Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1923—Emyaka Kikumi Emabega

1923—Emyaka Kikumi Emabega

WATCH TOWER eya Jjanwali 1, 1923 yagamba nti: “Tusuubira omwaka gwa 1923 okubaamu ebintu bingi ebizzaamu amaanyi. Nkizo ya maanyi okubuulira . . . abantu abanyigirizibwa nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.” Mu mwaka gwa 1923 abayizi ba Bayibuli baakola enkyukakyuka mu nkuŋŋaana zaabwe ne mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. N’ekyavaamu, beeyongera okuba obumu.

ENKUŊŊAANA ZAABAYAMBA OKWEYONGERA OKUBA OBUMU

Kalenda eriko ebyawandiikibwa n’ennamba z’ennyimba

Mu mwaka ogwo, ekibiina kya Yakuwa kirina enkyukakyuka ze kyakola ezaasobozesa Abayizi ba Bayibuli okweyongera okuba obumu mu kusinza kwabwe. Magazini ya Watch Tower yatandika okufulumirangamu ebitundu ebyali binnyonnyola ekyawandiikibwa ekya buli wiiki ekyekenneenyezebwanga mu nkuŋŋaana zaabwe ezaabangamu okusaba n’okutendereza Yakuwa. Ate era Abayizi ba Bayibuli baafulumya kalenda eyaliko olukalala lw’ebyawandiikibwa ebya buli wiiki n’ennyimba ez’okukozesebwa mu kwesomesa ne mu kusinza kw’amaka.

Mu nkuŋŋaana, Abayizi ba Bayibuli kinnoomu baayogeranga ku ebyo bye baabanga bakoze mu buweereza, ku kintu ekimu Yakuwa kye yabanga abakoledde, oba baabangako oluyimba lwe bayimba oba baasabanga. Mwannyinaffe Eva Barney, eyabatizibwa mu 1923 ng’alina emyaka 15, yagamba nti: “Bwe wabanga oyagala okubaako ky’oyogera, wayimiriranga n’otandika okwogera ng’ogamba nti, ‘Njagala okwebaza Mukama waffe olw’ebirungi byonna by’ankoledde.’” Abamu ku b’oluganda baali baagala nnyo okubaako kye boogera. Eva era yagamba nti: “Ow’Oluganda Godwin eyali akaddiye, yabanga n’ebintu bingi nnyo eby’okwebaza Mukama waffe. Naye mukyala we bwe yalabanga ng’ow’oluganda eyabanga akubiriza ekitundu alabika ng’eyabanga ayagala okumukomako, yakoonanga ku mwami we n’atuula.”

Omulundi gumu buli mwezi, buli kibiina kyabanga n’okusaba okw’enjawulo, okutendereza, n’okwogera ku ebyo ebyabanga bituukiddwako mu buweereza. Ng’eyogera ku lukuŋŋaana olwo, Watch Tower eya Apuli 1, 1923, yagamba nti: “Ekitundu kimu kya kubiri eky’ekiseera ky’olukuŋŋaana olwo kirina kukozesebwa kwogera ku ebyo ebikolebwa mu buweereza n’okuzzaamu abakozi amaanyi. . . . Tusuubira nti olukuŋŋaana olwo lujja kuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubayamba okweyongera okuba obumu.”

Ow’Oluganda Charles Martin, eyali omubuulizi ow’emyaka 19 eyali abeera mu Vancouver, Canada, yaganyulwa nnyo mu nkuŋŋaana ezo. Yagamba nti: “Mu nkuŋŋaana ezo mwe nnasookera okumanya kye nnina okwogera nga mbuulira nnyumba ku nnyumba. Emirundi mingi waabangawo omubuulizi eyayogeranga ku ngeri gye yabanga abuuliddemu abantu nnyumba ku nnyumba. Ekyo kyannyamba okumanya kye nnina okwogera n’engeri gye nsaanidde okukwatamu abo abawakanya obubaka bwaffe.”

OMULIMU GW’OKUBUULIRA GWAYAMBA AB’OLUGANDA OKWEYONGERA OKUBA OBUMU

Bulletin eya Maayi 1, 1923

Waliwo ennaku ezaalondebwa okuba ez’okubuulira era buli mubuuilizi yali akubirizibwa okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo nakyo kyayamba ab’oluganda okweyongera okuba obumu. Watch Tower eya Apuli 1, 1923, yayisa ekirango kino: “Ffenna okusobola okuba obumu mu mulimu gw’okubuulira, . . . , Olw’okubiri, Maayi 1, 1923, lulondeddwa okuba olunaku lw’okubuulira. Era oluvannyuma, buli Lwakubiri olusooka mu mwezi lujja kubanga lunaku lwa kubuulira . . . Buli omu mu kibiina asaanidde okwenyigira mu mulimu guno.”

Abayizi ba Bayibuli abato nabo beenyigiranga mu mulimu guno. Mwannyinaffe Hazel Burford, eyalina emyaka 16 mu kiseera ekyo, yagamba nti: “Akatabo akayitibwa Bulletin kaabangamu ennyanjula ze twakwatanga mu mutwe. a Nneenyigiranga mu kubuulira nga nkolera wamu ne jjajja.” Kyokka Mwannyinaffe Burford yasoberwa olw’endowooza ow’oluganda omu gye yalina ku ky’okuba nti yali abuulira n’obunyiikivu. Yagamba: “Ow’oluganda omu eyali akaddiye yali takkiriziganya na kya kuba nti nnali mbuulira abantu. Mu kiseera ekyo abamu ku Bayizi ba Bayibuli baali tebannakitegeera nti ‘abalenzi n’abawala’ nabo baalina okwenyigira mu kutendereza Omutonzi waffe.” (Zab. 148:​12, 13) Naye Mwannyinaffe Burford teyalekayo kubuulira. Oluvannyuma yagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’okubiri, era n’asindikibwa okuweereza ng’omuminsani mu Panama. Oluvannyuma lw’ekiseera, ab’oluganda baakyusa endowooza gye baalina ku ky’abaana abato okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira.

ENKUŊŊAANA ENNENE ZAAYAMBA AB’OLUGANDA OKWEYONGERA OKUBA OBUMU

Enkuŋŋaana ennene nazo zaayamba ab’oluganda okweyongera okuba obumu. Ku nkuŋŋaana ezo, waabangawo olunaku olwalondebwanga okuba olw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Winnipeg, Canada, abo bonna abajja ku lukuŋŋaana olwo baakubirizibwa okwenyigira mu kubuulira nga Maaki 31. Abantu bangi baatuusibwako amawulire amalungi mu kubuulira okwo, era ebyavaamu byali birungi. Ng’ekyokulabirako, nga Agusito 5 abantu nga 7,000 be baaliwo ku lukuŋŋaana olulala olunene olwali Winnipeg. Ogwo gwe muwendo gw’abantu abaaliwo ku lukuŋŋaana olunene ogwali gukyansinzeeyo okuba omunene mu Canada mu kiseera ekyo.

Olukuŋŋaana olukulu ennyo olw’abantu ba Yakuwa olwaliwo mu 1923, lwaliwo nga Agusito 18-26, mu Los Angeles, California. Ng’ebula wiiki ntono olukuŋŋaana olwo lutuuke, Abayizi ba Bayibuli baalulanga mu mpapula z’amawulire, era baagabira n’abantu obupapula obusukka mu 500,000 obwali bubayita ku lukuŋŋaana olwo. Ate era baatimba ku mmotoka eza lukale n’ez’obwannannyini ebipande ebyali biranga olukuŋŋaana olwo.

Okuŋŋaana olunene olw’Abayizi ba Bayibuli olwali mu Los Angeles mu 1923

Ku Lw’omukaaga nga Agusito 25, Ow’Oluganda Rutherford yawa okwogera okwalina omutwe, “Endiga n’Embuzi,” era mu kwogera okwo yakyoleka bulungi nti “endiga” be bantu ab’emitima emirungi abajja okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Oluvannyuma yayisa ekiteeso ekyalina omutwe, “Okulabula.” Mu kiteeso ekyo obulimba bwa Kristendomu bwayanikibwa era abantu ab’emitima emirungi ne bakubirizibwa okufuluma “Babulooni Ekinene.” (Kub. 18:​2, 4) Oluvannyuma Abayizi ba Bayibuli abanyiikivu okwetooloola ensi yonna baali bagenda kwenyigira mu mulimu gw’okugabira abantu kopi bukadde na bukadde ez’ekiteeso ekyo.

“Olukuŋŋaana olwo lujja kuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubayamba okweyongera okuba obumu”

Ku lunaku olwasembayo olw’olukuŋŋaana olwo, abantu abaali basukka mu 30,000 be baawuliriza emboozi y’Ow’Oluganda Rutherford eyalina omutwe, “Amawanga Gonna Gatambula nga Goolekera Amagedoni, Naye Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebajja Kufa.” Olw’okuba Abayizi ba Bayibuli baali basuubira abantu bangi okubaawo, baapangisa ekisaawe ekyali kyakamalirizibwa okuzimbibwa mu Los Angeles. Okusobola okukakasa nti buli omu eyaliwo awulira bulungi ebyali byogerwa, ab’oluganda baakozesa emizindaalo gy’ekisaawe egyali gikozesa tekinologiya eyali ekyasinga okuba ku mulembe mu kiseera ekyo. Abantu abalala bangi baawulira programu eyo ku leediyo.

WABAAWO OKWEYONGERAYONGERA MU NSI ENDALA

Mu 1923, waaliwo okweyongerayongera kwa maanyi mu mulimu gw’okubuulira mu Afirika, mu Bulaaya, mu Buyindi, ne mu Amerika ow’omu maserengeta. Mu Buyindi, ow’Oluganda A. J. Joseph eyali omufumbo era ng’alina abaana mukaaga, yali alabirira omulimu gw’okukuba ebitabo mu Luhindi, mu Lutamili, mu Lutelugu, ne mu Urdu.

William R. Brown n’ab’omu maka ge

Mu Sierra Leone, Abayizi ba Bayibuli, Alfred Joseph ne Leonard Blackman, baawandiikira ekitebe ekikulu mu Brooklyn, New York, nga basaba obuyambi. Okusaba kwabwe kwaddibwamu nga Apuli 14, 1923. Ow’Oluganda Alfred yagamba nti: “Lumu ekiro ku Lwomukaaga, nnafuna ssimu gye nnali sisuubira.” Omuntu eyamukubira yamubuuza nti, “Ggwe wawandiikira Watch Tower Society ng’osaba muweerezebwe ababuulizi?” Alfred yaddamu nti, “Yee.” Eyali ayogera naye ku ssimu yaddamu nti. “Nzuuno nzize bansindise.” Ow’Oluganda William R. Brown ye yali ayogera. Yali atuuse ku olwo ng’ava mu Caribbean ng’ali wamu ne mukyala we Antonia, ne bawala baabwe abato, Louise ne Lucy. Ab’oluganda kyali tekigenda kubatwalira kiseera kiwanvu kusisinkana ow’Oluganda Brown n’ab’omu maka ge.

Alfred yagamba nti: “Enkeera ku makya nze ne Leonard bwe twali tukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa nga bwe twakolanga buli wiiki, twalaba omusajja omuwanvu ng’ayimiridde ku mulyango. Yali ow’Oluganda Brown. Olw’okuba yali ayagala nnyo okulaba nga buli muntu amanya amazima, yateekateeka okwogera kwa bonna olunaku lwennyini olwaddako.” Mu bbanga eritawera mwezi, ow’Oluganda Brown yali amazeewo ebitabo byonna bye yajja nabyo. Mu kiseera kitono yafuna ebitabo ebirala 5,000, era waayita akabanga katono n’aba ng’ate yeetaaga ebirala. Naye ow’Oluganda Brown yali tamanyiddwa ng’omutunzi w’ebitabo. Mu buweereza bwe bwonna, yajulizanga nnyo Ebyawandiikibwa mu mboozi ze, era ekyo ne kiviirako abantu okumutuuma erinnya Bible Brown.

Beseri y’omu Magdeburg mu myaka gya 1920

Mu kiseera ekyo kye kimu, ab’oluganda mu Bugirimaani baasalawo okusengula ofiisi y’ettabi eyali mu kibuga Barmen, olw’okuba yali tekyabamala. Ate era baali bawulidde nti Bufalansa yali egenda kulumba ekibuga ekyo. Abayizi ba Bayibuli baafuna ekizimbe mu kibuga Magdeburg era baakiraba nti kyali kijja kubasobozesa n’okukoleramu obulungi omulimu gw’okukuba ebitabo. Nga Jjuuni 19, ab’oluganda baamaliriza omulimu gw’okutikka ebyuma ebikuba ebitabo n’ebintu ebirala ne basengukira mu Beseri empya mu Magdeburg. Nga waakayita olunaku lumu ng’ab’oluganda ku kitebe ekikulu bamaze okutegeezebwa nti ab’oluganda mu Bugirimaani baali bamaze okusengukira mu kibuga Magdeburg, empapula z’amawulire zaalaga nti Bufalansa yali ewambye ekibuga Barmen. Ab’oluganda baakiraba nti okusenguka okwo kwalaga nti Yakuwa yali awa ab’oluganda emikisa n’obukuumi.

George Young ne Sarah Ferguson (ku ddyo) ne muganda we

Mu Brazil, ow’Oluganda George Young, eyatambula mu bitundu bingi ng’abuulira amawulire amalungi, yatandikawo ofiisi y’ettabi empya era n’atandika okukuba Watch Tower mu Lupotugo. Mu myezi mitono, yagaba ebitabo ebisukka mu 7,000. Sarah Ferguson yasanyuka nnyo ow’oluganda Young bwe yatuuka mu maka gaabwe ng’abuulira. Sarah yali azze asoma Watch Tower okuviira ddala mu 1899, naye yali tabatizibwanga okusobola okukyoleka mu lujjudde nti yeewaayo eri Yakuwa. Nga wayise ekiseera kitono, Mwannyinaffe Ferguson n’abaana be bana baabatizibwa.

“OKUWEEREZA KATONDA N’OBUNYIIKIVU ERA N’ESSANYU”

Omwaka bwe gwali gunaatera okuggwaako, ebyava mu nkyukakyuka Abayizi ba Bayibuli ze baakola byayogerwako mu Watch Tower eya Ddesemba 15, 1923. Yagamba nti: “Kyeyoleka lwatu nti ebibiina . . . byeyongedde okunywera mu kukkiriza . . . Ka tweyongere okwetegekera okukola omulimu n’okuweereza Katonda waffe n’obunyiikivu era n’essanyu mu mwaka oguddako ogwa 1924.”

Omwaka ogwaddako gwali gugenda kuba gwa byafaayo eri Abayizi ba Bayibuli. Ab’oluganda ku Beseri baali bamaze emyezi egiwera nga bakola emirimu ku ttaka eryali lyakagulwa mu Staten Island, ekitaali wali n’ekitebe ekikulu mu Brooklyn. Ebizimbe ebyazimbibwa ku ttaka eryo byamalirizibwa mu 1924, era byayamba ab’oluganda okweyongera okuba obumu n’okwongera okubunyisa amawulire amalungi mu ngeri eyali tebangawo.

Abazimbi ku Staten Island

a Mu kiseera kino kayitibwa Akatabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe.