OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maaki 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Maayi 2 okutuuka nga Maayi 29, 2016.

Abaana​—Mutuuse Okubatizibwa?

Ebibuuzo bisatu ebisobola okukuyamba okusalawo.

Abaana​—Muyinza Mutya Okwetegekera Okubatizibwa?

Watya nga teweekakasa nti otuuse okubatizibwa? Oba watya singa oyagala okubatizibwa naye bazadde bo ne bakugamba nti ogira olindako?

Biki by’Osobola Okukola Okunyweza Obumu bw’Ekibiina?

Okwolesebwa okwogerako mu Okubikkulirwa essuula 9 kulaga lwaki kikulu okuba obumu.

Yakuwa Ayamba Abantu Be Okutambulira mu Kkubo ery’Obulamu

Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Yakuwa okutuwa obulagirizi?

Osobola Okuyamba Ekibiina Kyo?

Osobola okwoleka omwoyo ogw’obuminsani ne mu kibiina kyo?

Koppa Bannabbi

Ekyokulabirako bannabbi nga Ezeekyeri, Yeremiya, ne Koseya kye bassaawo kisobola okutuyamba nga tuwulira tukooye oba nga tuweddemu amaanyi.

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ddi abantu ba Katonda lwe baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene? Sitaani yatwalira ddala Yesu ku yeekaalu bwe yali ng’amukema?