Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19

OLUYIMBA 22 Obwakabaka Bwassibwawo​—Ka Bujje!

Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?

Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?

“Yakuwa . . . tayagala muntu yenna kuzikirizibwa.”2 PEET. 3:9.

EKIGENDERERWA

Tusobola okuba abakakafu nti emisango Yakuwa gy’ajja okusala mu biseera eby’omu maaso gya butuukirivu era gya bwenkanya.

1. Lwaki tugamba nti ekiseera kye tulimu kikulu nnyo?

 EBISEERA bye tulimu bikulu nnyo! Buli lunaku tulaba obunnabbi obuli mu Bayibuli nga butuukirizibwa. Ng’ekyokulabirako, tulaba “kabaka ow’ebukiikakkono” ne “kabaka ow’ebukiikaddyo” nga basindikagana, nga buli omu afuba okulaga nti y’asinga amaanyi mu nsi yonna. (Dan. 11:40) Tulaba amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda nga gabuulirwa mu nsi yonna ku kigero ekitabangawo, era abantu bukadde na bukadde basazeewo okuweereza Yakuwa. (Is. 60:22; Mat. 24:14) Era tufuna emmere ey’eby’omwoyo nnyingi nnyo “mu kiseera ekituufu.”—Mat. 24:​45-47.

2. Tuli bakakafu ku ki, naye kiki kye tulina okukkiriza?

2 Yakuwa akyeyongera okutuyamba okutegeera obulungi ebintu ebikulu ebinaatera okubaawo. (Nge. 4:18; Dan. 2:28) Tuli bakakafu nti ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira, tujja kuba tumanyi ebyo byonna bye twetaaga okumanya okusobola okugumiikiriza n’okusigala nga tuli bumu mu kiseera ekyo ekijja okuba ekizibu ennyo. Kyokka tulina okukikkiriza nti waliwo ebintu bye tutamanyi ebikwata ku ebyo ebinaatera okubaawo mu maaso awo. Mu kitundu kino tugenda kusooka tulabe ensonga lwali tukoze enkyukakyuka mu bimu ku ebyo bye twayogera ku bintu ebyo. Oluvannyuma tugenda kulaba ebimu ku bintu bye tumanyi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era n’ekyo Kitaffe ow’omu ggulu ky’anaakolawo.

EBYO BYE TUTAMANYI

3. Kiki kye twali tulowooza nti tekijja kubaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise, era lwaki twali tugamba bwe tutyo?

3 Emabega twali tugamba nti ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, tewali bajja kukyuka kudda ku ludda lwa Yakuwa bawonewo ku lutalo Amagedoni. Twali tugamba bwe tutyo olw’okuba twali tulowooza nti ebintu byonna ebikwata ku mataba g’omu kiseera kya Nuuwa byali bya bunnabbi, nga bisonga ku bintu ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, twali tulowooza nti nga bwe wataaliwo muntu yali asobola kuyingira mu lyato nga Yakuwa amaze okuggalawo oluggi, tewali muntu ajja kukyusa makubo ge asobole okuwonawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kitandise.—Mat. 24:​37-39.

4. Ebyo ebyogerwa ku mataba tusaanidde okubitwala ng’eby’obunnabbi? Nnyonnyola.

4 Kiba kituufu okugamba nti ebyo ebyaliwo mu kiseera ky’amataba byali bya bunnabbi? Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga tewali kyawandiikibwa kyonna kiraga nti byali bya bunnabbi. a Kyo kituufu nti Yesu yageraageranya “ennaku za Nuuwa” ku kiseera ky’okubeerawo kwe, naye teyagamba nti buli kimu ekyaliwo mu kiseera ky’amataba, kyalina ekintu kye kyali kisongako ekyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Teyagamba nti Yakuwa okuggalawo eryato kyalina kye kikiikirira. Kyokka ekyo tekitegeeza nti tewali kye tusobola kuyigira ku ebyo ebyogerwa ku Nuuwa n’amataba.

5. (a) Nuuwa yakyoleka atya nti yalina okukkiriza ng’amataba tegannajja? (Abebbulaniya 11:7; 1 Peetero 3:20) (b) Kufaanagana ki okuliwo wakati w’omulimu gw’okubuulira Nuuwa gwe yakola naffe gwe tukola?

5 Yakuwa bwe yalabula Nuuwa, Nuuwa yakiraga nti alina okukkiriza ng’azimba eryato. (Soma Abebbulaniya 11:7; 1 Peetero 3:20.) Mu ngeri y’emu, abantu abawulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda balina okukolera ku ebyo bye bawulira. (Bik. 3:​17-20) Peetero yagamba nti Nuuwa yali ‘mubuulizi w’obutuukirivu.’ (2 Peet. 2:5) Kyokka nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, tetumanyi obanga Nuuwa yabuulira buli muntu eyaliwo ku nsi ng’amataba tegannajja. Leero twenyigira mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna era tufuba okugukola n’obunyiikivu. Kyokka ne bwe tufuba tutya, tetusobola kutuusa ku buli muntu mawulire malungi ng’enkomerero tennajja. Lwaki?

6-7. Lwaki tugamba nti tetujja kutuusa mawulire malungi ku buli muntu ku nsi ng’enkomerero tennajja?

6 Lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Yagamba nti amawulire amalungi gandibuuliddwa “mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:14) Obunnabbi obwo butuukirizibwa leero ku kigero ekitabangawo. Obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda buli mu nnimi ezisukka mu 1,000, era abantu abasinga obungi mu nsi basobola okubufuna ku mukutu gwaffe gwa jw.org.

7 Kyokka Yesu era yagamba abayigirizwa be nti we yandijjidde, bandibadde ‘tebannamalako bibuga,’ kwe kugamba, bandibadde tebannabuulira buli muntu kinnoomu. (Mat. 10:23; 25:​31-33) Ebigambo bya Yesu ebyo bijja kutuukirira ne mu kiseera kyaffe. Abantu bukadde na bukadde babeera mu bitundu omulimu gw’okubuulira gye gukugirwa ennyo. Okugatta ku ekyo, abaana bikumi na bikumi bazaalibwa buli ddakiika. Tukola kyonna kye tusobola okubuulira amawulire amalungi mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.” (Kub. 14:6) Naye ekituufu kiri nti tetujja kusobola kutuusa mawulire malungi ku buli muntu kinnoomu ali ku nsi ng’enkomerero tennajja.

8. Kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza ku ngeri Yakuwa gy’anaalamulamu abantu mu biseera eby’omu maaso? (Laba n’ekifaananyi.)

8 N’olwekyo, tuyinza okwebuuza nti: Kiki ekinaatuuka ku bantu abanaaba batannabuulirwa mawulire malungi ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika? Yakuwa n’Omwana we gwe yawa obuyinza obw’okulamula banaalamula batya abantu abo? (Yok. 5:​19, 22, 27; Bik. 17:31) Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino kigamba nti Yakuwa “tayagala muntu yenna kuzikirizibwa.” Mu kifo ky’ekyo, ayagala abantu “bonna beenenye.” (2 Peet. 3:9; 1 Tim. 2:4) N’olwekyo, kikulu okukijjukira nti Yakuwa tannatutegeeza ngeri gy’anaalamulamu bantu abatafunanga kakisa kubuulirwa mawulire malungi. Kya lwatu, tekimukakatako kutubuulira ebyo by’akoze n’ebyo by’ateekateeka okukola.

Yakuwa anaalamula atya abantu abayinza obutafuna kakisa kuwulira mawulire malungi ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika? (Laba akatundu 8) c


9. Kiki Yakuwa ky’atubuulidde mu Kigambo kye, Bayibuli?

9 Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa atubuulidde ebimu ku bintu by’ajja okukola. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Yakuwa ajja kuzuukiza abantu “abatali batuukirivu” abataafuna kakisa ka kubuulirwa mawulire malungi basobole okukyusa amakubo gaabwe. (Bik. 24:15; Luk. 23:​42, 43) Ekyo kireetawo ebibuuzo ebirala ebikulu.

10. Bibuuzo ki ebirala ebijjawo?

10 Abo bonna abanaafa mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene tebajja kuzuukira? Ebyawandiikibwa bikyoleka bulungi nti abo abawakanya Yakuwa, era Yakuwa b’ajja okuzikiriza ku Amagedoni ng’akozesa eggye lye, tebajja kuzuukira. (2 Bas. 1:​6-10) Kati ate bo abantu abalala abayinza okufa mu kiseera ekyo olw’obulwadde, olw’okukaddiwa, olw’obubenje, oba olw’okuttibwa bantu bannaabwe? (Mub. 9:11; Zek. 14:13) Kyandiba nti abamu ku bantu abo byajja kubalirwa mu “batali batuukirivu” abanaazuukizibwa mu nsi empya? Tetumanyi.

KYE TUMANYI

11. Nsonga ki eneesinziirwako okulamula abantu ku Amagedoni?

11 Waliwo ebintu ebiwerako bye tumanyi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti ku Amagedoni abantu bajja kulamulwa okusinziira ku ngeri gye banaaba bayisizzaamu baganda ba Kristo. (Mat. 25:40) Abo abanaalamulwa nti ndiga bajja kuba baawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne Kristo. Era tukimanyi nti abamu ku baganda ba Kristo bajja kuba bakyali ku nsi oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika era bajja kutwalibwa mu ggulu ng’ebula ekiseera kitono Amagedoni atandike. Baganda ba Kristo bwe banaaba bakyali ku nsi, kisoboka okuba nti abantu ab’emitima emirungi bajja kufuna akakisa okubawagira awamu n’omulimu gwe bakola. (Mat. 25:​31, 32; Kub. 12:17) Lwaki ebintu ebyo bikulu?

12-13. Kiki abamu kye bayinza okukola oluvannyuma lw’okulaba nga “Babulooni Ekinene” kizikiriziddwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 N’oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika, kisoboka okuba nti abamu ku abo abanaalaba nga “Babulooni Ekinene” kizikiriziddwa, bajja kujjukira ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye bamaze ebbanga eggwanvu nga boogera ku nsonga eyo. Kyandiba nti abamu ku abo abanaalaba ekyo nga kibaawo bajja kutandika okukkiririza mu Yakuwa?—Kub. 17:5; Ezk. 33:33.

13 Ekyo bwe kinaaba bwe kityo, kijja kuba kifaananako n’ekyo ekyaliwo mu Misiri mu kiseera kya Musa. Kijjukire nti “ekibiina ekinene eky’abantu abataali Bayisirayiri” beegatta ku Bayisirayiri nga bava e Misiri. Abamu ku bantu abo bayinza okuba nga baatandika okukkiririza mu Yakuwa bwe baalaba ng’ebyo Musa bye yayogera ku Bibonyoobonyo Ekkumi bituukirira. (Kuv. 12:38) Singa ekintu ekifaananako bwe kityo kibaawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, tunaakitwala nti si kya bwenkanya abantu okutwegattako ng’ebula ekiseera kitono enkomerero etuuke? Kya lwatu nedda! Twagala okuba nga Kitaffe ow’omu ggulu, “Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi.” bKuv. 34:6.

Abamu ku abo abanaalaba nga “Babulooni Ekinene” kizikirizibwa, bajja kukijjukira nti Abajulirwa ba Yakuwa bamaze ebbanga ggwanvu nga boogera ku nsonga eyo (Laba akatundu 12-13) d


14-15. Omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo kisinziira ku ddi lw’afa oba ku wa gy’abeera? Nnyonnyola. (Zabbuli 33:​4, 5)

14 Oluusi tuyinza okuwulira omu ku bakkiriza bannaffe ng’agamba nti, “Kyandisinzeeko singa ab’eŋŋanda zange bafa ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, kubanga wayinza okubaawo akakisa abantu abo okuzuukira.” Kyo kituufu nti tebaba na kigendererwa kibi okwogera ebigambo ebyo. Naye omuntu okuba nti ajja kufuna obulamu obutaggwaawo tekisinziira ku ddi lw’afa. Yakuwa mulamuzi atuukiridde, era alamula abantu mu bwenkanya ne mu butuukirivu. (Soma Zabbuli 33:​4, 5.) Tuli bakakafu nti “Omulamuzi w’ensi yonna” ajja kukola ekituufu.—Lub. 18:25.

15 Ate era kituukirawo okugamba nti omuntu okufuna obulamu obutaggwaawo tekisinziira ku kitundu ki gy’abeera. N’olwekyo tetuyinza kugamba nti obukadde n’obukadde bw’abantu ababeera mu bitundu gye batafunanga kakisa kubuulirwa mawulire g’Obwakabaka Yakuwa ajja kubalamula nti ‘mbuzi.’ (Mat. 25:46) Omulamuzi w’ensi yonna omutuukirivu alumirirwa nnyo abantu abo n’okusinga ffe bwe tubalumirirwa. Tetumanyi biki Yakuwa by’anaakola mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Oboolyawo abamu ku bantu abo bajja kufuna akakisa okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okumukkiririzaamu, n’okudda ku ludda lwe bw’anaaba yeetukuza mu maaso g’amawanga gonna.—Ezk. 38:16.

Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene okutandika, . . . kyandiba nti abamu ku abo abanaalaba ekyo nga kibaawo bajja kutandika okukkiririza mu Yakuwa?

16. Kiki kye tumanyi ku Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

16 Okusinziira ku byo bye tusoma mu Bayibuli, tukimanyi nti obulamu bw’abantu Yakuwa abutwala nga bwa muwendo nnyo. Yawaayo Omwana we okutufiirira ffenna, tusobole okuba n’essuubi ery’okubaawo emirembe gyonna. (Yok. 3:16) Ffenna tulabye engeri Yakuwa gy’atulazeemu okwagala. (Is. 49:15) Mu butuufu, buli omu ku ffe amumanyi erinnya. Amanyi bulungi buli muntu kinnoomu, ne kiba nti singa omuntu afa asobola okumuzzaawo nga bwe yali era ng’asobola okujjukira ebintu byonna bye yali amanyi! (Mat. 10:​29-31) Mazima ddala tulina ensonga kwe tusinziira okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ajja kulamula buli muntu kinnoomu mu bwenkanya, kubanga alina amagezi mangi, mutuukirivu, era musaasizi.—Yak. 2:13.

Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kulamula abantu mu bwenkanya kubanga alina magezi mangi, mutuukirivu, era musaasizi (Laba akatundu 16)


17. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Ebyo bye tulabye mu bitundu bino ebibiri, bituyambye okukiraba nti kikulu nnyo leero okukola mulimu gw’okubuulira okusinga bwe kyali kibadde. Lwaki tugamba bwe tutyo? Era kiki ekituleetera okweyongera okubuulira amawulire amalungi awatali kuddirira? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 76 Owulira Essanyu Lingi

a Okusobola okumanya ensonga lwaki enkyukakyuka eyo yakolebwa, laba ekitundu “Bw’Otyo Bwe Wasiima” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 15, 2015, lup. 7-11.

b Oluvannyuma lwa Babulooni Ekinene okuzikirizibwa, abaweereza ba Yakuwa bonna bajja kugezesebwa mu bulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi. Abo bonna abaneegatta ku bantu ba Yakuwa oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, nabo bajja kugezesebwa.

c EBIFAANANYI: Ebifaananyi ebisatu biraga ensonga lwaki amawulire amalungi ge tubuulira mu nsi yonna gayinza obutatuuka ku bantu abamu: (1) Omukyala abeera mu kitundu ng’eddiini yaamu ekifuula kya bulabe okubuulirayo, (2) omwami n’omukyala ababeera mu kitundu nga gavumenti yaayo tekkiriza kubuulirayo era nga kya bulabe okubuulira, ne (3) omusajja abeera mu kitundu ekizibu ennyo okutuukamu.

d EBIFAANANYI: Omukyala eyali yava mu mazima ajjukidde ebyo bye yayiga ku kuzikirizibwa kwa “Babulooni Ekinene.” Akyusizza endowooza ye, era akomyewo okubeera ne bazadde be Abakristaayo. Singa ekintu ng’ekyo kibaawo, twagala okuba abasaasizi era ab’ekisa nga Kitaffe ow’omu ggulu, ne tuba basanyufu okulaba nti omwonoonyi yeenenyezza.