OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2014

Magazini eno erimu ebitundu ebirina okusomebwa mu kibiina wakati wa Febwali 2 ne Maaki 1, 2015.

Yali ‘Amanyi Ekkubo’

Guy H. Pierce, eyali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yafa ku Lw’okubiri, Maaki 18, 2014.

Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa

Ekiragiro Katonda kye yawa Abaisiraeri kirina kye kituyigiriza ku nsonga y’okuwaayo.

‘Muwulirize era Mutegeere Amakulu’

Yesu yakozesa olugero olw’akasigo ka kalidaali, olw’ekizimbulukusa, olw’omusuubuzi, n’olw’eky’obugagga ekyakwekebwa. Engero ezo zirina makulu ki?

‘Otegeera Amakulu’?

Makulu ki agali mu lugero lwa Yesu olw’omusizi eyeebaka, olw’akatimba, n’olw’omwana omujaajaamya?

Okyajjukira?

Ebibuuzo bino 12 bisobola okukuyamba okulaba obanga okyajjukira ebyo ebyali mu magazini y’Omunaala gw’Omukuumi okuva ku ya Jjuuni okutuuka ku ya Ddesemba 2014.

Kikwetaagisa Okukyusa Endowooza Yo?

Ebimu ku bintu by’osalawo oba teweetaaga kubikyusaamu, ate ebirala oba osobola okubikyusaamu. Oyinza otya okumanya lwe kiba kyetaagisa okukola ekimu ku ebyo?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki Yeremiya kye yali ategeeza bwe yagamba nti Laakeeri yali akaabira abaana be?

Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo

Laba ebyokulabirako bina okuva mu Bayibuli ebiraga obukulu bw’okuba obumu, n’ensonga lwaki ekyo kijja kuba kikulu nnyo mu kiseera eky’omu maaso.

Osiima Ebyo Katonda by’Akuwadde?

Tuyinza tutya okulaga nti tusiima obusika bwaffe obw’eby’omwoyo?

Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi 2014

Olukalala lw’ebitundu ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna n’ogw’Okusoma mu kibiina mu 2014.