Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 6

OLUYIMBA 10 Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!

“Mutendereze Erinnya lya Yakuwa”

“Mutendereze Erinnya lya Yakuwa”

“Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze, mutendereze erinnya lya Yakuwa.”ZAB. 113:1.

EKIGENDERERWA

Okulaga ekituleetera okutendereza erinnya lya Yakuwa ettukuvu buli lwe tuba tufunye akakisa.

1-2. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’awuliramu olw’ebintu eby’obulimba ebyamwogerwako?

 LOWOOZA ku kino: Omuntu gw’ofaako ennyo akwogerako ekintu ekibi. Okimanyi nti ky’akwogeddeko kya bulimba kyokka abamu bakikkiriza. N’ekisinga obubi, batandika okusaasaanya obulimba obwo, era n’abalala bangi nabo ne babukkiriza. Wandiwulidde otya? Kya lwatu, bw’oba ng’ofaayo ku bantu era ng’ofaayo ne ku ngeri gye bakutwalamu, obulimba obwo bukuyisa bubi nnyo.—Nge. 22:1.

2 Ekyokulabirako ekyo kituyamba okutegeera engeri Yakuwa gye yawuliramu ng’erinnya lye lisiigiddwa enziro. Omu ku baana be ab’omwoyo yamwogerako eby’obulimba. Eby’obulimba ebyo yabigamba omukazi eyasooka, Kaawa. Obulimba obwo Kaawa yabukkiriza era bwaviirako bazadde baffe abaasooka okujeemera Yakuwa. N’ekyavaamu, ekibi n’okufa byayingira mu nsi. (Lub. 3:​1-6; Bar. 5:12) Ebizibu byonna ebiri mu nsi, omuli okufa, entalo, n’ennaku, byajjawo olw’obulimba Sitaani bwe yayogera mu Edeni. Yakuwa awulira bubi olw’ebintu eby’obulimba ebyamwogerwako era n’olw’ebyo ebyava mu bulimba obwo? Kya lwatu awulira bubi. Kyokka Yakuwa teyasigala nga musunguwavu. Mu butuufu Yakuwa Katonda ‘musanyufu.’—1 Tim. 1:11.

3. Nkizo ki gye tulina?

3 Tusobola okubaako kye tukolawo okulaga nti ebyo Sitaani bye yayogera ku Yakuwa bya bulimba. Ekyo tukikola nga tugoberera ekiragiro kino: “Mutendereze erinnya lya Yakuwa.” (Zab. 113:1) Tugondera ekiragiro ekyo nga twogera bulungi ku nnannyini linnya eryo ettukuvu. Onootendereza erinnya lya Yakuwa? Ka tulabeyo ebintu bisatu ebikulu ebituyamba okutendereza erinnya lya Katonda waffe n’omutima gwaffe gwonna.

TUSANYUSA YAKUWA BWE TUTENDEREZA ERINNYA LYE

4. Lwaki Yakuwa asanyuka nnyo bwe tumutendereza? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)

4 Tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu bwe tutendereza erinnya lye. (Zab. 119:108) Naye ekyo kitegeeza nti Katonda omuyinza w’ebintu byonna alinga abantu abatatuukiridde abaagala okutenderezebwa basobole okuzzibwamu amaanyi? Nedda. Lowooza ku kyokulabirako kino. Akaana akawala kagwa taata waako mu kifuba ne kamugamba nti, “Ggwe taata asingayo obulungi mu nsi yonna!” Taata asanyuka nnyo era akwatibwako nnyo olw’ekyo omwana we ky’ayogedde. Lwaki? Tetuyinza kugamba nti taata yeetaaga muwala we okumutendereza asobole okuddamu amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, asanyuka olw’okuba ayagala nnyo muwala we n’olw’okuba nti muwala we akiraze nti amwagala nnyo era nti amusiima. Taata akimanyi nti ng’omwana oyo agenda akula, okwagala n’okusiima bijja kumusobozesa okuba omusanyufu. Olw’ensonga eyo y’emu, Yakuwa Kitaffe asingiridde, asiima nnyo bwe tumutendereza.

Nga taata bw’asanyuka ennyo ng’omwana we akiraze nti amwagala nnyo era nti amusiima, Yakuwa naye asanyuka nnyo bwe tutendereza erinnya lye (Laba akatundu 4)


5. Bulimba ki bwe twanika bwe tutendereza erinnya lya Katonda?

5 Bwe tutendereza Kitaffe ow’omu ggulu, tuyambako mu kwanika obulimba obulala Sitaani bwe yayogera naffe obutuzingiramu. Sitaani yagamba nti tewali muntu asobola kusigala nga mwesigwa eri Katonda ng’agezeseddwa, bw’atyo n’akiraga nti alwanirira erinnya lya Yakuwa. Yagamba nti ffenna tusobola okulekera awo okuweereza Katonda singa tulowooza nti ekyo kisobola okutuganyula. (Yob. 1:​9-11; 2:4) Naye Yobu omusajja eyali omwesigwa yakiraga nti Sitaani mulimba. Ate ggwe? Buli omu ku ffe alina enkizo okusalawo okulwanirira erinnya lya Kitaffe ng’amuweereza n’obwesigwa. (Nge. 27:11) Mazima ddala enkizo eyo ya kitalo nnyo.

6. Tuyinza tutya okukoppa Kabaka Dawudi n’Abaleevi? (Nekkemiya 9:5)

6 Okwagala abantu abeesigwa kwe balina eri Katonda kubaleetera okutendereza erinnya lye n’omutima gwabwe gwonna. Kabaka Dawudi yagamba nti: “Ka ntendereze Yakuwa; Ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.” (Zab. 103:1) Dawudi yali akimanyi nti okutendereza erinnya lya Yakuwa kye kimu n’okutendereza Yakuwa kennyini. Erinnya lya Yakuwa likiikirira ekyo ky’ali. Bwe tuwulira nga lyogerwa kituyamba okulowooza ku ngeri ze zonna ennungi ne ku bintu eby’ekitalo by’akola. Dawudi yali ayagala okutwala erinnya lya Kitaawe nga ttukuvu n’okulitendereza. Ekyo yali ayagala okukikola n’omutima gwe gwonna. Mu ngeri y’emu, Abaleevi baakulemberangamu mu kutendereza Yakuwa. Baagamba nti tebaalina bigambo bye baali bayinza kukozesa okuggirayo ddala mu bujjuvu ettendo erigwanidde okuweebwa erinnya lya Katonda ettukuvu. (Soma Nekkemiya 9:5.) Kya lwatu nti okutendereza Yakuwa mu ngeri eyo ey’obwetoowaze, kyasanyusa nnyo.

7. Tuyinza tutya okutendereza Yakuwa nga tuli mu mulimu gw’okubuulira ne mu mbeera endala?

7 Leero tusobola okusanyusa Yakuwa nga tumwogerako mu ngeri eraga nti tusiima by’akola era nti tumwagala nnyo. Bwe tuba tubuulira kikulu okukijjukira nti ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kuyamba abantu okusemberera Yakuwa, bamutwale nga naffe bwe tumutwala, kwe kugamba, nga Kitaabwe abaagala. (Yak. 4:8) Kitusanyusa nnyo okulaga abantu ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri za Yakuwa gamba nga okwagala, obwenkanya, amagezi, amaanyi, n’engeri ze endala nnyingi. Ate era tutendereza Yakuwa era tumusanyusa bwe tufuba okumukoppa. (Bef. 5:1) Bwe tukola tutyo, tukiraga nti tuli bantu ba njawulo mu nsi eno embi. Abantu bayinza okukiraba nti tuli ba njawulo era ne beebuuza lwaki kiri bwe kityo. (Mat. 5:​14-16) Bwe tuba tukolagana nabo mu mbeera eza bulijjo, tuyinza okubannyonnyola ensonga lwaki tuli ba njawulo. N’ekivaamu, abantu ab’emitima emirungi bayinza okusikirizibwa okwagala Yakuwa. Bwe tutendereza Yakuwa mu ngeri eyo, kisanyusa omutima gwe.—1 Tim. 2:​3, 4.

TUSANYUSA YESU BWE TUTENDEREZA ERINNYA LYA YAKUWA

8. Yesu awomye atya omutwe mu kutendereza erinnya lya Yakuwa?

8 Tewali n’omu mu ggulu ne ku nsi amanyi bulungi Yakuwa okusinga Omwana we. (Mat. 11:27) Yesu ayagala nnyo Kitaawe, era awomye omutwe mu kutendereza erinnya lya Yakuwa. (Yok. 14:31) Mu ssaala gye yasaba Kitaawe mu kiro ekyasembayo ng’agenda okuttibwa, yayogera ku kintu ekisinga obukulu kye yali akoze mu buweereza bwe ku nsi. Yagamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo.” (Yok. 17:26) Kiki kye yali ategeeza?

9. Yesu yakozesa atya olugero okuyamba abantu okutegeera obulungi ekyo Kitaawe ky’ali?

9 Yesu teyategeezanga butegeeza bantu nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Abayudaaya be yali abuulira baali bamanyi erinnya lwa Katonda. Naye yawoma omutwe mu ‘kunnyonnyola ebikwata’ ku Katonda. (Yok. 1:​17, 18) Ng’ekyokulabirako, Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bikyoleka bulungi nti Yakuwa musaasizi era wa kisa. (Kuv. 34:​5-7) Yesu yayamba abantu okutegeera obulungi amazima ago bwe yagera olugero olukwata ku mwana omujaajaamya. Bwe tusoma ku ekyo olugero olwo kye lulaga nti taata w’omwana oyo bwe yamulaba ‘ng’akyali wala,’ yadduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba, era n’amusonyira ddala, kituyamba okutegeera obulungi obusaasizi n’ekisa Yakuwa by’alina. (Luk. 15:​11-32) Yesu yayamba abantu okutegeerera ddala obulungi ekyo Kitaawe ky’ali.

10. (a) Tumanya tutya nti Yesu yakozesanga erinnya lya Katonda, era nti yali ayagala n’abalala bakole kye kimu? (Makko 5:19) (Laba n’ekifaananyi.) (b) Kiki Yesu ky’ayagala tukole leero?

10 Yesu yali ayagala n’abalala bakozese erinnya lya Kitaawe? Yee. Abamu ku bakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye bayinza okuba nga baali bakitwala nti erinnya lya Katonda ttukuvu nnyo ne kiba nti terisaanidde kwatulwa. Naye Yesu teyakkiriza kalombolombo ako akatali ka mu byawandiikibwa kumulemesa kussa kitiibwa mu linnya lya Kitaawe. Lowooza ku ekyo ekyaliwo bwe yawonya omusajja eyaliko dayimooni mu kitundu ky’Abagerasene. Abantu baatya nnyo ne basaba Yesu ave mu kitundu kyabwe, era bwe kityo yava mu kitundu ekyo. (Mak. 5:​16, 17) Wadde kyali kityo, Yesu yali ayagala erinnya lya Katonda limanyibwe mu kitundu ekyo. Bwe kityo yalagira omusajja gwe yali awonyezza okubuulira abantu ebyo Yakuwa bye yali amukoledde, so si ebyo ye bye yali amukoledde. (Soma Makko 5:19.) a Ne leero, Yesu ayagala tumanyise erinnya lya Katonda mu nsi yonna! (Mat. 24:14; 28:​19, 20) Bwe tufuba okumanyisa abalala erinnya lya Katonda, tusanyusa Kabaka waffe, Yesu.

Yesu yagamba omusajja gwe yali agobyeko dayimooni okubuulira abantu be engeri Yakuwa gye yali amuyambyemu (Laba akatundu 10)


11. Kiki Yesu kye yayigiriza abagoberezi be okusaba, era lwaki ekyo kikulu nnyo? (Ezeekyeri 36:23)

11 Yesu yali akimanyi nti Yakuwa ayagala erinnya lye litukuzibwe, kwe kugamba, liggibweko ekivume. Eyo ye nsonga lwaki yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Mat. 6:9) Yesu yali akimanyi nti eyo ye nsonga esinga obukulu ekwata ku bitonde byonna. (Soma Ezeekyeri 36:23.) Mu bitonde byonna ebitegeera ebiri mu ggulu ne ku nsi, Yesu y’akyasinzeeyo okutukuza erinnya lya Yakuwa. Naye, abalabe be bwe baamukwata bamuvunaana musango ki? Gwa kuvvoola! Yesu yali akitwala nti okuvumaganya oba okwogera eby’obulimba ku linnya lya Kitaawe ettukuvu kye kibi ekisingayo okuba eky’amaanyi. Yawulira bubi nnyo okuba nti baali bagenda kumuvunaana omusango ogw’okuvvoola erinnya lya Katonda. Eyo eyinza okuba nga ye nsonga lwaki Yesu “yali anyolwa nnyo” ng’ebula essaawa ntono akwatibwe.—Luk. 22:​41-44.

12. Yesu yatukuza atya erinnya lya Kitaawe ku kigero ekisingayo?

12 Okusobola okutukuza erinnya lya Kitaawe, Yesu yagumira okutulugunyizibwa, okuvumibwa, n’okuwaayirizibwa. Yali akimanyi nti yali agondedde Kitaawe mu bintu byonna; teyalina kintu kyali kimukwasa nsonyi. (Beb. 12:2) Ate era yali akimanyi nti Sitaani ye yali amulumba obutereevu mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. (Luk. 22:​2-4; 23:​33, 34) Sitaani yali asuubira nti yali agenda kuleetera Yesu obutaba mwesigwa, naye ekyo teyasobola kukituukiriza! Yesu yakyoleka bulungi nti Sitaani mulimba era nti Yakuwa alina abaweereza be abamunywererako, era abasigala nga beesigwa gy’ali ne bwe baba nga bagezeseddwa nnyo!

13. Oyinza otya okusanyusa Kabaka wo Yesu?

13 Oyagala okusanyusa Kabaka wo Yesu? Bwe kiba kityo, weeyongere okutendereza erinnya lya Yakuwa ng’oyamba abalala okumanya ekyo ky’ali. Bw’okola bw’otyo, oba okoppa Yesu. (1 Peet. 2:21) Okufaananako Yesu, osanyusa Yakuwa era okiraga nti omulabe we Sitaani mulimba nnyo!

BWE TUTENDEREZA ERINNYA LYA YAKUWA TUTAASA OBULAMU BW’ABANTU

14-15. Biki ebiyinza okubaawo bwe tuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa?

14 Bwe tutendereza erinnya lya Yakuwa tutaasa obulamu bw’abantu. Mu ngeri ki? Sitaani ‘azibye amaaso g’okutegeera’ ag’abantu abatakkiriza. (2 Kol. 4:4) Eyo y’ensonga lwaki bakkiriza obulimba bwa Sitaani nga buno: Katonda taliiyo, atuli wala nnyo, tafaayo ku bantu, wa ttima, era abonyaabonya ababi emirembe n’emirembe. Sitaani ayogera obulimba obwo olw’okuba ayagala okusiiga erinnya lya Katonda enziro n’okulemesa abantu okusemberera Katonda. Naye bwe tukola omulimu gw’okubuulira, tulemesa Sitaani okutuukiriza ekigendererwa kye. Tuyigiriza abantu amazima agakwata ku Kitaffe, mu ngeri eyo ne tutendereza erinnya lye ettukuvu. Biki ebivaamu?

15 Amazima agali mu Kigambo kya Katonda galina amaanyi mangi nnyo. Bwe tuyigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa n’ekyo ky’ali, tulaba ekintu eky’ekitalo. Abantu ababa bazibye amaaso olw’obulimba bwa Sitaani mpolampola amaaso gaabwe gagenda gazibuka ne batandika okulaba ekyo Yakuwa ky’ali. Bawuniikirira nnyo bwe bategeera nti alina amaanyi mangi nnyo. (Is. 40:26) Bazzibwamu amaanyi okukimanya nti mwenkanya. (Ma. 32:4) Bakwatibwako nnyo bwe balowooza ku magezi ge amangi ennyo. (Is. 55:9; Bar. 11:33) Era babudaabudibwa nnyo okukimanya nti alina okwagala kungi nnyo. (1 Yok. 4:8) Bwe bagenda basemberera Yakuwa, bafuna essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna. Nga tulina enkizo ey’ekitalo ennyo okuyamba abantu okusemberera Kitaabwe ow’omu ggulu! Bwe tuyamba abantu mu ngeri eyo, Yakuwa akitwala nti “tukolera wamu” naye.—1 Kol. 3:​5, 9.

16. Abamu bakwatibwako batya bwe bamanya erinnya lya Katonda? Waayo ebyokulabirako.

16 Mu kusooka, tuyinza okugamba obugambi abantu nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Ekyo kiyinza okukyusiza ddala obulamu bw’omuntu ayagala Katonda. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu ayitibwa Aaliyah b yakuzibwa mu ddiini etekkiririza mu Bayibuli. Naye yali awulira nga si mumativu n’ebyo eddiini ye bye yali eyigiriza era Katonda yali tamutwala nti wa ddala. Kyokka endowooza ye yakyuka bwe yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Yatandika okutwala Katonda nga mukwano gwe. Era yeewuunya nnyo okukimanya nti erinnya lya Katonda lyaggibwa mu Bayibuli nnyingi, we lyali ne wateekebwawo ebitiibwa, gamba nga Mukama. Okumanya erinnya lya Katonda kyakyusizza ddala obulamu bwe. Yagamba nti: “Mukwano gwange asingayo alina erinnya!” Biki ebivuddemu? Agamba nti: “Kati nnina emirembe mingi ku mutima. Era ngitwala nga nkizo ya maanyi okubeera mukwano gwa Katonda.” Omusajja ayitibwa Steve yali muyimbi era yakuzibwa mu ddiini y’Ekiyudaaya. Yali tayagala kuba mu ddiini yonna olw’okuba yali alabye obunnanfuusi bungi nnyo mu madiini. Naye bwe yali mu nnaku ey’amaanyi ng’afiiriddwa maama we, yatuula n’awuliriza ng’Omujulirwa wa Yakuwa omu alina gw’ayigiriza Bayibuli. Yakwatibwako nnyo okukimanya nti Katonda alina erinnya. Agamba nti: “Nnali sikimanyangako nti Katonda alina erinnya. Awo we nnasookera okukitegeerera nti Katonda wa ddala! Era nti nnali nzudde mukwano gwange.”

17. Lwaki oli mumalirivu okweyongera okutendereza erinnya lya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Bw’oba okola omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza, obuulira abantu erinnya lya Yakuwa ettukuvu? Obayamba okumanya ekyo Katonda waffe ky’ali? Bw’okola bw’otyo, oba otendereza erinnya lya Katonda. Weeyongere okutendereza erinnya lya Yakuwa ettukuvu ng’oyamba abantu okutegeera ekyo nnannyini linnya eryo ky’ali. Bw’onookola bw’otyo, ojja kutaasa obulamu bw’abantu. Ojja kuba okoppa Kabaka waffe, Yesu Kristo. N’okusingira ddala ojja kusanyusa Yakuwa, Kitaawo akwagala. Weeyongere ‘okutendereza erinnya lye emirembe n’emirembe’!—Zab. 145:2.

Tutendereza erinnya lya Yakuwa nga tulibuulira abantu era nga tubayamba okumanya ekyo Yakuwa ky’ali (Laba akatundu 17))

OKUTENDEREZA ERINNYA LYA KATONDA . . .

  • kisanyusa kitya Yakuwa?

  • kisanyusa kitya Kristo Yesu?

  • kiwonyaawo kitya obulamu bw’abantu?

OLUYIMBA 2 Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa

a Obukakafu bulaga nti Makko yakozesa erinnya lya Katonda mu kuwandiika ebigambo bya Yesu ebyo. Eyo ye nsonga lwaki erinnya eryo lyazzibwawo mu kyawandiikibwa ekyo mu Bayibuli—Enkyusa Ey’Ensi Empya.

b Amannya gakyusiddwa.