Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUNAALA GW'OMUKUUMI Na. 2 2018 | Ebiseera eby’Omu Maaso Biriba Bitya?

EBISEERA EBY’OMU MAASO BIRIBA BITYA?

Wali weebuuzizzaako ebiseera byo eby’omu maaso n’eby’ab’omu maka go bwe biribeera? Bayibuli egamba nti:

“Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

Akatabo kano kannyonnyola ekigendererwa kya Katonda eri ensi n’abantu, era ne ky’olina okukola okusobola okuganyulwa mu kigendererwa ekyo.

 

Okuteebereza Ebinaabaawo

Abantu bamaze emyaka mingi nga bateebereza ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso​—ebimu bituukirira, ate ebirala tebituukirira.

Obunnabbi Obumaze Okutuukirira

Obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira mu ngeri eyeewuunyisa.

Obujulizi Obukakasa Obunnabbi Obwatuukirira

Ekijjukizo ekiri mu Rooma kiwa obukakafu nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira.

Ebisuubizo Ebijja Okutuukirira

Obunnabbi obumu obuli mu Bayibuli bumaze okutuukirira, ate obulala bujja kutuukirira mu biseera eby’omu maaso.

Osobola Okubeera ku Nsi Emirembe Gyonna

Bayibuli ennyonnyola ekigendererwa kya Katonda eri abantu.

Okusalawo Kukwo!

Abamu bakkiriza nti buli ekibatuukako mu bulamu Katonda yakiteekateeka dda. Naye ddala ekyo kituufu?

“Abawombeefu Balisikira Ensi”

Bayibuli eraga nti ekiseera kijja kutuuka wabe nga tewakyali butali bwenkanya n’ebikolwa ebibi.