Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3

Yakuwa Akuyamba Osobole Okutuuka ku Buwanguzi

Yakuwa Akuyamba Osobole Okutuuka ku Buwanguzi

“Yakuwa yali wamu ne Yusufu . . . , era nga buli ky’akola Yakuwa akiwa omukisa.”​—LUB. 39:2, 3.

OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange

OMULAMWA a

1-2. (a) Lwaki tekitwewuunyisa kuba nti twolekagana n’ebizibu? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

 ABANTU ba Yakuwa tekibeewuunyisa bwe bafuna ebizibu. Bayibuli egamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” (Bik. 14:22) Ate era tukimanyi nti ebimu ku bizibu bye twolekagana nabyo tebijja kuvaawo, okutuusa nga tutuuse mu nsi ya Katonda empya, etalibaamu ‘kufa, kukungubaga, kukaaba, n’obulumi.’​—Kub. 21:4.

2 Yakuwa taziyiza bizibu kututuukako. Kyokka, atuyamba okubigumira. Lowooza ku ekyo omutume Pawulo kye yagamba Abakristaayo abaali babeera mu Rooma. Yasooka n’amenya ebizibu ye ne bakkiriza banne bye baali boolekagana nabyo. Oluvannyuma n’agamba nti: “Mu bintu bino byonna tuwangula okuyitira mu oyo eyatwagala.” (Bar. 8:35-37) Ekyo kiraga nti Yakuwa asobola okukuyamba okutuuka ku buwanguzi ne bwe kiba nti ekizibu kikyaliwo. Kati ka tulabe engeri Yakuwa gye yayambamu Yusufu okutuuka ku buwanguzi era n’engeri naawe gy’ayinza okukuyambamu.

EMBEERA BW’EKYUKA EMBAGIRAWO

3. Nkyukakyuka ki eyajjawo amangu mu bulamu bwa Yusufu?

3 Yakobo yakiraga nti yali ayagala nnyo mutabani we Yusufu. (Lub. 37:3, 4) Ekyo kyaviirako batabani ba Yakobo abakulu okukwatirwa muganda waabwe obuggya. Bwe baafuna akakisa, baatunda Yusufu ne bamuguza abasuubuzi Abamidiyaani. Abasuubuzi abo baatwala Yusufu e Misiri nabo ne bamuguza Potifaali, eyali akulira abakuumi ba Falaawo. Obulamu bwa Yusufu nga bwakyuka mangu nnyo, okuva ku mwana kitaawe gwe yali asinga okwagala n’afuuka omuddu w’Omumisiri!​—Lub. 39:1.

4. Biki ebiyinza okutuviirako okufuna ebizibu ebifaananako n’ebyo Yusufu bye yayolekagana nabyo?

4 Bayibuli egamba nti: “Ebintu ebibi bituuka ku buli muntu.” (Mub. 9:11, Holy Bible​—Easy-to-Read Version) Naffe oluusi tufuna ebizibu ‘ebituuka ku bantu bonna.’ (1 Kol. 10:13) Oba tusobola okufuna ebizibu olw’okuba tuli bayigirizwa ba Yesu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okusekererwa oba okuyigganyizibwa olw’ebyo bye tukkiririzaamu. (2 Tim. 3:12) K’obe ng’oyolekagana na kizibu ki, Yakuwa asobola okukuyamba. Yakuwa yayamba atya Yusufu?

Yakuwa yayamba Yusufu okutuuka ku buwanguzi wadde nga yali muddu mu maka ga Potifaali e Misiri (Laba akatundu 5)

5. Potifaali yakiraba nti emikisa Yusufu gye yali afuna gyali giva wa? (Olubereberye 39:2-6)

5 Soma Olubereberye 39:2-6. Potifaali yakiraba nti Yusufu yali muvubuka ow’amagezi era omukozi ennyo. Era Potifaali yali amanyi n’ensonga lwaki kyali bwe kityo. Yakiraba nti ‘buli kimu Yusufu kye yali akola Yakuwa yali akiwa omukisa.’ b Oluvannyuma, Potifaali yafuula Yusufu omuweereza we era yamulonda okulabirira ennyumba ye yonna. N’ekyavaamu, Potifaali yafuna emikisa mingi.

6. Yusufu ayinza kuba nga yali awulira atya?

6 Lowooza ku ngeri Yusufu gye yali awuliramu ng’ali mu buddu. Olowooza kiki kye yali asinga okwagala mu kiseera ekyo? Yali asinga kwagala kusiimibwa Potifaali, era abeeko empeera gy’amuwa? Yusufu ateekwa okuba nga yali asinga kwagala kuteebwa asobole okuddayo eri kitaawe. Yusufu k’abe nga yalina nkizo ki mu nnyumba ya Potifaali, yali akyali muddu w’Omumisiri oyo eyali taweereza Yakuwa. Yakuwa teyaleetera Potifaali kuleka Yusufu agende. Mu butuufu, embeera ya Yusufu yali enaatera okweyongera okwonooneka.

EMBEERA BWE YEEYONGERA OKWONOONEKA

7. Embeera ya Yusufu yeeyongera etya okwonooneka ennyo? (Olubereberye 39:14, 15)

7 Nga bwe kiragibwa mu Olubereberye essuula 39, muka Potifaali yatandika okwegomba Yusufu era yamusendasenda emirundi mingi ng’ayagala yeegatte naye. Ku buli mulundi, Yusufu yagaana okwegatta naye. Oluvannyuma, omukazi oyo yanyiigira nnyo Yusufu era n’amuwaayiriza nti yali agezaako okumukwata. (Soma Olubereberye 39:14, 15.) Ekyo Potifaali bwe yakiwulira, yasiba Yusufu mu kkomera gye yabeera okumala emyaka egiwera. (Lub. 39:19, 20) Embeera yali etya mu kkomera eryo? Ekigambo ‘ekkomera’ Yusufu kye yakozesa kiyinza okutegeeza “oluzzi,” oba “ekinnya,” ekiraga nti ekifo ekyo kyalimu enzikiza ey’amaanyi era Yusufu yali awulira nga takyalina ssuubi lyonna. (Lub. 40:15; obugambo obuli wansi) Ate era Bayibuli eraga nti okumala ekiseera, ebigere bya Yusufu byali bisibiddwa enjegere era nga n’obulago bwe buteekeddwa mu byuma. (Zab. 105:17, 18) Embeera ya Yusufu yali yeeyongera bweyongezi kwonooneka. Yava ku kubeera omuddu mukama we gwe yali yeesiga ennyo, n’afuuka omusibe owa wansi ennyo.

8. Wadde ng’ekizibu kye tulina kirabika ng’ekitaaveewo, tuyinza kuba bakakafu ku ki?

8 Wali obaddeko mu mbeera embi ennyo, wadde nga wasaba nnyo Yakuwa akuyambe? Ekyo kisobola okubaawo. Yakuwa taziyiza bizibu kututuukako mu nsi eno efugibwa Sitaani. (1 Yok. 5:19) Naye beera mukakafu nti Yakuwa amanyi ebizibu by’oyolekagana nabyo, era akufaako nnyo. (Mat. 10:29-31; 1 Peet. 5:6, 7) Ate era akusuubiza nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” (Beb. 13:5) Yakuwa asobola okukuyamba okugumiikiriza wadde nga ggwe tosuubira mbeera kutereera. Ka tulabe engeri gye yayambamu Yusufu.

Yusufu bwe yali mu kkomera yalondebwa okukulira abasibe bonna, era Yakuwa yali wamu naye (Laba akatundu 9)

9. Yusufu bwe yali mu kkomera, kiki ekiraga nti Yakuwa yali wamu naye? (Olubereberye 39:21-23)

9 Soma Olubereberye 39:21-23. Ne mu kiseera Yusufu we yabeerera mu kkomera, Yakuwa yamuyamba okutuuka ku buwanguzi. Mu ngeri ki? Oluvannyuma lw’ekiseera, omukulu w’ekkomera yatandika okwesiga Yusufu nga Potifaali bwe yali amwesiga. Yalonda Yusufu okukulira abasibe abalala. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti “omukulu w’ekkomera teyeeraliikiriranga kintu kyonna ekyali mu mukono gwa Yusufu.” Kati Yusufu yali alina omulimu ogw’okukola gwe yali asobola okumalirako ebirowoozo bye. Eyo nga yali nkyukakyuka ya maanyi! Omusibe eyali avunaanibwa ogw’okugezaako okukwata mukyala w’omukungu w’omu lubiri, yali ayinza atya okuweebwa omulimu ng’ogwo? Olubereberye 39:23 watuyamba okufuna eky’okuddamu. Wagamba nti: “Yakuwa yali wamu ne Yusufu, era nga buli ky’akola Yakuwa akiwa omukisa.”

10. Nnyonnyola ensonga lwaki Yusufu ayinza okuba nga yali awulira nti tatuuse ku buwanguzi mu buli kimu.

10 Ate ddamu alowooze ku ngeri Yusufu gy’ayinza okuba nga yali awuliramu. Oluvannyuma lw’okuwaayirizibwa n’okusibibwa mu kkomera, olowooza yali awulira nti yali atuuse ku buwanguzi mu buli kimu? Kiki Yusufu kye yali asinga okwagala? Yali asinga kwagala kusiimibwa eri omukulu w’ekkomera? Awatali kubuusabuusa, Yusufu yali asinga kwagala kusumululwa ave mu kkomera. Yatuuka n’okusaba omusibe omu eyali anaatera okuteebwa amwogerereyo eri Falaawo asobole okuggibwa mu kkomera. (Lub. 40:14) Kyokka, omusibe oyo yalwawo okubuulira Falaawo ebikwata ku Yusufu. N’ekyavaamu, Yusufu yasigala mu kkomera okumala emyaka emirala ebiri. (Lub. 40:23; 41:1, 14) Naye era Yakuwa yeeyongera okuyamba Yusufu. Mu ngeri ki?

11. Kiki Yakuwa kye yasobozesa Yusufu okukola, era ekyo kyasobozesa kitya ekigendererwa kya Yakuwa okutuukirira?

11 Yusufu bwe yali mu kkomera, Yakuwa yaleetera Falaawo okuloota ebirooto bibiri ebyamweraliikiriza ennyo. Falaawo yayagala nnyo okumanya amakulu g’ebirooto ebyo. Bwe baamugamba nti Yusufu asobola okunnyonnyola amakulu g’ebirooto, yamutumya okuva mu kkomera. Yakuwa yayamba Yusufu okunnyonnyola Falaawo amakulu g’ebirooto bye, era Falaawo yakwatibwako nnyo olw’amagezi Yusufu ge yamuwa. Falaawo bwe yalaba nti Yakuwa yali wamu ne Yusufu, yawa Yusufu obuvunaanyizibwa obw’okukulira amaterekero g’emmere mu nsi ya Misiri yonna. (Lub. 41:38, 41-44) Oluvannyuma waagwawo enjala ey’amaanyi, era enjala eyo teyakosa Misiri yokka, wabula yakosa n’ensi ya Kanani ab’eŋŋanda za Yusufu gye baali babeera. Bwe kityo Yusufu yasobola okuwonyaawo ab’eŋŋanda ze, era ne kisobozesa olunyiriri omwandivudde Masiya obutasaanawo.

12. Yakuwa yasobozesa atya Yusufu okutuuka ku buwanguzi?

12 Lowooza ku bintu ebyo byonna ebyaliwo mu bulamu bwa Yusufu. Ani yaleetera Potifaali okufaayo ku Yusufu eyali omuddu obuddu? Ani yaleetera omukulu w’ekkomera okufaayo ku Yusufu eyali omusibe? Ani yaleetera Falaawo okuloota ebirooto era n’awa Yusufu obusobozi bw’okunnyonnyola amakulu gaabyo? Ani yaleetera Falaawo okulonda Yusufu okukulira amaterekero g’emmere gonna mu Misiri? (Lub. 45:5) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ye yaleetera Yusufu okutuuka ku buwanguzi mu buli kimu kye yakolanga. Wadde nga baganda ba Yusufu bo baayagala okumutta, Yakuwa yakozesa embeera eyo okusobozesa ekigendererwa kye okutuukirira.

YAKUWA ASOBOLA OKUKUYAMBA OKUTUUKA KU BUWANGUZI

13. Yakuwa ayingira mu buli kintu kyonna ekiba kitutuuseeko? Nnyonnyola.

13 Kiki kye tuyigira ku ebyo Yusufu bye yayitamu? Yakuwa ayingira mu nsonga zonna eziba zitukwatako? Ayingira mu buli kimu ekitutuukako mu bulamu, ne kiba nti n’ebintu ebibi bitutuukako olw’okuba waliwo ebirungi ebijja okuvaamu? Nedda, Bayibuli bw’etyo si bw’eyigiriza. (Mub. 8:9; 9:11) Kyokka tukimanyi nti bwe tuba tulina ekizibu kye twolekagana nakyo, Yakuwa ab’akiraba era atuwuliriza bwe tumukoowoola atuyambe. (Zab. 34:15; 55:22; Is. 59:1) Ate era bwe tuba nga tulina ekizibu, Yakuwa asobola okutuyamba okugumiikiriza. Ekyo akikola atya?

14. Yakuwa atuyamba atya mu biseera ebizibu?

14 Engeri emu Yakuwa gy’atuyambamu kwe kutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi, era ekyo akikola mu kiseera ekituufu. (2 Kol. 1:3, 4) Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Eziz abeera mu Turkmenistan, eyasibibwa mu kkomera okumala emyaka ebiri olw’okukkiriza kwe. Agamba nti: “Ku lunaku lwe baali bagenda okunsalira omusango, ow’oluganda omu yansomera Isaaya 30:15, awagamba nti: ‘Amaanyi gammwe galiba mu kusigala nga muli bakkakkamu era nga munneesiga.’ Olunyiriri olwo lwannyamba okusigala nga ndi mukkakkamu era n’okwesiganga Yakuwa mu buli kimu. Okufumiitirizanga ku lunyiriri olwo kyannyamba mu kiseera kye nnamala mu kkomera.” Oyinza okulowooza ku kiseera mu bulamu bwo Yakuwa lwe yakuzzaamu amaanyi era n’akubudaabudda mu kiseera kyennyini ekituufu?

15-16. Kiki kye tuyigira ku ebyo Mwannyinaffe Tori bye yayitamu?

15 Ebiseera ebisinga tetumanya ngeri Yakuwa gye yatuyambamu okugumira ekizibu, okutuusa nga tumaze okuyita mu kizibu ekyo. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe ayitibwa Tori. Mutabani we ayitibwa Mason yalwala obulwadde bwa kookolo okumala emyaka mukaaga, okutuusa lwe yafa. Mwannyinaffe Tori yawulira ennaku ey’amaanyi olw’okufiirwa mutabani we. Agamba nti, “Tewali kiseera ekikyasinze okunzibuwalira ng’ekyo.” Agattako nti, “Ndi mukakafu nti n’abazadde abalala bayinza okukkiriziganya nange nti okulaba omwana wo ng’ali mu bulumi, kiruma nnyo n’okusinga nga gwe kennyini ali mu bulumi.”

16 Kyokka, oluvannyuma Tori yafumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yamuyambamu ng’omwana we mulwadde. Agamba nti: “Bwe ndowooza ku kiseera kye nnamala nga nzijanjaba omwana wange, ndaba engeri Yakuwa gye yannyambamu. Ng’ekyokulabirako, ne mu kiseera Mason lwe yali nga mulwadde nnyo nga tasobola na kulaba abo abaabanga bazze okutulaba, ab’oluganda baavuganga olugendo lwa ssaawa bbiri ne bajja mu ddwaliro. Buli kiseera waabangawo omuntu omwetegefu okutuyamba. Ate era baakola ne ku byetaago byaffe eby’omubiri. Ne mu biseera ebizibu ennyo, twafunanga bye twabanga twetaaga.” Yakuwa yayamba Mwannyinaffe Tori ne mutabani we Mason okugumiikiriza.​—Laba akasanduuko, “ Yakuwa Yatuwanga Ekyo Kyennyini Kye Twabanga Twetaaga.”

JJUKIRANGA ENGERI YAKUWA GY’AZZE AKUYAMBAMU

17-18. Kiki ekinaatuyamba okulaba era n’okusiima engeri Yakuwa gy’atuyambamu mu biseera ebizibu? (Zabbuli 40:5)

17 Soma Zabbuli 40:5. Ekigendererwa oyo alinnya olusozi ky’aba nakyo, kwe kutuuka ku ntikko yalwo. Kyokka bw’aba alinnya olusozi olwo, wabaawo ebifo by’asobola okuyimiriramu n’anyumirwa okulaba ebimwetoolodde. Mu ngeri y’emu, buli luvannyuma lwa kiseera, fumiitirizanga ku ngeri Yakuwa gy’akuyambamu wadde ng’olina ekizibu ky’oyolekagana nakyo. Ku buli nkomerero y’olunaku, weebuuze nti: ‘Mikisa ki Yakuwa gy’ampadde leero? Wadde ng’ekizibu kino kikyaliwo, Yakuwa annyambye atya okukigumira?’ Lowoozaayo ku ngeri emu Yakuwa gy’akuyambyemu.

18 Kyo kituufu nti oyinza okuba ng’osaba Yakuwa aggyewo ekizibu ky’olina. Naye era kikulu n’okulowooza ku birungi bye tuba tutuuseeko. (Baf. 4:6) Yakuwa atusuubiza okutuzzaamu amaanyi n’okutuyamba okugumiikiriza. N’olwekyo, bulijjo siima engeri Yakuwa gy’akuyambamu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaba engeri Yakuwa gy’akuyamba okutuuka ku buwanguzi nga bwe yayamba Yusufu, ne bwe kiba nti olina ebizibu.​—Lub. 41:51, 52.

OLUYIMBA 32 Nywerera ku Yakuwa!

a Bwe tuba nga tulina ekizibu eky’amaanyi kye twolekagana nakyo, tuyinza obutakiraba nti yakuwa atuyamba. Tuyinza okulowooza nti ekizibu kyaffe kimala kuvaawo ne tulyoka tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambyemu. Kyokka, ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Yusufu bituyigiriza nti Yakuwa asobola okutuyamba okutuuka ku buwanguzi, ne bwe kiba nti ekizibu kye tulina kikyaliwo. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ekyo gye kisobokamu.

b Bayibuli eyogera ku ebyo Yusufu bye yayitamu ng’ali mu buddu mu nnyiriri ntono, naye biyinza okuba nga byatwala emyaka egiwerako.