Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 36

Weetikke by’Osobola Ebirala Obyeggyeko

Weetikke by’Osobola Ebirala Obyeggyeko

“Ka tweyambuleko buli kintu kyonna ekizitowa . . . , era ka tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.”​—BEB. 12:1.

OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

OMULAMWA a

1. Okusinziira ku Abebbulaniya 12:1, kiki kye tulina okukola okusobola okudduka embiro ez’obulamu ne tuzimalako?

 OBULAMU bw’Abakristaayo Bayibuli ebugeraageranya ku kudduka embiro. Abaddusi abamalako embiro ezo baweebwa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo. (2 Tim. 4:7, 8) Tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okweyongera okudduka embiro ezo, okuva bwe kiri nti zinaatera okuggwa. Omutume Pawulo eyasobola okudduka n’amalako embiro ez’obulamu, yalaga ekyo naffe ekisobola okutuyamba okudduka ne tuzimalako. Yatukubiriza ‘okweyambulako buli kintu kyonna ekizitowa, tudduke n’obugumiikiriza embiro ez’empaka ezituteereddwawo.’​—Soma Abebbulaniya 12:1.

2. Kitegeeza ki ‘okweyambulako buli ekizitowa’?

2 Pawulo bwe yagamba nti tulina ‘okweyambulako buli kintu kyonna ekizitowa,’ yali ategeeza nti tewali kintu kyonna Mukristaayo ky’alina kwetikka? Nedda. Yali ategeeza nti tulina okweggyako ebintu ebiteetaagisa. Ebintu ebyo biyinza okutulemesa okudduka obulungi, era biyinza okutuleetera okukoowa. Okusobola okusigala nga tudduka embiro ez’obulamu, tulina okwanguwa okulaba ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okuzidduka obulungi era ne tukyeggyako mangu. Ate mu kiseera kye kimu, tetulina kusuula bintu bye tusaanidde okwetikka. Bwe tubisuula, tuyinza okulekera awo okudduka embiro ezo. (2 Tim. 2:5) Bintu ki bye tulina okwetikka?

3. (a) Okusinziira ku Abaggalatiya 6:5, kiki kye tusaanidde okwetikka? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki?

3 Soma Abaggalatiya 6:5. Pawulo yalaga ekintu kye tulina okwetikka. Yagamba nti: “Buli omu ajja kwetikka obuvunaanyizibwa bwe.” Wano Pawulo yali ategeeza ekyo Katonda ky’asuubira mu buli omu ku ffe okukola, era nga tewali mulala alina kukitukolera. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebyo ebizingirwa mu ‘buvunaanyizibwa’ bwaffe, n’engeri gye tusobola okubwetikka. Ate era tugenda kulabayo ebintu ebiteetaagisa bye tuyinza okuba nga twetisse, era tugenda kulaba n’engeri gye tuyinza okubyeggyako. Okwetikka obuvunaanyizibwa bwaffe n’okweggyako ebintu ebiteetaagisa, kijja kutuyamba okudduka obulungi embiro ez’obulamu tusobole okuzimalako.

EBYO BYE TULINA OKWETIKKA

Okwetikka omugugu gwaffe kizingiramu okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka, n’okukkiriza ebyo ebiba bivudde mu ebyo bye tuba twasalawo (Laba akatundu 4-9)

4. Lwaki si kizibu okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

4 Obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa. Bwe twewaayo eri Yakuwa tweyama okumusinza n’okukola by’ayagala. Tulina okutuukiriza obweyamo obwo. Okutuukiriza obweyamo obwo buvunaanyizibwa bwa maanyi, naye tusobola okubutuukiriza. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa yatutonda okukola by’ayagala. (Kub. 4:11) Yatutonda nga tulina obwetaavu bw’okwagala okumumanya n’okumusinza, era yatutonda mu kifaananyi kye. Bwe kityo, tusobola okumusemberera era n’okufuna essanyu mu kukola by’ayagala. (Zab. 40:8) Ate era bwe tukola Katonda by’ayagala era ne tugoberera Omwana we, ‘tufuna ekiwummulo.’​—Mat. 11:28-30.

(Laba akatundu 4-5)

5. Kiki ekisobola okukuyamba okutuukiriza obweyamo bwo? (1 Yokaana 5:3)

5 Oyinza otya okwetikka obuvunaanyizibwa obwo? Waliwo ebintu bibiri ebisobola okukuyamba. Ekisooka, weeyongere okwagala Yakuwa. Ekyo osobola okukikola ng’ofumiitiriza ku birungi by’akukoledde era n’ebyo by’asuubiza okukukolera mu biseera eby’omu maaso. Gy’okoma okwagala Yakuwa, gye kikoma okukubeerera ekyangu okumugondera. (Soma 1 Yokaana 5:3.) Eky’okubiri, koppa Yesu. Yesu yasobola okukola Katonda by’ayagala olw’okuba yasabanga Yakuwa okumuyamba era yassanga ebirowoozo bye ku mpeera gye yali agenda okufuna. (Beb. 5:7; 12:2) Okufaananako Yesu, naawe sabanga Yakuwa okukuyamba, era fumiitirizanga ku mpeera gy’akusuubiza ey’obulamu obutaggwaawo. Bw’oneeyongera okwagala Yakuwa n’okukoppa Omwana we, ojja kusobola okutuukiriza obweyamo bwo.

6. Lwaki tusaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka. Nga tudduka embiro ez’obulamu, tulina okwagala Yakuwa ne Yesu okusinga bwe twagala ab’eŋŋanda zaffe. (Mat. 10:37) Naye kino tekitegeeza nti tetulina kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe tulina mu maka, nga gy’obeera nti butulemesa okusanyusa Katonda ne Kristo. Okwawukana ku ekyo, okusobola okusanyusa Katonda ne Kristo, tulina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka. (1 Tim. 5:4, 8) Bwe tubutuukiriza, tuba basanyufu. Yakuwa akimanyi nti ab’omu maka baba basanyufu singa omwami n’omukyala baagalana era bawaŋŋana ekitiibwa, singa abazadde baagala abaana baabwe era babatendeka, era singa abaana bagondera bazadde baabwe.​—Bef. 5:33; 6:1, 4.

(Laba akatundu 6-7)

7. Oyinza otya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’olina mu maka?

7 Oyinza otya okwetikka obuvunaanyizibwa obwo? K’obe ng’olina buvunaanyizibwa ki mu maka, kolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli mu kifo ky’okukolera ku ndowooza yo, ku buwangwa, oba ku ebyo abo abatwalibwa okuba abawi b’amagezi bye bagamba. (Nge. 24:3, 4) Noonyereza mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Mu bitabo ebyo mulimu amagezi agasobola okukuyamba okumanya engeri y’okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, ebyo ebiri mu kitundu “Amagezi Agayamba Amaka,” byogera ku kusoomooza abafumbo, abazadde, n’abavubuka kwe boolekagana nakwo leero. b Fuba okukolera ku bulagirizi obuli mu Bayibuli ne bwe kiba nti abalala mu maka tebabukolerako. Bw’onookola bw’otyo, mmwenna mu maka mujja kuganyulwa era Yakuwa ajja kukuwa emikisa.​—1 Peet. 3:1, 2.

8. Ebyo bye tusalawo bitukwatako bitya?

8 Tuvunaanyizibwa ku ebyo ebiva mu bye tusalawo. Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo, era ayagala tufune essanyu eriva mu kusalawo obulungi. Naye bwe tusalawo obubi, tatutangira kufuna bizibu ebiva mu ekyo kye tuba tusazeewo. (Bag. 6:7, 8) N’olwekyo, bwe tusalawo obubi, bwe twogera nga tetulowoozezza, oba bwe tukola ekintu ekikyamu, tuvunaanyizibwa ku ebyo ebivaamu. Okusinziira ku ekyo kye tuba tukoze, tuyinza okulumirizibwa omuntu waffe ow’omunda. Kyokka bwe tukimanya nti tuvunaanyizibwa ku ebyo bye tusalawo, kituleetera okwatula ebibi byaffe, okutereeza ensobi zaffe, n’okwewala okuddamu okukola ensobi ze zimu. Okukola ebintu ebyo kituyamba okusigala nga tudduka embiro ez’obulamu.

(Laba akatundu 8-9)

9. Kiki ekisobola okukuyamba bw’oba nga wasalawo mu ngeri etali ya magezi? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Oyinza otya okwetikka obuvunaanyizibwa obwo? Bw’oba ng’olina ekintu ekitali kya magezi kye wasalawo, kiki ky’osaanidde okukola? Kikkirize nti tosobola kukyusa byayita. Tomala biseera byo na maanyi go nga weewolereza, nga weesalira omusango, oba ng’onenya abalala olw’ensobi gye wakola. Mu kifo ky’ekyo, kkiriza ensobi yo era ofube okukola ekituufu okusinziira ku mbeera gy’olimu kati. Omuntu wo ow’omunda bw’aba ng’akulumiriza, tuukirira Yakuwa mu kusaba, kkiriza ensobi yo, era musabe akusonyiwe. (Zab. 25:11; 51:3, 4) Weetondere abo b’oyinza okuba nga walumya, era bwe kiba kyetaagisa, tuukirira abakadde bakuyambe. (Yak. 5:14, 15) Yigira ku nsobi zo, era fuba okwewala okuziddamu. Bw’okola bw’otyo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukulaga ekisa era akuwe obuyambi bwe weetaaga.​—Zab. 103:8-13.

BYE TULINA ‘OKWEGGYAKO’

10. Lwaki okusuubira ebitasoboka mugugu muzito nnyo? (Abaggalatiya 6:4)

10 Okusuubira ebitasoboka. Bwe tuba nga twegeraageranya n’abalala, tuyinza okwetikka omugugu omuzito ennyo ogw’okusuubira bye tutasobola kutuukiriza. (Soma Abaggalatiya 6:4.) Bwe tuba nga buli kiseera twegeraageranya n’abalala, kiyinza okutuviiramu okufuna obuggya era n’okuvuganya nabo. (Bag. 5:26) Bwe tugezaako okukola ebyo abalala bye bakola naye nga tetulina busobozi bwa kubikola, tuyinza okwerumya. Kirowoozeeko, bwe kiba nti “ekisuubirwa bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala,” kati olwo tekiba kya kabi nnyo n’okusingawo okusuubira ekintu ky’otosobola kutuukako? (Nge. 13:12) Ekyo bwe kibaawo, kiyinza okutuviirako okukoowa ennyo era ne tulemererwa okudduka obulungi embiro ez’obulamu.​—Nge. 24:10.

11. Kiki ekisobola okutuyamba okwewala okusuubira bye tutasobola kutuukiriza?

11 Oyinza otya okweggyako omugugu ogwo? Tosuubira kukola bisukka ku ebyo Yakuwa by’akusuubiramu. Takusuubiramu kumuwa ky’otolina. (2 Kol. 8:12) Beera mukakafu nti Yakuwa tageraageranya ebyo by’okola n’ebyo abalala bye bakola. (Mat. 25:20-23) Asiima nnyo obwesigwa bwo, obugumiikiriza bwo, n’okuba nti omuweereza n’omutima gwo gwonna. Kkiriza nti ebintu ebimu tosobola kubikola olw’emyaka gyo, olw’obulwadde, oba olw’embeera gy’olimu. Okufaananako Baluzirayi, beera mwetegefu okugaana obuvunaanyizibwa obumu obukuweebwa, bwe kiba nti tosobola kubutuukiriza olw’obulwadde oba olw’emyaka gyo. (2 Sam. 19:35, 36) Okufaananako Musa, kkiriza obuyambi obukuweebwa, era obeeko obuvunaanyizibwa bw’okwasa abalala bwe kiba kyetaagisa. (Kuv. 18:21, 22) Bw’oyoleka obwetoowaze mu ngeri eyo, tojja kusuubira kukola bintu by’otosobola kutuukiriza ebiyinza okukukooya ng’odduka embiro ez’obulamu.

12. Ffe tuvunaanyizibwa ku bintu ebibi abalala bye baba basazeewo? Nnyonnyola.

12 Okuwulira nga tuvunaanyizibwa olw’ebintu ebikyamu abalala bye baba basazeewo. Tetuyinza kusalirawo balala, era tetuyinza kubatangira kwolekagana n’ebizibu ebiva mu ebyo bye baba basazeewo. Ng’ekyokulabirako, omwana ayinza okusalawo okulekera awo okuweereza Yakuwa. Ekyo omwana oyo ky’aba asazeewo kireetera abazadde obulumi bungi nnyo. Naye abazadde abeesalira omusango olw’abaana baabwe okusalawo mu ngeri etali ya magezi, beetikka omugugu omuzito ennyo. Yakuwa tabasuubira kwetikka mugugu ogwo.​—Bar. 14:12.

13. Kiki ekiyinza okuyamba omuzadde singa omwana we asalawo mu ngeri eteri ya magezi?

13 Oyinza otya okweggyako omugugu ogwo? Kijjukire nti ffenna Yakuwa yatuwa eddembe ery’okwesalirawo. Aleka buli muntu okwesalirawo. Ekyo kizingiramu n’okwesalirawo obanga anaamuweereza oba taamuweereze. Yakuwa akimanyi nti totuukiridde; ky’akusuubiramu kwe kukola kyonna ky’osobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Omwana y’avunaanyizibwa ku ekyo ky’aba asazeewo so si ggwe. (Nge. 20:11) Wadde kiri kityo, oyinza okuba ng’olowooza ku nsobi ze wakola ng’omuzadde. Bwe kiba kityo, tegeeza Yakuwa engeri gy’owuliramu era musabe akusonyiwe. Akimanyi nti tosobola kukyusa by’emabega. Ate era takusuubira kutangira mwana wo kukungula ekyo ky’asize. Kijjukire nti omwana wo bw’anaafuba okudda eri Yakuwa, Yakuwa ajja kumwaniriza n’essanyu.​—Luk. 15:18-20.

14. Lwaki omutima okutulumiriza ekisukkiridde, mugugu gwe tusaanidde okweggyako?

14 Omutima okutulumiriza ekisukkiridde. Bwe tukola ekibi, tekiba kikyamu omutima okutulumiriza. Naye omutima bwe gutulumiriza ekisukkiridde, ogwo guba mugugu gwe tutasaanidde kwetikka. Mu butuufu, omugugu ogwo tulina okugweggyako. Tumanya tutya nti omutima gutulumiriza ekisukkiridde? Bwe tuba nga twayatula ekibi kyaffe, ne twenenya, era ne tufuba obutaddamu kukikola, awo Yakuwa aba yatusonyiwa. (Bik. 3:19) Bwe tumala okukola ebintu ebyo, Yakuwa aba tayagala tweyongere kulumirizibwa mutima. Akimanyi nti omutima bwe gutulumiriza ekisukkiridde, kitukosa. (Zab. 31:10) Bwe tunakuwala ennyo olw’ekibi kye tuba twakola, tuyinza okulekera awo okudduka embiro ez’obulamu.​—2 Kol. 2:7.

Bw’omala okwenenya mu bwesimbu, Yakuwa tasigala ng’alowooza ku bibi bye wakola, era naawe tosaanidde kubirowoozaako(Laba akatundu 15)

15. Kiki ekiyinza okukuyamba omutima bwe guba nga gukulumiriza ekisukkiridde? (1 Yokaana 3:19, 20) (Laba n’ekifaananyi.)

15 Oyinza otya okweggyako omugumu ogwo? Omutima bwe guba nga gukulumiriza ekisukkiridde, kijjukire nti Katonda ‘asonyiyira ddala.’ (Zab. 130:4) Abo abeenenya mu bwesimbu abasuubiza nti taliddamu kujjukira bibi byabwe. (Yer. 31:34) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa bw’akusonyiwa, taddamu kulowooza ku bibi ebyo by’aba akusonyiye. N’olwekyo tokitwala nti ebizibu ebiva mu bibi bye wakola kabonero akalaga nti Yakuwa teyakusonyiwa. Era toggwaamu maanyi olw’okuba tokyalina nkizo ezimu ze walina mu kibiina olw’ensobi ze wakola. Yakuwa talowooza ku bibi bye wakola, era naawe tosaanidde kubirowoozaako.​—Soma 1 Yokaana 3:19, 20.

DDUKA OSOBOLE OKUWANGULA

16. Nga tudduka embiro ez’obulamu, kiki kye tusaanidde okumanya?

16 Bwe tuba tudduka embiro ez’obulamu, tulina ‘okudduka mu ngeri eneetusobozesa okubufuna.’ (1 Kol. 9:24) Ekyo tusobola okukikola singa tumanya enjawulo eriwo wakati w’ebintu bye tusaanidde okwetikka n’ebyo bye tusaanidde okweggyako. Mu kitundu kino, tulabyeyo ebintu bitono bye tulina okwetikka n’ebyo bye tulina okweggyako. Naye eriyo n’ebintu ebirala bingi. Yesu yalaga ebimu ku bintu ebirala bye tulina okweggyako, gamba ng’okwemalira “ku kulya n’okunywa n’okweraliikirira eby’obulamu.” (Luk. 21:34) Ekyawandiikibwa ekyo awamu n’ebyawandiikibwa ebirala bisobola okukuyamba okumanya enkyukakyuka z’osaanidde okukola ng’odduka embiro ez’obulamu.

17. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti tujja kuwangula embiro ez’obulamu?

17 Tuli bakakafu nti tujja kuwangula embiro ez’obulamu kubanga Yakuwa ajja kutuwa amaanyi ge twetaaga. (Is. 40:29-31) N’olwekyo, toddirira. Koppa omutume Pawulo eyakola kyonna ky’asobola okulaba nti afuna empeera eyamusuubizibwa. (Baf. 3:13, 14) Tewali asobola kudduka mbiro zino ku lulwo, naye Yakuwa asobola okukuyamba okudduka n’ozimalako. Yakuwa asobola okukuyamba okwetikka emigugu gy’olina okwetikka, era n’okweggyako egyo gy’otolina kwetikka. (Zab. 68:19) Olw’okuba Yakuwa mwetegefu okukuyamba, osobola okudduka n’obugumiikiriza embiro ez’obulamu okutuusa lw’onoozimalako!

OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!

a Ekitundu kino kigenda kutuyamba okudduka embiro ez’obulamu. Nga tudduka embiro ezo, waliwo ebintu bye tulina okwetikka. Mu bintu ebyo mwe muli obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, obuvunaanyizibwa bwe tulina mu maka, n’obuvunaanyizibwa bwe tuba nabwo ku ebyo ebiva mu bye tuba tusazeewo. Kyokka tulina okweggyako ekintu kyonna ekiyinza okutulemesa okudduka obulungi embiro ezo. Biki ebizingirwa mu bintu bye tulina okweggyako? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

b Ebyo ebiri mu kitundu “Amagezi Agayamba Amaka” bisange ku jw.org. Ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu ekyo ebisobola okuyamba abafumbo bye bino: “Oyinza Otya Okulaga nti Ossaamu Munno Ekitiibwa?” ne “Engeri gy’Oyinza Okulaga nti Osiima”; ebimu ku ebyo ebisobola okuyamba abazadde bye bino, Teaching Children Smartphone Sense ne How to Communicate With Your Teenager”; ate ebimu ku ebyo ebisobola okuyamba abavubuka bye bino, How to Resist Peer Pressure ne How to Deal With Loneliness.”