Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 3 2017 | Abeebagazi b’Embalaasi Abana—Engeri Gye Bakukwatako

OLWOOZA OTYA?

Abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo eky’Okubikkulirwa bamanyiddwa nnyo. Abamu beewuunya bwe basoma ku beebagazi b’embalaasi abo, ate abalala batya. Weetegereze Bayibuli ky’egamba ku bunnabbi ng’obwo:

“Alina essanyu oyo asoma mu ddoboozi eriwulikika ebigambo by’obunnabbi buno, n’abo ababiwulira.”Okubikkulirwa 1:3.

Akatabo kano kalaga ensonga lwaki kikulu okumanya ebikwata ku beebagazi b’embalaasi abo.

 

OMUTWE OGULI KUNGULU

Abeebagazi b’Embalaasi Bakukwatako Batya?

Embalaasi ennya—enjeru, emmyufu, enzirugavu, ensiiwuufu. Abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo kya Bayibuli ekisembayo eky’Okubikkulirwa bamanyiddwa nnyo.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Manya amakulu g’okwolesebwa kuno.

Obukakafu Obulala

Oyinza okuba nga tomanyi Tattenayi ayogerwako mu Bayibuli, naye abanoonyereza ku bintu eby’edda baakikakasa nti yaliyo.

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW'ABANTU

Nnali Njagala Nnyo Omuzannyo gwa Baseball!

Samuel Hamilton yali ayagala nnyo omuzannyo gwa baseball era yaguzannyiranga nsimbi. Bwe yafuna obuvune obw’amaanyi, yalekera awo okuzannya era n’atandika okuyiga Bayibuli n’ekyusa obulamu bwe.

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE

“Oli Mukazi Alabika Obulungi Ennyo”

Bwe baali mu Misiri, abazaana ba Falaawo baakiraba nti Saala yali alabika bulungi nnyo. Ekyaddirira kiyinza okukwewuunyisa.

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Katonda asosola mu mawanga? Abantu abamu baaweebwa emikisa ate abalala ne bakolimirwa?