Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sigala ng’Oli Musanyufu ng’Olindirira Yakuwa n’Obugumiikiriza

Sigala ng’Oli Musanyufu ng’Olindirira Yakuwa n’Obugumiikiriza

WEESUNGA ekiseera Yakuwa lw’aliggirawo ddala ebintu byonna ebibi n’azza ebintu byonna obuggya? (Kub. 21:​1-5) Tewali kubuusabuusa weesunga ekiseera ekyo! Kyokka ebiseera ebimu, tekiba kyangu kulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza, naddala bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Bayibuli eraga nti ‘ekisuubirwa bwe kirwawo okutuukirira, omutima gulwala.’—Nge. 13:12.

Wadde kiri kityo, Yakuwa atusuubira okumulindirira n’obugumiikiriza okubaako ky’akolawo mu kiseera ekituufu. Lwaki atusuubira okumulindirira n’obugumiikiriza? Kiki enaatuyamba okusigala nga tuli basanyufu nga tumulindirira?

LWAKI YAKUWA ATUSUUBIRA OKULINDIRIRA?

Bayibuli egamba nti: “Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okubalaga ekisa, era aliyimuka okubasaasira. Kubanga Yakuwa Katonda wa bwenkanya. Balina essanyu abo bonna abamulindirira.” (Is. 30:18) Ebigambo ebyo Isaaya yabiwandiikira Abayudaaya abaali bajeemedde Yakuwa. (Is. 30:1) Naye mu bo mwalimu abaali abeesigwa eri Yakuwa, era ebigambo ebyo byabawa essuubi. N’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaliwo leero, ebigambo ebyo bibawa essuubi.

N’olwekyo tulina okulindirira n’obugumiikiriza kubanga Yakuwa naye alindirira n’obugumiikiriza. Yateekawo dda ekiseera lw’alizikiririzaako enteekateeka y’ebintu eno, era alindirira n’obugumiikiriza okutuusa ekiseera ekyo lwe kinaatuuka. (Mat. 24:36) Ekyo bwe kinaabaawo, kijja kweyoleka kaati nti ebyo Omulyolyomi bwe yayogera ku Yakuwa n’abaweereza be bya bulimba. Yakuwa ajja kuggyawo Sitaani n’abo bonna abali ku ludda lwe, naye abaweereza be abeesigwa ajja ‘kubasaasira.’

Mu kiseera kino Yakuwa ayinza obutaggyaawo bizibu byaffe, naye atukakasa nti tusobola okuba abasanyufu nga tumulindirira. Nga Isaaya bwe yagamba, tusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tulindirira ekyo kye tusuubira. (Is. 30:18) Tuyinza tutya okufuna essanyu eryo? Ka tulabeyo ebintu bina ebisobola okutuyamba.

TUYINZA TUTYA OKUSIGALA NGA TULI BASANYUFU NGA TULINDIRIRA?

Ebirowoozo byo bimalire ku bintu ebirungi. Kabaka Dawudi yayolekagana n’ebintu bingi ebibi mu bulamu bwe. (Zab. 37:35) Naye yawandiika nti: “Sirika mu maaso ga Yakuwa era mulindirire n’obugumiikiriza. Tokwatibwa busungu olw’oyo atuukiriza ebintu ebibi by’aba ateeseteese.” (Zab. 37:7) Dawudi naye yakolera ku bigambo bye ebyo ng’assa ebirowoozo bye ku ky’okuba nti Yakuwa yali asuubizza okumuyamba. Ate era yasiimanga ebintu byonna ebirungi Yakuwa bye yamukoleranga. (Zab. 40:5) Naffe ebirowoozo byaffe bwe tubimalira ku bintu ebirungi mu kifo ky’okubimalira ku bintu ebibi oba ebizibu bye tulina, kijja kutwanguyira okulindirira Yakuwa.

Kozesa buli kakisa k’ofuna okutendereza Yakuwa. Omuwandiisi wa Zabbuli 71, nga kirabika yali Dawudi, yagamba Yakuwa nti: “Nja kweyongera okukulindirira; nja kwongera okukutendereza.” (Zab. 71:14) Dawudi yanditenderezza atya Yakuwa? Yandibuulidde abalala ebikwata ku Yakuwa era n’ayimba ennyimba ezimutendereza. (Zab. 71:​16, 23) Okufaananako Dawudi, naffe tusobola okusigala nga tuli basanyufu nga tulindirira Yakuwa. Tumutendereza nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, nga tunyumya n’abalala, era nga tuyimba ennyimba zaffe ez’Obwakabaka. Omulundi gw’onoddamu okuyimba oluyimba lw’Obwakabaka, fumiitiriza ku bigambo byalwo n’engeri gye biyinza okukuleetera essanyu.

Kkiriza bakkiriza banno okukuzaamu amaanyi. Dawudi bwe yayolekagana n’ebizibu, yagamba Yakuwa nti: “Mu maaso g’abantu bo abeesigwa, nnaasuubiriranga mu linnya lyo.” (Zab. 52:9) Naffe bakkiriza bannaffe basobola okutuzzaamu amaanyi nga tuli nabo mu nkuŋŋaana, mu buweereza, oba nga tugenze okwesanyusaamu nabo.—Bar. 1:​11, 12.

Nyweza essuubi ly’olina. Zabbuli 62:5 wagamba nti: “Nnindirira Katonda kubanga ye nsibuko y’essuubi lyange.” Kikulu nnyo okuba n’essuubi erinywevu naddala singa enkomerero tejja mu kiseera mwe twali tugisuubirira. Tulina okuba abakakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa byonna bijja kutuukirira ka tube nga tunaamala bbanga ki nga tubirindirira. Tusobola okunyweza essuubi lyaffe nga tusoma Ekigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bunnabbi bwa Bayibuli obutuukiridde, engeri ebyo abawandiisi ba Bayibuli ab’enjawulo bye baawandiika gye bikwataganamu, n’ebintu ebitali bimu Yakuwa by’atuyambye okutegeera. (Zab. 1:​2, 3) Ate era tusaanidde okweyongera ‘okusaba Yakuwa nga tulina omwoyo omutukuvu’ okusobola okukuuma enkolagana yaffe naye nga nnywevu nga bwe tulindirira ekisuubizo kye eky’obulamu obutaggwaawo okutuukirira.—Yud. 20, 21.

Okufaananako Kabaka Dawudi, ba mukakafu nti Yakuwa alaba abo abamulindirira era abalaga okwagala kwe okutajjulukuka. (Zab. 33:​18, 22) Weeyongere okulindirira Yakuwa ng’ossa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi, ng’omutendereza, ng’okkiriza bakkiriza banno okukuzaamu amaanyi, era ng’okuuma essuubi lyo nga linywevu