Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16

OLUYIMBA 64 Okwenyigira mu Makungula n’Essanyu

Engeri gy’Oyinza Okweyongera Okufuna Essanyu mu Buweereza

Engeri gy’Oyinza Okweyongera Okufuna Essanyu mu Buweereza

“Muweereze Yakuwa n’essanyu.”ZAB. 100:2.

EKIGENDERERWA

Ekitundu kino kiraga ebintu bye tulina okukola okusobola okufuna essanyu mu buweereza.

1. Abamu batwala batya eky’okubuulira abantu be batamanyi? (Laba n’ekifaananyi.)

 ABAWEEREZA ba Yakuwa tubuulira abalala amawulire amalungi olw’okuba twagala Kitaffe ow’omu ggulu era twagala okuyamba bantu bannaffe okumumanya. Ababuulizi bangi banyumirwa omulimu gw’okubuulira. Naye abamu tebagunyumirwa. Lwaki? Bayinza okuba nga balina ensonyi era nga beenyooma. Abamu bakaluubirirwa okugenda mu maka g’abantu nga tebayitiddwa. Abamu batya nti abantu bajja kubakambuwalira. Abalala baayigirizibwa nti tebasaanidde kumalako bantu mirembe. Wadde nga bakkiriza bannaffe abo baagala nnyo Yakuwa, bazibuwalirwa okutuukirira abantu be batamanyi okubabuulira amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, bakimanyi nti omulimu gw’okubuulira mukulu nnyo, era bagwenyigiramu obutayosa. Ekyo nga kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa!

Onyumirwa okukola omulimu gw’okubuulira? (Laba akatundu 1)


2. Bw’oba nga tufuna ssanyu mu kubuulira, lwaki tosaanidde kuggwaamu maanyi?

2 Oluusi ozibuwalirwa okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira? Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi. Ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti oli mwetoowaze era nti toyagala balala kukussaako nnyo birowoozo. Ate era kiyinza okuba nga kiraga nti toyagala kuwakana na bantu. Tewali n’omu ayagala butawulirizibwa nnaddala bw’aba ng’agezaako okukolera abalala ebirungi. Kitaawo ow’omu ggulu amanyi okusoomooza kw’oyitamu, era ayagala okukuyamba. (Is. 41:13) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bitaano ebisobola okukuyamba bw’oba ng’oyolekagana n’okumu ku kusoomooza kwe tulabye waggulu, era n’engeri gy’oyinza okufuna essanyu mu kubuulira.

LEKA EKIGAMBO KYA KATONDA KIKUZZEEMU AMAANYI

3. Kiki ekyayamba nnabbi Yeremiya okubuulira abalala?

3 Okuviira ddala mu biseera eby’edda, obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda bubaddenga buzzaamu abaweereza ba Katonda amaanyi nga waliwo obuvunaanyizibwa obutali bwangu bwe balina okutuukiriza. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nnabbi Yeremiya. Yawulira ng’atidde Yakuwa bwe yamuwa omulimu gw’okubuulira. Yagamba nti: “Simanyi kwogera, kubanga ndi mwana muto.” (Yer. 1:6) Kiki ekyamuyamba n’asobola okufuna obuvumu okubuulira? Ekigambo kya Katonda kye kyamuyamba. Yagamba nti: “Ekigambo kye kyali ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gange, nnawulira nga nkooye okusirika.” (Yer. 20:​8, 9) Wadde ng’ekitundu Yeremiya kye yali abuuliramu kyali kizibu nnyo, obubaka bwe yaweebwa okubuulira bwamuyamba okufuna amaanyi ge yali yeetaaga okukola omulimu ogwo.

4. Kiki ekibaawo bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako? (Abakkolosaayi 1:​9, 10)

4 Obubaka obuli mu Kigambo kya Katonda buzzaamu Abakristaayo amaanyi. Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abakkolosaayi, yagamba nti okufuna okumanya okutuufu kwandiyambye bakkiriza banne abo “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa” nga beeyongera “okubala ebibala mu buli mulimu omulungi.” (Soma Abakkolosaayi 1:​9, 10.) Omulimu ogwo omulungi guzingiramu okubuulira amawulire amalungi. N’olwekyo, bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukifumiitirizaako, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera era tweyongera okukiraba nti kikulu nnyo okubuulira abalala amawulire amalungi.

5. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kwesomesa Bayibuli?

5 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu Kigambo kya Katonda, tetusaanidde kwanguyiriza nga twesomesa oba nga tufumiitiriza. Bw’oba okisoma, waayo ebiseera ebimala. Bw’osanga ekyawandiikibwa ekikuzibuwalira okutegeera, tokiyitako buyisi. Mu kifo ky’ekyo, kozesa Watch Tower Publications Index oba Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza okulaba engeri ekyawandiikibwa ekyo gye kinnyonnyolwamu. Bw’owaayo ebiseera ebimala okwesomesa, kijja kukuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu. (1 Bas. 5:21) Gy’okoma okuba omukakafu, gy’okoma okunyumirwa okubuulirako abalala ku ebyo by’oba oyize.

WEETEEKERETEEKERE OBUWEEREZA

6. Lwaki tusaanidde okweteekateeka obulungi nga tugenda okubuulira?

6 Bwe weeteekerateekera obulungi obuweereza, kijja kukuyamba obutatya nnyo kubuulira balala. Yesu yayamba abayigirizwa be okweteekateeka ng’agenda okubatuma okubuulira. (Luk. 10:​1-11) Olw’okuba abayigirizwa abo baakolera ku ebyo Yesu bye yabagamba, baasobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe era baafuna essanyu lingi.—Luk. 10:17.

7. Tuyinza tutya okweteekerateekera obuweereza? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Tuyinza tutya okweteekerateekera okubuulira? Tusaanidde okulowooza ku ebyo bye tuba tugenda okwogerako, era n’engeri gye tunaabyogeramu mu ngeri eya bulijjo. Ate era kirungi okulowooza ku ngeri abantu gye banaakwatibwako ebyo bye tuba tugenda okubabuulira, era n’engeri gye tunaakwatamu buli emu ku mbeera. Bwe tuba nga twogera n’abantu, tusaanidde okuba abakkakkamu, okussaako akamwenyumwenyu, n’okubalaga okwagala.

Weeteekereteekere bulungi omulimu gw’okubuulira (Laba akatundu 7)


8. Mu ngeri ki Abakristaayo gye balinga ebibya eby’ebbumba ebyogerwako mu kyokulabirako Pawulo kye yakozesa?

8 Omutume Pawulo yagamba bakkiriza banne nti: “Obugagga buno tubulina mu bibya eby’ebbumba.” (2 Kol. 4:7) Bugagga ki obwo? Gwe mulimu gw’okubuulira ebikwata ku Bwakabaka oguwonyaawo obulamu bw’abantu. (2 Kol. 4:1) Ebibya eby’ebbumba kye ki? Bikiikirira abaweereza ba Katonda ababuulira abalala amawulire amalungi. Mu kiseera kya Pawulo, abasuubuzi baakozesanga ensumbi ez’ebbumba okutambulizaamu ebintu eby’omuwendo, gamba ng’emmere, omwenge, n’essente. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yatukwasa amawulire amalungi ag’omuwendo. Yakuwa atuyamba okufuna amaanyi ne tweyongera okubuulira.

SABA YAKUWA AKUWE OBUVUMU

9. Tuyinza tutya okuggwamu okutya abantu? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Oluusi tuyinza okutya abantu. Tuyinza tutya okuvvuunuka ekizibu ekyo? Lowooza ku ssaala abatume gye baasaba bwe baalagirwa okulekera awo okubuulira. Mu kifo ky’okulekera awo okubuulira olw’okutya, baasaba Yakuwa abayambe “okweyongera okwogera ekigambo . . . n’obuvumu.” Essaala eyo Yakuwa yagiddamu mu bwangu. (Bik. 4:​18, 29, 31) Oluusi bwe tuwulira nga tutidde abantu, tusaanidde okusaba Yakuwa okutuyamba. Saba Yakuwa akuyambe weeyongera okwagala abantu, osobole okuggwaamu okutya.

Saba Yakuwa akuwe obuvumu (Laba akatundu 9)


10. Yakuwa atuyamba atya okutuukiriza omulimu gwe yatuwa ogw’okumuwaako obujulirwa? (Isaaya 43:​10-12)

10 Yakuwa yatuwa omulimu gw’okumuwaako obujulirwa era yatusuubiza okutuyamba okuba abavuma. (Soma Isaaya 43:​10-12.) Lowooza ku bintu bina ebiraga engeri gy’atuyambamu. Ekisooka, buli lwe tubuulira amawulire amalungi, Yesu aba wamu naffe. (Mat. 28:​18-20) Eky’okubiri, Yakuwa yassaawo bamalayika okutuyamba. (Kub. 14:6) Eky’okusatu, Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okujjukira ebintu bye tuba twayiga. (Yok. 14:​25, 26) Eky’okuna, Yakuwa atuwadde bakkiriza bannaffe okukolera awamu naffe. Olw’okuba Yakuwa atuyamba era nga tukolera wamu ne bakkiriza bannaffe, tulina buli kimu kye twetaaga okusobola okuba abavumu ne tweyongera okubuulira.

BA MWETEGEFU OKUKYUSAAMU, ERA BA N’ENDOWOOZA ENNUNGI

11. Bwe tuba tukola omulimu gw’okubuulira, tuyinza tutya okusanga abantu ab’okubuulira? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Oluusi bw’otosanga bantu waka owulira ng’oweddemu amaanyi? Bwe kiba kityo, kikulu okwebuuza nti: ‘Abantu b’omu kitundu kino mu kiseera kino bali ludda wa?’ (Bik. 16:13) ‘Bagenze ku mulimu oba bagenze kugula bintu?’ Bwe kiba kityo, osobola okusalawo okubuulira ku luguudo. Ow’oluganda ayitibwa Joshua agamba nti, “Bwe mba ntambula mu bifo ebikolerwamu bizineesi oba mu bifo ebirala ebya lukale, ntera okufuna akakisa okubuulira.” Ow’oluganda oyo ne mukyala we Bridget, era bakizudde nti bwe babuulira mu biseera eby’akawungeezi oba ku Ssande olw’eggulo, batera okusanga abantu awaka.—Bef. 5:​15, 16.

Ba mwetegefu okukyusakyusaamu ngʼobuulira (Laba akatundu 11)


12. Tuyinza tutya okumanya ebyo abantu bye bakkiririzaamu oba ebibeeraliikiriza?

12 Abantu bwe baba tebaagala kuwuliriza bubaka bw’obabuulira, gezaako okumanya bye bakkiririzaamu oba ebibeeraliikiriza. Joshua ne Bridget batera okukozesa ekibuuzo ekiri ku tulakiti mu nnyanjula yaabwe. Ng’ekyokulabirako, bwe baba bakozesa tulakiti Bayibuli Ogitwala Otya? bagamba omuntu nti: “Abantu abamu Bayibuli bagitwala okuba Ekigambo kya Katonda ate abalala si bwe batyo bwe bagitwala. Ggwe ogitwala otya?” Emirundi mingi ekyo kibaviirako okukubaganya ebirowoozo n’abantu.

13. Abantu ne bwe batawuliriza bubaka bwaffe, lwaki tuyinza okugamba nti tuba tutuukirizza omulimu gwaffe? (Engero 27:11)

13 Abantu ne bwe batatuwuliriza, ffe tuba tutuukirizza omulimu gwaffe. Lwaki? Kubanga tuba tukoze ekyo Yakuwa ne Yesu kye baagala tukole, kwe kugamba, tuba tuwadde obujulirwa. (Bik. 10:42) Ne bwe tutasanga bantu ba kubuulira, oba ne bwe bagaana okuwuliriza obubaka bwaffe, tusobola okufuna essanyu kubanga tuba tukimanyi nti tusanyusizza Kitaffe ow’omu ggulu.—Soma Engero 27:11.

14. Lwaki kitusanyusa nnyo omubuulizi omulala bw’afuna omuntu ayagala okumanya ebisingawo mu kitundu kye tubuuliramu?

14 Ate era tusobola okufuna essanyu singa mubuulizi munnaffe asanga omuntu mu kitundu kye tubuuliramu ayagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Omunaala gw’Omukuumi ogumu gwageraageranya omulimu gwe tukola ku kunoonya omwana abuze. Bangi beenyigira mu kunoonya omwana oyo, era bamunoonya mu bitundu ebitali bimu. Omwana bw’azuulibwa, buli omu aba musanyufu so si oyo yekka aba azudde omwana oyo. Mu ngeri y’emu, buli omu mu kibiina ayambako mu kufuula abantu abayigirizwa. Bonna mu kibiina beetaagisa okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, era bonna basanyuka nnyo omuntu omupya bw’atandika okujja mu nkuŋŋaana.

WEEYONGERE OKWAGALA YAKUWA N’ABANTU

15. Okukolera ku Matayo 22:​37-39 kituyamba kitya okweyongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira? (Laba ku ddiba.)

15 Tusobola okweyongera okunyumirwa omulimu gw’okubuulira bwe tweyongera okwagala Yakuwa n’abantu. (Soma Matayo 22:​37-39.) Lowooza ku ssanyu Yakuwa ly’awulira bw’atulaba nga tukola omulimu gw’okubuulira era ne ku ssanyu abantu lye bafuna nga batandise okuyiga Bayibuli! Ate era kijjukire nti abo abawuliriza obubaka bwaffe bajja kulokolebwa.—Yok. 6:40; 1 Tim. 4:16.

Bwe tweyongera okwagala Yakuwa n’abantu, kijja kutuyamba okweyongera okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira (Laba akatundu 15)


16. Tuyinza tutya okufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira embeera bw’eba nga tetusobozesa kuva waka? Waayo ebyokulabirako.

16 Embeera tekusobozesa kuva waka? Bwe kiba kityo, lowooza ku ekyo ky’osobola okukola okulaga nti oyagala Yakuwa n’abantu. Mu kiseera kya COVID-19, Samuel ne Dania baayolekagana n’embeera eyali tebasobozesa kuva waka. Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu, baabuuliranga nga bakozesa essimu n’amabaluwa, era baayigirizanga abantu nga bakozesa enkola ya Zoom. Samuel yabuuliranga abo be yasanganga ng’agenze mu ddwaliro okufuna obujjanjabi bwa kookolo. Agamba nti: “Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, tuyinza okweraliikirira ennyo era tuyinza okuwulira nga tuli bakoowu, era okukkiriza kwaffe kugezesebwa. Kikulu okufuna essanyu mu kuweereza Yakuwa.” Nga bali mu mbeera eyo, Dania yagwa ekigwo n’aba nga tasobola kuva wansi okumala emyezi esatu. Oluvannyuma kyamwetaagisa okubeera mu kagaali k’abalema okumala emyezi mukaaga. Agamba nti: “Nnafuba okukola ekyo kye nnali nsobola mu mbeera gye nnalimu. Nnabuuliranga omusawo eyajjanga okunzijanjaba, era nnabuuliranga n’abo abaatuleeteranga ebintu eby’okukozesa. Ate era nga nkozesa essimu, nnabuulira omukyala eyali akola mu kampuni emu.” Embeera Samuel ne Dania gye baalimu yali tebasobozesa kuweereza mu bujjuvu nga bwe baakolanga edda, naye baakola kyonna kye basobola era baafuna essanyu.

17. Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu mu magezi agaweereddwa mu kitundu kino?

17 Gezaako okukolera ku ebyo byonna bye tulabye mu kitundu kino. Buli kimu ku ebyo bye tulabye mu kitundu kino tuyinza okukigeraageranya ku birungo ebikozesebwa okufumba eky’okulya ekimu. Ebirungo byonna bwe bikozesebwa, eky’okulya ekyo kiwooma. Mu ngeri y’emu, bwe tukolera ku magezi gonna agatuweereddwa mu kitundu kino, tujja kufuna essanyu mu mulimu gw’okubuulira.

BINO WAMMANGA BIYINZA BITYA OKUKUYAMBA OKUFUNA ESSANYU MU KUBUULIRA?

  • Okweteekateeka obulungi

  • Okusaba Yakuwa okutuwa obuvumu

  • Okweyongera okwagala Yakuwa n’abantu

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”