bamanya oba ne beeyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa ne Yesu era ne babagondera mu kiseera eky’emyaka 1,000, bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Okuzuukira okwo kuyitibwa “okuzuukira okusinga obulungi.” Kusinga okwo okwaliwo ku bantu abamu mu biseera eby’edda. (Beb. 11:35) Lwaki? Kubanga abantu abo abaazuukizibwa baali tebatuukiridde era oluvannyuma baddamu ne bafa.

8. Mu ngeri ki abamu gye bajja okuzuukirira “okunenyezebwa n’okunyoomebwa emirembe gyonna”?

8 Naye abamu ku bantu abanaazuukizibwa tebajja kwagala kuyigirizibwa. Obunnabbi bwa Danyeri bulaga nti abamu ku abo abanaazuukizibwa, bajja kuzuukirira “okunenyezebwa n’okunyoomebwa emirembe gyonna.” Olw’okuba bajja kuba bajeemu, amannya gaabwe tegajja kuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu era tebajja kufuna bulamu butaggwaawo. Mu kifo ky’ekyo bajja ‘kunyoomebwa emirembe gyonna,’ oba bajja kuzikirizibwa. N’olwekyo Danyeri 12:2 woogera ku ekyo ekinaatuuka ku bantu bonna abanaazuukizibwa, kwe kugamba, ekinaabatuukako okusinziira ku ebyo bye banaakola oluvannyuma lw’okuzuukizibwa. * (Kub. 20:12) Abamu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo, ate abalala tebajja kubufuna.

‘OKUYAMBA ABANGI OKUTAMBULIRA MU KKUBO ERY’OBUTUUKIRIVU’

9-10. Kiki ekirala ekijja okubaawo oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, era baani ‘abalyakaayakana ng’okwakaayakana kw’omu bbanga’?

9 Soma Danyeri 12:3. Kiki ekirala ekijja okubaawo oluvannyuma ‘lw’ekiseera eky’obuyinike’ ekijja? Ng’oggyeeko ebyo ebyogerwako mu Danyeri 12:2, olunyiriri 3 lwogera ku kintu ekirala ekijja okubaawo oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene.

10 Baani ‘abalyakaayakana ng’okwakaayakana kw’omu bbanga’? Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 13:43 bituyamba okumanya aboogerwako. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Mu kiseera ekyo, abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu Bwakabaka bwa Kitaabwe.” Ennyiriri eziriraanyeewo ziraga nti, Yesu yali ayogera ku “baana b’Obwakabaka,” kwe kugamba, baganda be abaafukibwako amafuta, abajja okufugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Mat. 13:38) N’olwekyo Danyeri 12:3 wateekwa okuba nga woogera ku baafukibwako amafuta, n’omulimu gwe bajja okukola mu Bufuzi obw’Emyaka Olukumi.

Abaafukibwako amafuta 144,000 bajja kukolera wamu ne Yesu Kristo mu kuwa obulagirizi ku ngeri y’okukolamu omulimu gw’okuyigiriza ogujja okubaawo mu kiseera eky’emyaka 1,000 (Laba akatundu 11)

11-12. Mulimu ki abaafukibwako amafuta 144,000 gwe bajja okukola mu kiseera eky’emyaka 1,000?

11 Abaafukibwako amafuta banaayamba batya ‘bangi okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu’? Bajja kukolera wamu ne Yesu Kristo nga bawa obulagirizi mu mulimu gw’okuyigiriza ogunaaba gukolebwa wano ku nsi mu kiseera eky’emyaka 1,000. Ng’oggyeeko okuba nti abo 144,000 bajja kuweereza nga bakabaka, era bajja kuweereza nga bakabona. (Kub. 1:6; 5:10; 20:6) Bajja kuyambako mu ‘kuwonya amawanga,’ mpolampola basobozese abantu okufuuka abatuukiridde. (Kub. 22:1, 2; Ezk. 47:12) Ekyo nga kijja kuleetera abaafukibwako amafuta essanyu lingi!

12 Baani abanaabeera mu ‘bangi’ abajja okuyambibwa okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu? Mu bangi abo mujja kubaamu abo abajja okuzuukizibwa, abanaawonawo ku lutalo Amagedoni, n’abaana abayinza okuzaalibwa mu nsi empya. Emyaka 1,000 we giriggweerako abantu bonna abaliba ku nsi baliba batuukiridde. Mu kiseera ekyo amannya gaabwe galiba gawandiikiddwa mu bwino so si na kkalaamu nkalu?

OKUGEZESEBWA OKUSEMBAYO

13-14. Kiki abantu bonna abatuukiridde abanaaba ku nsi kye bajja okwetaaga okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo?

13 Tusaanidde okukijjukira nti omuntu okuba ng’atuukiridde tekitegeeza nti mu buli ngeri aba ajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Lowooza ku Adamu ne Kaawa! Baali batuukiridde, naye baalina okuba abawulize eri Yakuwa okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Eky’ennaku tebaali bawulize gy’ali.​—Bar. 5:12.

14 Kinaaba kitya eri abo abanaabeera ku nsi ku nkomerero y’emyaka 1,000? Bonna bajja kuba batuukiridde. Naye bonna banaawagira Obufuzi bwa Yakuwa emirembe gyonna? Oba abamu wadde nga banaaba batuukiridde tebajja kuba beesigwa okufaananako Adamu ne Kaawa? Ebibuuzo ebyo bijja kwetaaga okuddibwamu, naye binaddibwamu bitya?

15-16. (a) Ddi abantu bonna lwe bajja okufuna akakisa okukiraga nti beesigwa eri Yakuwa? (b) Biki ebinaava mu kugezesebwa okusembayo?

15 Sitaani ajja kusibibwa okumala emyaka 1,000. Mu kiseera ekyo ajja kuba talina gw’ayinza kulimbalimba. Kyokka ku nkomerero y’emyaka 1,000 ajja kusumululwa. Ajja kugezaako okulimbalimba abantu abatuukiridde. Mu kiseera ekyo eky’okugezesebwa, abantu bonna ku nsi abatuukiridde bajja kuba n’akakisa okulaga oludda lwe baliko ku nsonga ekwata ku linnya lya Katonda n’obufuzi bwe. (Kub. 20:7-10) Ekyo kye banaakolawo nga Sitaani agezaako okubalimbalimba kye kijja okusinziirwako amannya gaabwe okusigala mu kitabo ky’obulamu emirembe gyonna oba obutasigalamu.

16 Bayibuli eraga nti okufaananako Adamu ne Kaawa, abantu abamu bajja kugaana okuwagira Obufuzi bwa Yakuwa. Kiki ekinaatuuka ku bantu abo? Okubikkulirwa 20:15 wagamba nti: “Buli eyasangibwa nga tawandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu yasuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.” Abantu abo abajeemu bajja kuzikirizibwa. Abantu abasinga obungi bajja kusigala nga beesigwa mu kugezesebwa okusembayo. Amannya gaabwe gajja kuwandiikibwa mu kitabo eky’obulamu gabeeremu emirembe gyonna.

MU “KISEERA EKY’ENKOMERERO”

17. Kiki malayika kye yagamba Danyeri nti kyandibaddewo mu kiseera kyaffe? (Danyeri 12:4, 8-10)

17 Mazima ddala tukwatibwako nnyo bwe tulowooza ku bintu ebyo ebijja okubaawo! Kyokka waliwo ekintu ekikulu malayika kye yabuulira Danyeri ekikwata ku kiseera kyaffe, “kiseera eky’enkomerero.” (Soma Danyeri 12:4, 8-10; 2 Tim. 3:1-5) Malayika yagamba Danyeri nti: “Okumanya okutuufu kulyeyongera.” Ebintu eby’obunnabbi ebiri mu kitabo kya Danyeri abantu ba Katonda be bandibadde babitegeera mu bujjuvu. Malayika yagattako nti, mu kiseera ekyo “ababi balikola ebintu ebibi, era ku babi tekuli n’omu alitegeera.”

18. Kiki ekinaatera okutuuka ku bantu ababi?

18 Leero abantu ababi balabika ng’abatabonerezebwa olw’ebintu ebibi bye bakola. (Mal. 3:14, 15) Naye mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kwawula abantu abalinga embuzi ku bantu abalinga endiga. (Mat. 25:31-33) Abantu abo ababi tebajja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene, era tebajja kuzuukizibwa mu nsi empya. Amannya gaabwe gajja kuba tegali mu ‘kitabo eky’okujjukiza’ ekyogerwako mu Malaki 3:16.

19. Kiki kye tusaanidde okukola mu kiseera kino, era lwaki? (Malaki 3:16-18)

19 Kino kye kiseera okukyoleka mu bikolwa byaffe nti tetuli bamu ku bantu ababi. (Soma Malaki 3:16-18.) Yakuwa akuŋŋaanya abo b’atwala ‘ng’ekintu ekiganzi,’ oba ekintu eky’omuwendo. Mazima ddala twagala okubeera mu abo b’akuŋŋaanya.

Nga kijja kuba kiseera kya ssanyu nnyo okulaba Danyeri, abaagalwa baffe abaafa, awamu n’abantu abalala nga bazzeemu ‘okuyimirira’ ne baweebwa omugabo gwabwe mu nsi empya! (Laba akatundu 20)

20. Kintu ki Danyeri kye yasuubizibwa, era lwaki weesunga okulaba nga kituukirizibwa?

20 Mazima ddala waliwo ebintu ebyewuunyisa ebigenda mu maaso mu kiseera kyaffe. Naye mu kiseera ekitali kya wala wajja kubaawo ebintu ebyewuunyisa n’okusingawo. Tunaatera okulaba ng’abantu ababi basaanyizibwawo. Oluvannyuma tujja kulaba okutuukirizibwa kw’ekintu kino Yakuwa kye yasuubiza Danyeri: “Oliyimirira n’oweebwa omugabo gwo ennaku bwe ziriggwaako.” (Dan. 12:13) Weesunga ekiseera Danyeri, awamu n’abantu bo abaafa lwe baliddamu ‘okuyimirira’? Bwe kiba kityo, fuba okusigala ng’oli mwesigwa. Bw’onookola bw’otyo, erinnya lyo lijja kusigala mu kitabo kya Yakuwa eky’obulamu.

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

^ Mu kitundu kino tugenda kulaba enkyukakyuka ekoleddwa mu ngeri gye tubadde tutegeeramu omulimu omunene ogw’okuyigiriza ogwogerwako mu Danyeri 12:2, 3. Tugenda kulaba ddi omulimu ogwo lwe gujja okukolebwa, na baani abajja okugwenyigiramu. Ate era tugenda kulaba engeri omulimu ogwo ogw’okuyigiriza gye gugenda okuyambamu abo abanaaba ku nsi okweteekerateekera okugezesebwa okusembayo okujja okubaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.

^ Kiyinzika okuba nti abafu bajja kuzuukira mulembe ku mulembe, era nga kirabika omulembe gw’abo abaafa nga beesigwa mu nnaku ez’enkomerero be bajja okusooka okuzuukira, oluvannyuma emirembe egy’emabega gigende nga giddako. Ekyo bwe kiba nti bwe kijja okuba, abantu aba buli mulembe bajja kuba n’akakisa okwaniriza abantu abanaazuukizibwa be bamanyi. Okuzuukira ka kube nga kunaabaawo kutya, Ebyawandiikibwa bwe biba byogera ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu, biraga nti kuli mu ngeri entegeke obulungi. Awatali kubuusabuusa n’okw’oku nsi kujja kubaawo mu ngeri entegeke obulungi.​—1 Kol. 14:33; 15:23.

^ Kino kikyusa mu ngeri amakulu g’olunyiriri luno gye gannyonnyolwamu mu katabo Ssaayo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Danyeri! essuula 17, ne mu Watchtower eya Jjulaayi 1, 1987, lup. 21-25.

^ Kino kya njawulo ku ebyo ebiri mu Ebikolwa 24:15 awoogera ku ‘batuukirivu n’abatali batuukirivu’ n’ebyo ebiri mu Yokaana 5:29 awoogera ku “abo abaakolanga ebintu ebirungi” n’abo “abaakolanga ebintu ebibi.” Ebyawandiikibwa bino byogera ku nneeyisa y’abantu nga tebannafa.