Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakazi Obayisa nga Yakuwa bw’Abayisa?

Abakazi Obayisa nga Yakuwa bw’Abayisa?

TULINA enkizo ya maanyi okuweerereza wamu n’abakazi bangi abeesigwa. Era twagala nnyo bannyinaffe bano abeesigwa era abakola ennyo mu kuweereza Yakuwa! N’olwekyo ab’oluganda mufube nnyo okuyisa bannyinaffe abo mu ngeri ey’ekisa era nga mubassaamu ekitiibwa. Naye olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu ekyo kiyinza okutuzibuwalira okukola. Kyokka ab’oluganda abamu balina n’okusoomooza okulala.

Abamu baakulira mu buwangwa ng’abakazi batwalibwa nti ba wansi. Ng’ekyokulabirako, Hans, aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina mu Bolivia, agamba nti: “Abasajja abamu baakulira mu buwangwa obukubiriza abasajja okutwala nti ba waggulu nnyo. Era abasajja abo batwala abakazi nti ba wansi era tebabassaamu kitiibwa.” Shengxian, aweereza ng’omukadde mu Taiwan, agamba nti: “Mu kitundu gye mbeera abasajja bangi bakitwala nti omukazi tasaanidde kubawa ndowooza ye. Singa omusajja agamba nti omukazi yamuwadde amagezi ku kintu, basajja banne bayinza okumunyooma.” Abasajja abamu basosola abakazi mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, basaaga mu ngeri efeebya abakazi.

Ekirungi kiri nti ka bube buwangwa ki omusajja mwe yakulira, asobola okukyusa endowooza ye. Asobola okulekera awo okukitwala nti abasajja ba waggulu ku bakazi. (Bef. 4:​22-24) Ekyo asobola okukikola ng’akoppa ekyokulabirako kya Yakuwa. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’ayisaamu abakazi, engeri ab’oluganda mu kibiina gye basaanidde okuyisaamu abakazi nga bakoppa ekyokulabirako kya Yakuwa, era n’engeri abakadde mu kibiina gye bayinza okussaawo ekyokulabirako ekirungi nga bassaamu bannyinaffe ekitiibwa.

YAKUWA AYISA ATYA ABAKAZI?

Yakuwa atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ku ngeri y’okuyisaamu abakazi. Olw’okuba ye Kitaffe omusaasizi, ayagala abaana be bonna. (Yok. 3:16) Era bannyinaffe abeesigwa abatwala nga bawala be ab’omuwendo. Ka tulabe engeri Yakuwa gy’akiragamu nti assa ekitiibwa mu bakazi.

Tasosola bakazi. Yakuwa yatonda abasajja n’abakazi mu kifaananyi kye. (Lub. 1:27) Abasajja teyabatonda nga bagezi okusinga abakazi, oba nga balina ebitone bingi okusinga abakazi. Ate era abasajja n’abakazi abaagala kyenkanyi. (2 Byom. 19:7) Abasajja n’abakazi yabatonda nga balina obusobozi bwe bumu obw’okutegeera amazima agali mu Bayibuli era n’okukoppa engeri ze. Yakuwa era asiima abasajja n’abakazi olw’okukkiriza kwe balina, ka kibe nti essuubi lyabwe lya kubeera ku nsi emirembe gyonna oba kuweereza nga bakabaka era bakabona mu ggulu. (2 Peet. 1:1) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa tasosola bakazi.

Awuliriza abakazi. Yakuwa afaayo ku ngeri abakazi gye beewuliramu era n’ebizibu bye bayinza okuba nga boolekagana nabyo. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yawuliriza era n’addamu essaala ya Laakeeri ne Kaana. (Lub. 30:22; 1 Sam. 1:​10, 11, 19, 20) Ate era Yakuwa yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli okuwandiika ku basajja abaawulirizanga abakazi. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu yakkiriza ekyo Yakuwa kye yamugamba n’awuliriza mukyala we, Saala. (Lub. 21:​12-14) Kabaka Dawudi yawuliriza Abbigayiri. Mu butuufu, Dawudi yakitwala nti Yakuwa ye yali asindise Abbigayiri okwogerako naye. (1 Sam. 25:​32-35) Yesu, ayolekera ddala engeri za Kitaawe, yawuliriza maama we, Maliyamu. (Yok. 2:​3-10) Ebyokulabirako ebyo biraga bulungi nti engeri emu Yakuwa gy’akiragamu nti assaamu abakazi ekitiibwa, kwe kubawuliriza.

Abeesiga. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakiraga nti yeesiga Kaawa bwe yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okuyambako okulabirira ensi yonna. (Lub. 1:28) Mu kukola bw’atyo, Yakuwa yakiraga nti yali tatwala Kaawa ng’owa wansi ku mwami we Adamu, naye ng’oyo asobola okuyambako omwami we. Yakuwa era yakiraga nti yeesiga nnabbi Debola ne Kuluda ng’abawa obuvunaanyizibwa obw’okuwa abantu be obulagirizi nga mw’otwalidde omulamuzi ne kabaka. (Balam. 4:​4-9; 2 Bassek. 22:​14-20) Ne leero, Yakuwa akiraze nti yeesiga abakazi Abakristaayo ng’abawa omulimu ogw’okukola. Bannyinaffe bano abeesigwa baweereza ng’ababuulizi, bapayoniya, oba ng’abaminsani. Bayambako mu kukuba pulaani z’ebizimbe, okuzimba, n’okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka n’amatabi mu nsi yonna. Abamu baweereza ku Beseri, ate abalala baweereza ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo. Bannyinaffe abo balinga eggye eddene Yakuwa ly’akozesa okutuukiriza ebyo by’ayagala. (Zab. 68:11) Kyeyoleka lwatu nti abakazi Yakuwa tabatwala ng’abanafu oba abatasobola kukola bintu bimu.

AB’OLUGANDA BAYINZA BATYA OKUYISA ABAKAZI NGA YAKUWA BW’ABAYISA?

Ab’oluganda, okusobola okumanya obanga tuyisa bannyinnaffe mu kibiina nga Yakuwa bw’abayisa, twetaaga okwekebera mu bwesimbu okulaba endowooza gye tubalinako era n’engeri gye tukolagana nabo. Okusobola okukola ekyo twetaaga obuyambi. Ng’ekyuma ekitangaaza mu mubiri gw’omuntu bwe kiyinza okuzuula obulwadde obuli munda mu mutima, ow’omukwano omulungi asobola okutuyamba okumanya obanga tulina endowooza embi ku bakazi, ate era n’Ekigambo kya Katonda kisobola okutuyamba. Biki bye tulina okukola okusobola okufuna obuyambi obwo?

Weebuuze ku w’omukwano omulungi. (Nge. 18:17) Tusobola okubuuza ow’omukwano omulungi gwe twesiga era gwe tumanyi nti wa kisa, era alina endowooza ennuŋŋamu ebibuuzo nga bino: “Mpisa ntya bannyinaffe? Bakiraba nti mbassaamu ekitiibwa? Waliwo we nsobola okulongoosaamu mu ngeri gye nkolaganamu nabo?” Singa mukwano gwo akugamba nti waliwo we weetaaga okukyusaamu, teweewolereza. Beera mwetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.

Weesomese Ekigambo kya Katonda. Engeri esingayo obulungi eneetuyamba okumanya engeri gye tuyisaamu abakazi, kwe kukozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera okumanya oba ng’endowooza gye tulina ku bakazi n’engeri gye tubayisaamu nnungi. (Beb. 4:12) Bwe tusoma Bayibuli tuyiga ku basajja abaayisa obulungi abakazi n’abo abataabayisa bulungi. Oluvannyuma tuyinza okugeraageranya engeri gye baabayisaamu ku ngeri naffe gye tubayisaamu. Ate era bwe tugeraageranya ennyiriri za Bayibuli ezitali zimu, kiyinza okutuyamba okwewala okwesiba ku lunyiriri lwa Bayibuli lumu okuwagira endowooza enkyamu gye tuyinza okuba nayo ku bakazi. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku 1 Peetero 3:​7, omukazi alina okussibwamu “ekitiibwa ng’ekibya ekinafu.” a Ekyo kitegeeza nti omukazi wa wansi ku musajja, era nti obusobozi bwe n’amagezi ge bitono ku by’omusajja? Nedda. Geraageranya ebigambo bya Peetero ebyo n’ebigambo ebiri mu Abaggalatiya 3:​26-29 ebiraga nti Yakuwa alonze abasajja n’abakazi okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. Bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tubuuza ow’omukwano omulungi atubuulire obanga tulina endowooza ennungi ku bakazi, tusobola okumanya engeri gye tusaanidde okussaamu bannyinaffe ekitiibwa.

ABAKADDE BAKIRAGA BATYA NTI BASSAAMU BANNYINAFFE EKITIIBWA?

Ab’oluganda mu kibiina era basobola okuyiga okussaamu bannyinaffe ekitiibwa nga bakoppa ekyokulabirako abakadde kye bassaawo. Abakadde bassaawo batya ekyokulabirako ekirungi mu kussaamu bannyinaffe ekitiibwa? Weetegereze engeri zino wammanga.

Basiima bannyinaffe. Omutume Pawulo yateerawo abakadde ekyokulabirako ekirungi. Mu bbaluwa gye yawandiikira ekibiina ky’e Rooma, Pawulo yasiima bannyinaffe bangi. (Bar. 16:12) Lowooza ku ssanyu bannyinaffe abo lye baawulira ebbaluwa eyo bwe yasomebwa mu kibiina! Mu ngeri y’emu, abakadde basiima bannyinaffe olw’engeri ennungi ze booleka n’olw’ebyo byonna bye bakola mu kuweereza Yakuwa. Kino kireetera bannyinaffe abo okuwulira nti bassibwamu ekitiibwa era nti bye bakola bisiimibwa. Ebigambo ebizzaamu amaanyi omukadde by’agamba mwannyinaffe, mwannyinaffe oyo ayinza okuba nga bye yeetaaga okweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa.​—Nge. 15:23.

Basiime

Abakadde basaanidde okusiima bannyinaffe mu bwesimbu nga boogera ku ekyo kyennyini kye baba bakoze. Lwaki? Mwannyinaffe ayitibwa Jessica agamba nti: “Si kikyamu ow’oluganda bw’akugamba nti, ‘Weebale nnyo.’ Naye tusiima nnyo singa ab’oluganda batusiima ku kintu kyennyini kye tuba tukoze gamba bwe tuba tuyigirizza abaana baffe obutazannyira mu nkuŋŋaana oba bwe tugenda ne tunona omuyizi wa Bayibuli ne tumuleeta mu nkuŋŋaana.” Abakadde bwe basiima bannyinaffe ku kintu kyennyini kye baba bakoze, bannyinaffe bawulira nga ba mugaso era nga baagalibwa nnyo mu kibiina.

Bawuliriza bannyinaffe. Abakadde abeetoowaze bakimanyi bulungi nti si be bokka abasobola okuwa amagezi amalungi. Abakadde ng’abo basaba bannyinaffe okubawa endowooza yaabwe era babawuliriza bulungi nga boogera. Abakadde bwe bakola bwe batya ekyo kizzaamu bannyinaffe amaanyi era nabo kibaganyula. Mu ngeri ki? Omukadde omu ayitibwa Gerardo, aweereza ku Beseri agamba nti: “Nkizudde nti bwe mbuuza bannyinaffe okumpa ku birowoozo byabwe mu mirimu gye nkola, kinnyamba okugikola obulungi. Emirundi mingi abamu ku bannyinaffe baba bamaze ekiseera kiwanvu nga bakola emirimu egyo okusinga ab’oluganda abasinga obungi.” Bannyinaffe bangi baweereza nga bapayoniya, n’olwekyo baba bamanyi ebikwata ku bantu ababeera mu kitundu kye tubuuliramu. Omukadde ayitibwa Bryan agamba nti: “Bannyinaffe bangi balina engeri ennungi nnyingi era balina obukugu mu bintu bingi ebyetaagisa mu mirimu egikolebwa mu kibiina. Muganyulwe mu bumanyirivu bwe balina!”

Bawulirize

Abakadde tebasaanidde kwanguyiriza kugaana magezi bannyinaffe ge bawa. Lwaki? Omukadde ayitibwa Edward agamba nti: “Amagezi bannyinaffe ge bawa gasobola okuyamba ow’oluganda okutegeera obulungi ensonga era gasobola okumuyamba okutegeera ekyo abalala kye balowooza.” (Nge. 1:5) Ne bwe kiba nti omukadde tagenda kukozesa magezi mwannyinaffe g’awadde, asaanidde okumwebaza olw’okuwa endowooza ye.

Batendeka bannyinaffe. Abakadde bafuba okukozesa buli kakisa ke bafuna okutendeka bannyinaffe. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutendeka bannyinaffe okukubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira singa tewabaawo wa luganda mubatize asobola okulukubiriza. Ate era basobola okubatendeka okukozesa ebyuma ebikozesebwa mu kuzimba basobole okuyambako mu kuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe by’ekibiina. Abo abakulira ebitongole ebitali bimu ku Beseri, batendeka bannyinaffe okukola emirimu egitali gimu, gamba ng’okulabirira ebintu ebikozesebwa ku Beseri, okugula ebintu, okukola ku by’embalirira, ebya kompyuta, n’ebirala. Abakadde bwe batendeka bannyinaffe, ekyo kiraga nti batwala bannyinnaffe okuba nti balina obusobozi okukola ebintu ebimu era nti beesigika.

Batendeke

Bannyinaffe bangi bakozesa okutendekebwa okubaweebwa abakadde ne bayamba bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, bannyinaffe abamu abaatendekebwa okuzimba bakozesa okutendekebwa okwo okuyamba abalala okuddamu okuzimba amayumba gaabwe oluvannyuma lw’akatyabaga okugwaawo. Bannyinaffe abalala bakozesa okutendekebwa kwe baafuna okukwata ku kubuulira mu bifo ebya lukale okutendeka bannyinaffe abalala okwenyigira mu nkola eno ey’okubuulira. Bannyinaffe batwala batya abakadde abaabatendeka? Mwannyinaffe ayitibwa Jennifer agamba nti: “Bwe twali tuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka ekimu, waliwo omukadde eyantendeka. Yeetegereza omulimu gwe nnali nkola era yansiima nnyo. Nnanyumirwa nnyo okukola naye kubanga yandeetera okuwulira nti ndi wa mugaso era nti nneesigika.”

OMUGANYULO OGULI MU KUYISA ABAKAZI MU KIBIINA NGA BANNYINAFFE

Twagala nnyo abakazi abeesigwa nga Yakuwa bw’abaagala! N’olwekyo, tubatwala nga bannyinnaffe. (1 Tim. 5:​1, 2) Tugitwala nga nkizo okuweerereza awamu nabo era ekyo tukyenyumiririzaamu nnyo. Ate era kitusanyusa nnyo bwe bakiraba nti tubaagala era nti tubawagira. Mwannyinaffe Vanessa agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okuba nti ndi mu kibiina kye ekirimu ab’oluganda abanzizaamu ennyo amaanyi.” Mwannyinaffe omu mu Taiwan agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa era nneebaza nnyo ne bakkiriza bannange mu kibiina olw’okuba batwala abakazi nga ba muwendo era bafaayo ku nneewulira zaabwe. Ekyo kinyweza nnyo okukkiriza kwange era kindeetera okweyongera okusiima enkizo gye nnina ey’okubeera mu kibiina kya Yakuwa.”

Nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa bw’alaba abasajja Abakristaayo abeesigwa nga bafuba okuyisa abakazi nga naye bw’abayisa! (Nge. 27:11) Omukadde omu abeera mu Scotland ayitibwa Benjamin agamba nti: “Engeri ensi gy’etwalamu abakazi, ebafeebya. N’olwekyo, abakazi bwe bajja mu Kizimbe ky’Obwakabaka twagala balabe nti engeri gye tubayisaamu ya njawulo.” Ka tukole kyonna kye tusobola okukoppa Yakuwa nga tuyisa bannyinaffe mu ngeri ey’okwagala era eraga nti tubassaamu ekitiibwa ekibagwanidde.​—Bar. 12:10.

a Okusobola okumanya amakulu g’ebigambo “ekibya ekinafu,” laba ekitundu The Value of ‘a Weaker Vessel’ mu Watchtower eya Maayi 15, 2006 ne “Obulagirizi Obulungi eri Abafumbo” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, 2005.