Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Biki Bayibuli by’etuyamba okumanya ku busobozi bwa Yakuwa obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

Bayibuli ekyoleka bulungi nti Yakuwa asobola okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Is. 45:21) Naye tetubuulira ngeri ki Yakuwa gy’asalawo kubimanya, ddi lw’asalawo okubimanya, na byenkana wa by’asalawo okumanya. N’olwekyo, tetumanyi buli kimu ekikwata ku busobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Naye waliwo ebintu bitonotono bye tumanyi. Lowooza ku bino.

Yakuwa asobola okukola buli kimu ky’aba ayagala, naye ebiseera ebimu asalawo obutakola bintu ebimu. Yakuwa asobola okukozesa amagezi ge amangi ennyo okumanya ekintu kyonna ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso ky’aba asazeewo okumanya. (Bar. 11:33) Olw’okuba yeefuga nnyo, asobola n’okusalawo obutamanya bintu ebimu ebinaabaawo.—Geraageranya Isaaya 42:14.

Yakuwa aleetera ebyo by’ayagala okubaawo. Ekyo kikwatagana kitya n’obusobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Isaaya 46:10 wagamba nti: “Okuva ku lubereberye nnangirira ebintu ebiribaawo, okuva edda n’edda nnangirira ebintu ebitannaba kukolebwa. Ŋŋamba nti, ‘ekyo kye nsalawo kijja kutuukirira, era nja kukola kyonna kye njagala.’”

N’olwekyo emu ku nsonga lwaki Yakuwa asobola okumanya ebinaabaawo mu maaso eri nti alina obusobozi okuleetera ebintu okubaawo. Yakuwa teyeetaaga kumanya binaabaawo mu biseera eby’omu maaso mu ngeri y’emu ng’omuntu asoma olugero mu katabo akamu bw’asooka okusoma ebiri ku mpapula ezisembayo mu katabo ako okumanya ebyo by’asoma gye binakkira. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa asobola okusalawo nti ekintu kijja kubaawo mu kiseera ekigereke era n’aleetera ekintu ekyo okubaawo mu kiseera ekyo.—Kuv. 9:​5, 6; Mat. 24:36; Bik. 17:31.

Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli ekozesa ebigambo nga “Nnakikola,” ne “Nkiteeseteese,” bw’eba eyogera ku ebyo Yakuwa by’aba agenda okukola ebikwata ku biseera eby’omu maaso. (2 Bassek. 19:25; obugambo obuli wansi; Is. 46:11) Ebigambo ebyo byavvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekirina akakwate n’ekigambo ekitegeeza “omubumbi.” (Yer. 18:4) Ng’omubumbi bw’akwata ekitole ky’ebbumba n’akikolamu ekintu ekirabika obulungi ennyo, Yakuwa naye asobola okukozesa embeera yonna ebaawo okutuukiriza ekigendererwa kye.—Bef. 1:11.

Yakuwa aleka abantu okukozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo. Talina muntu gw’agerekera binaamutuukako mu biseera eby’omu maaso. Era taleetera bantu ab’emitima emirungi okukola ebintu ebiyinza okubaviirako okuzikirira. Aleka abantu bonna okusalawo engeri gye banaatambuzaamu obulamu bwabwe, era abayigiriza okutambuza obulamu bwabwe mu ngeri ennungi.

Lowooza ku byokulabirako bino bibiri. Ekisooka kikwata ku bantu b’omu Nineeve. Yakuwa yagamba nti ekibuga Nineeve kyali kigenda kuzikirizibwa olw’okuba abantu baamu baali bakola ebintu ebibi ennyo. Naye abantu abo bwe beenenya, Yakuwa yakyusa “ekirowoozo ky’okuleeta akabi ke yali agambye okubatuusaako, n’atakaleeta.” (Yon. 3:​1-10) Yakuwa yakyusa mu ekyo kye yali agambye nti kyali kigenda kutuuka ku bantu b’omu Nineeve olw’okuba bwe baawuliriza okulabula kwe yabawa baasalawo okukyusa amakubo gaabwe ne beenenya.

Ekyokulabirako eky’okubiri kikwata ku bunnabbi obwali bukwata ku mulwanyi eyali ayitibwa Kuulo, eyandisumuludde Abayudaaya okuva mu buwaŋŋanguse basobole okuddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. (Is. 44:26–45:4) Obunnabbi obwo bwatuukirira ku Kabaka Kuulo owa Buperusi. (Ezer. 1:​1-4) Kyokka Kuulo yali tasinza Katonda ow’amazima. Yakuwa yakozesa Kuulo okutuukiriza obunnabbi obwo nga tamuggyeeko ddembe lye ery’okwesalirawo ani gwe yandibadde asinza.—Nge. 21:1.

Kya lwatu nti ebyo ebyogeddwako waggulu si bye byokka ebikwata ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu obusobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ekituufu kiri nti, teri muntu asobola kumanyira ddala mu bujjuvu makubo ga Yakuwa. (Is. 55:​8, 9) Naye ebyo bye tumanyi ku Yakuwa bituyamba okuba abakakafu nti bulijjo by’akola biba bituufu, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku busobozi bwe obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.