Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 24

OLUYIMBA 24 Mujje ku Lusozi lwa Yakuwa

Beera Mugenyi wa Yakuwa Emirembe Gyonna!

Beera Mugenyi wa Yakuwa Emirembe Gyonna!

“Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?”ZAB. 15:1.

EKIGENDERERWA

Okumanya kye tusaanidde okukola okusobola okubeera mikwano gya Yakuwa, n’okumanya engeri gy’ayagala tuyiseemu mikwano gye.

1. Lwaki tusobola okuganyulwa mu kwekenneenya ebyo ebiri mu Zabbuli 15:​1-5?

 MU KITUNDU ekyayita twalaba nti abaweereza ba Yakuwa abeewaayo gy’ali, basobola okuba abagenyi mu weema ye ey’akabonero nga bafuba okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Naye tusobola tutya okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa? Zabbuli 15 eyogera ku nsonga eyo. (Soma Zabbuli 15:​1-5.) Zabbuli eyo etulaga bye tusaanidde okukola okusobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.

2. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Dawudi okwogera ku weema ya Yakuwa?

2 Zabbuli 15 etandika bw’eti: “Ai Yakuwa, ani ayinza okukyala mu weema yo?Ani ayinza okubeera ku lusozi lwo olutukuvu?” (Zab. 15:1) Dawudi omuwandiisi wa Zabbuli eyo bwe yayogera ku “weema,” ayinza okuba nga yali alowooza ku weema entukuvu eyali mu Gibiyoni okumala ekiseera. Dawudi era yayogera ku ‘lusozi lwa Katonda olutukuvu,’ oboolyawo ng’ategeeza Olusozi Sayuuni olwali mu Yerusaalemi. Ku lusozi olwo olwali lwesudde mayiro eziwerako ebukiikaddyo wa Gibiyoni, Dawudi yasimbayo weema eyali ey’okubeeramu essanduuko y’endagaano okutuusa yeekaalu lwe yandizimbiddwa.—2 Sam. 6:17.

3. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebyo ebiri mu Zabbuli 15? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Kya lwatu, Abayisirayiri abasinga obungi baali tebakkirizibwa kuweereza ku weema entukuvu, era batono nnyo abaali bakkirizibwa okuyingira mu weema eyo eyali ebeeramu essanduuko y’endagaano. Naye abaweereza ba Yakuwa bonna baali basobola okubeera abagenyi mu weema ye ey’akabonero nga bafuuka mikwano gye era ne basigala nga mikwano gye. Ffenna ekyo kye twagala. Zabbuli 15, eraga ebintu bye tulina okukola okusigala nga tuli mikwano gya Yakuwa.

Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Dawudi baali basobola okukuba akafaananyi ku kye kitegeeza okuba abagenyi mu weema ya Yakuwa (Laba akatundu 3)


TAMBULIRA MU BUGOLOKOFU ERA KOLANGA EBITUUFU

4. Tumanya tutya nti okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa tetulina kukoma ku kubatizibwa? (Isaaya 48:1)

4 Zabbuli 15:​2, walaga nti mukwano gwa Yakuwa “y’oyo atambulira mu bugolokofu, kola ebituufu.” Ebyo tulina okubikolanga bulijjo. Naye ddala tusobola ‘okutambulira mu bugolokofu’? Yee. Kya lwatu nti tewali muntu atuukiridde, naye Yakuwa asobola okukitwala nti ‘tutambulira mu bugolokofu’ singa tukola kyonna kye tusobola okumugondera. Bwe twewaayo eri Yakuwa era ne tubatizibwa, tuba tutandika butandisi okutambula ne Katonda. Ng’ekyokulabirako, omuntu okubeera obubeezi Omuyisirayiri kyali tekimufuula mugenyi mu weema ya Yakuwa. Abamu baakoowoolanga Yakuwa naye nga tebamukoowoola “mu mazima na butuukirivu.” (Soma Isaaya 48:1.) Abayisirayiri okulaga nti ddala baali baagala okubeera abagenyi mu weema ya Yakuwa, baalina okuyiga by’ayagala era ne babikolerako. Mu ngeri y’emu leero, okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda, tetulina kukoma ku kubatizibwa n’okubangawo mu nkuŋŋaana. Tulina okweyongera ‘okukola ebituufu.’ Ekyo kizingiramu ki?

5. Kiki ekizingirwa mu kugondera Yakuwa mu bintu byonna?

5 Mu maaso ga Yakuwa, ‘okutambulira mu bugolokofu n’okukola ebituufu’ kisingawo ku kubangawo obubeezi mu nkuŋŋaana. (1 Sam. 15:22) Tulina okufuba okugondera Yakuwa mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe, ka wabe nga tewali atulaba. (Nge. 3:6; Mub. 12:​13, 14) Kikulu nnyo okufuba okugondera Yakuwa ne mu bintu ebirabika ng’ebitono. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga nti tumwagala era ekyo naye kimuleetera okutwagala.—Yok. 14:23; 1 Yok. 5:3.

6. Okusinziira ku Abebbulaniya 6:​10-12, kintu ki ekikulu ennyo okusinga ebintu ebirungi bye twakolanga mu biseera eby’emabega?

6 Yakuwa asiima nnyo ebintu bye twamukolera mu biseera eby’emabega. Naye okuba nti twakola ebintu ebirungi mu biseera eby’emabega, ku bwakyo tekitegeeza nti tusaana okubeera mu weema ya Yakuwa. Kino kiragibwa mu Abebbulaniya 6:​10-12. (Soma.) Kyo kituufu nti Yakuwa teyeerabira bintu ebirungi bye twakola mu biseera eby’emabega, naye ayagala tumuweereze n’omutima gwaffe gwonna “okutuukira ddala ku nkomerero.” Tujja kubeera mikwano gye emirembe gyonna “singa tetukoowa.”—Bag. 6:9.

YOGERANGA AMAZIMA MU MUTIMA GWO

7. Kiki ekizingirwa mu kwogera amazima mu mitima gyaffe?

7 Omuntu ayagala okukyazibwa mu weema ya Yakuwa alina okuba ‘ng’ayogera amazima mu mutima gwe.’ (Zab. 15:2) Ekyo tekikoma ku kwewala kulimba. Yakuwa ayagala tube beesigwa mu byonna bye twogera ne bye tukola. (Beb. 13:18) Ekyo kikulu nnyo kubanga “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.”—Nge. 3:32.

8. Kiki kye tusaanidde okwewala?

8 Abo ‘aboogera amazima mu mitima gyabwe’ tebeefuula nti bagondera Yakuwa nga waliwo abantu, ate ne bamenya amateeka ge nga tewali abalaba. (Is. 29:13) Beewala obukuusa. Omuntu omukuusa ayinza okutandika okulowooza nti agamu ku mateeka ga Yakuwa tegakola. (Yak. 1:​5-8) Ayinza okujeemera Yakuwa mu bintu ye by’alabanga ebitali bikulu. Era bwe watabaawo kibi kimutuukako olw’obujeemu obwo, ayinza okutandika okukola ebintu ebibi n’okusingawo. Wadde ng’aba alowooza nti aweereza Yakuwa, Yakuwa aba tasiima buweereza bwe. (Mub. 8:11) Naye ffe twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.

9. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo Yesu lwe yasooka okusisinkana Nassanayiri? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Kikulu nnyo okuba nga twogera amazima mu mutima gwaffe. Ekyo tukirabira ku ekyo ekyaliwo Firipo bwe yatwala mukwano gwe Nassanayiri eri Yesu. Wadde nga Yesu yali tasisinkanangako Nassanayiri, yagamba nti: “Laba Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.” (Yok. 1:47) Kya lwatu Yesu yali akiraba nti n’abayigirizwa abalala baali beesigwa; naye yakiraba nti Nassanayiri yali mwesigwa nnyo. Nassanayiri naye yali muntu atatuukiridde nga ffe. Kyokka teyaliimu bunnanfuusi bwonna, wabula yali mwesigwa mu bintu byonna. Yesu yasiima nnyo Nassanayiri olw’okubeera omwesigwa. Kya lwatu nti ffenna twandyagadde Yesu okututwala bw’atyo!

Firipo yatwala Nassanayiri, omusajja ataalimu bukuusa bwonna, eri Yesu. Naffe Yesu asobola okututwala nga bwe yali atwala Nassanayiri? (Laba akatundu 9)


10. Lwaki tusaanidde okwegendereza ebyo bye twogera? (Yakobo 1:26)

10 Ebisinga obungi ku ebyo ebyogerwako mu Zabbuli 15 bikwata ku ngeri gye tuyisaamu abalala. Zabbuli 15:3 walaga nti oyo akyala mu weema ya Yakuwa “takozesa lulimi lwe kuwaayiriza balala, takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye.” Okukozesa obubi ekirabo eky’okwogera mu ngeri ng’eyo kisobola okutuviiramu okulumya abalala n’okuba nga tetukyasaana kubeera bagenyi mu weema ya Yakuwa.—Soma Yakobo 1:26.

11. Okuwaayiriza kye ki, era kiki ekituuka ku abo abawaayiriza abalala naye ne bateenenya?

11 Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera ku kuwaayiriza. Okuwaayiriza kye ki? Okutwalira awamu, okuwaayiriza kwe kwogera ebigambo eby’obulimba ku muntu ebisobola okwonoona erinnya lye. Abo abawaayiriza abalala ne bateenenya, bagobebwa mu kibiina Ekikristaayo.—Yer. 17:10.

12-13. Ezimu ku mbeera mwe tuyinza okubaako omusango ogw’okwogera obubi ku balala ze ziruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Zabbuli 15:3 era lulaga nti abo abakyala mu weema ya Yakuwa tebakola bannaabwe bintu bibi era tebaboogerako bubi. Ekyo kizingiramu ki?

13 Mu butali bugenderevu tuyinza okwogera obubi ku balala nga tulaalaasa ebintu ebitali birungi ebibakwatako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mbeera zino: (1) mwannyinaffe alekera awo okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna, (2) ow’oluganda ne mukyala we balekera awo okuweereza ku Beseri, oba (3) ow’oluganda alekera awo okuweereza ng’omukadde oba omuweereza mu kibiina. Tekiba kituufu kutandika kuteebereza nsonga lwaki baafunye enkyukakyuka ezo ne tutandika okubuulira abalala ekyo kye tulowooza. Wayinza okubaawo ensonga eziwerako ezaviiriddeko enkyukakyuka ezo era ng’ensonga ezo tetuzimanyi. Omugenyi mu weema ya Yakuwa “takola muntu munne kintu kibi, era tayogera bubi ku mikwano gye.”

Kyangu okwogera ebintu ebitali birungi ku balala ne twesanga nga tubawaayirizza (Laba akatundu 12-13)


SSA EKITIIBWA MU ABO ABATYA YAKUWA

14. Abo Yakuwa b’asembeza mu weema ye, bamanya batya nti ‘omuntu mubi’ era ne bamwewala?

14 Zabbuli 15:4 lulaga nti mukwano gwa Yakuwa “yeewala omuntu yenna omubi.” Ekyo tuyinza kukikola tutya? Olw’okuba tetutuukiridde, tetusobola kumanyira ddala obanga omuntu mubi oba mulungi. Lwaki? Tuyinza okuwulira nti twagala abantu abamu olw’engeri zaabwe, ate ne tuwulira ng’abalala tetubaagala olw’okuba bakola ebintu ebitunyiiza. N’olwekyo, abantu be tusaanidde okwewala be bokka Yakuwa b’atwala nti ‘babi.’ (1 Kol. 5:11) Abantu abo bazingiramu abo abakola ebintu ebibi ne bateenenya, abatassa kitiibwa mu nzikiriza zaffe, oba abagezaako okutunafuya mu by’omwoyo.—Nge. 13:20.

15. Engeri emu gye tulagamu nti tussa ekitiibwa mu abo “abatya Yakuwa” y’eruwa?

15 Mu Zabbuli 15:4 tukubirizibwa okussa ekitiibwa mu abo “abatya Yakuwa.” N’olwekyo, tulina okunoonya engeri gye tusaanidde okulaga ekisa mikwano gya Yakuwa n’okubassaamu ekitiibwa. (Bar. 12:10) Ekyo tuyinza kukikola kitya? Emu ku ngeri gye tuyinza okukikolamu eyogerwako mu Zabbuli 15:4 awalaga nti oyo akyala mu weema ya Yakuwa “atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa.” Ng’ekyokulabirako, abo Yakuwa b’akyaza mu weema ye abasuubira okutuukiriza obweyamo bwe baakola nga bafumbiriganwa. Ate era asanyuka nnyo abazadde bwe bafuba okutuukiriza ebyo bye basuubiza abaana baabwe. Bwe tutatuukiriza ebyo bye tuba tusuubizza kirumya abalala. (Mat. 5:37) Okwagala kwe tulina eri Katonda n’eri bantu bannaffe kutuleetera okukola kyonna kye tusobola okutuukiriza bye tusuubiza.

16. Engeri endala gye tulagamu nti tussa ekitiibwa mu mikwano gya Yakuwa y’eruwa?

16 Engeri endala gye tulagamu nti tussa ekitiibwa mu mikwano gya Yakuwa kwe kubasembeza n’okubagabira ku bye tulina. (Bar. 12:13) Bwe tubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe mu biseera byaffe eby’eddembe, kyongera okunyweza omukwano gwe tulina nabo era kinyweza n’enkolagana gye tulina ne Yakuwa. Ate era bwe tusembeza abalala tuba tukoppa Yakuwa.

WEEWALE OKWAGALA ENNYO SSENTE

17. Lwaki ssente zoogerwako mu Zabbuli 15?

17 Zabbuli 15 era eraga nti omugenyi mu weema ya Yakuwa “bw’awola ssente tasaba magoba, era takkiriza kuweebwa nguzi okulumiriza omuntu atalina musango.” (Zab. 15:5) Lwaki ssente zoogerwako mu zabbuli eno? Kubanga omuntu bw’ayagala ennyo ssente kisobola okwonoona enkolagana gy’alina n’abalala era ne gy’alina ne Yakuwa. (1 Tim. 6:10) Mu biseera eby’edda, abamu baanyigirizanga baganda baabwe abaali abaavu nga babasaba amagoba ku ssente ze baabanga babawoze. Ate era abamu ku balamuzi baalyanga enguzi ne basingisa omusango abantu abataabanga na musango. Ebikolwa ng’ebyo Yakuwa abikyayira ddala.—Ezk. 22:12.

18. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza ebisobola okutuyamba okumanya endowooza gye tulina ku ssente? (Abebbulaniya 13:5)

18 Kikulu okwekebera tumanye endowooza gye tulina ku ssente. Weebuuze: ‘Ntera okulowooza ku ssente ne ku ebyo bye zisobola okugula? Bwe nneewola ssente ndwawo okusasula nga ŋŋamba nti oyo eyazimpola tazetaaga? Okubeera ne ssente kindeetera okulowooza nti ndi wa kitalo kyokka nga nkaluubirirwa okuyamba abalala? Bakkiriza bannange mbatwala nti baagala nnyo ebintu olw’okuba balina nnyingi? Abagagga be nkolako emikwano ate abaavu ne mbeewala?’ Yakuwa yatuwa enkizo ey’ekitalo ey’okubeera abagenyi mu weema ye. Tusobola okukiraga nti enkizo eyo tugitwala nga ya muwendo nnyo nga twewala okwagala ennyo ssente. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa tasobola kutwabulira!—Soma Abebbulaniya 13:5.

YAKUWA AYAGALA NNYO MIKWANO GYE

19. Lwaki Yakuwa atulagira okukola ebintu ebyogerwako mu Zabbuli 15?

19 Zabbuli 15 ekomekkereza n’ebigambo bino: “Oyo akola ebyo taasagaasaganenga.” (Zab. 15:5) Olunyiriri olwo lulaga ensonga lwaki Yakuwa ayagala tukole ebintu ebyogerwako mu zabbuli eyo. Yakuwa ayagala tubeere basanyufu. N’olwekyo, atuwa obulagirizi obunaatusobozesa okufuna emikisa gye n’obukuumi.—Is. 48:17.

20. Biki abakyazibwa mu weema ya Yakuwa bye beesunga?

20 Abo Yakuwa b’akyaza mu weema ye bajja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Abaafukibwako amafuta abasigala nga beesigwa bajja kuweebwa “ebifo bingi” Yesu bye yabateekerateekera mu ggulu. (Yok. 14:2) Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna beesunga okulaba okutuukirizibwa kw’ebyo ebiri mu Okubikkulirwa 21:3. Mazima ddala, nkizo ya kitalo nnyo okuba nti Yakuwa yatuyita okuba mikwano gye n’okuba abagenyi mu weema ye emirembe gyonna!

OLUYIMBA 39 Weekolere Erinnya Eddungi mu Maaso ga Katonda