OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Maayi 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjulaayi 9 okutuuka nga Agusito 5, 2018.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nnazaalibwa mu Bwavu Naye Kati Ndi Mugagga

Samuel Herd yazaalibwa mu maka maavu, naye kati mugagga nnyo mu by’omwoyo.

Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?

Olw’okuba ensi gye tulimu nzibu, kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okufuna emirembe. Ekigambo kya Katonda kituyamba.

Yakuwa Ayagala Abo ‘Ababala Ebibala n’Obugumiikiriza’

Okubuulira mu bitundu omuli abantu abatawuliriza kisobola okutumalamu amaanyi. Wadde kiri kityo, tusobola okubala ebibala.

Ensonga Lwaki Tweyongera “Okubala Ebibala Bingi”

Kikulu okujjukiranga ensonga lwaki tubuulira.

Manya Omulabe Wo

Tumanyi enkwe za Sitaani.

Abavubuka—Muziyize Omulyolyomi

Ffenna tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo. N’abavubuka basobola okuwangula olutalo olwo bwe bambala eby’okulwanyisa byonna eby’omwoyo.

Amakungula Amangi!

Mu kitundu ekimu ekya Ukraine, kimu kya kuna eky’abantu abaliyo Bajulirwa ba Yakuwa!