Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2

“Mukyusibwe nga Mufuna Endowooza Empya”

“Mukyusibwe nga Mufuna Endowooza Empya”

“Mukyusibwe nga mufuna endowooza empya, mulyoke mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”​—BAR. 12:2.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

OMULAMWA a

1-2. Kiki kye tulina okweyongera okukola oluvannyuma lw’okubatizibwa? Nnyonnyola.

 ENNYUMBA yo ogiyonja emirundi emeka? Oboolyawo bwe wali waakagiyingira wagiyonja yonna n’etukula bulungi. Naye kiki ekibaawo singa toddamu kugiyonja? Esobola okuddamu okukyafuwala. Okusobola okukuuma ennyumba yo ng’erabika bulungi, oba olina okugiyonjanga.

2 Mu ngeri y’emu, tusaanidde okufubanga okutereeza endowooza yaffe n’engeri gye tweyisaamu. Kyo kituufu nti bwe twali tetunnabatizibwa twafuba okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe, tusobole ‘okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.’ (2 Kol. 7:1) Naye kati tulina okukolera ku kubuulirira kw’omutume Pawulo eyatukubiriza “okweyongera okufuulibwa abaggya.” (Bef. 4:23) Lwaki twetaaga okweyongera okutereeza endowooza yaffe? Kubanga ebintu ebibi ebiri mu nsi bisobola okutufuula abatali bayonjo mu maaso ga Yakuwa. Ekyo okusobola okukyewala n’okweyongera okusanyusa Yakuwa, tusaanidde okwekeberanga okulaba oba ng’endowooza yaffe, enneeyisa yaffe, n’ebyo bye twegomba bisanyusa Yakuwa.

WEEYONGERE ‘OKUFUNA ENDOWOOZA EMPYA’

3. Kitegeeza ki ‘okufuna endowooza empya’? (Abaruumi 12:2)

3 Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okufuna endowooza empya? (Soma Abaruumi 12:2.) Ebigambo by’Oluyonaani ebyavvuunulwa nti “nga mufuna endowooza empya” era biyinza okuvvuunulwa nti, “nga mutereereza ddala endowooza yammwe.” Ekyo kisingawo kukukola ebintu ebirungi ebitonotono. Mu kifo ky’ekyo, tulina okwekebera ne tumanya ekyo kyennyini kye tuli munda, era ne tukola enkyukakyuka okusobola okutuukana n’emitindo gya Yakuwa. Ekyo tetusaanidde kukikola mulundi gumu gwokka, wabula tusaanidde okweyongera okukikola.

Engeri gy’osalawo ku bikwata ku buyigirize ne ku mirimu egy’okukola eraga nti okulembeza Obwakabaka? (Laba akatundu 4-5) c

4. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa enteekateeka eno ey’ebintu?

4 Bwe tunaafuuka abantu abatuukiridde, tujja kuba tusobola okusanyusa Yakuwa mu buli kimu kye tukola. Kyokka mu kiseera kino, tulina okufuba ennyo okusobola okusanyusa Yakuwa. Weetegereze akakwate akaliwo wakati w’okufuna endowooza empya n’okumanya ekyo Katonda ky’ayagala, nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 12:2. Mu kifo ky’okuleka ensi eno embi okututwaliriza, tusaanidde okwekebera okulaba obanga ebiruubirirwa byaffe n’ebyo bye tusalawo bituukana n’endowooza ya Katonda so si ey’ensi.

5. Tuyinza tutya okwekebera okulaba obanga tukkiriza nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde? (Laba ekifaananyi.)

5 Ng’ekyokulabirako, Yakuwa ayagala ‘tukuumire mu birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwe.’ (2 Peet. 3:12) Weebuuze: ‘Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nkimanyi nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu enaatera okutuuka? Ebyo bye nsalawo ku bikwata ku buyigirize ne ku mirimu egy’okukola, biraga nti okuweereza Yakuwa kye ntwala ng’ekisinga obukulu mu bulamu bwange? Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kundabirira n’ab’omu maka gange, oba buli kiseera nneeraliikirira?’ Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okumusanyusa mu buli kimu kye tukola.​—Mat. 6:25-27, 33; Baf. 4:12, 13.

6. Kiki kye tulina okweyongera okukola?

6 Tusaanidde okwekeberanga okumanya endowooza yaffe bw’eri era n’okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa. Omutume Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Mwekeberenga mulabe obanga muli mu kukkiriza; mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.” (2 Kol. 13:5) Okubeera “mu kukkiriza” kisingawo ku kubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigiranga mu mulimu gw’okubuulira. Kizingiramu n’endowooza yaffe, ebyo bye twegomba, n’ebiruubirirwa byaffe. N’olwekyo kitwetaagisa okweyongera okufuna endowooza empya nga tusoma Ekigambo kya Katonda, nga tuyiga okulowooza nga Yakuwa bw’alowooza, era nga tufuba okukola ebimusanyusa.​—1 Kol. 2:14-16.

‘MWAMBALE OMUNTU OMUGGYA’

7. Okusinziira ku Abeefeso 4:31, 32, kiki ekirala kye tulina okukola era lwaki kiyinza obutaba kyangu?

7 Soma Abeefeso 4:31, 32. Ng’oggyeeko okutereeza endowooza yaffe, tulina “okwambala omuntu omuggya.” (Bef. 4:24) Ekyo kyetaagisa okufuba. Tusaanidde okufuba okweggyamu engeri embi, gamba ng’okusiba ekiruyi, okunyiiga amangu, n’okusunguwala. Lwaki ekyo kiyinza obutaba kyangu? Kubanga engeri ezimu embi ze tuyinza okuba nazo ziyinza okuba nga zaasimba amakanda. Bayibuli egamba nti abantu abamu ‘ba busungu’ era ‘ba kiruyi.’ (Nge. 29:22) Ng’ekyokulabirako ekiddako bwe kiraga, n’oluvannyuma lw’okubatizibwa kitwetaagisa okufuba okusobola okweggyamu omuze ogwasimba amakanda.

8-9. Ekyokulabirako kya Stephen kiraga kitya obwetaavu bw’okweyongera okweyambulako omuntu omukadde?

8 Ow’oluganda ayitibwa Stephen kyamubeereranga kizibu okufuga obusungu. Agamba nti: “N’oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnalina okufuba ennyo okuyiga okufuga obusungu. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe twali tubuulira nnyumba ku nnyumba, nnagoba omubbi eyali abbye leediyo mu mmotoka yange. Bwe nnali nnaatera okumutuukako, yasuula leediyo ne yeeyongerayo. Bwe nnanyumiza abalala engeri gye nnali nnunuddemu leediyo yange, omukadde eyali mu kibinja kyaffe eky’okubuulira yambuuza nti, ‘Stephen, kiki kye wandikoze singa wakwata omubbi oyo?’ Ekibuuzo ekyo kyankwatako nnyo era kyandeetera okukiraba nti nnali nkyetaaga okufuba okuba omuntu ow’emirembe.” b

9 Ng’ekyokulabirako kya Stephen bwe kiraga, engeri embi eyinza okuddamu okweyoleka ne bwe tuba nga tulowooza nti twagivvuunuka. Ekyo bwe kikutuukako, toggwaamu maanyi era tolowooza nti olemereddwa okweyisa ng’Omukristaayo. N’omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.” (Bar. 7:21-23) Abakristaayo bonna tebatuukiridde era balina okweyongera okulwanyisa engeri embi eyinza okuddamu okweyoleka, ng’enfuufu bw’eyinza okuddamu okuyingira mu nnyumba wadde ng’ogisiimudde. Kitwetaagisa okufuba okusobola okusigala nga tuli bayonjo. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

10. Tuyinza tutya okulwanyisa engeri embi? (1 Yok. 5:14, 15)

10 Saba Yakuwa omutegeeze ku ngeri embi gy’ofuba okulwanyisa, ng’oli mukakafu nti ajja kuwulira okusaba kwo era akuyambe. (Soma 1 Yokaana 5:14, 15.) Wadde nga Yakuwa tajja kukuyamba mu ngeri ey’ekyamagero, ajja kukuwa amaanyi osobole okuvvuunuka engeri eyo embi. (1 Peet. 5:10) Kolera ku kusaba kwo nga weewala embeera eziyinza okukuviirako okuddamu okwoleka engeri embi. Ng’ekyokulabirako, weewale okuddamu okulaba firimu, programu za ttivi, oba okusoma ebitabo ebiraga nti si kikyamu kwoleka ngeri gy’ofuba okulwanyisa. Ate era weewale okulowooza ku bintu ebibi.​—Baf. 4:8; Bak. 3:2.

11. Biki bye tuyinza okukola okusobola okweyongera okwambala omuntu omuggya?

11 Ng’oggyeeko okweyambulako omuntu omukadde, kikulu nnyo okufuba okwambala omuntu omuggya. Ekyo oyinza kukikola otya? Ssaawo ekiruubirirwa eky’okusoma ku ngeri za Yakuwa era ofube okumukoppa. (Bef. 5:1, 2) Ng’ekyokulabirako, bw’osoma ku ngeri Yakuwa gy’asonyiwamu, weebuuze nti, ‘Nange nsonyiwa abalala?’ Bw’osoma ku ngeri Yakuwa gy’asaasiramu abaavu, weebuuze nti, ‘Nange nfaayo ku bakkiriza bannange abali mu bwetaavu, era mbaako kye nkolawo okubayamba?’ Weeyongere okutereeza endowooza yo ng’oyambala omuntu omuggya, era toggwaamu maanyi ng’olowooza nti olemereddwa.

12. Bayibuli yayamba etya Stephen okukyusa enneeyisa ye?

12 Stephen eyayogeddwako waggulu, mpolampola yasobola okwambala omuntu omuggya. Agamba nti: “Okuva lwe nnabatizibwa, njolekaganye n’embeera nnyingi ezibaddenga zinneetaagisa okufuga obusungu. Abantu abalala bwe bagezaako okunsoomooza mbaviira oba nfuba okukkakkanya embeera mu ngeri endala. Abantu bangi nga, mw’otwalidde ne mukyala wange, bansiima olw’okusigala nga ndi mukkakkamu mu mbeera ezisoomooza. Era nange nkiraba nti nkoze enkyukakyuka ez’amaanyi. Naye nkimanyi nti enkyukakyuka ezo si zikoze mu kufuba kwange, wabula ziraga nti Bayibuli esobola okuyamba omuntu okukyusa enneeyisa ye.”

WEEYONGERE OKULWANYISA OKWEGOMBA OKUBI

13. Biki ebinaatuyamba okulwanyisa okwegomba okubi? (Abaggalatiya 5:16)

13 Soma Abaggalatiya 5:16. Okusobola okutuyamba okukola ekituufu, Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda tuba tukkiriza omwoyo omutukuvu okukolera mu ffe. Ate era tufuna omwoyo omutukuvu bwe tubaawo mu nkuŋŋaana zaffe. Mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo tubeera wamu ne baganda baffe ne bannyinaffe nabo abafuba okukola ekituufu, era ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi. (Beb. 10:24, 25; 13:7) Ate era, bwe tutuukirira Yakuwa mu kusaba ne tumwegayirira atuyambe okuvvuunuka obunafu bwe tulwanyisa, ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe. Wadde ng’okusaba n’okwesomesa biyinza obutaggirawo ddala kwegomba kubi kwe tuyinza okuba nakwo, bijja kutuyamba okulwanyisa okwegomba okwo. Abaggalatiya 5:16 wagamba nti abo abatambulira mu mwoyo ‘tebajja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.’

14. Lwaki kikulu nnyo okweyongera okulwanyisa okwegomba okubi?

14 Bwe tweteerawo enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, kikulu nnyo okunywerera ku nteekateeka eyo n’okweyongera okulwanyisa okwegomba okubi. Lwaki? Kubanga tujja kweyongera okwolekagana n‘ebikemo. N’oluvannyuma lw’okubatizibwa, tuyinza okwesanga nga tusikirizibwa okukola ebintu bye bimu bye tulina okwewala, gamba ng’okukuba zzaala, okunywa ennyo omwenge, oba okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. (Bef. 5:3, 4) Ow’oluganda omu omuvubuka agamba nti: “Ekimu ku bintu ebinzibuwalidde ennyo okulwanyisa kwe kwegomba okwegatta n’abantu be nfaanaganya nabo ekikula. Nnali ndowooza nti ekiseera kyandituuse okwegomba okwo ne kuggwaawo naye nkyakulina.” Bwe kiba nti okwegomba okubi kw’olina kwa maanyi, kiki ekisobola okukuyamba?

Bw’oba ng’olina okwegomba okubi kw’olwanyisa, toggwaamu maanyi; waliwo abalala abasobodde okuvvuunuka okwegomba okwo (Laba akatundu 15-16)

15. Lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti abantu abalala nabo balina okwegomba okubi kwe balwanyisa? (Laba ekifaananyi.)

15 Bw’oba ng’ofuba okulwanyisa okwegomba okubi okw’asimba amakanda, kijjukire nti toli wekka. Bayibuli egamba nti: “Okukemebwa kwonna okubatuukako kwekwo okutuuka ku bantu bonna.” (1 Kol. 10:13a) Ebigambo ebyo byawandiikirwa Abakristaayo bonna, abasajja n’abakazi, abaali babeera mu Kkolinso. Abamu ku bo mu kusooka baali benzi, balyi ba bisiyaga, era batamiivu. (1 Kol. 6:9-11) Olowooza bwe baamala okubatizibwa tebaddamu kufuna kwegomba kwonna kubi? Nedda. Wadde nga bonna baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta, baali tebatuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki ebiseera ebimu baafunanga okwegomba okubi. Lwaki ekyo kizzaamu amaanyi? Kubanga kiraga nti okwegomba kwonna okubi kw’olwanyisa kati, waliwo abaasobola okukuvvuunuka. Mu butuufu, osobola okusigala ng’oli ‘munywevu mu kukkiriza, ng’okimanyi nti ne baganda bo bonna mu nsi boolekagana n’okubonaabona kwe kumu kw’oyolekagana nakwo.’​—1 Peet. 5:9.

16. Kiki kye tusaanidde okwewala era lwaki?

16 Weewale okulowooza nti tewali muntu mulala yenna ayinza kutegeera bunafu bw’olina. Ekyo kiyinza okukumalamu amaanyi ng’olowooza nti tosobola kuvvuunuka bunafu obwo. Bayibuli egamba nti: ‘Katonda mwesigwa, tajja kukuleka kukemebwa kusukka ku ky’oyinza okugumira, naye bw’okemebwa ajja kukuteerawo obuddukiro osobole okugumiikiriza.’ (1 Kol. 10:13b) N’olwekyo, okwegomba okubi ne bwe kuba nga kwa maanyi, tusobola okukuvvuunuka. Yakuwa asobola okutuyamba ne twewala okukola ekintu ekibi.

17. Wadde nga tuyinza obutasobola kwewalira ddala kufuna kwegomba kubi, kiki kye tusobola okukola?

17 Kijjukire nti olw’okuba tetutuukiridde, tetuyinza kwewalira ddala kufuna kwegomba kubi. Naye bwe tufuna okwegomba okubi tusobola okukweggyamu amangu ddala, nga Yusufu bw’ataalonzalonza kudduka muka Potifaali. (Lub. 39:12) Bw’ofuna okwegomba okubi, weewale okukukolerako!

WEEYONGERE OKUFUBA OKUFUNA ENDOWOOZA EMPYA

18-19. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza nga tufuba okufuna endowooza empya?

18 Okufuna endowooza empya kitegeeza okweyongera okukakasa nti endowooza yaffe n’ebikolwa byaffe bisanyusa Yakuwa. N’olwekyo, weekeberenga buli kiseera era weebuuze nti: ‘Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nzikiriza nti enkomerero y’enteekateeka eno enaatera okutuuka? Nfuba okwambala omuntu omuggya? Nzikiriza omwoyo omutukuvu okukolera mu bulamu bwange kinsobozese okulwanyisa okwegomba okubi?’

19 Bw’oba nga weekebera, tosuubira nti ojja kukola buli kimu mu ngeri etuukiridde. Wabula sanyuka olw’ekyo ky’oba otuuseeko. Bw’olaba nga waliwo we weetaaga okulongoosamu, toggwaamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, kolera ku kubuulirira okuli mu Abafiripi 3:16, awagamba nti: “Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu kkubo lye limu.” Bw’onookola bw’otyo, beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa ng’ofuba okufuna endowooza empya.

OLUYIMBA 36 Tukuuma Emitima Gyaffe

a Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne obutakkiriza kutwalirizibwa nteekateeka eno ey’ebintu. Okubuulirira okwo kwa muganyulo nnyo gye tuli. Tulina okukakasa nti ensi tetutwaliriza mu ngeri yonna. N’olwekyo, tusaanidde okutereezanga endowooza yaffe buli lwe tulaba nga tetuukana n’ebyo Katonda by’ayagala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

b Laba ekitundu ekirina omutwe, “Nnali Nneeyongera Kwonooneka” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2015.

c EKIFAANANYI: Ow’oluganda omuvubuka alowooza ku ky’okufuna obuyigirize obwa waggulu oba okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.