Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki Bayibuli eddiŋŋana by’eyogera?

EMIRUNDI egimu abawandiisi ba Bayibuli baddiŋŋananga ebyo bye baawandiikanga. Lowooza ku nsonga ssatu eziyinza okuba nga zaaleetera abawandiisi abo okuddiŋŋana ebyo bye baawandiikanga:

Ekiseera we baawandiikira. Mu Isirayiri ey’edda, abantu abasinga obungi tebaalina kopi zaabwe ku bwabwe ez’Amateeka ga Musa. Okusingira ddala Amateeka ago baagawuliranga nga gasomebwa bwe baabanga bakuŋŋaanye wamu ng’eggwanga ku weema entukuvu ne ku yeekaalu. (Ma. 31:​10-12) Amateeka ago bwe gaabanga gasomebwa, wateekwa okuba nga waalingawo ebibawugula. Ate era baayimiriranga okumala essaawa nnyingi nga bawuliriza. (Nek. 8:​2, 3, 7) Mu mbeera ng’ezo, okuddiŋŋana ebigambo ebiggyayo amakulu kyandiyambye abantu okujjukira ebyawandiikibwa n’okubikolerako. Okusingira ddala, okuddiŋŋana ebigambo ebimu kyandibayambe okujjukira ebintu ebikulu, gamba ng’amateeka ga Katonda n’ennamula ye.—Leev. 18:​4-22; Ma. 5:1.

Ebyo bye baawandiika. Ebimu ku ebyo ebyawandiikibwa mu Bayibuli byawandiikibwa nga nnyimba. Ng’ekyokulabirako, ekitabo kya Zabbuli, Oluyimba lwa Sulemaani, n’ekitabo ky’Okukungubaga byawandiikibwa nga nnyimba. Ebigambo by’ennyimba ezimu baabiddiŋŋananga. Ekyo kyayambanga abantu okumanya ensonga enkulu oluyimba olwo gye lwabanga lwogerako era kyabayambanga okulujjukira kigambo ku kigambo. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebigambo ebiri mu Zabbuli 115:​9-11. Wagamba nti: “Ggwe Isirayiri, weesige Yakuwa—Y’abayamba era ye ngabo yammwe. Ggwe ennyumba ya Alooni, weesige Yakuwa—Y’abayamba era ye ngabo yammwe. Mmwe abatya Yakuwa, mwesige Yakuwa—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.” Okuddiŋŋana ebigambo ebyo, kyayambanga abantu okujjukira ensonga eyo enkulu.

Okuggumiza ensonga enkulu. Abawandiisi ba Bayibuli oluusi baddiŋŋananga ebintu ebyalinga ebikulu ennyo. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yalagira Abayisirayiri okwewala okulya omusaayi, yaluŋŋamya Musa okuddiŋŋana ensonga eyo emirundi egiwerako. Yakuwa yali ayagala okukiggumiza nti obulamu bwa buli kiramu buli mu musaayi, kwe kugamba, omusaayi gukiikirira bulamu. (Leev. 17:​11, 14) Oluvannyuma abatume n’abakadde mu Yerusaalemi bwe baawandiika ebintu Abakristaayo bye balina okwewala okusobola okusanyusa Katonda, baddamu okuggumiza obukulu bw’okwewala omusaayi.—Bik. 15:​20, 29.

Wadde nga Bayibuli eddiŋŋana ebigambo ebimu, Yakuwa yali tayagala tube nga tuddiŋŋana ebigambo ebitali bimu mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba nti: “Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga mu bigambo.” (Mat. 6:7) Oluvannyuma yatubuulira ebintu bye tusobola okwogerako nga tusaba ebituukagana n’ekyo Katonda ky’ayagala. (Mat. 6:​9-13) N’olwekyo, wadde nga tetuddiŋŋana bigambo nga tusaba, tusobola okwogera ku nsonga y’emu enfunda n’enfunda mu ssaala zaffe.—Mat. 7:​7-11.

Nga bwe tulabye, waliwo ensonga ennungi lwaki Bayibuli eddiŋŋana ebigambo ebimu. Eyo y’emu ku ngeri ennyingi Omuyigiriza waffe Asingiridde gy’atuyigirizaamu tusobole okuganyulwa.—Is. 48:​17, 18.