Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Ndabika Ntya?

Ndabika Ntya?

 Lwaki osaanidde okufaayo ku nnyambala yo? Kubanga engeri gye twambalamu eraga ekyo kye tuli. Engeri gy’oyambalamu, eraga abalala nti oli muntu wa ngeri ki?

 Ensobi za mirundi esatu ezikwata ku misono gy’engoye n’engeri gy’oyinza okuzeewalamu

Ensobi #1: Okugula olugoye olw’okuba balukubidde obulango.

 Omuwala ayitibwa Theresa agamba nti: “Oluusi nsikirizibwa omusono gw’olugoye olw’okuba baba balukubidde obulango bungi. Bw’olaba abantu nga bambadde omusono gwe gumu ogw’olugoye, naawe owulira ng’oyagala okulwambala.”

 Abawala si be bokka abasikirizibwa obulango. Ekitabo ekiyitibwa The Everything Guide to Raising Adolescent Boys kigamba nti: “Abalenzi nabo basikirizibwa obulango. Ne bwe baba nga bakyali bato, abasuubuzi bagezaako okukuba obulango bw’engoye okusobola okubasikiriza.”

 Ekisobola okukuyamba: Bayibuli egamba nti: “Atalina bumanyirivu akkiriza buli kye bamugamba, naye omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.” (Engero 14:15) Ng’ogoberera amagezi agali mu kyawandiikibwa ekyo, gezaako okufumiitiriza ku ebyo by’olaba mu bulango. Ng’ekyokulabirako, bw’olaba ng’akalango k’olugoye olumu kalaga nti bw’ogula olugoye olwo ojja kuba ng’onyuma nnyo era obe ng’osikiriza abalala, weebuuza:

  •  ‘Ani afunamu bwe ngula olugoye olwo?’

  •  ‘Abanandaba nga ndwambadde banantwala batya?’

  •  ‘Eyo ye ngeri gye njagala abalala bantwalemu?’

 Ky’osobola okukola: Okumala wiiki emu, weetegereze emisono gy’engoye ze balanga era weebuuze ebibuuzo bino: Mpisa za ngeri ki ze batumbula? Bagezaako okukuleetera okuwulira nti oteekwa okwambala emisono egyo? Omuwala ayitibwa Karen agamba nti, “Waliwo okupikirizibwa kwa maanyi ku kulabika obulungi, era n’okwambala engoye eziraga engeri omubiri gwo gye gwakulamu. Abasuubuzi bakimanyi nti abavubuka bafuna okupikirizibwa okwo, era bafuba nnyo okubasikiriza.”

Ensobi #2: Okwagala okufaanana ng’abantu abalala.

 Omuvubuka ayitibwa Manuel agamba nti, “Omusono ogumu ogw’olugoye bwe guba nga gwe guli ku mulembe, buli omu aba ayagala okwambala olugoye olwo. Bw’oba tolwambadde, abalala balowooza nti toli ku mulembe.” Omuwala ayitibwa Anna akkiriziganya naye. Agamba nti, “Ekikulu si musono gwa lugoye, wabula okwagala okulabika ng’abantu abalala.”

 Ekisobola okukuyamba: Bayibuli egamba nti: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno.” (Abaruumi 12:2) Ng’olowooza ku kyawandiikibwa ekyo, tunula mu ngoye zo weebuuze nti:

  •  ‘Kiki ekindeetera okwambala nga bwe nnyambala?’

  •  ‘Okwambala engoye eziri ku mulembe nkitwala nga kikulu kwenkana wa?’

  •  ‘Ngezaako okusanyusa abalala?’

 Ky’osobola okukola: Bw’oba olonda olugoye olw’okugula, tolulonda olw’okuba lwe luli ku mulembe, wabula londa olwo olukuweesa ekitiibwa. Ekyo kijja kulaga nti wekkiririzaamu. Gy’onookoma okwekkiririzaamu, gy’ojja okukoma okukiraba nti teweetaaga kukola bintu olw’okwagala okusanyusa obusanyusa abalala.

Ensobi #3: Okulowooza nti bw’olaga engeri omubiri gwo gye gwakulamu ojja kusikiriza abalala.

 Omuwala ayitibwa Jennifer agamba nti, “Mu butuufu, oluusi owulira nga weegomba okwambala olugoye olukukwata ennyo oba olumpi ennyo.”

 Ekisobola okukuyamba: Bayibuli egamba nti: “Okwerungiya kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu . . . naye kubeerenga kwa muntu ow’ekyama ow’omu mutima.” (1 Peetero 3:3, 4) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraga, ekisinga obukulu bwe bulungi obw’omunda mu mutima, so si obw’okungulu.

 Ky’osobola okukola: Ekintu ekisinga ‘okusikiriza’ abalala omuntu ky’asaanidde okuba nakyo bwe bwetoowaze. Kyo kituufu nti leero ekyo abantu bangi tebakitwala nga kikulu. Naye lowooza ku kino:

 Wali onyumizzaako n’omuntu ayogera ennyo, era nga buli kiseera aba ayogera bimukwatako? Omuntu oyo ayinza obutakimanya nti engeri gye yeeyisaamu abalala tebagyagala.

Okufaananako omuntu ayogera ennyo, omuntu ayambala olugoye abalala basobole okumulaba, asobola okuleetera abalala okumwewala

 Bw’oyambala engoye ezitasaana, obeera ng’omuntu oyo. Oba ng’agamba abalala nti ‘mundabe,’ era ekyo kikuleetera okulabika ng’atekkiririzaamu oba eyeerowoozaako ennyo. Era oba olabika ng’ayagala okusikiriza omuntu yenna, k’abe mukyamu.

 Bw’oba nga toyagala kusikiriza bantu bakyamu, yambala engoye ezisaana. Omuwala ayitibwa Monica agamba nti, “Okwambala mu ngeri esaana tekitegeeza nti olina kwambala nga jjajja. Wabula kitegeeza nti oyambala mu ngeri eraga nti weewa ekitiibwa, era nti owa n’abalala ekitiibwa.”