Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki mu ggye lya Kabaka Dawudi mwalimu abasajja abataali Bayisirayiri?

MU BALWANYI abataali Bayisirayiri abaali mu ggye lya Dawudi mwe mwali abasajja nga Zereki Omwamoni, Uliya Omukiiti, ne Isuma Omumowaabu. a (1 Byom. 11:​39, 41, 46) Ate era mu ggye lya Dawudi mwalimu ‘Abakeresi, Abaperesi, n’Abagitti.’ (2 Sam. 15:18) Kirabika Abakeresi n’Abaperesi baalina oluganda ku Bafirisuuti. (Ezk. 25:16) Abagitti baava mu kibuga Gaasi eky’Abafirisuuti.—Yos. 13 :​2, 3; 1 Sam. 6:​17, 18.

Lwaki Dawudi yakkiriza abasajja abataali Bayisirayiri okubeera mu ggye lye? Yali mukakafu nti baali beesigwa gy’ali, n’ekisinga obukulu, nti baali beesigwa eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, ng’eyogera ku Bakeresi n’Abaperesi, enkuluze eyitibwa The New Interpreter’s Dictionary of the Bible egamba nti: “Baasigala beesigwa eri Dawudi mu kiseera ky’obufuzi bwe ekyasingayo okuba ekizibu.” Mu ngeri ki? “Abasajja ba Isirayiri bonna” bwe baava ku Kabaka Dawudi ne bagoberera “omusajja ow’omutawaana eyali ayitibwa Seba,” Abakeresi n’Abaperesi bo baasigala banyweredde ku Dawudi era baayambako okulwanyisa Seba. (2 Sam. 20:​1, 2, 7) Ku mulundi omulala, mutabani wa Kabaka Dawudi eyali ayitibwa Adoniya yagezaako okwezza entebe y’obwakabaka. Naye Abakeresi n’Abaperesi baasigala beesigwa eri Dawudi era baayambako mu kutuuza Sulemaani ku ntebe y’obwakabaka, oyo Yakuwa gwe yali alonze okudda mu bigere bya Dawudi.—1 Bassek. 1:​24-27, 38, 39.

Omusajja omulala ataali Muyisirayiri eyasigala nga mwesigwa nnyo eri Dawudi yali Ittayi Omugitti. Ittayi n’abasajja be abalwanyi 600 baawagira Kabaka Dawudi, Abusaalomu mutabani wa Dawudi bwe yeewaggula era n’asendasenda abasajja ba Isirayiri okujeemera Dawudi. Mu kusooka Dawudi yagamba Ittayi nti olw’okuba teyali Muyisirayiri, yali talina kulwana. Naye Ittayi yagamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga mukama wange kabaka bw’ali omulamu, yonna mukama wange kabaka gy’anaabeera, nange omuweereza wo gye nnaabeera, ne bwe kinaaba nga kyetaagisa kufa!”—2 Sam. 15:​6, 18-21.

Ittayi yali mwesigwa eri Dawudi, kabaka Yakuwa gwe yafukako amafu

Wadde ng’Abakeresi, Abaperesi, n’Abagitti tebaali Bayisirayiri, baali bakitwala nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era nti Dawudi Yakuwa ye yali amulonze. Dawudi ateekwa okuba nga yasiima nnyo okubeera n’abasajja abo abaali abeesigwa gy’ali!

a Mu tteeka Katonda lye yawa Abayisirayiri eriri mu Ekyamateeka 23:​3-6, Abaamoni n’Abamowaabu baagaanibwa okuyingira mu kibiina kya Isirayiri. Kirabika etteeka eryo lyali likwata ku ky’okufuuka abatuuze mu Isirayiri naye nga lyali teribagaana kukolagana na Bayisirayiri oba okubeera mu bo. Laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, lup. 95.