OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Agusito 29 okutuuka nga Ssebutemba 25, 2016.

Beewaayo Kyeyagalire—Mu Ghana

Wadde ng’abo abagenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako boolekagana n’okusoomooza okutali kumu, bafuna emikisa mingi.

Noonya Bwakabaka, So Si Bintu

Yesu yalaga ensonga lwaki tulina okwewala omwoyo gw’okwagala ebintu.

Lwaki tusaanidde ‘okuba obulindaala’?

Singa tetwegendereza, waliwo ebintu bisatu ebisobola okutuleetera okulekera awo okuba obulindaala.

“Totya. Nja Kukuyamba”

Yakuwa yakiraga nti ayamba abantu be mu biseera ebizibu.

Okusiima Ekisa eky’Ensusso Katonda Kye Yatulaga

Kintu ki ekikyasinzeeyo okulaga ekisa kya Katonda eky’ensusso eri abantu?

Buulira Amawulire Amalungi Agakwata ku Kisa eky’Ensusso

Amawulire amalungi ag’Obwakabaka gooleka gatya ekisa kya Katonda eky’ensusso?

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Okukwatira awamu emiggo ebiri egyogerwako mu Ezeekyeri essuula 37 kulina makulu ki?