Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 26

OLUYIMBA 8 Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe

Yakuwa Mufuule Olwazi Lwo

Yakuwa Mufuule Olwazi Lwo

“Tewali lwazi lulinga Katonda waffe.”1 SAM. 2:2.

EKIGENDERERWA

Laba engeri ezifuula Yakuwa okuba ng’olwazi n’engeri gye tuyinza okumukoppamu.

1. Nga bwe kiragibwa mu Zabbuli 18:​46, Dawudi yageraageranya Yakuwa ku ki?

 OLUUSI tufuna ebizibu bye tuba tutasuubira era ng’ebimu ku byo biyinza okukyusiza ddala obulamu bwaffe. Kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa w’ali okutuyamba! Mu kitundu ekyayita, twalaba nti Yakuwa ye Katonda omulamu era nti bulijjo mwetegefu okutuyamba. Bwe tulaba engeri gy’atuyambamu, tweyongera okuba abakakafu nti “Yakuwa mulamu!” (Soma Zabbuli 18:46.) Kyokka oluvannyuma lwa Dawudi okugamba nti “Yakuwa mulamu,” yagamba nti lwe ‘Lwazi lwe.’ Lwaki yageraageranya Yakuwa, Katonda omulamu, ku lwazi olutalina bulamu?

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ensonga lwaki Yakuwa ageraageranyizibwa ku lwazi, era tugenda kulaba ekyo kye kituyigiriza ku Yakuwa. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okumutwala ng’Olwazi lwaffe. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza kukoppa engeri ezifuula Yakuwa okuba ng’olwazi.

ENSONGA LWAKI YAKUWA AYITIBWA OLWAZI

3. Ekigambo “olwazi” kitera kukozesebwa kitya mu Bayibuli? (Laba ku ddiba.)

3 Bayibuli egeraageranya Yakuwa ku ‘lwazi,’ okutuyamba okutegeera ezimu ku ngeri ze. Emirundi mingi abaweereza ba Yakuwa baageraageranya Yakuwa ku lwazi nga bamutendereza olw’engeri ze. Mu Bayibuli Yakuwa asooka okwogerwako ‘ng’Olwazi’ mu Ekyamateeka 32:4. Ate Kaana bwe yali asaba, yagamba nti: “Tewali lwazi lulinga Katonda waffe.” (1 Sam. 2:2) Kaabakuuku yayita Yakuwa “Olwazi” lwe. (Kaab. 1:12) Omuwandiisi wa Zabbuli 73 yagamba nti: “Katonda lwe lwazi lw’omutima gwange.” (Zab. 73:26) Ate era ne Yakuwa kennyini yeeyita olwazi. (Is. 44:8) Tugenda kulabayo engeri za Yakuwa ssatu ezimufuula okuba ng’olwazi, era n’engeri gye tuyinza okumufuula “Olwazi lwaffe.”Ma. 32:31.

Abaweereza ba Yakuwa bamutwala ng’Olwazi lwabwe (Laba akatundu 3)


4. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ekiddukiro kyaffe? (Zabbuli 94:22)

4 Yakuwa kiddukiro kyaffe. Ng’empuku eyasimibwa mu lwazi bw’ewa obukuumi omuntu agyewogomamu ng’enkuba ey’amaanyi etonnya, Yakuwa atukuuma nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. (Soma Zabbuli 94:22.) Atuyamba okusigala nga tulina enkolagana ennungi naye, era atukakasa nti tewali kintu kyonna kisobola kutukolako kabi ka lubeerera. Ate era atusuubiza nti mu biseera eby’omu maaso ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okweraliikirira oba okubonaabona.—Ezk. 34:​25, 26.

5. Yakuwa ayinza atya okufuuka Ekiddukiro kyaffe?

5 Engeri emu gye tuyinza okufuula Yakuwa Ekiddukiro kyaffe kwe kumusaba. Bwe tumusaba, atuwa ‘emirembe gye’ ne gikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe. (Baf. 4:​6, 7) Lowooza ku w’oluganda Artem eyasibibwa mu kkomera olw’okukkiriza kwe. Bwe yali mu kkomera, oyo eyali anoonyereza ku musango gwe yali avunaanibwa, emirundi mingi yamuyitanga n’amusoya ebibuuzo, n’amutulugunya, era n’amutiisatiisa. Artem agamba nti: “Buli lwe yampitanga nneeraliikiriranga. . . . Nnasabanga Yakuwa annyambe. Nnamusaba ampe emirembe mu mutima n’amagezi. Wadde nga nnali nnyigirizibwa nnyo, nnasigala ndi mukkakkamu. . . . Olw’okuba Yakuwa yannyamba, nnalinga eyeekwese emabega w’olwazi.”

6. Lwaki bulijjo tusobola okwesiga Yakuwa? (Isaaya 26:​3, 4)

6 Yakuwa yeesigika. Okufaananako olwazi olutasobola kuva mu kifo. Yakuwa bulijjo waali okutuyamba. Tusobola okumwesiga kubanga lwe “Lwazi olw’emirembe n’emirembe.” (Soma Isaaya 26:​3, 4.) Bulijjo waali okutuukiriza ebyo by’atusuubiza, okuwulira essaala zaffe, n’okutuwa obuyambi bwe tuba twetaaga. Era tusobola okumwesiga kubanga mwesigwa eri abo abamuweereza. (2 Sam. 22:26) Tasobola kwerabira ebyo bye tumukolera, era ajja kutuwa empeera.—Beb. 6:10; 11:6.

7. Kiki ekibaawo bwe twesiga Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

7 Yakuwa tumufuula Olwazi lwaffe nga tumwesigira ddala. Tuli bakakafu nti bwe tumugondera ne mu mbeera enzibu, ffe tuganyulwa. (Is. 48:​17, 18) Bwe tulaba engeri gy’atuyambamu, tweyongera okumwesiga. Tweyongera okuba abakakafu nti ye yekka asobola okutuyamba okugumira ebizibu ka bibe bya maanyi bitya. Emirundi mingi bwe tufuna ebizibu nga tewali muntu yenna asobola kutuyamba, lwe tukiraba nti Yakuwa yeesigika. Ow’oluganda Vladimir yagamba nti: “Ekiseera kye nnamala nga nsibiddwa mu kkomera kye kiseera kye nkyasinze okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nnayiga okumwesiga ennyo kubanga nnali nzekka era nga sirina kye nsobola kukolawo ku mbeera gye nnalimu.”

Yakuwa tumufuula Olwazi lwaffe bwe tumwesigira ddala (Laba akatundu 7)


8. (a) Lwaki tugamba nti Yakuwa takyukakyuka? (b) Yakuwa okuba Olwazi lwaffe kituganyula kitya? (Zabbuli 62:​6, 7)

8 Yakuwa takyukakyuka. Okufaananako olwazi olunene, Yakuwa munywevu era takyukakyuka. Engeri ze n’ekigendererwa kye tebikyuka. (Mal. 3:6) Adamu ne Kaawa bwe baamujeemera, teyakyusa kigendererwa ky’alina eri abantu. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, Yakuwa “tayinza kukola kintu kikontana n’ekyo ky’ali.” (2 Tim. 2:13) Kino kitegeeza nti ka kibe ki ekibaawo oba ka kibe ki abalala kye bakola, Yakuwa takyusa ngeri ze, kigendererwa kye, n’emitindo gye. Olw’okuba Katonda waffe takyuka, tuli bakakafu nti ajja kutulokola era nti ajja kutuyamba nga twolekagana n’ebizibu.—Soma Zabbuli 62:​6, 7.

9. Kiki ky’oyigidde ku Tatyana?

9 Yakuwa tumufuula Olwazi lwaffe nga tufumiitiriza ku ngeri ze ne ku kigendererwa kye. Ekyo kituyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tuli beesigwa nga twolekagana n’ebizibu. (Zab. 16:8) Ekyo bwe kityo bwe kyali eri mwannyinaffe Tatyana eyasibirwa awaka we olw’okukkiriza kwe. Yagamba nti: “Nneesanga ndi nzekka. Mu kusooka embeera teyambeerera nnyangu. Emirundi mingi nnawuliranga nga mpeddemu amaanyi.” Kyokka bwe yafumiitiriza ku Yakuwa ne ku kigendererwa kye era n’akiraba nti kikulu nnyo okugumiikiriza, yasobola okukkakkana era n’akuuma obwesigwa bwe. Agamba nti: “Okutegeera ensonga lwaki ebyo byali bintuuseeko, kyannyamba okukijjukira nti embeera eyo nnali ngiyitamu olw’okuba nnali mpeereza Yakuwa. Ekyo kyannyamba okulekera awo okussa ebirowoozo ku mbeera yange.”

10. Yakuwa ayinza atya okuba Olwazi lwaffe leero?

10 Mu biseera ebijja, tugenda kwolekagana n’ebizibu ebijja okutwetaagisa okwesiga ennyo Yakuwa okusinga bwe kyali kibadde. Kino kye kiseera okweyongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga okusobola okugumiikiriza n’okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Kiki ekiyinza okutuyamba? Soma ku baweereza ba Yakuwa aboogerwako mu Bayibuli n’ab’omu kiseera kyaffe. Weetegereze engeri Yakuwa gy’abaddemu ng’olwazi ng’abayamba. Fumiitiriza ku ebyo by’osoma ku bantu abo. Ekyo kijja kukuyamba okufuula Yakuwa Olwazi lwo.

KOPPA ENGERI ZA YAKUWA

11. Lwaki tusaanidde okukoppa engeri za Yakuwa ezimufuula okuba ng’olwazi? (Laba n’akasanduuko “ Ekiruubirirwa ky’Ab’Oluganda Abato.”)

11 Tulabye engeri za Yakuwa ezimufuula okuba ng’olwazi. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukoppa engeri ezo. Gye tukoma okuzikoppa, gye tukoma okunyweza okukkiriza kwa baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, Yesu yatuuma Simooni erinnya Keefa (erivvuunulwa nti, “Peetero”), ekitegeeza “Olwazi.” (Yok. 1:42) Kino kiraga nti Peetero yandibadde abudaabuda bakkiriza banne mu kibiina era yandibadde anyweza okukkiriza kwabwe. Abakadde mu kibiina bageraageranyizibwa ku ‘kisiikirize ky’olwazi olunene.’ Ekyo kiraga engeri gye bakuumamu bakkiriza bannaabwe mu kibiina. (Is. 32:2) Kya lwatu nti ekibiina kiganyulwa nnyo singa bonna abakirimu bakoppa engeri za Yakuwa ezimufuula okuba ng’olwazi.—Bef. 5:1.

12. Tuyinza tutya okuba ng’ekiddukiro eri bakkiriza bannaffe?

12 Beera kiddukiro. Oluusi tuyinza okudduukirira bakkiriza bannaffe ababa bakoseddwa obutyabaga, obutabanguko, oba entalo. Ng’embeera mu ‘nnaku zino ez’enkomerero’ egenda yeeyongera obuzibu, kijja kutwetaagisa nnyo okuyambagana. (2 Tim. 3:1) Ate era tusobola okubudaabuda n’okulaga bakkiriza bannaffe okwagala. Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu kwe kunyumyako nabo nga bazze mu nkuŋŋaana. Twagala buli omu kibiina awulire nti ayagalibwa. Tuli mu nsi etaliimu kwagala era ejjudde ebintu ebyeraliikiriza. N’olwekyo bakkiriza bannaffe bwe bajja mu nkuŋŋaana, twagala okukola kyonna kye tusobola okubalaga okwagala, okubazzaamu amaanyi, n’okubaleetera okuwulira nti balina obukuumi.

13. Abakadde bayinza batya okuba ng’ekiddukiro eri abalala? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Abakadde bayinza okuba ng’ekiddukiro eri bakkiriza bannaabwe aboolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Akatyabaga bwe kagwawo oba bwe wabaawo abeetaaga obujjanjabi obw’amangu, abakadde basitukiramu okubayamba. Ate era babayamba ne mu by’omwoyo. Ab’oluganda ne bannyinaffe banguyirwa okutuukirira omukadde ow’ekisa, alumirirwa abalala, era omwetegefu okubawuliriza. Engeri ezo zireetera abalala okuwulira nti bafiibwako, era kibanguyira okukolera ku bulagirizi obwesigamiziddwa ku Bayibuli omukadde bw’ayinza okubawa.—1 Bas. 2:​7, 8, 11.

Abakadde baba ng’ekiddukiro eri ab’oluganda mu kibiina ababa boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi (Laba akatundu 13) a


14. Tuyinza tutya okukiraga nti twesigika?

14 Beera muntu eyeesigika. Twagala abalala batwesige nti tujja kubayamba nnaddala nga boolekagana n’ebizibu. (Nge. 17:17) Kiki kye tusaanidde okukola okubeera abantu abeesigika? Tusaanidde okukoppa Yakuwa buli lunaku, gamba nga tutuukiriza bye tusuubiza era nga tufuba okukuuma ebiseera. (Mat. 5:37) Ate era bwe tukimanya nti waliwo eyeetaaga obuyambi, tusaanidde okubaako kye tukolawo kumuyamba. Era tusaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutukwasibwa nga tugoberera obulagirizi obuba butuweereddwa.

15. Ekibiina kiganyulwa kitya abakadde bwe baba nga beesigika?

15 Ekibiina kiganyulwa kitya abakadde bwe baba nga beesigika? Ab’oluganda ne bannyinaffe bwe bakimanya nti basobola okutuukirira abakadde wonna we babeetaagira, kibayamba obuteeraliikirira nnyo. Ate era bawulira nti baagalibwa bwe bakimanya nti abakadde beetegefu okubayamba. Era bakadde bwe babuulirira bakkiriza bannaabwe nga bakozesa Bayibuli n’ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa mu kifo ky’okwesigama ku ndowooza yaabwe, bakkiriza bannaabwe babeesiga. Ab’oluganda ne bannyinaffe era beesiga omukadde akuuma ebyama era akolera ku ebyo by’ayogera.

16. Bwe tuba abantu abanywerera ku kituufu kituganyula kitya, era tuganyula tutya abalala?

16 Nywereranga ku kituufu. Bakkiriza bannaffe baganyulwa nnyo bwe tuba nga tunywerera ku kituufu era nga bye tusalawo tubyesigamya ku misingi gya Bayibuli. Bwe twesomesa Ekigambo kya Katonda ne tunyweza okukkiriza kwaffe, tuba beesigwa eri Yakuwa era tunywerera ku mitindo gye. Tetuba bantu abatasalawo oba abatwalirizibwa amangu enjigiriza ez’obulimba n’endowooza y’ensi. (Bef. 4:14; Yak. 1:​6-8) Okukkiriza kwe tulina mu Yakuwa ne mu bisuubizo bye kutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu nga tufunye amawulire amabi. (Zab. 112:​7, 8) Ate era tuba tusobola okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu.—1 Bas. 3:​2, 3.

17. Kiki ekiyamba abakadde okunyweza ekibiina?

17 Abakadde basaanidde okuba n’empisa ezisaana, n’endowooza ennuŋŋamu, ng’obulamu bwabwe babutambuliza ku nteekateeka ennungi, era nga si bakakanyavu. Bayamba ab’oluganda mu kibiina okusigala nga bakkakkamu era banyweza okukkiriza kwabwe bwe ‘banywerera ku kigambo ekyesigwa.’ (Tit. 1:9; 1 Tim. 3:​1-3) Abakadde bwe bassaawo ekyokulabirako ekirungi era ne bakyalirangako bakkiriza bannaabwe okubazzaamu amaanyi, bayamba bakkiriza bannaabwe okubangawo mu nkuŋŋaana obutayosa, okubuuliranga obutayosa, n’okwesomesa. Ab’oluganda ne bannyinaffe bwe baba nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi, abakadde babayamba okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye.

18. Lwaki twagala okutendereza Yakuwa n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye? (Laba n’akasanduuko “ Engeri y’Okusembereramu Yakuwa.”)

18 Oluvannyuma lw’okwekenneenya engeri za Yakuwa ze tulabye, naffe tusobola okwogera nga Kabaka Dawudi nti: “Yakuwa Olwazi lwange, atenderezebwe.” (Zab. 144:1) Bulijjo tusobola okwesiga Yakuwa. Obulamu bwaffe bwonna, ka tube nga tukaddiye, tusobola okugamba nti: Yakuwa “Lwe Lwazi lwange,” nga tuli bakakafu nti bulijjo ajja kutuyamba okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye.—Zab. 92:​14, 15.

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

a EKIFAANANYI: Mwannyinaffe atuukiridde abakadde ku Kizimbe ky’Obwakabaka.