Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ddala Katonda gy’Ali?

Ddala Katonda gy’Ali?

Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli ewa obukakafu obw’enkukunala obulaga nti Katonda gyali. Etukubiriza okuzimba okukkiriza mu Katonda, nga tetumala gakkiririza mu ebyo amadiini bye gayigiriza, wabula nga tukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza’ era ‘n’okutegeera.’ (Abaruumi 12:1; 1 Yokaana 5:20) Lowooza ku bukakafu buno Bayibuli bw’ewa:

  •   Ensi n’obwengula ebitegekeddwa obulungi era n’ebintu ebiramu ebiri ku nsi, biraga nti waliyo Omutonzi. Bayibuli egamba nti: “Kya lwatu, buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda.” (Abebbulaniya 3:4) Abantu bangi abayivu bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. a

  •   Ng’abantu, tulina obwetaavu obw’okumanya ensonga lwaki weetuli, era n’okumanya ekigendererwa ky’obulamu. Era obwetaavu obwo busigala weebuli ne bwe tuba nga tufunye ebyetaago byaffe eby’omubiri. Ekyo Bayibuli ky’eyita ‘obwetaavu obw’eby’omwoyo,’ era nga kizingiramu okwagala okumanya Katonda n’okumusinza. (Matayo 5:3; Okubikkulirwa 4:11) Eky’okuba nti tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo kiraga nti Katonda gyali, alina okwagala, era ayagala tukole ku bwetaavu obwo.​—Matayo 4:4.

  •   Bayibuli erimu obunnabbi obwawandiikibwa emyaka mingi emabega era ne butuukirira. Engeri obunnabbi obwo gye bwatuukirizibwamu eraga nti waliwo amanyi ebintu abantu bye batayinza kumanya.​—2 Peetero 1:21.

  •   Abawandiisi ba Bayibuli baawandiika ku bintu ebikwatagana ne ssaayansi, abantu abaaliwo mu kiseera kyabwe bye baali batamanyi. Ng’ekyokulabirako, mu biseera eby’edda abantu bangi baali balowooza nti ensi ewaniriddwa ekisolo, gamba ng’enjovu, embizzi ey’omu nsiko, oba ente ennume. Okwawukana ku ekyo, Bayibuli egamba nti Katonda “awanika ensi awatali kigiwanirira.” (Yobu 26:7) Ate era Bayibuli egamba nti ensi ‘nneetooloovu.’ (Isaaya 40:22) Abantu bangi bakkiriza nti Katonda ye yasobozesa abawandiisi ba Bayibuli okutegeera ebintu ng’ebyo.

  •   Bayibuli eddamu ebibuuzo ebizibu, era singa omuntu tafuna bya kuddamu mu bibuuzo ebyo, ayinza okugamba nti Katonda taliiyo. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okwebuuza nti: Bwe kiba nti Katonda alina okwagala era alina amaanyi mangi, lwaki waliwo okubonaabona kungi mu nsi? Lwaki amadiini galeetera abantu okukola ebintu ebibi mu kifo ky’okukola ebirungi?​—Tito 1:16.

a Ng’ekyokulabirako, Allan Sandage eyali anoonyereza ku bintu ebiri mu bwengula yagamba nti: “Nkisanga nga kizibu okukikkiriza nti engeri ebintu gye bitegekeddwamu mu bwengula yabaawo mu butanwa. Walina okuba nga waliwo eyassaawo amateeka kwe bitambulira. Mbuusabuusa obanga Katonda gyali, naye nga ye ngeri yokka gye nnyinza okunnyonnyola ensonga lwaki ebintu weebiri.”