Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

Bayibuli by’Etubuulira ku Oyo Eyagiwandiisa

Bayibuli by’Etubuulira ku Oyo Eyagiwandiisa

“Wandiika mu kitabo byonna bye nkugamba.”​—YER. 30:2.

OLUYIMBA 96 Ekitabo kya Katonda​—Kya Bugagga

OMULAMWA a

1. Lwaki osiima Yakuwa olw’okutuwa Bayibuli?

 TUSIIMA nnyo Yakuwa olw’okutuwa Bayibuli! Okuyitira mu Bayibuli, atuwa amagezi agasobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo leero. Ate era, atuwa essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. N’ekisinga obukulu, okuyitira mu Bayibuli Yakuwa atuyamba okumanya engeri ze ennungi. Bwe tufumiitiriza ku ngeri ezo, tukwatibwako nnyo era kituleetera okwagala okweyongera okumusemberera.​—Zab. 25:14.

2. Ngeri ki ez’enjawulo Yakuwa mwe yayitira okutegeeza abantu ebimukwatako?

2 Yakuwa ayagala abantu bamumanye. Mu biseera eby’edda, yamanyisanga abantu ebimukwatako ng’ayitira mu birooto, mu kwolesebwa, ne mu bamalayika. (Kubal. 12:6; Bik. 10:3, 4) Naye obubaka obwo twandisobodde tutya okubutegeera singa tebwawandiikibwa? Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yasobozesa abantu ‘okuwandiika mu kitabo’ ebyo by’ayagala tumanye. (Yer. 30:2) Olw’okuba “ekkubo lya Katonda ow’amazima lyatuukirira,” tuli bakakafu nti enkola eyo gye yakozesa okuwuliziganya naffe y’esingayo okuba ennungi era ey’omuganyulo.​—Zab. 18:30.

3. Kiki Yakuwa kye yakola okukakasa nti obubaka obuli mu Bayibuli bukuumibwa? (Isaaya 40:8)

3 Soma Isaaya 40:8. Ekigambo kya Katonda kizze kiwa abasajja n’abakazi abeesigwa obulagirizi okumala emyaka nkumi na nkumi. Ekyo kisobose kitya? Olw’okuba Ekigambo kya Katonda kyawandiikibwa emyaka mingi nnyo emabega ku bintu ebyonooneka amangu, tewali kiwandiiko na kimu ku ebyo ebyasookera ddala okuwandiikibwa ekikyaliwo leero. Naye Yakuwa yakakasa nti kopi nnyingi ez’Ebyawandiikibwa ebitukuvu zikolebwa. Wadde nga abakoppolozi baali bantu abatatuukiridde, beegenderezanga nnyo. Omwekenneenya wa Bayibuli omu bwe yali ayogera ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, yagamba nti: “Tusobola okugamba nti tewali kiwandiiko kirala eky’edda ekyakoppololwa obulungi ennyo nga Bayibuli.” N’olwekyo, wadde nga ekiseera kiwanvu nnyo kiyiseewo kasookedde Bayibuli ewandiikibwa, ate nga yawandiikibwa ku bintu ebyonooneka amangu, era nga n’abakoppolozi baali tebatuukiridde, tusobola okuba abakakafu nti ebyo bye tusoma mu Bayibuli leero biggirayo ddala obubaka bw’omuwandiisi waayo, Yakuwa Katonda.

4. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 “Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) Bayibuli kye kimu ku birabo ebisingayo obulungi Yakuwa by’atuwadde. Okusinziira ku kirabo omuntu ky’aba atuwadde, tusobola okukiraba nti atumanyi bulungi era nti amanyi ebyetaago byaffe. Bwe kityo bwe kiri ne ku oyo eyatuwa Bayibuli. Bwe twekenneenya ebiri mu Bayibuli, tulina bingi bye tuyiga ebikwata ku Yakuwa. Tukiraba nti atumanyi bulungi era amanyi n’ebyetaago byaffe. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri Bayibuli gy’etuyamba okumanya engeri za Yakuwa zino essatu: amagezi, obwenkanya, n’okwagala. Ka tusooke tulabe engeri Bayibuli gy’etuyamba okukiraba nti Yakuwa Katonda alina amagezi mangi.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA ALINA AMAGEZI MANGI

5. Ngeri ki emu Bayibuli gy’eragamu nti Katonda alina amagezi mangi?

5 Yakuwa akimanyi nti twetaaga amagezi agava gy’ali. Mu butuufu, Bayibuli erimu amagezi mangi agava eri Yakuwa. Amagezi agali mu Bayibuli gakyusizza obulamu bw’abantu bangi ne bafuuka abantu abalungi. Musa bwe yamala okuwandiika ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli, yagamba abantu ba Katonda Abayisirayiri nti: “Kino si kigambo ekitaliimu nsa, wabula bwe bulamu bwammwe.” (Ma. 32:47) Abo abandikoledde ku magezi agali mu Byawandiikibwa bandibadde bulungi era bandibadde basanyufu. (Zab. 1:2, 3) Wadde ng’Ekigambo kya Katonda kyawandiikibwa dda nnyo, kikyayamba abantu okukyusa obulamu bwabwe. Ng’ekyokulabirako, ku jw.org, mu bitundu ebirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu,” mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Bayibuli gy’ekyusizzaamu obulamu bw’abo abagikkiririzaamu.​—1 Bas. 2:13.

6. Lwaki Bayibuli ya njawulo nnyo ku bitabo ebirala?

6 Tewali kitabo kirala ekiringa Bayibuli. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa Katonda eyawandiisa Bayibuli, ye Muyinza w’Ebintu Byonna, abeerawo emirembe gyonna, era alina amagezi mangi nnyo. Abawandiisi b’ebitabo ebirala bafa ne balekawo ebitabo byabwe, era amagezi agaba mu bitabo ebyo gatuuka ekiseera ne gaba nga tegakyakola. Naye amagezi agali mu Kigambo kya Katonda gakola ebbanga lyonna, era gaganyudde abantu ababaddewo ku buli mulembe. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga, Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu ne gutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okubikolerako mu bulamu bwaffe. (Zab. 119:27; Mal. 3:16; Beb. 4:12) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa Katonda eyawandiisa Bayibuli ayagala nnyo okutuyamba tusobole okugiganyulwamu. Ekyo kyandituleetedde okwagala ennyo okusoma Bayibuli.

Bayibuli yayamba etya abantu ba Yakuwa okuba obumu mu biseera eby’edda, era ebayambye etya okuba obumu mu kiseera kino? (Laba akatundu 7-8)

7. Bayibuli yasobozesa etya abantu ba Katonda okuba obumu mu biseera eby’edda?

7 Engeri endala Bayibuli gy’eragamu amagezi ga Katonda kwe kuba nti esobozesa abantu be okuba obumu. Abayisirayiri bwe baatuuka mu Nsi Ensuubize, baabeera mu bitundu eby’enjawulo. Abamu baali bavubi, abalala baali balunzi, ate abalala baali balimi. Abayisirayiri abaali babeera mu kitundu ekimu eky’Ensi Ensuubize bandituuse ekiseera ne baba nga tebakyafaayo ku bikwata ku Bayisirayiri bannaabwe abaali babeera mu bitundu ebirala. Naye Yakuwa yakola enteekateeka Abayisirayiri babenga n’enkuŋŋaana buli mwaka, bawulirize Ekigambo kye nga kisomebwa era nga kinnyonnyolwa. (Ma. 31:10-13; Nek. 8:2, 8, 18) Teeberezaamu engeri Omuyisirayiri omwesigwa gye yawulirangamu ng’atuuse e Yerusaalemi n’alaba bakkiriza banne abaali eyo mu bukadde, abaabanga bavudde mu bitundu ebirala! Mu ngeri eyo, Yakuwa yayamba abantu be okusigala nga bali bumu. Oluvannyuma ekibiina Ekikristaayo bwe kyatandikibwawo, kyalimu abasajja n’abakazi abaali boogera ennimi ez’enjawulo era nga baakulira mu mbeera za njawulo. Olw’okuba baali baagala nnyo Ebyawandiikibwa, baasinzanga Katonda ow’amazima nga bali bumu. Abantu abalala abaafuuka abakkiriza baategeeranga Ekigambo kya Katonda nga bayambibwako bakkiriza bannaabwe era nga bakuŋŋaana wamu nabo.​—Bik. 2:42; 8:30, 31.

8. Bayibuli eyamba etya abantu ba Yakuwa okuba obumu leero?

8 Katonda waffe ow’amagezi akyeyongera okugatta awamu abantu be ng’akozesa Bayibuli. Bayibuli ye nsibuko y’emmere ey’eby’omwoyo gye twagala ennyo. Tukuŋŋaana obutayosa mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nkuŋŋaana ennene okuwuliriza ng’Ebyawadiikibwa bisomebwa, nga binnyonnyolwa, era nga bikubaganyizibwako ebirowoozo. Mu ngeri eyo, Bayibuli eyamba abantu ba Katonda ‘okumuweereza nga bali bumu.’​—Zef. 3:9.

9. Ngeri ki gye tulina okuba nayo okusobola okutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli? (Lukka 10:21)

9 Lowooza ku kintu ekirala ekiraga amagezi ga Yakuwa. Bayibuli yawandiikibwa mu ngeri esobozesa abantu abawombeefu bokka okugitegeera. (Soma Lukka 10:21.) Waliwo abantu bangi nnyo abasoma Bayibuli. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti Bayibuli “kye kitabo ekikyasinze okusomebwa abantu abangi era n’okusomebwa n’obwegendereza.” Naye abantu abawombeefu bokka be basobola okutegeera ebyo bye basoma mu Bayibuli, era n’okubikolerako.​—2 Kol. 3:15, 16.

10. Ngeri ki endala Bayibuli gy’eyolekamu amagezi ga Yakuwa?

10 Waliwo engeri endala Bayibuli gy’etulagamu amagezi ga Yakuwa. Yakuwa takoma ku kukozesa Byawandiikibwa kutuyigiriza ffenna awamu naye era abikozesa okutuwa obulagirizi n’okutubudaabuda kinnoomu. Bwe tusoma Ekigambo kya Yakuwa tukiraba nti atufaako kinnoomu. (Is. 30:21) Wali osomyeko Ekyawandiikibwa ng’olina ekizibu ky’oyolekagana nakyo, ne kiba nga kye baawandiikira ggwe? Kyokka, abantu bukadde na bukadde basobola okuganyulwa mu Bayibuli. Kiki ekisobozesa Bayibuli okuba nti erimu ebitukwatako kinnoomu? Ekyo kiri bwe kityo kubanga oyo eyagiwandiisa mugezi nnyo.​—2 Tim. 3:16, 17.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA MWENKANYA

11. Bayibuli bwe yali ewandiikibwa, Katonda yalaga atya nti si musosoze?

11 Obwenkanya y’engeri endala Yakuwa gy’alina. (Ma. 32:4) Obwenkanya bukwataganyizibwa n’obutasosola era Yakuwa tasosola. (Bik. 10:34, 35; Bar. 2:11) Ennimi ezaakozesebwa okuwandiika Bayibuli ziraga nti Yakuwa tasosola. Ebitabo 39 ebisooka mu Bayibuli okusingira ddala byawandiikibwa mu Lwebbulaniya, olulimi abantu ba Katonda abaaliwo mu kiseera ekyo lwe baali bategeera obulungi. Kyokka mu kyasa ekyasooka E.E., Oluyonaani lwe lwali lusinga okukozesebwa. N’olwekyo, ebitabo 27 ebisembayo byasinga kuwandiikibwa mu lulimi olwo. Yakuwa teyalagira nti Ekigambo kye kiwandiikibwe mu lulimi lumu lwokka. Leero, ensi erimu abantu ng’obuwumbi munaana era boogera ennimi ez’enjawulo. Abantu abo bonna bayinza batya okuyiga ebikwata ku Yakuwa?

12. Engeri emu obunnabbi obuli mu Danyeri 12:4 gye butuukiriziddwamu mu nnaku ez’enkomerero y’eruwa?

12 Okuyitira mu nnabbi Danyeri, Yakuwa yasuubiza nti mu nnaku ez’enkomerero “okumanya okutuufu” okuli mu Bayibuli ‘kwandyeyongedde.’ Abantu bangi banditegedde amazima agali mu Bayibuli. (Soma Danyeri 12:4.) Ebimu ku ebyo ebisobozesezza okumanya okwo okweyongera, kwe kuvvuunula Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola mu nnimi nnyingi, okubikuba mu kyapa, era n’okubibunyisa. Bayibuli kye kitabo ekikyasinze okuvvuunulwa n’okubunyisibwa mu nsi yonna. Bayibuli ezikubibwa kampuni ezikuba ebitabo oluusi ziba za bbeeyi nnyo. Abantu ba Yakuwa bamaze okuvvuunula Bayibuli mu bitundutundu oba mu bulamba mu nnimi ezisukka mu 240, era omuntu yenna asobola okugifunira ku bwereere. N’ekivuddemu, abantu ab’amawanga gonna basobodde okuwulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ ng’enkomerero tennajja. (Mat. 24:14) Katonda waffe omwenkanya ayagala okuwa abantu bangi akakisa ak’okumumanya nga basoma Ekigambo kye. Ekyo akikola olw’okuba ayagala nnyo abantu bonna.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA ATWAGALA NNYO

13. Bayibuli eraga etya nti Yakuwa atwagala nnyo? (Yokaana 21:25)

13 Bayibuli etuyamba okukimanya nti okwagala y’engeri ya Yakuwa esinga obukulu. (1 Yok. 4:8) Lowooza ku ky’okuba nti Yakuwa alina ebintu bye yateeka mu Bayibuli n’ebyo bye yasalawo obutateekamu. Mu Bayibuli mulimu ebyo byokka bye twetaaga okumanya okusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, okuba abasanyufu mu kiseera kino, n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kyokka olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, mu Bayibuli teyawandiisaamu bintu bingi bye tuteetaaga.​—Soma Yokaana 21:25.

14. Ebyo ebiri mu Bayibuli biraga bitya nti Katonda atwagala nnyo?

14 Yakuwa era atulaga okwagala ng’ayogera naffe mu ngeri etuweesa ekitiibwa. Mu Bayibuli temuli lukunkumuli lwa mateeka olukwata ku buli kimu kye tulina okukola ne kye tutalina kukola. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli erimu ebyokulabirako ebyaliwo ddala, obunnabbi, era n’amagezi agatuyamba okusalawo obulungi. Mu ngeri eyo, Bayibuli etuleetera okwagala Katonda n’okumugondera nga tetuwaliriziddwa.

Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yakolaganangamu n’abaweereza be mu biseera eby’edda? (Laba akatundu 15)

15. (a) Bayibuli eraga etya nti Yakuwa atufaako? (b) Mu kifaananyi, bantu ki aboogerwako mu Bayibuli, omuwala omuto, ow’oluganda omuvubuka, ne mwannyinaffe omukulu mu myaka, be bafumiitirizaako? (Lub. 39:1, 10-12; 2 Bassek. 5:1-3; Luk. 2:25-38)

15 Bayibuli eraga nti Yakuwa atufaako nnyo. Mu ngeri ki? Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi ebyoleka enneewulira y’abantu. Tusobola okutegeera enneewulira abo aboogerwako mu Bayibuli gye baalina, kubanga nabo ‘baali bantu nga ffe.’ (Yak. 5:17) N’ekisinga obukulu, bwe twetegereza engeri Yakuwa gye yakolaganangamu n’abantu, tusobola okukiraba nti “Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.”​—Yak. 5:11.

16. Bwe tusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaakola ensobi, kituyigiriza ki ku Yakuwa? (Isaaya 55:7)

16 Waliwo engeri endala Bayibuli gy’eragamu nti Yakuwa atwagala nnyo. Ebyawandiikibwa bitukakasa nti Yakuwa tatwabulira nga tukoze ensobi. Abayisirayiri baayonoonanga mu maaso ga Yakuwa enfunda n’enfunda. Kyokka bwe beenenyanga mu bwesimbu, Katonda yabasonyiwanga. (Soma Isaaya 55:7.) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo baali bakimanyi nti Katonda abaagala nnyo. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne ‘okusonyiwa n’okubudaabuda’ omusajja eyali akoze ekibi eky’amaanyi, naye ne yeenenya. (2 Kol. 2:6, 7; 1 Kol. 5:1-5) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa teyayabulira bantu be nga bakoze ensobi! Mu kifo ky’okubaabulira, yabayambanga okukomawo gy’ali. Ne leero, Yakuwa asuubiza okukolera kye kimu aboonoonyi ababa beenenyezza.​—Yak. 4:8-10.

EKIGAMBO KYA KATONDA KITWALE NGA “KIRABO KYA MUWENDO”

17. Lwaki Bayibuli kirabo kya muwendo nnyo?

17 Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo. Lwaki Bayibuli kitabo kya njawulo nnyo? Nga bwe tulabye, Bayibuli eraga nti Yakuwa alina amagezi mangi, mwenkanya, era atwagala nnyo. Bayibuli era eraga nti Yakuwa ayagala tumumanye era tubeere mikwano gye.

18. Tuyinza tutya okukiraga nti Bayibuli tugitwala nti ‘kirabo kirungi’ okuva eri Yakuwa?

18 Bulijjo twagala okukijjukiranga nti Bayibuli ‘kirabo kirungi’ okuva eri Yakuwa. (Yak. 1:17) N’olwekyo, ka tweyongere okusiima ekirabo ekyo. Ekyo tusobola okukikola nga tugisoma era nga tugifumiitirizaako. Bwe tunaakola bwe tutyo, oyo eyagiwandiisa ajja kutuwa emikisa era tujja ‘kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’​—Nge. 2:5.

OLUYIMBA 98 Ebyawandiikibwa​—Byaluŋŋamizibwa Katonda

a Bayibuli etuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ekitabo ekyo ekitukuvu kituyigiriza ki ku magezi ga Katonda, ku bwenkanya bwe, era ne ku kwagala kwe? Ebyo bye tuyiga bisobola okutuyamba okweyongera okusiima Ekigambo kya Katonda, era n’okukiraba nti ddala kirabo Kitaffe ow’omu ggulu kye yatuwa.