Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 12

Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa Okuyitira mu Bintu Bye Yatonda

Weeyongere Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa Okuyitira mu Bintu Bye Yatonda

“Engeri ze ezitalabika . . . zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.”​—BAR. 1:20.

OLUYIMBA 6 Eggulu Lirangirira Ekitiibwa kya Katonda

OMULAMWA a

1. Kiki ekyayamba Yobu okweyongera okumanya Yakuwa?

 MU MBOOZI zonna Yobu ze yanyumya mu bulamu bwe, waliwo eyali ey’enjawulo ennyo, nga y’eyo gye yanyumya ne Yakuwa Katonda. Mu mboozi eyo gye yanyumya ne Yakuwa, Yakuwa yagamba Yobu okutunuulira ebimu ku bintu bye yatonda. Ekyo kyandiyambye Yobu okukimanya nti Yakuwa alina amagezi mangi era nti asobola okulabirira abaweereza be. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yajjukiza Yobu nti y’alabirira ensolo, era bwe kityo naye kennyini yali asobola okumulabirira. (Yob. 38:39-41; 39:1, 5, 13-16) Okufumiitiriza ku bitonde eby’enjawulo kyayamba Yobu okweyongera okutegeera engeri za Katonda.

2. Lwaki kiyinza obutatubeerera kyangu okwekenneenya ebintu Yakuwa bye yatonda?

2 Naffe tusobola okweyongera okumanya Katonda bwe twekenneenya ebintu bye yatonda. Naye oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu. Bwe tuba nga tubeera mu kibuga, tuyinza obutalaba bingi ku bintu Yakuwa bye yatonda. Ne bwe tuba nga tetubeera mu kibuga, tuyinza obutafuna biseera kwekenneenya bitonde. N’olwekyo, ka tulabe ensonga lwaki kikulu okuwaayo obudde okwekenneenya ebintu Yakuwa bye yatonda. Tugenda kulaba engeri Yakuwa ne Yesu gye baakozesaamu ebitonde nga baliko bye bayigiriza, era tulabe n’ebintu ebirala bye tusobola okuyigira ku bitonde.

LWAKI TUSAANIDDE OKWEKENNEENYA EBITONDE?

Yakuwa yali ayagala Adamu anyumirwe obutonde, era yamuwa n’omulimu gw’okutuuma ensolo amannya (Laba akatundu 3)

3. Kiki ekiraga nti Yakuwa yali ayagala Adamu anyumirwe obutonde?

3 Yakuwa bwe yatonda omuntu eyasooka, yayagala anyumirwe obutonde. Yamuwa olusuku olulungi olw’okubeeramu era n’amuwa n’omulimu ogw’okululabirira n’okulugaziya. (Lub. 2:8, 9, 15) Lowooza ku ssanyu Adamu lye yawulira ng’atunuulira ebimera n’ebimuli ebirabika obulungi. Nga Adamu yalina enkizo ey’ekitalo ey’okulabirira olusuku Edeni! Ate era Yakuwa yawa Adamu omulimu ogw’okutuuma ensolo ez’enjawulo amannya. (Lub. 2:19, 20) Yakuwa yali asobola okwetuumira ensolo ezo amannya, naye omulimu ogwo yaguwa Adamu. Nga Adamu tannatuuma buli emu ku nsolo linnya, yasooka kwetegereza mbeera zaayo n’ebintu by’ekola. Adamu ateekwa okuba nga yanyumirwa nnyo okukola omulimu ogwo. Kyamuwa akakisa okweyongera okukiraba nti Kitaawe ow’omu ggulu alina amagezi mangi, era nti ebintu bye yatonda birungi era bisanyusa.

4. (a) Emu ku nsonga lwaki tusaanidde okwekenneenya ebitonde y’eruwa? (b) Bitonde ki by’osinga okwagala?

4 Ensonga emu etuleetera okwekenneenya obutonde eri nti Yakuwa ayagala tubwekenneenye. Mu Kigambo kye Bayibuli, atugamba nti: “Muyimuse amaaso gammwe mutunule waggulu mulabe.” Oluvannyuma atubuuza nti: “Ani yatonda ebintu ebyo?” Eky’okuddamu kitegeerekeka bulungi. (Is. 40:26) Yakuwa yatonda ebintu ebyewuunyisa ku ggulu, ku nsi, ne mu nnyanja, era waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku bintu ebyo. (Zab. 104:24, 25) Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yatutondamu. Yatutonda nga tulina obusobozi bw’okusiima ebintu ebirungi bye yatonda. Yatutonda nga tulina obusobozi obw’okulaba, okuwulira, okukwatako, okulozaako, okuwunyiriza, era ng’ebyo byonna bitusobozesa okunyumirwa obutonde.

5. Okusinziira ku Abaruumi 1:20, tuganyulwa tutya bwe twekenneenya ebitonde?

5 Bayibuli eraga ensonga endala enkulu lwaki tusaanidde okwekenneenya ebitonde. Ensonga eyo eri nti bituyigiriza ku ngeri za Yakuwa. (Soma Abaruumi 1:20.) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bitonde ebimu ebyakula mu ngeri eyeewuunyisa. Ebitonde ebyo bitulaga nti Yakuwa alina amagezi mangi. Ate era lowooza ku bika by’emmere eby’enjawulo bye tulina. Ekyo kiraga nti Yakuwa ayagala nnyo abantu. Bwe tutegeera engeri za Yakuwa okuyitira mu bintu bye yatonda, tweyongera okumumanya era ekyo kituleetera okweyongera okumusemberera. Kati ka tulabe engeri Yakuwa gy’akozesezzaamu ebitonde okubaako ebintu ebikulu by’ayigiriza abantu.

KATONDA AKOZESA EBITONDE OKUTUYIGIRIZA EBIMUKWATAKO

6. Kiki kye tuyigira ku binyonyi ebisenguka?

6 Yakuwa yassaawo ebiseera eby’okukoleramu ebintu ebitali bimu. Buli mwaka, wakati w’omwezi gwa Febwali ne Maayi, Abayisirayiri baalabanga ebinyonyi ebiyitibwa enkoonamasonko nga bisenguka bidda e bukiikakkono. Katonda yagamba Abayisirayiri nti: “Enkoonamasonko emanyi ebiseera byayo.” (Yer. 8:7) Nga Yakuwa bwe yassaawo ekiseera ebinyonyi ebyo kye birina okusengukiramu, era yassaawo ekiseera eky’okutuukiririzaamu emisango gye yasala. Leero bwe tutunuulira ebinyonyi nga bisenguka okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala, kitujjukiza nti Yakuwa yassaawo ‘ekiseera ekigereke’ eky’okuzikiririzaamu ensi eno embi.​—Kaab. 2:3.

7. Kiki kye tuyigira ku ngeri ebinyonyi gye bitumbiiramu mu bbanga? (Isaaya 40:31)

7 Yakuwa awa abaweereza be amaanyi. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yasuubiza nti abantu be bwe bandibadde bawulira nga baweddemu amaanyi, yandibazizzaamu amaanyi ne ‘batumbiira waggulu nga balinga abalina ebiwaawaatiro by’empungu.’ (Soma Isaaya 40:31.) Abayisirayiri baalabanga empungu nga zitumbidde waggulu mu bbanga nga tezikuba nnyo biwaawaatiro. Empewo ye yasobozesanga empungu ezo okukola ekyo. Ekyo kitujjukiza nti nga Yakuwa bw’awa ebinyonyi ebyo amaanyi, era asobola okuwa abaweereza be amaanyi. Bw’olabanga ekinyonyi nga kitumbidde waggulu mu bbanga, nga kyenkana tekikuba biwaawaatiro byakyo, kijjukirenga nti Yakuwa asobola okukuwa amaanyi okwaŋŋanga ebizibu by’oyolekagana nabyo.

8. Kiki Yobu kye yayiga bwe yalowooza ku bitonde bya Yakuwa, era ekyo kituyigiriza ki?

8 Tusaanidde okwesiga Yakuwa. Yakuwa yayamba Yobu okweyongera okumwesiga. (Yob. 32:2; 40:6-8) Bwe yali anyumya ne Yobu, Yakuwa yayogera ku bintu bingi bye yatonda, nga mwe muli emmunyeenye, ebire, n’ebimyanso. Ate era Yakuwa yayogera ne ku nsolo, gamba nga sseddume ey’omu nsiko, n’embalaasi. (Yob. 38:32-35; 39:9, 19, 20) Okulowooza ku bitonde ebyo byonna kyayamba Yobu okukiraba nti Yakuwa alina amaanyi mangi, alina okwagala, era nti alina amagezi mangi. Emboozi eyo Yobu gye yanyumya ne Yakuwa yamuyamba okweyongera okwesiga Yakuwa. (Yob. 42:1-6) Naffe bwe twekenneenya ebitonde, kituyamba okukiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi n’amaanyi mangi okutusinga. Ate era kituyamba okukiraba nti asobola okuggyawo ebizibu bye twolekagana nabyo, era nti ajja kubiggyawo. Ekyo kituyamba okweyongera okumwesiga.

YESU YAKOZESA EBITONDE OKUYIGIRIZA ABANTU EBIKWATA KU KITAAWE

9-10. Omusana n’enkuba bituyigiriza ki ku Yakuwa?

9 Yesu yali amanyi bulungi ebikwata ku bitonde. “Ng’omukozi omukugu,” yakolera wamu ne Kitaawe okutonda ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi. (Nge. 8:30) Oluvannyuma Yesu bwe yali ku nsi, yakozesa ebitonde okuyigiriza abayigirizwa be ebikwata ku Kitaawe. Ka tulabeyo ebimu ku bintu bye yayigiriza.

10 Yakuwa alaga abantu bonna okwagala. Mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi, Yesu yaleetera abayigirizwa be okulowooza ku bintu bibiri mu butonde abantu bye batatera kulowoozaako, era ng’ebintu ebyo gwe musana n’enkuba. Ebintu ebyo byombi tubyetaaga okusobola okubeerawo nga tuli balamu. Ebintu ebyo Yakuwa yandibadde abimma abantu abatayagala kumuweereza. Mu kifo ky’ekyo, abantu bonna abaakiza omusana era abatonnyeseza enkuba. (Mat. 5:43-45) Ekyo Yesu yakikozesa okuyigiriza abayigirizwa be nti Yakuwa ayagala tulage abantu bonna okwagala. Buli lwe tulaba enjuba erabika obulungi ng’egwa oba enkuba etonnya n’eweweeza obudde, tusaanidde okulowooza ku kwagala Yakuwa kw’alaga abantu bonna. Ekyo kituleetera okumukoppa nga tubuulira abantu bonna awatali kusosola.

11. Okutunuulira ebinyonyi kituzzaamu kitya amaanyi?

11 Yakuwa atuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri. Mu kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Yesu era yagamba nti: “Mwetegereze ebinyonyi eby’omu bbanga. Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa.” Yesu we yabuuliza abaali bamuwuliriza nti, “Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga?” kiyinzika okuba nti baali balaba ebinyonyi ebibuuka mu bbanga. (Mat. 6:26) Mu ngeri eyo ey’okwagala, Yesu yatuyamba okukiraba nti Yakuwa atuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri. (Mat. 6:31, 32) Ekyokulabirako ekyo Yesu kye yakozesa kikyeyongera okuzzaamu abaweereza ba Yakuwa abeesigwa amaanyi. Mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya mu Spain yawulira ng’aweddemu amaanyi, bwe yali abuliddwa ekifo ekirungi aw’okubeera. Naye bwe yatunuulira ebinyonyi ebyali birya obusigo n’ebibala, yaddamu amaanyi. Agamba nti: “Ebinyonyi ebyo byannyamba okukijjukira nti Yakuwa abirabirira era nti nange ajja kundabirira.” Era ddala bwe kityo bwe kyali, kubanga waayita ekiseera kitono mwannyinaffe oyo n’afuna ekifo aw’okubeera.

12. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 10:29-31, enkazaluggya zituyigiriza ki ku Yakuwa?

12 Buli omu ku ffe Yakuwa amutwala nga wa muwendo. Nga tannatuma batume be kugenda kubuulira, Yesu yabayamba obutatya abo abandibaziyizza. (Soma Matayo 10:29-31.) Ekyo yakikola ng’ayogera ku nkazaluggya; akanyonyi akaali kamanyiddwa ennyo mu Isirayiri. Obunyonyi obwo bwali tebutwalibwa nga bwa muwendo mu kiseera kya Yesu. Naye yagamba abayigirizwa be nti: “Tewali n’emu egwa ku ttaka nga Kitammwe tamanyi.” Ate era yabagamba nti: “Muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” Mu ngeri eyo, Yesu yayamba abayigirizwa be okukiraba nti buli omu ku bo Yakuwa yali amutwala nga wa muwendo. N’olwekyo, tebaalina kutya kuyigganyizibwa. Abayigirizwa abo bayinza okuba nga bajjukiranga ebigambo bya Yesu bwe baalabanga enkazaluggya nga babuulira mu bubuga oba mu byalo. Buli lw’olaba akanyonyi akatono, kijjukirenga nti Yakuwa akutwala ng’oli wa “muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” N’olwekyo, tosaanidde kutya ng’abalala bakuziyiza oba nga bakuyigganya.​—Zab. 118:6.

TUYINZA TUTYA OKUYIGA EBISINGAWO KU KATONDA OKUYITIRA MU BITONDE?

13. Kiki ekinaatuyamba okubaako bye tuyiga ku Yakuwa okuyitira mu bitonde?

13 Waliwo ebintu ebirala bingi bye tuyinza okuyiga ku Yakuwa okuyitira mu bitonde. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Okusookera ddala, tulina okuwaayo obudde okwetegereza ebitonde. Ate era tulina okufumiitiriza ku ekyo ebitonde kye bituyigiriza ku Yakuwa. Oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kukola bintu ebyo. Mwannyinaffe Géraldine, abeera mu Cameroon, agamba nti, “Nnakulira mu kibuga. N’olwekyo, nkiraba nti kinneetaagisa okufuba okwetegereza ebitonde.” Omukadde ayitibwa Alfonso agamba nti, “Njize nti kinneetaagisa okufissaawo ebiseera okubaako nzekka nsobole okwetegereza ebitonde, n’okufumiitiriza ku ekyo kye binjigiriza ku Yakuwa.”

Dawudi bwe yeetegereza ebitonde ebyali bimwetoolodde, yafumiitiriza ku ekyo kye byali bimuyigiriza ku Yakuwa (Laba akatundu 14)

14. Biki Dawudi bye yayiga bwe yafumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda?

14 Dawudi yafumiitiriza nnyo ku bintu Yakuwa bye yatonda. Yagamba Yakuwa nti: “Bwe ntunuulira eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye bye wakola, nneebuuza nti, omuntu kye ki, ggwe okumulowoozaako?” (Zab. 8:3, 4) Dawudi bwe yatunulanga ku ggulu, teyakomanga ku kulaba bulabi mmunyeenye ziririko, naye era yafumiitirizanga ku ekyo emmunyeenye ezo kye zimuyigiriza ku Katonda. Yakiraba nti Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo. Ate era Dawudi yafumiitiriza ku ngeri ebitundu ebitali bimu eby’omubiri gwe gye byakulira mu lubuto lwa nnyina. Okufumiitiriza ku ngeri ey’ekitalo omubiri gwe gye gwatondebwamu kyamuyamba okweyongera okukiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo.​—Zab. 139:14-17.

15. Waayo ebyokulabirako mu butonde ebikuyambye okulaba engeri za Yakuwa. (Zabbuli 148:7-10)

15 Okufaananako Dawudi, naawe olina ebintu bingi ebikwetoolodde by’oyinza okufumiitirizaako. Bw’ofumiitiriza ku bintu ebyo, kikuyamba okweyongera okutegeera engeri za Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bw’owulira ng’omusana gukwokya, kiyinza okukuyamba okukiraba nti Yakuwa alina amaanyi mangi. (Yer. 31:35) Bw’olaba ekinyonyi ekizimba ekisu, lowooza ku magezi ga Yakuwa. Bw’olaba kakkapa akato nga kazannyisa omukira gwako, kikuyamba okukiraba nti Katonda musanyufu. Ate buli lw’olaba maama ng’azannyisa omwana we omuto, ekyo kisaanidde okukujjukiza okwagala okungi Yakuwa kw’alina. Tulina bingi bye tusobola okuyiga ku Yakuwa okuyitira mu bitonde, kubanga ebintu byonna bye yatonda, ebinene n’ebitono, ebiri okumpi n’ebiri ewala, bimutendereza.​—Soma Zabbuli 148:7-10.

16. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

16 Katonda waffe alina amagezi mangi, alina okwagala kungi, alina amaanyi mangi, era buli kimu kye yatonda kirungi nnyo. Engeri ezo awamu n’endala nnyingi zeeyolekera mu bitonde, era tusobola okuziraba singa tuwaayo obudde okubifumiitirizaako. Ka bulijjo tuweeyo obudde okwetegereza obutonde n’okufumiitiriza ku ekyo kye butuyigiriza ku Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kweyongera okusemberera Omutonzi waffe. (Yak. 4:8) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri abazadde gye bayinza okukozesaamu ebitonde okuyamba abaana baabwe okweyongera okusemberera Yakuwa.

OLUYIMBA 5 Ebikolwa bya Katonda eby’Ekitalo

a Ebintu Yakuwa bye yatonda, nga mwe muli ebinene n’ebitono, bituwuniikiriza nnyo. Ng’oggyeeko okutuwuniikiriza, era bituyamba okutegeera engeri za Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki tusaanidde okuwaayo obudde okwekenneenya ebitonde, n’engeri ekyo gye kisobola okutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa.