Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44

Fuba Okutegeera Obulungi Ekigambo kya Katonda

Fuba Okutegeera Obulungi Ekigambo kya Katonda

“[Mutegeerere] ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba.”​—BEF. 3:18.

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

OMULAMWA a

1-2. Engeri esingayo obulungi ey’okusoma n’okwesomesaamu Bayibuli y’eruwa? Waayo ekyokulabirako.

 KUBA akafaananyi ng’oyagala kugula nnyumba. Biki bye wandyagadde okulaba nga tonnaasalawo kugigula? Wandyagadde kulaba kifaananyi kyayo kyokka? Kya lwatu nti wandyagadde okugenda ku nnyumba eyo ogirabe, oyingire munda mu bisenge byayo, era ogirambule yonna. Oboolyawo wandyagadde n’okulaba pulaani yaayo osobole okumanya engeri gye yazimbibwamu. Kya lwatu nti oba oyagala kulaba kalonda yenna akwata ku nnyumba gy’ogenda okubeeramu.

2 Tusobola okukola ekintu ekifaananako bwe kityo bwe tuba tusoma Bayibuli. Omuwandiisi omu yageraageranya Bayibuli ku kizimbe “ekinene ennyo era ekiwanvu ennyo ekyazimbibwa ku musingi ogukka wansi ennyo.” Kati olwo tuyinza tutya okutegeera obulungi ebyo ebiri mu Bayibuli? Bw’ogisoma ng’oyanguyiriza, omanyako njigiriza zaayo ezisookerwako zokka, kwe kugamba, “ebintu ebisookerwako eby’ebigambo bya Katonda ebitukuvu.” (Beb. 5:12) N’olwekyo, nga bw’okola ku nnyumba, yingira “munda” weekenneenye kalonda yenna ali mu Kigambo kya Katonda. Engeri esingayo obulungi ey’okwesomesaamu Ekigambo kya Katonda, kwe kulaba engeri obubaka obugirimu gye bukwataganamu. Tosaanidde kukoma ku kumanya ebyo byokka by’okkiririzaamu, naye era fuba okumanya n’ensonga lwaki obikkiririzaamu.

3. Kiki omutume Pawulo kye yakubiriza bakkiriza banne okukola, era lwaki? (Abeefeso 3:​14-19)

3 Okusobola okutegeera mu bujjuvu Ekigambo kya Katonda, tulina okumanya ebintu eby’ebuziba ebikirimu. Omutume Pawulo yakubiriza bakkiriza banne okusoma Ekigambo kya Katonda n’obwegendereza basobole “okutegeerera ddala obugazi, obuwanvu, obugulumivu, n’obuziba”  bw’amazima. Ekyo kyandibayambye okweyongera ‘okusimba emirandira n’okunywerera’ mu kukkiriza. (Soma Abeefeso 3:​14-19.) Naffe tusaanidde okukola ekintu kye kimu. Kati ka tulabe engeri gye tusobola okwesomesaamu Ekigambo kya Katonda tusobole okutegeera mu bujjuvu ebyo ebikirimu.

WEEKENNEENYE EBINTU EBY’EBUZIBA EBIRI MU BAYIBULI

4. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okweyongera okusemberera Yakuwa? Waayo ebyokulabirako.

4 Tetwagala kukoma ku kumanya njigiriza za Bayibuli ezisookerwako zokka. Twagala omwoyo gwa Katonda gutuyambe okutegeera ebintu “bya Katonda eby’ebuziba.” (1 Kol. 2:​9, 10) Osobola okunoonyereza ku ebyo by’osoma ng’olina ekigendererwa eky’okweyongera okusemberera Katonda. Ng’ekyokulabirako, osobola okunoonyereza ku ngeri gye yalagamu abaweereza be ab’omu biseera eby’edda okwagala, era n’engeri ekyo gye kiragamu nti naawe akwagala. Oyinza okusoma ku ngeri Yakuwa gye yali ayagala Abayisirayiri bamusinzeemu, n’ogigeraageranya n’engeri gy’ayagala tumusinzeemu leero. Oba oyinza okwekenneenya obunnabbi obwatuukirira ku Yesu mu bulamu bwe ne mu buweereza bwe ku nsi.

5. Waliwo ekintu mu Bayibuli kye wandyagadde okunoonyerezaako?

5 Abamu ku bakkiriza bannaffe abaagala ennyo okunoonyereza ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda, baabuuzibwa ebimu ku bintu bye bandyagadde okwekenneenya. Ebimu ku ebyo bye baayogera bisangibwa mu kasanduuko “ Ebintu Bye Tusobola Okusomako.” Bw’osoma ku bintu ebyo ng’okozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, osobola okufuna essanyu lingi. Okusoma ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli kisobola okunyweza okukkiriza kwo n’okukuyamba ‘okuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’ (Nge. 2:​4, 5) Kati ka tulabe ebimu ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli bye tusobola okusomako.

FUMIITIRIZA KU KIGENDERERWA KYA KATONDA

6. (a) Njawulo ki eriwo wakati w’enteekateeka n’ekigendererwa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti ekigendererwa Yakuwa ky’alina eri abantu n’ensi ‘kya lubeerera’? (Abeefeso 3:11)

6 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kigendererwa kya Katonda. Waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’enteekateeka n’ekigendererwa. Enteekateeka eyinza okugeraageranyizibwa ku kkubo erikutwala gy’oyagala okugenda. Kyokka enteekateeka eyo esobola okugwa obutaka singa wabaawo ekiziba ekkubo eryo. Ku luuyi olulala, ekigendererwa kiyinza okugeraageranyizibwa ku kifo gy’oyagala okugenda. Oba omanyi bulungi gy’oyagala okugenda era osobola okuyita mu makubo ag’enjawulo okutuukayo. Mu Bayibuli, Yakuwa azze abikkula mpolampola “ekigendererwa kye eky’olubeerera.” (Bef. 3:11) Mu ngeri emu oba endala, bulijjo atuukiriza ekigendererwa kye kubanga “buli kimu . . . alina bw’akikoze okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.” (Nge. 16:4) Era ebiva mu ebyo Yakuwa by’akola bibaawo emirembe n’emirembe. Yakuwa alina kigendererwa ki, era nkyukakyuka ki z’akoze okusobola okukituukiriza?

7. Oluvannyuma lw’abantu abaasooka okujeema, Yakuwa yakyusa atya engeri gye yandibadde atuukirizaamu ekigendererwa kye? (Matayo 25:34)

7 Katonda yategeeza abantu abaasooka ekigendererwa kye yalina ng’abatonda. Baali ba ‘kuzaala baale bajjuze ensi babeere n’obuyinza ku yo, era bafugenga ensolo zonna eziri ku nsi.’ (Lub. 1:28) Adamu ne Kaawa bwe baajeema era ne baviirako abantu bonna okufuuka aboonoonyi, ekyo kyali tekisobola kulemesa Yakuwa kutuukiriza kigendererwa kye. Yakyusa mu ngeri gye yalina okukituukirizaamu. Yakola enteekateeka okussaawo Obwakabaka bwe mu ggulu obwandibadde butuukiriza ekigendererwa ky’alina eri abantu n’ensi. (Soma Matayo 25:34.) Mu kiseera kye ekituufu, Yakuwa yasindika Omwana we omubereberye ku nsi okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka obwo n’okuwaayo obulamu bwe okusobola okutununula mu kibi n’okufa. Oluvannyuma Yesu yazuukizibwa n’addayo mu ggulu okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Naye waliwo ebirala ebikwata ku kigendererwa kya Katonda bye tusaanidde okumanya.

Lowooza ku kiseera abaweereza ba Yakuwa bonna mu ggulu ne ku nsi lwe bajja okuba nga bali bumu nga bonna beesigwa gy’ali! (Laba akatundu 8)

8. (a) Ensonga enkulu obubaka obuli mu Bayibuli kwe bwetooloolera y’eruwa? (b) Nga bwe kiragibwa mu Abeefeso 1:​8-11, kiki Yakuwa ky’ajja okutuukiriza? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

8 Ensonga enkulu obubaka obuli mu Bayibuli kwe bwetooloolera eri nti, erinnya lya Yakuwa lijja kutukuzibwa bw’anaatuukiriza ekigendererwa ky’alina eri abantu n’ensi ng’ayitira mu Bwakabaka bwe obufugibwa Kristo. Ekigendererwa kya Yakuwa tekiyinza kukyusibwa. Yasuubiza nti buli kintu kijja kutuukirira nga bwe yagamba. (Is. 46:​10, 11, obugambo obuli wansi; Beb. 6:​17, 18) Ensi ejja kufuulibwa Lusuku lwa Katonda ng’eriko bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abatuukiridde, era bajja ‘kunyumirwa obulamu emirembe gyonna.’ (Zab. 22:26) Naye ekyo si kye kyokka Yakuwa ky’ajja okukola. Alina n’ekigendererwa eky’okugatta awamu abaweereza be bonna ab’omu ggulu n’ab’oku nsi. Olwo bonna abanaabaawo bajja kuba bamugondera ng’Omufuzi waabwe. (Soma Abeefeso 1:​8-11.) Tokwatiddwako nnyo olw’engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ekigendererwa kye?

LOWOOZA KU BISEERA BYO EBY’OMU MAASO

9. Bwe tusoma obunnabbi obuli mu Bayibuli, bintu ki ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso bye tusobola okumanya?

9 Lowooza ku bunnabbi Yakuwa bwe yayogera mu lusuku Edeni obuli mu Olubereberye 3:15. b Obunnabbi obwo bwayogera ku bintu ebyandibadde bituukiriza ekigendererwa kya Yakuwa. Kyokka ebintu ebyo byandibaddewo emyaka nkumi na nkumi mu maaso. Ebintu ebyo byali bizingiramu okuzaalibwa kw’ezzadde lya Ibulayimu, kwe kugamba olunyiriri omwandivudde Kristo. (Lub. 22:​15-18) Oluvannyuma mu mwaka gwa 33 E.E., Yesu yabetentebwa ekisinziiro nga bwe kyayogerwako mu bunnabbi. (Bik. 3:​13-15) Ekintu ekisembayo mu bunnabbi obwo ekikwata ku kubetentebwa kw’omutwe gwa Sitaani, kikyali mu maaso emyaka egisukka mu 1,000. (Kub. 20:​7-10) Ate era Bayibuli etubuulira ebisingawo ebikwata ku ebyo ebinaabaawo ng’obulabe wakati w’enteekateeka ya Sitaani n’ekibiina kya Yakuwa butuuka ku ntikko.

10. (a) Bintu ki ebinaatera okubaawo? (b) Tuyinza tutya okuteekateeka emitima gyaffe? (Laba obugambo obuli wansi.)

10 Lowooza ku bintu bino ebyewuunyisa ebyogerwako mu bunnabbi bwa Bayibuli ebijja okubaawo ku nsi. Ekisooka, amawanga gajja kulangirira ‘emirembe n’obutebenkevu!’ (1 Bas. 5:​2, 3) Mangu ddala, ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika, amawanga bwe ganaalumba amadiini gonna ag’obulimba. (Kub. 17:16) Oluvannyuma wajja kubaawo ekintu ekitali kya bulijjo: ‘Omwana w’omuntu ajja kujjira ku bire eby’eggulu, n’amaanyi n’ekitiibwa kingi.’ (Mat. 24:30) Yesu ajja kulamula abantu, ayawule endiga okuva mu mbuzi. (Mat. 25:​31-33, 46) Naye Sitaani ajja kuba tatudde butuuzi. Ajja kuleetera amawanga okwegatta awamu galumbe abaweereza ba Yakuwa. Amawanga ago Bayibuli egayita Googi ow’omu nsi y’e Magoogi. (Ezk. 38:​2, 10, 11) Abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo bajja kutwalibwa mu ggulu beegatte ku Kristo n’eggye ery’omu ggulu okulwana olutalo lwa Amagedoni olujja okubaawo ku ntikko y’ekibonyoobonyo ekinene. c (Mat. 24:31; Kub. 16:​14, 16) Oluvannyuma Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka 1,000 bujja kutandika okufuga ensi.​—Kub. 20:6.

Oluvannyuma lw’okumala emyaka buwumbi na buwumbi ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa, enkolagana yo naye eneeba etya? (Laba akatundu 11)

11. Okubeerawo emirembe gyonna kinaakwata kitya ku nkolagana yo ne Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Fumiitiriza ku ebyo ebijja okubaawo oluvannyuma lw’Emyaka 1,000 egy’Obufuzi bwa Kristo. Bayibuli egamba nti Omutonzi waffe “yateeka mu mitima [gyaffe] ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna.” (Mub. 3:11) Lowooza ku ngeri ekyo gye kikukwatako awamu n’enkolagana yo ne Yakuwa. Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, olupapula 319, kagamba nti: “Oluvannyuma lw’okubeerawo ebikumi n’ebikumi, enkumi n’enkumi, obukadde n’obukadde oba obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka, tujja kumanya bingi nnyo ebikwata ku Yakuwa Katonda okusinga kati. . . . Obulamu obutaggwaawo bujja kuba bwa makulu era nga bulimu ebintu ebitali bimu. Era okubeeranga n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kijja okusinga okutuganyula mu bulamu obutaggwaawo.” Biki ebirala bye tuyiga bwe tweyongera okwekenneenya Ekigambo kya Katonda?

TUNULA WAGGULU OLABE EBIRI MU GGULU

12. Tuyinza tutya okumanyako ku ebyo ebiri mu ggulu? Waayo ekyokulabirako.

12 Ekigambo kya Katonda kitubuulirako ku ebyo ebiri eyo ‘waggulu ennyo’ Yakuwa gy’abeera. (Is. 33:5) Bayibuli etubuulira ebintu ebyewuunyisa ebikwata ku Yakuwa ne ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye. (Is. 6:​1-4; Dan. 7:​9, 10; Kub. 4:​1-6) Ng’ekyokulabirako, tusoma ku bintu ebiwuniikiriza Ezeekyeri bye yalaba, ‘eggulu bwe lyabikkulibwa n’alaba okwolesebwa kwa Katonda.’​—Ezk. 1:1.

13. Nga bwe kiragibwa mu Abebbulaniya 4:​14-16, okwatibwako otya bw’olowooza ku kifo Yesu ky’alina mu ggulu?

13 Ate era lowooza ku kifo Yesu ky’alina mu ggulu nga Kabaka waffe era Kabona Asinga Obukulu omusaasizi. Okuyitira mu ye, tusobola okutuukirira ‘entebe ya Katonda ey’ekisa eky’ensusso’ ne tusaba tulagibwe ekisa, era tuyambibwe “mu kiseera we twetaagira obuyambi.” (Soma Abebbulaniya 4:​14-16.) Ka tulemenga kukkiriza lunaku na lumu kuyitawo nga tetufumiitirizza ku ebyo Yakuwa ne Yesu bye batukoledde era n’ebyo bye batukolera nga basinziira mu ggulu. Okwagala kwe batulaga kusaanidde okutukwatako ennyo n’okutuleetera okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe.​—2 Kol. 5:​14, 15.

Lowooza ku ssanyu ly’ojja okufuna mu nsi empya ng’okimanyi nti wayamba abalala okufuuka abaweereza ba Yakuwa era abayigirizwa ba Yesu! (Laba akatundu 14)

14. Ekimu ku bintu ebisingayo ebirungi bye tuyinza okukola okulaga nti tusiima Yakuwa ne Yesu kye kiruwa? (Laba n’ebifaananyi.)

14 Emu ku ngeri esingayo obulungi gye tuyinza okukiragamu nti tusiima ebyo Katonda waffe n’Omwana we bye batukoledde kwe kufuba okuyamba abalala okufuuka abaweereza ba Yakuwa era abayigirizwa ba Yesu. (Mat. 28:​19, 20) Ekyo kyennyini omutume Pawulo kye yakola olw’okusiima ebyo Katonda ne Kristo bye baamukolera. Yali akimanyi nti Katonda ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:​3, 4) Mu buweereza bwe, yafuba nnyo okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka ‘asobole okulokola abamu.’​—1 Kol. 9:​22, 23.

FUNA ESSANYU MU KWEKENNEENYA EKIGAMBO KYA KATONDA

15. Okusinziira ku Zabbuli 1:​2, kiki ekijja okutuleetera essanyu?

15 Kituukirawo okuba nti omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti omuntu omusanyufu y’oyo ‘ayagala ennyo amateeka ga Yakuwa’ era “agafumiitirizaako emisana n’ekiro.” (Zab. 1:​1-3) Ng’ayogera mu kyawandiikibwa ekyo mu kitabo kye ekiyitibwa Studies in the Psalms, omuvvuunuzi wa Bayibuli ayitibwa Joseph Rotherham yagamba nti omuntu asaanidde okuba “ng’ayagala nnyo obulagirizi obuva eri Katonda, n’abunoonya, n’abwekenneenya, era n’amala ekiseera ng’abufumiitirizaako.” Era yagattako nti: “Singa olunaku luyitawo ng’omuntu tasomye Bayibuli, olunaku olwo luba lumufudde busa.” Osobola okufuna essanyu mu kusoma Bayibuli nga weetegereza ebintu eby’ebuziba ebigirimu era n’olaba engeri gye bikwataganamu. Mazima ddala kireeta essanyu lingi okwekenneenya kalonda yenna ali mu Kigambo kya Katonda!

16. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

16 Ebintu Yakuwa by’atuyigiriza mu Kigambo kye si bizibu kutegeera. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ekimu ku bintu eby’ebuziba ekyogerwako mu Bayibuli, ng’eno ye yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, omutume Pawulo gye yayogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Okwekenneenya ebikwata ku yeekaalu eyo ka kukuleetere essanyu lingi.

OLUYIMBA 94 Tusiima Ekigambo kya Katonda

a Okwesomesa Bayibuli kisobola okutuleetera essanyu obulamu bwaffe bwonna, era kisobola okutuyamba okusemberera Kitaffe ow’omu ggulu. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwekenneenyamu Ekigambo kya Katonda.

b Laba ekitundu “Obunnabbi obw’Edda Obukulu Ennyo gy’Oli,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2022.

c Okusobola okumanya engeri gy’oyinza okweteekerateekera ebintu ebigenda okubaawo ku nsi, laba ekitabo God’s Kingdom Rules! lup. 230.