OMUNAALA GW'OMUKUUMI Jjulaayi 2015 | Engeri y’Okwaŋŋanga Ebikweraliikiriza

Abantu bangi bakosebwa olw’obutyabaga obugwawo oba bafuna ebizibu eby’amaanyi, kyokka abamu beeraliikirira kitono ate abalala beeraliikirira nnyo. Lwaki?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Ebyeraliikiriza Biri Buli Wamu!

Okunoonyereza kulaga nti omuntu ne bw’aba yeeraliikirira kitono kiyinza okumuviirako okufa amangu. Kiki ekinaakuyamba?

OMUTWE OGULI KUNGULU

Okweraliikirira eby’Enfuna

Omusajja omu yasobola wadde ng’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo byali bigula buwanana.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Okweraliikirira Ebizibu by’Amaka

Ebikwata ku mukazi omu eyayabulirwa, era eyalina okunoonya engeri y’okweyimirizaawo, biraga kye kitegeeza okuba n’okukkiriza.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Okweraliikirira Akabi

Kiki ekinaakuyamba obuteeraliikirira olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, endwadde, okwonoonebwa kw’obutonde, n’embeera y’obudde eyonooneka buli lukya?

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Nnali Nneeyongera Kwonooneka

Stephen McDowell yali muvubuka mukambwe nnyo, naye ekyo ekyatuuka ku banne abatemu kyamuleetera okukyusa obulamu bwe.

Ddala Tusobola Okusanyusa Katonda?

Eky’okuddamu kisangibwa mu ebyo ebikwata ku Yobu, Lutti, ne Dawudi, era bonna baakola ensobi ez’amaanyi.

Obadde Okimanyi?

Olubengo lwakozesebwanga lutya mu biseera eby’edda? Ebigambo “ali mu kifuba” bitegeeza ki?

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Ekiseera kirituuka ebintu ebibi nga tebikyaliwo?

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Bwe Nsaba Katonda Anannyamba?

Ddala Katonda atufaako nga tufunye ebizibu?