Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18

OLUYIMBA 1 Engeri za Yakuwa

Weesige “Omulamuzi w’Ensi Yonna” Omusaasizi!

Weesige “Omulamuzi w’Ensi Yonna” Omusaasizi!

“Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?”LUB. 18:25.

EKIGENDERERWA

Okutuyamba okweyongera okutegeera obusaasizi bwa Yakuwa n’obwenkanya bwe ku bikwata ku kuzuukira kw’abatali batuukirivu.

1. Kintu ekituzzaamu amaanyi Yakuwa kye yayigiriza Ibulayimu?

 EMYAKA mingi emabega, Yakuwa ng’ayitira mu malayika, yagamba Ibulayimu nti yali agenda kuzikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola. Ekyo kyazibuwalira Ibulayimu okukitegeera. Yabuuza Yakuwa nti: “Ddala onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi? . . . Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?” Yakuwa yayigiriza mukwano gwe Ibulayimu ekintu kino ekikulu ennyo ekituzzaamu amaanyi era ekituganyula ennyo: Katonda tasobola kuzikiriza bantu batuukirivu.—Lub. 18:​23-33.

2. Lwaki tuli bakakafu nti emisango Yakuwa gy’asala gya butuukirivu era nti ayoleka obusaasizi ng’agisala?

2 Tuyinza tutya okuba abakakafu nti emisango Yakuwa gy’asala giba gya butuukirivu era nti ayoleka obusaasizi ng’agisala? Kubanga tukimanyi nti ‘Yakuwa alaba ekiri mu mitima’ gy’abantu. (1 Sam. 16:7) Mu butuufu, “amanyi omutima gwa buli muntu.” (1 Bassek. 8:39; 1 Byom. 28:9) Ekyo kyewuunyisa. Yakuwa alina amagezi mangi nnyo okutusinga ne kiba nti oluusi tetuyinza kutegeera mu bujjuvu ensonga lwaki asalawo ebintu ebimu. Kituukirawo okuba nti omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okwogera bw’ati ku Yakuwa Katonda: “Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala.”—Bar. 11:33.

3-4. Oluusi bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino? (Yokaana 5:​28, 29)

3 Wadde kiri kityo, oluusi tuyinza okwebuuza ebibuuzo ebifaananako n’ekyo Ibulayimu kye yabuuza. Tuyinza n’okwebuuza nti: ‘Waliwo essuubi lyonna nti abantu Yakuwa be yazikiriza, gamba ng’ab’omu Sodomu ne Ggomola, baliddamu okuba abalamu? Kyandiba nti abamu ku bo bayinza okuzuukizibwa mu ‘kuzuukira kw’abatali batuukirivu?’—Bik. 24:15.

4 Ka twekenneenye ebyo bye tumanyi ku kuzuukira. Gye buvuddeko awo, waliwo enkyukakyuka eyakolebwa mu ngeri gye tutegeeramu ‘okuzuukirira obulamu’ ‘n’okuzuukirira omusango.’ (Soma Yokaana 5:​28, 29.) Ekyo kituviiriddeko okukola enkyukakyuka endala ezigenda okwogerwako mu kitundu kino n’ekiddako. Ku bikwata ku misango egy’obutuukirivu Yakuwa gy’asala, tugenda kusooka tulabe ebyo bye tutamanyi ate oluvannyuma tulabe ebyo bye tumanyi.

EBYO BYE TUTAMANYI

5. Kiki ebitabo byaffe kye bibaddenga byogera ku bantu abaazikirizibwa mu Sodomu ne Ggomola?

5 Ebitabo byaffe bibaddenga byogera ku ekyo ekijja okutuuka ku bantu abatali batuukirivu Yakuwa be yasalira omusango. Bibaddenga biraga nti abantu abo, gamba ng’abaali mu Sodomu ne Ggomola, tebajja kuzuukizibwa. Bwe tweyongedde okusaba n’okwekenneenya ennyo ensonga eyo, wazzeewo ekibuuzo kino: Ddala tuli bakakafu nti abantu abo tebajja kuzuukira?

6. Abamu ku bantu abatali batuukirivu Yakuwa be yasalira omusango be baluwa, era kiki kye tutamanyi ku bantu abo?

6 Ka tulabe ebibuuzo ebiwerako ebikwatagana n’ensonga eyo. Bayibuli eyogera ku bantu abawerako abatali batuukirivu Yakuwa be yasalira omusango, gamba ng’abantu abatamanyiddwa muwendo abaafiira mu mataba g’omu kiseera kya Nuuwa, oba abantu ab’omu mawanga omusanvu agaali mu Nsi Ensuubize Yakuwa be yalagira abantu be okuzikiriza, oba abasirikale ba Bwasuli 185,000 malayika wa Yakuwa be yazikiriza mu kiro kimu. (Lub. 7:23; Ma. 7:​1-3; Is. 37:​36, 37) Bayibuli bw’eba eyogera ku bantu abo, ekiraga nti Yakuwa yasalawo nti buli omu ku bo yazikirira ddala era talizuukira? Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo?

7. Kiki kye tutamanyi ku bantu abaazikirizibwa amataba oba abo abaazikirizibwa ng’Abayisirayiri bayingidde mu nsi ya Kanani? (Laba ku ddiba.)

7 Tetumanyi ngeri Yakuwa gye yalamulamu buli omu ku bantu abo, era tetumanyi obanga baafuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa basobole okwenenya. Ng’eyogera ku kiseera ky’amataba, Bayibuli egamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peet. 2:5) Naye tegamba nti Nuuwa bwe yali azimba eryato era yali afuba okubuulira buli muntu kinnoomu. Mu ngeri y’emu, ku bikwata ku mawanga agaali mu nsi ya Kanani, tetumanyi obanga abantu abo bonna ababi baafuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa basobole okukyusa amakubo gaabwe.

Nuuwa n’ab’omu maka ge bazimba eryato eddene ennyo. Tekimanyiddwa obanga Nuuwa yafuba okubuulira abantu bonna abaali ku nsi mu kiseera ekyo ng’amataba tegannajja (Laba akatundu 7)


8. Kiki kye tutamanyi ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola?

8 Ate bo abantu b’omu Sodomu ne Ggomola? Lutti, omusajja eyali omutuukirivu, yali abeera mu bantu abo. Naye tetumanyi obanga yabuulira abantu abo bonna. Kyo kituufu nti abantu abo baali babi, naye bonna baali bamanyi ekituufu n’ekikyamu? Kijjukire nti abasajja b’omu kibuga ekyo baali baagala okukwata abagenyi abaali bakyalidde Lutti. Bayibuli eraga nti abasajja bonna mu kibuga ekyo “okuva ku mulenzi okutuuka ku musajja omukadde” be baali baagala okukola ekyo. (Lub. 19:4; 2 Peet. 2:7) Ddala tumanyi obanga Yakuwa Katonda omusaasizi yasalira buli omu ku basajja abo ekibonerezo eky’okufa awatali ssuubi lya kuzuukira? Yakuwa yagamba Ibulayimu nti mu kibuga ekyo mwali temuweramu bantu kkumi abatuukirivu. (Lub. 18:32) N’olwekyo, abantu abo tebaali batuukirivu era Yakuwa yali mutuufu okubazikiriza. Ddala tuli bakakafu nti tewali n’omu ku bantu abo ajja kuzuukizibwa mu ‘kuzuukira kw’abatali batuukirivu’? Nedda!

9. Kiki kye tutamanyi ku Sulemaani?

9 Ku luuyi olulala, mu Bayibuli tusoma ku bantu abaali abatuukirivu naye oluvannyuma ne bafuuka abatali batuukirivu. Kabaka Sulemaani y’omu ku bantu abo. Yayigirizibwa bulungi amakubo ga Yakuwa, era Yakuwa yamuwa emikisa mingi. Kyokka oluvannyuma yatandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Ekyo kye yakola kyanyiiza nnyo Yakuwa, era ebizibu ebyavaamu byakosa eggwanga lya Isirayiri okumala ebyasa bingi. Kyo kituufu nti Bayibuli egamba nti Sulemaani ‘yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,’ omwali abasajja abeesigwa, gamba nga Kabaka Dawudi. (1 Bassek. 11:​5-9, 43; 2 Bassek. 23:13) Naye engeri Sulemaani gye yaziikibwamu bwali bukakafu obulaga nti ajja kuzuukira? Bayibuli tetubuulira. Naye abamu bayinza okugamba nti “oyo afudde aba takyaliko musango gwa kibi.” (Bar. 6:7) Ekyo kituufu, naye tekitegeeza nti abantu bonna bajja kuzuukira nga gyobeera nti buli muntu eyafa ateekeddwa okuzuukira. Okuzuukira kirabo okuva eri Omutonzi waffe atwagala. Akiwa abo baayagala okuwa akakisa okumuweereza emirembe gyonna. (Yob. 14:​13, 14; Yok. 6:44) Sulemaani anaaweebwa ekirabo ekyo? Yakuwa y’amanyi; ffe tetumanyi. Naye kye tumanyi kiri nti, Yakuwa ajja kukola ekituufu.

BYE TUMANYI

10. Eky’okuzikiriza abantu Yakuwa akitwala atya? (Ezeekyeri 33:11) (Laba n’ekifaananyi.)

10 Soma Ezeekyeri 33:11. Yakuwa atubuulira endowooza gy’alina ku kusalira abantu omusango. Okufaananako ebyo nnabbi Ezeekyeri bye yawandiika, omutume Peetero yagamba nti: “Yakuwa . . . tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9) Ebigambo ebyo bituzzaamu amaanyi, kubanga bituyamba okukimanya nti Yakuwa tasobola kuzikiriza muntu awatali ssuubi lya kuzuukira, okuggyako nga ddala omuntu oyo kimugwanidde. Yakuwa musaasizi nnyo, era ayoleka obusaasizi buli lwe kiba kyetaagisa.

Mu kuzuukira kw’abatali batuukirivu, abantu aba buli ngeri bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa (Laba akatundu 10)


11. Baani abatajja kuzuukizibwa, era ekyo tukimanya tutya?

11 Kiki kye tumanyi ku bantu abatajja kuzuukizibwa? Bantu batono abagwa mu kiti ekyo Bayibuli b’eyogerako. Yesu yakiraga nti Yuda Isukalyoti tajja kuzuukira. (Mak. 14:21; laba ne Yok. 17:12.) Yuda yali akimanyi bulungi nti ekyo kye yali akola kyali kikyamu mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’Omwana we, naye n’akikola. (Laba Makko 3:29.) Mu ngeri y’emu, Yesu yagamba nti abamu ku bakulembeze b’eddiini abaali bamuziyiza bandifudde awatali ssuubi lya kuzuukira. (Mat. 23:33) Ate omutume Pawulo yagamba nti bakyewaggula abateenenya tebandizuukiziddwa.—Beb. 6:​4-8; 10:29.

12. Kiki kye tumanyi ku busaasizi bwa Yakuwa? Waayo ebyokulabirako.

12 Ku luuyi olulala, kiki kye tumanyi ku busaasizi bwa Yakuwa? Akyolese atya nti “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa”? Lowooza ku ngeri gye yasaasiramu abamu ku bantu abaakola ebibi eby’amaanyi ennyo. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi ennyo, omwali okwenda n’okutta. Kyokka olw’okuba yeenenya, Yakuwa yamusaasira n’amusonyiwa. (2 Sam. 12:​1-13) Kabaka Manase yakola ebintu ebibi ennyo ekiseera ekisinga obunene eky’obulamu bwe. Wadde kyali kityo, bwe yeenenya Yakuwa yamusaasira n’amusonyiwa. (2 Byom. 33:​9-16) Ebyokulabirako ebyo bituyamba okukiraba nti Yakuwa alaga abantu obusaasizi buli lw’alaba nti ddala kyetaagisa. Abantu ng’abo Yakuwa ajja kubazuukiza olw’okuba baakitegeera nti baali bakoze ebintu ebibi ennyo era ne beenenya.

13. (a) Lwaki Yakuwa yasaasira abantu b’omu Nineeve? (b) Oluvannyuma kiki Yesu kye yayogera ku bantu b’omu Nineeve?

13 Ate era tumanyi engeri Yakuwa gye yasaasiramu abantu b’omu Nineeve. Yagamba Yona nti: “Ebintu ebibi bye bakola bituuse mu maaso gange.” Naye abantu abo bwe beenenya Yakuwa yabasonyiwa. Yakuwa yali musaasizi nnyo okusinga Yona. Era yalina okujjukiza nnabbi we oyo eyali asunguwadde nti abantu b’omu Nineeve baali tebasobola na “kwawula kituufu ku kikyamu.” (Yon. 1:​1, 2; 3:10; 4:​9-11) Oluvannyuma Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’abantu abo okutuyigiriza ebikwata ku bwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe. Yesu yagamba nti abantu b’omu Nineeve abeenenya ‘balizuukira mu kiseera eky’okusala omusango.’—Mat. 12:41.

14. ‘Okuzuukirira omusango’ kunaaba kutegeeza ki eri abantu b’omu Nineeve?

14 Kiseera ki eky’okusala “omusango” abantu b’omu Nineeve kye bajja ‘okuzuukiriramu’? Yesu yayogera ku ‘kuzuukirira omusango’ okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. (Yok. 5:29) Yali ategeeza ekiseera eky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, era nga mu kiseera ekyo “abatuukirivu n’abatali batuukirivu” bajja kuzuukizibwa. (Bik. 24:15) Eri abatali batuukirivu, okuzuukira okwo kujja kuba ‘kuzuukirira musango,’ kwe kugamba, Yakuwa ne Yesu bajja kwekenneenya enneeyisa yaabwe era n’engeri gye banaaba batwalamu ebyo bye banaaba bayigiriziddwa. Omuntu yenna ow’omu Nineeve anaaba azuukiziddwa anaagaana okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu, Yakuwa tajja kumukkiriza kusigala nga mulamu. (Is. 65:20) Naye abo bonna abanaasalawo okusinza Yakuwa n’obwesigwa, bajja kufuna akakisa okubeerawo emirembe gyonna!—Dan. 12:2.

15. (a) Lwaki tusaanidde okwewala okugamba nti tewali n’omu ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola abaazikirizibwa ajja okuzuukizibwa? (b) Tusaanidde kutwala tutya ebigambo ebiri mu Yuda 7? (Laba akasanduuko “ Kiki Yuda Kye Yali Ategeeza?”)

15 Yesu bwe yali ayogera ku bantu ab’omu Sodomu ne Ggomola, yagamba nti “ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango” embeera yandibabeeredde nnyangu okusinga ey’abo abaagaana okumukkiririzaamu era abaagaana okukkiriza bye yayigiriza. (Mat. 10:​14, 15; 11:​23, 24; Luk. 10:12) Kiki kye yali ategeeza? Yesu yali akozesa lulimi lwa kabonero okulaga nti abantu b’omu kiseera kye baali babi nnyo okusinga abantu b’omu Sodomu ne Ggomola? Kijjukire nti bwe yagamba nti abantu b’omu Nineeve bandizuukidde ku lunaku olw’okusalirako omusango, yali takozesa lulimi lwa kabonero wabula kye yali ayogera yali akitegeeza. N’olwekyo, kirabika ne bwe yali ayogera ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola yali takozesa lulimi lwa kabonero. ‘Olunaku olw’Okusalirako Omusango’ lwe yayogerako mu nnyiriri ezo luteekwa okuba nga lwe lumu. Okufaananako abantu b’omu Nineeve, abantu b’omu Sodomu ne Ggomola baali bakola ebintu ebibi. Naye abantu b’omu Nineeve baafuna akakisa okwenenya. Ate era lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku ‘kuzuukirira omusango.’ Okuzuukira okwo kujja kubaamu “abo abaakolanga ebintu ebibi.” (Yok. 5:29) N’olwekyo, kirabika waliwo essuubi nti abamu ku bantu b’omu Sodomu ne Ggomola bajja kuzuukira, era nti tujja kufuna akakisa okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa ne Yesu Kristo.

16. Kiki kye tumanyi ekikwata ku ngeri Yakuwa gy’ajja okusalawo baani abaazuukizibwa? (Yeremiya 17:10)

16 Soma Yeremiya 17:10. Mu lunyiriri olwo tusoma ku ekyo kye tumanyi ku misango Yakuwa gy’asala: Bulijjo Yakuwa ‘akebera omutima, akebera ebirowoozo eby’omunda ennyo.’ Ku bikwata ku kuzuukira okujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso, ajja kukola nga bw’azzenga akola, kwe kugamba, ajja kusasula “buli muntu ng’amakubo ge bwe gali.” Wadde nga Yakuwa anywerera ku kituufu, ajja kusaasira abo abagwanidde okusaasirwa. Tetusaanidde kukitwala nti omuntu tajja kuzuukira, okuggyako nga tulina obukakafu okuva mu Byawandiikibwa!

“OMULAMUZI W’ENSI YONNA” AJJA ‘KUKOLA EKITUUFU’

17. Mu biseera eby’omu maaso kiki ekijja okutuuka ku bantu abaafa?

17 Okuva mu kiseera Adamu ne Kaawa lwe baawuliriza Sitaani ne bajeemera Yakuwa Katonda, abantu buwumbi na buwumbi bafudde. ‘Okufa’ mulabe mubi nnyo! (1 Kol. 15:26) Kiki ekinaatuuka ku bantu abo bonna? Abantu abatonotono, kwe kugamba, abagoberezi ba Kristo abeesigwa 144,000, bajja kuzuukizibwa bafune obulamu obutasobola kuzikirira mu ggulu. (Kub. 14:1) Abantu abasinga obungi abeesigwa abaali baagala Yakuwa bajja kuzuukira mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu,’ era bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna kasita banaasigala nga beesigwa mu kiseera eky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi ne mu kugezesebwa okusembayo. (Dan. 12:13; Beb. 12:1) Ate era mu kiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, abantu “abatali batuukirivu,” omuli abo abataaweereza Yakuwa, oba ‘abaakolanga n’ebintu ebibi,’ bajja kuweebwa akakisa okukyusa enneeyisa yaabwe, basobole okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. (Luk. 23:​42, 43) Kyokka abantu abamu baali babi nnyo, nga bamaliridde okujeemera Yakuwa n’okuwakanya ekigendererwa kye, ne kiba nti Yakuwa yasalawo nti tebajja kuzuukizibwa.—Luk. 12:​4, 5.

18-19. (a) Lwaki tuli bakakafu nti abo abaafa Yakuwa ajja kubalamula mu bwenkanya? (Isaaya 55:​8, 9) (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

18 Tulina ensonga kwe tusinziira okuba abakakafu nti bulijjo Yakuwa bw’alamula abantu ekyo ky’asalawo kiba kituufu? Yee! Nga Ibulayimu bwe yali akimanyi obulungi, Yakuwa “Omulamuzi w’ensi yonna” atuukiridde, alina amagezi mangi nnyo, era musaasizi. Yatendeka Omwana we era yamuwa obuyinza bwonna obw’okusala omusango. (Yok. 5:22) Yakuwa ne Yesu bamanyi ekyo ekiri ku mutima gwa buli muntu. (Mat. 9:4) N’olwekyo, buli muntu gwe balamula, ekyo kye basalawo kiba kituufu.

19 Ka bulijjo twesigenga Yakuwa nti asalawo mu ngeri entuufu. Tukimanyi nti ffe tetulina busobozi bwa kusala musango; Yakuwa ye musazi w’emisango atuukiridde. (Soma Isaaya 55:​8, 9.) Eyo ye nsonga lwaki okusala omusango kwonna tukuleka mu mikono gya Yakuwa n’Omwana we. Ate era tukimanyi nti Kabaka waffe, Yesu, akoppera ddala obwenkanya bwa Kitaawe n’obusaasizi bwe. (Is. 11:​3, 4) Naye kiki kye tuyinza okwogera ku misango Yakuwa gy’ajja okusala mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene? Kiki kye tutamanyi? Kiki kye tumanyi? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 57 Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri

Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 2022, lup. 14-19.

Okumanya ebikwata ku Adamu, Kaawa, ne Kayini, Laba obugambo obuli wansi mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2013, lup. 12.

Ebigambo “omwana w’okuzikirira” ebyakozesebwa mu Yokaana 17:12 bitegeeza nti Yuda bwe yandifudde, yandizikiridde awatali ssuubi lya kuzuukira.