Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Okulya Ebisiyaga Kibi?

Okulya Ebisiyaga Kibi?

 “Bwe nnali nkyali mutiini, nnawuliranga nga nsikirizibwa okwegatta ne balenzi bannange. Nnali ndowooza nti bwe nnandyeyongedde okukula, ebirowoozo ebyo byandinvuddemu, naye na kati nkyabirina.”​—David, wa myaka 23.

 David Mukristaayo era ayagala okusanyusa Katonda. Naye ddala asobola okusanyusa Katonda ng’asikirizibwa okwegatta n’abantu ab’ekikula kye? Katonda alina ndowooza ki ku kulya ebisiyaga?

 Kiki Bayibuli ky’egamba?

 Endowooza abantu gye balina ku kulya ebisiyaga eyinza okwawukana okusinziira ku kitundu kye balimu. Naye Abakristaayo tebagendera ku ndowooza y’abantu abasinga obungi, era ‘tebazzibwa eno n’eri embuyaga eya buli njigiriza.’ (Abeefeso 4:14) Mu kifo ky’ekyo, endowooza gye balina ku kulya ebisiyaga oba ku kintu ekirala kyonna, yeesigamiziddwa ku Bayibuli.

 Endowooza Katonda gy’alina ku kulya ebisiyaga etegeerekeka bulungi. Ekigambo kya Katonda kigamba nti:

  •  “Teweegattanga na musajja munno nga bwe weegatta n’omukazi.”​—Eby’Abaleevi 18:22.

  •  “Baali baagala okugoberera okwegomba kw’emitima gyabwe, . . . Katonda kyeyava abaleka okukola eby’obugwenyufu bye baali baagala ennyo, kubanga abakazi baabwe baakyusa ekyo emibiri gyabwe kye gyatonderwa ne bagikozesa ekyo kye gitaatonderwa.”​—Abaruumi 1:24, 26.

  •  “Temubuzaabuzibwanga. Abagwenyufu, abasinza ebifaananyi, abenzi, abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga, abalya ebisiyaga, ababbi, ab’omululu, abatamiivu, abavumi, n’abanyazi, tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”​—1 Abakkolinso 6:9, 10.

 Emitindo gya Katonda gikwata ku bantu bonna, ka babe nga balyi ba bisiyaga oba nedda. Mu butuufu, abantu bonna abaagala okusanyusa Katonda balina okwefuga baleme kukola bintu bitamusanyusa.​—Abakkolosaayi 3:5.

 Ekyo kitegeeza ki?

 Ekyo kitegeeza nti Bayibuli etukubiriza okukyawa abalyi b’ebisiyaga?

 Nedda. Bayibuli tetukubiriza kukyawa muntu yenna, k’abe nga mulyi wa bisiyaga oba nedda. Mu kifo ky’ekyo, etukubiriza ‘okuluubirira okuba mu mirembe n’abantu bonna.’ (Abebbulaniya 12:14) N’olwekyo, kiba kikyamu okuyisa obubi abalyi b’ebisiyaga.

 Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo basaanidde okuwakanya amateeka agakkiriza abantu ab’ekikula ekimu okufumbiriganwa?

 Bayibuli eraga nti Katonda ayagala obufumbo bubeere wakati w’omusajja omu n’omukazi omu. (Matayo 19:4-6) Kyokka, amateeka g’abantu agakkiriza abantu ab’ekikula ekimu okufumbiriganwa geesigamiziddwa ku bya bufuzi so si ku Kigambo kya Katonda. Bayibuli egamba Abakristaayo obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Yokaana 18:36) N’olwekyo, gavumenti bw’eyisa etteeka erikkiriza abantu ab’ekikula ekimu okufumbiriganwa oba okulya abisiyaga, Abakristaayo tebagawagira, naye era tebagawakanya.

 Watya singa . . . ?

 Watya singa omuntu mulyi wa bisiyaga? Omuntu oyo asobola okukyuka?

 Yee. Mu butuufu, abantu abamu mu kyasa ekyasooka ekyo baakikola. Oluvannyuma lw’okugamba nti abalyi b’ebisiyaga tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda, Bayibuli egamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.”​—1 Abakkolinso 6:11.

 Ekyo kitegeeza nti abo abaalekera awo okulya ebisiyaga tebayinza kuddamu kufuna kirowoozo ekyo? Nedda. Bayibuli egamba nti: “Mwambale omuntu omuggya, oyo afuulibwa omuggya okuyitira mu kumanya okutuufu.” (Abakkolosaayi 3:10) Okukola enkyukakyuka tekukoma.

 Naye watya singa omuntu ayagala okusanyusa Katonda akyafuna ebirowoozo eby’okulya ebisiyaga?

 Okufaananako okwegomba kwonna okubi, omuntu alina okwegomba okwo asobola okusalawo obutakulowoozaako oba obutakola ekyo kye yeegomba. Ekyo ayinza kukikola atya? Bayibuli egamba nti: “Mutambulirenga mu mwoyo, era temujja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.”​—Abaggalatiya 5:16.

 Weetegereze nti Bayibuli tegamba nti omuntu tajja kufuna kwegomba kwonna kubi. Mu kifo ky’ekyo, omuntu oyo bw’aba n’enteekateeka ennungi ey’okusoma Bayibuli era n’okusaba, aba asobola okulwanyisa okwegomba okwo.

 David ayogeddwako ku ntandikwa ekyo yakiraba nti kituufu, naddala oluvannyuma lw’okwogerako ne bazadde be Abakristaayo ku kizibu kye yalina. David agamba nti: “Nnawulira nga ntikkuddwa omugugu omuzito. Mu butuufu, singa nnayogera ne bazadde bange nga bukyali, nnandinyumiddwa nnyo emyaka gyange egy’obutiini.”

 Bwe tukolera ku mitindo gya Yakuwa, tuba basanyufu. Tuli bakakafu nti ebyo by’atugamba okukola “bya butuukirivu, bisanyusa omutima,” era “okubikolerako kulimu empeera nnene.”​—Zabbuli 19:8, 11.