Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7

OLUYIMBA 51 Twewaddeyo eri Katonda!

Bye Tuyigira ku Banaziri

Bye Tuyigira ku Banaziri

“Ennaku zonna z’anaamalanga nga Munaziri anaabanga mutukuvu eri Yakuwa.”—KUBAL. 6:8.

EKIGENDERERWA

Okulaba engeri ekyokulabirako ky’Abanaziri gye kiyinza okutuyamba okuweereza Yakuwa nga twoleka omwoyo gw’okwefiiriza era nga twoleka obuvumu.

1. Ndowooza ki ennungi abaweereza ba Yakuwa gye bazze booleka okuviira ddala mu biseera eby’edda?

 ENKOLAGANA yo ne Yakuwa ogitwala nga ya muwendo? Oteekwa okuba ng’ogitwala nga ya muwendo! Naye toli wekka. Okuviira ddala mu biseera eby’edda, wabaddewo abantu bangi ababadde batwala enkolagana yaabwe ne Yakuwa nga ya muwendo nnyo. (Zab. 104:​33, 34) Bangi babaddeko bye beefiiriza okusobola okusinza Yakuwa. Bwe kityo bwe kyali eri abantu mu Isirayiri ey’edda abaali bayitibwa Abanaziri. Abanaziri baali baani era kiki kye tuyinza okubayigirako?

2. (a) Abanaziri baali baani? (Okubala 6:​1, 2) (b) Lwaki Abayisirayiri abamu beeyamanga okuba Abanaziri?

2 Ekigambo “Omunaziri” kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “Oyo Ayawuliddwawo” oba “Oyo Eyeewaddeyo.” Abanaziri baabanga Bayisirayiri abaabangako bye beefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. Amateeka ga Musa gakkirizanga omusajja oba omukazi okubaako obweyamo obw’enjawulo bw’akola eri Yakuwa ng’asalawo okubeera Omunaziri okumala ekiseera. a (Soma Okubala 6:​1, 2.) Omuyisirayiri bwe yeeyamanga okubeera Omunaziri, waalingawo amateeka ge yalinanga okugoberera Abayisirayiri abalala ge bataalinanga kugoberera. Kiki ekyaleeteranga Omuyisirayiri okusalawo okweyama okuba Omunaziri? Kirabika okwagala okw’amaanyi kwe yalina eri Yakuwa n’olw’okuba nti yali asiima Yakuwa olw’emikisa emingi gye yali amuwadde, kye kyamuleeteranga okweyama okuba Omunaziri.—Ma. 6:5; 16:17.

3. Kufaanagana ki okuliwo leero wakati w’abantu ba Katonda n’Abanaziri?

3 “Etteeka lya Kristo” bwe lyadda mu kifo ky’Amateeka ga Musa, enteekateeka y’abantu abamu okuweereza ng’Abanaziri yakoma. (Bag. 6:2; Bar. 10:4) Kyokka okufaananako Abanaziri, abantu ba Yakuwa leero bakyeyongera okukyoleka nti baagala okumuweereza n’omutima gwabwe gwonna, n’obulamu bwabwe bwonna, n’amagezi gaabwe gonna, n’amaanyi gaabwe gonna. (Mak. 12:30) Kyeyagalire tweyama okuweereza Yakuwa mu ngeri eyo bwe twewaayo gy’ali. Okusobola okutuukiriza obweyamo obwo kizingiramu okukola Yakuwa by’ayagala era n’okubaako bye twefiiriza nga tumuweereza. Bwe twekenneenya engeri Abanaziri gye baatuukirizangamu obweyamo bwabwe waliwo ebintu ebikulu bye tuyiga ebisobola naffe okutuyamba okutuukiriza obweyamo bwaffe. b (Mat. 16:24) Ka tulabeyo ebyokulabirako.

BA MWETEGEFU OKWEFIIRIZA

4. Okusinziira ku Okubala 6:​3, 4, kiki Abanaziri kye beefiirizanga?

4 Soma Okubala 6:​3, 4. Abanaziri baalinanga okwewala omwenge ogwa buli ngeri n’ebintu byonna ebiva ku muzabbibu, gamba ng’ezzabbibu embisi n’ezzabbibu enkalu. Abantu abaabanga babeetoolodde bayinza okuba nga baalyanga ebintu ebyo okuva bwe kiri nti tebyaliko buzibu bwonna. Bayibuli eyogera ku ‘mwenge ogusanyusa emitima gy’abantu’ ng’ekirabo ekiva eri Katonda. (Zab. 104:​14, 15) Wadde ng’ebintu ebyo byaleeteranga abantu okunyumirwa obulamu, Abanaziri beefiirizanga okubirya. c

Oli mwetegefu okubaako bye weefiiriza ng’Abanaziri bwe baakolanga? (Laba akatundu 4-6)


5. Biki Madián ne Marcela bye beefiiriza, era lwaki?

5 Okufaananako Abanaziri naffe waliwo ebintu bye twefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Lowooza ku w’oluganda Madián ne mukyala we Marcela. d Madián yalina omulimu ogwali gumusobozesa okufuna ssente nnyingi era baali babeera mu nnyumba ey’ebbeeyi. Naye baali baagala okugaziya ku buweereza bwabwe eri Yakuwa. Ekyo okusobola okukituukiriza, baasalawo okubaako enkyukakyuka ze bakola. Bagamba nti: “Kye twasooka okukola kwe kukendeeza ku nsaasaanya yaffe. Twasengukira mu nnyumba entono era n’emmotoka yaffe ne tugitunda.” Madián ne Marcela kyali tekibakakatako kwefiiriza mu ngeri eyo, naye baasalawo okwefiiriza okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Bawulira nga bamativu era basanyufu olw’ekyo kye baasalawo.

6. Lwaki Abakristaayo leero baliko ebintu bye beefiiriza? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Leero Abakristaayo bafuna essanyu lingi bwe babaako bye beefiiriza okusobola okufuna ebiseera ebisingawo okugaziya ku buweereza bwabwe. (1 Kol. 9:​3-6) Yakuwa tatwetaagisa kwefiiriza mu ngeri eyo era n’ebintu bye twerekereza si bikyamu. Ng’ekyokulabirako, abamu basalawo obutabeera na nnyumba yaabwe ku bwabwe, oba obutakola mirimu gye bandyagadde. Bangi basazeewo okugira nga balindako okuwasa oba okufumbirwa oba okuzaala abaana. Abalala basazeewo okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako, wadde nga biri wala nnyo okuva ewaabwe. Bangi ku ffe twefiiriza ebintu ebyo kyeyagalire olw’okuba twagala okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi. Ba mukakafu nti Yakuwa asiima byonna bye weefiiriza okusobola okumuweereza, ka bibe bitono oba binene.—Beb. 6:10.

BA MWETEGEFU OKUBA OW’ENJAWULO KU BALALA

7. Kiki ekiyinza okuba nga kyakifuulanga kizibu eri Abanaziri okutuukiriza obweyamo bwabwe? (Okubala 6:5) (Laba n’ekifaananyi.)

7 Soma Okubala 6:5. Abanaziri beeyamanga obutasalako nviiri zaabwe. Eyo y’emu ku ngeri gye baakiragangamu nti baali bagondera Yakuwa mu bujjuvu. Omuyisirayiri bwe yamalanga ekiseera kiwanvu ng’aweereza ng’Omunaziri, enviiri ze zaabanga mpanvu era ekyo abalala baakirabanga mangu. Abalala bwe bassanga ekitiibwa mu bweyamo bwe era ne bamukubiriza okufuba okubutuukiriza, kyamubeereranga kyangu okubutuukiriza. Kyokka waaliwo ekiseera Abayisirayiri lwe baali nga tebasiima Banaziri era nga tebabawagira. Mu kiseera kya nnabbi Amosi, Abayisirayiri bakyewaggula ‘baawanga Abanaziri omwenge okunywa,’ kirabika nga bagezaako okubalemesa okutuukiriza obweyamo bwabwe. (Am. 2:12) Ebiseera ebimu, kyabanga kyetaagisa Omunaziri okuba omuvumu ennyo okusobola okunywerera ku ekyo kye yeeyama n’okuba ow’enjawulo ku balala.

Omunaziri eyafubanga okutuukiriza obweyamo bwe, yabanga mwetegefu okuba ow’enjawulo ku balala (Laba akatundu 7)


8. Ekyokulabirako kya Benjamin kikuzzizzaamu kitya amaanyi?

8 Naffe Yakuwa asobola okutuyamba ne tufuna obuvumu ne tuba ba njawulo ku balala, ka tube nga tuli ba nsonyi. Lowooza ku Benjamin, omwana Omujulirwa wa Yakuwa ow’emyaka ekkumi abeera mu Norway. Essomero lyabwe lyateekateeka omukolo ogw’okuwagira ensi ya Ukraine ekoseddwa olutalo. Abaana baagambibwa okuyimba oluyimba nga bambadde engoye eza langi za bbendera ya Ukraine. Okusobola okwewala okwenyigira mu mukolo ogwo ogwali gwoleka mwoyo gwa ggwanga, Benjamin yayimirira walako okuva we gwali. Kyokka waliwo omusomesa eyamulengera n’amugamba nti: “Jjangu otwegatteko. Tulinze ggwe!” Benjamin yagenda awali omusomesa oyo n’amugamba nti: “Nze sirinaako ludda lwe mpagira era seenyigira mu mikolo egikwatagana n’eby’obufuzi. Mu butuufu waliwo Abajulirwa ba Yakuwa bangi abasibiddwa mu makomera olw’okugaana okwenyigira mu lutalo.” Omusomesa yawuliriza ebyo Benjamin bye yamunnyonnyola era n’amuleka. Kyokka bayizi banne baatandika okumubuuza ensonga lwaki teyabeegattako. Wadde nga Benjamin yatya nnyo era n’abulako katono okukaaba, yaddamu n’annyonnyola bayizi banne ekyo kye yali agambye omusomesa we. Oluvannyuma Benjamin yagamba bazadde be nti yakiraba nti Yakuwa ye yamuyamba okunywerera ku ekyo ky’akkiririzaamu.

9. Mu ngeri ki gye tuyinza okusanyusa omutima gwa Yakuwa?

9 Olw’okuba tukola ebyo Yakuwa by’ayagala, tuli ba njawulo ku bantu abatwetoolodde. Kitwetaagisa okuba abavumu okusobola okubuulira bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Ate era olw’okuba endowooza y’abantu mu nsi n’enneeyisa yaabwe yeeyongera okwonooneka buli lukya, kiyinza okweyongera okutubeerera ekizibu okutambulira ku misingi gya Bayibuli n’okubuulira abalala amawulire amalungi. (2 Tim. 1:8; 3:13) Naye bulijjo kijjukirenga nti bwe twoleka obuvumu ne tuba ba njawulo ku bantu abataweereza Yakuwa, ‘tusanyusa omutima gwe.’—Nge. 27:11; Mal. 3:18.

KULEMBEZANGA YAKUWA MU BULAMU BWO

10. Okugoberera obulagirizi obuli mu Okubala 6:​6, 7, kyagezesanga kitya Abanaziri?

10 Soma Okubala 6:​6, 7. Abanaziri tebaalinanga kusemberera muntu afudde. Mu kusooka ekyo kiyinza obutalabika ng’okwefiiriza okw’amaanyi. Naye mu biseera by’edda, ekyo tekyabanga kyangu eri Omunaziri ng’afiiriddwa omu ku b’eŋŋanda ze ow’oku lusegere. Mu kiseera ekyo, okukungubagira omuntu afudde kyabanga kizingiramu okubeera okumpi n’omulambo. (Yok. 19:​39, 40; Bik. 9:​36-40) Naye olw’obweyamo Omunaziri bwe yabanga akoze, yalinga tasobola kugoberera kalombolombo ako. Ne mu mbeera nga ye n’ab’eŋŋanda ze bali mu nnaku ey’amaanyi, Omunaziri yalinanga okunywerera ku bweyamo bwe. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yayambanga abaweereza be abo abeesigwa okusobola okugumira embeera eyo enzibu.

11. Kiki Omukristaayo ky’alina okuba omumalirivu okukola bw’aba ng’asalawo ebikwata ku b’eŋŋanda ze? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Naffe obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa tubutwala nga bukulu nnyo. Obweyamo obwo bukwata ku ebyo bye tusalawo ne bye tukola ebizingiramu ab’omu maka gaffe n’ab’eŋŋanda zaffe. Tufuba okukola ku byetaago by’ab’omu maka gaffe, naye ebyo ab’omu maka gaffe n’ab’eŋŋanda zaffe bye baagala tetubitwala nti bikulu okusinga ebyo Yakuwa by’ayagala. (Mat. 10:​35-37; 1 Tim. 5:8) Oluusi ekyo kiyinza okutwetaagisa okusalawo mu ngeri etasanyusa ba ŋŋanda zaffe naye ng’esanyusa Yakuwa.

Oli mwetegefu okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala ne mu mbeera enzibu ennyo? (Laba akatundu 11) e


12. Embeera y’omu maka ge bwe yali ezibuwadde nnyo, kiki Alexandru kye yakola, naye kiki ky’ataakola?

12 Lowooza ku w’oluganda Alexandru ne mukyala we, Dorina. Oluvannyuma lwa Alexandru ne Dorina okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa okumala omwaka gumu, Dorina yasalawo okulekera awo okuyiga era yali ayagala ne Alexandru naye alekere awo. Naye Alexandru yamugamba mu bukkakkamu nti ye yali agenda kweyongera okuyiga. Ekyo tekyasanyusa Dorina era yagezaako okumuwaliriza okulekera awo okuyiga. Alexandru agamba nti yagezaako okumanya ensonga lwaki Dorina yali yeeyisa bw’atyo, naye tekyamubeerera kyangu kugimanya. Ebiseera ebimu Dorina bwe yamuyombesanga oba bwe yamuddangamu obubi, yawuliranga ng’ayagala kulekera awo kuyiga. Wadde kyali kityo, Alexandru yeeyongera okukulembeza Yakuwa era nga bw’afuba okulaga mukyala we okwagala n’okumussaamu ekitiibwa. N’ekyavaamu, ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo kyaleetera Dorina okuddamu okuyiga Bayibuli, era oluvannyuma yeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa.—Laba vidiyo Alexandru ne Dorina Vacar: Okwagala Kugumiikiriza era Kwa Kisa, wansi w’ekitundu “Amazima Gakyusa Obulamu,” ku jw.org/lg.

13. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala Yakuwa n’ab’omu maka gaffe?

13 Yakuwa ye yatandikawo enteekateeka y’amaka era ayagala tubeere basanyufu mu maka. (Bef. 3:​14, 15) Bwe tuba nga twagala okufuna essanyu erya nnamaddala, tulina okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Ba mukakafu nti Yakuwa asiima nnyo ebyo byonna bwe weefiiriza ng’omuweereza nga bw’ofuba okulabirira ab’omu maka go, ng’obalaga okwagala, era ng’obawa ekitiibwa.—Bar. 12:10.

BULI OMU AKUBIRIZE MUNNE OKUBA NG’ABANAZIRI

14. Okusingira ddala baani be tusaanidde okuzzaamu amaanyi okuyitira mu bye twogera?

14 Abo bonna abasalawo okuweereza Yakuwa leero balina okuba abeetegefu okubaako bye beefiiriza era ng’okwagala kwe kubakubiriza okukola ekyo. Oluusi tekiba kyangu kubaako kye twefiiriza. Buli omu ku ffe ayinza atya okukubiriza munne okubaako bye yeefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa? Ekyo tusobola okukikola nga twogera ebigambo ebizzaamu amaanyi. (Yob. 16:5) Mu kibiina kyo mulimu abafuba okweggyako ebintu ebimu basobole okwongera okugaziya ku buweereza bwabwe? Waliwo abaana b’omanyi abafuba okuba ab’enjawulo ku balala ku ssomero wadde ng’ekyo si kyangu? Waliwo abayizi ba Bayibuli oba bakkiriza banno abafuba okusigala nga beesigwa eri Yakuwa wadde nga bayigganyizibwa ab’omu maka gaabwe? Ka tukozese buli kakisa ke tufuna okwogera ebigambo ebizzaamu bakkiriza bannaffe abo amaanyi nga tukyoleka nti tusiima ebyo byonna bye beefiiriza era n’obuvumu bwe booleka.—Fir. 4, 5, 7.

15. Abamu bawagidde batya abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna?

15 Oluusi tuyinza okubaako bye tukola okuyamba bakkiriza bannaffe abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. (Nge. 19:17; Beb. 13:16) Ekyo mwannyinaffe omu abeera mu Sri Lanka yali ayagala nnyo okukikola. Bwe baamwongeza ssente z’afuna buli mwezi eza pensoni, yayagala okubaako bannyinaffe babiri b’ayamba okweyongera okuweereza nga bapayoniya wadde ng’embeera y’eby’enfuna teyali nnyangu. N’olwekyo, yasalawo okubaako ssente z’abawa buli mwezi okusasulira amasimu ge baakubanga. Mwannyinaffe oyo nga yayoleka endowooza ennungi!

16. Kiki kye tuyigira ku nteekateeka y’okuweereza ng’Abanaziri eyaliwo mu biseera eby’edda?

16 Mazima ddala tulina bingi bye tuyigira ku kyokulabirako ekirungi Abanaziri abaaliwo mu biseera eby’edda kye bassaawo! Kyokka enteekateeka eyo era erina ekintu ky’etuyigiriza ku Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Yakuwa mukakafu nti twagala okumusanyusa era nti tuli beetegefu okubaako bye twefiiriza okusobola okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo gy’ali. Yakuwa atuwa ekitiibwa ng’atuwa akakisa okusalawo engeri gye tukyolekamu nti tumwagala. (Nge. 23:​15, 16; Mak. 10:​28-30; 1 Yok. 4:19) Enteekateeka y’okuweereza ng’Abanaziri eraga nti Yakuwa alaba era asiima ebyo byonna bye twefiiriza nga tumuweereza. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa nga kyeyagalire tumuwa ekisingayo obulungi.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Abanaziri baayoleka batya obuvumu n’omwoyo gw’okwefiiriza?

  • Buli omu ku ffe ayinza atya okukubiriza munne okuba ng’Abanaziri?

  • Enteekateeka y’Abanaziri etulaga ki ku ndowooza Yakuwa gy’alina eri abaweereza be?

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

a Wadde nga waliwo Abanaziri abatonotono Yakuwa be yalonda okuweereza mu ngeri eyo, Abanaziri abasinga obungi mu Isirayiri beewangayo kyeyagalire okuweereza mu ngeri eyo.—Laba akasanduuko “ Abanaziri Yakuwa Be Yalonda.”

b Oluusi ebitabo byaffe bigeraageranya Abanaziri ku abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Naye, ekitundu kino kigenda kulaga engeri abaweereza ba Yakuwa bonna gye bayinza okwoleka omwoyo ng’ogw’Abanaziri.

c Okutwalira awamu, kirabika Abanaziri tebaalina buvunaanyizibwa bulala bwe baalina okutuukiriza, gamba ng’okubaako omulimu gwe balina okukola okusobola okutuukiriza obweyamo bwabwe.

d Ku jw.org/lg laba ekitundu “Twasalawo Okweggyako Ebintu Ebimu.” Wansi wa “Ebitukwatako” genda ku “Ebyokulabirako.”

e EKIFAANANYI: Omunaziri ng’ali waggulu ku nnyumba ng’alaba abo abagenda okuziika omu ku b’eŋŋanda ze. Obweyamo bwe yakola tebumukkiriza kusemberera mulambo.