OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Agusito 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Okitobba 1-28, 2018.

Omanyi Byonna Ebizingirwamu?

Misingi ki esatu egiri mu Bayibuli egisobola okutuyamba okukakasa obanga obubaka bwe tusoma oba bwe tuwulira butuufu?

Tolamula Balala ng’Osinziira ku Ndabika ey’Okungulu

Laba ebintu bisatu abantu mwe batera okulamula abalala nga basinziira ku ndabika ey’okungulu.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nnamalirira Obutaleka Mikono Gyange Kugwa

Manya ebimu ku bintu Maxim Danyleyko by’ayiseemu mu myaka 68 gy’amaze ng’aweereza ng’omuminsani.

Abantu Abagabi Baba Basanyufu

Okugaba kutusobozesa kutya okuba abasanyufu?

Kolera Wamu ne Yakuwa Buli Lunaku

Bintu ki ebitaano bye tuyinza okukola okusobola okukolera awamu ne Yakuwa?

Okugumiikiriza​—Nga Tulina Essuubi

Labaka kye kitegeeza okuba omugumiikiriza, engeri y’okubukulaakulanyaamu, n’emiganyulo egiri mu kwoleka obugumiikiriza.

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Engeri Ensigo z’Obwakabaka Ezaasooka Gye Zaasigibwa mu Portugal

Bizibu ki ababuulizi b’Obwakabaka abaasooka mu Portugal bye baasanga?