Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebinaakuyamba mu Kwesomesa

Ebinaakuyamba mu Kwesomesa

Engeri Gye Tuyinza Okutuukana n’Enkyukakyuka Ezikoleddwa mu Ngeri Gye Tutegeeramu Ebyawandiikibwa

Nga tulina enkizo ya maanyi okubeerawo mu kiseera kino nga Yakuwa ayamba abantu be okweyongera okutegeera amakulu agali mu Byawandiikibwa. (Dan. 12:4) Wadde kiri kityo, oluusi kiyinza okutubeerera ekizibu okutegeera enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu ebyawandiikibwa ebimu. Kati olwo tuyinza kusanga wa enkyukakyuka zino?

• Mu kitabo Watch Tower Publications Index mulimu omutwe Beliefs Clarified ogulaga enkyukakyuka eziba zikoleddwa mu myaka egitali gimu. Okusobola okulaba olukalala lw’enkyukakyuka ezo mu Watchtower Library oba mu Watchtower ONLINE LIBRARY, wandiikamu ebigambo “understanding clarified” (nga kuliko obubonero buno “”).

• Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza kirimu emitwe mu bumpimpi. Okusobola okulaba enkyukakyuka ezo genda ku “Abajulirwa ba Yakuwa,” “Enzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa,” oluvannyuma olabe “Okutangaaza oba Okutereeza mu Njigiriza Zaffe.”

Lwaki teweeterawo ekiruubirirwa okusoma ku nkyukakyuka ezisembyeyo okukolebwa olabe n’ensonga lwaki zaakolebwa?